Isaaya
55 Mujje, mmwe mmwenna abalumwa ennyonta;+ mujje mufune amazzi!+
Mmwe abatalina ssente mujje mugule mulye!
Mujje mugule omwenge n’amata+ nga temuwaddeeyo ssente era nga temuliiko kye musasudde.+
2 Lwaki musaasaanyiza ssente ku ebyo ebitali mmere,
Era lwaki mwonoonera omusaala gwammwe* ku ebyo ebitakkusa?
3 Mutege okutu mujje gye ndi.+
Mumpulirize, mujja kusigala nga muli balamu,
Era nja kukola nammwe endagaano ey’olubeerera.+
Nja kubalaga okwagala okutajjulukuka ng’okwo kwe nnasuubiza okulaga Dawudi.+
5 Laba! Oliyita eggwanga ly’otomanyi,
Era ab’eggwanga abatakumanyi baliddukira gy’oli
Olwa Yakuwa Katonda wo,+ Omutukuvu wa Isirayiri,
Kubanga alikugulumiza.+
6 Munoonye Yakuwa ng’akyayinza okulabika.+
Mumukoowoole ng’akyali kumpi.+
N’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye;
Akomewo eri Yakuwa anaamusaasira,+
Eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiyira ddala.+
8 “Ebirowoozo byange si bye birowoozo byammwe,+
N’amakubo gammwe si ge makubo gange,” Yakuwa bw’agamba.
9 “Ng’eggulu bwe liri waggulu ennyo okusinga ensi,
Bwe gatyo n’amakubo gange bwe gali waggulu ennyo okusinga agammwe,
Era n’ebirowoozo byange bwe biri waggulu ennyo okusinga ebyammwe.+
10 Ng’enkuba n’omuzira bwe bitonnya okuva mu ggulu
Ne bitaddayo okutuusa nga bimaze okunnyikiza ettaka, ebimera ne bimera era ne bibala ebibala,
Ne biwa omusizi ensigo n’omulyi emmere,
11 Bwe kityo n’ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiriba.+
Tekiridda gye ndi nga kyereere,+
Naye kirikola buli kye njagala,+
Era kirituukiririza ddala ekyo kye nkituma okukola.
Ensozi n’obusozi birijaganya ne byogerera waggulu n’essanyu nga mutuuse,+
N’emiti gyonna egy’oku ttale girikuba mu ngalo.+
13 Omuti gw’omuberosi gulimera+ mu kifo ky’ebisaka eby’amaggwa,
Omukadasi gulimera mu kifo ky’omwennyango.