Abeefeso
3 Olw’ensonga eyo, nze Pawulo eyasibibwa+ olwa Kristo Yesu ku lwammwe ab’amawanga— 2 mazima ddala muwulidde ebikwata ku buwanika+ obw’ekisa kya Katonda eky’ensusso obwampeebwa ku lwammwe, 3 nti okuyitira mu kubikkulirwa, ekyama ekitukuvu kyantegeezebwa nga bwe nnawandiika emabegako mu bumpimpi. 4 N’olwekyo, bwe musoma bino mujja kukimanya nti ntegeera ekyama ekitukuvu+ ekya Kristo. 5 Mu mirembe egyayita, ekyama kino tekyategeezebwa bantu nga kaakano bwe kibikkuliddwa eri abatume be abatukuvu ne bannabbi be okuyitira mu mwoyo,+ 6 nti ab’amawanga, abali obumu ne Kristo Yesu, bandibadde basikira wamu ne Kristo era nabo bandibadde bitundu bya mubiri gumu+ era nga bagabanira wamu naffe ekisuubizo kya Katonda okuyitira mu mawulire amalungi. 7 Nnafuuka muweereza w’ekyama kino olw’ekirabo kya Katonda eky’ekisa eky’ensusso ekyampeebwa okusinziira ku maanyi ge.+
8 Nze omuntu asembayo okuba owa wansi mu batukuvu bonna,+ nnaweebwa ekisa kino eky’ensusso,+ nsobole okubuulira ab’amawanga amawulire amalungi agakwata ku bugagga bwa Kristo obutanoonyezeka, 9 era nsobozese abantu okulaba engeri ekyama kino ekitukuvu+ gye kituukirizibwamu, Katonda eyatonda ebintu byonna ky’abadde akisizza okuva edda n’edda. 10 Kino kyali bwe kityo, okuyitira mu kibiina,+ amagezi ga Katonda ageeyoleka mu ngeri ez’enjawulo, kaakano gategeezebwe+ gavumenti n’obuyinza ebiri mu bifo eby’omu ggulu. 11 Kino kikwatagana n’ekigendererwa kye eky’olubeerera kye yassaawo era ekikwata ku Kristo,+ Mukama waffe Yesu, 12 mwe tuyitira okwogera n’obuvumu era ne tutuukirira Katonda+ nga tetutya olw’okuba tumukkiririzaamu. 13 N’olwekyo, mbasaba obutalekulira olw’okubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga kubaweesa ekitiibwa.+
14 N’olwekyo nfukaamirira Kitaffe, 15 oyo buli kika kyonna mu ggulu ne ku nsi kwe kiggya erinnya. 16 Nsaba Katonda okuyitira mu kitiibwa kye ekingi abasobozese okuba abanywevu mu ekyo kye muli munda,+ ng’akozesa amaanyi okuyitira mu mwoyo gwe, 17 era nti okuyitira mu kukkiriza kwammwe Kristo abeere mu mitima gyammwe awamu n’okwagala okuli mu mmwe.+ Musimbe emirandira+ era munywerere ku musingi,+ 18 mulyoke musobole mmwe awamu n’abatukuvu okutegeerera ddala obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba, 19 era mumanye okwagala kwa Kristo+ okusingira ewala okumanya, musobole okujjuzibwa engeri zonna eza Katonda.
20 Kale, oyo asobola okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza,+ ng’asinziira ku maanyi ge agakolera mu ffe,+ 21 aweebwe ekitiibwa okuyitira mu kibiina n’okuyitira mu Kristo Yesu emirembe n’emirembe. Amiina.