Lukka
10 Oluvannyuma lw’ebyo, Mukama waffe n’alonda abalala 70, n’abatuma babiri babiri+ okumukulemberamu mu buli kibuga na buli kifo gye yali agenda. 2 Awo n’abagamba nti: “Eby’okukungula bingi naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.+ 3 Mugende. Laba! Mbatuma ng’atuma endiga wakati mu misege.+ 4 Temutwala nsawo eteekebwamu ssente, oba ensawo omuli eby’okulya, wadde engatto,+ era temulamusa muntu yenna mu kkubo.* 5 Buli nnyumba gye munaayingirangamu musookenga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’+ 6 Bw’eneebangamu omuntu ayagala emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga naye. Naye bw’ataabengamu, ginaabaddiranga. 7 Kale musigalenga mu nnyumba eyo,+ mulye era munywe ebintu bye babawa,+ kubanga omukozi agwanira empeera ye.+ Temuvanga mu nnyumba emu okugenda mu ndala.
8 “Era ekibuga kyonna kye munaayingirangamu ne babaaniriza, mulyenga ebintu bye banaabanga babawadde, 9 muwonyenga abalwadde abakirimu, era mubagambenga nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’+ 10 Naye ekibuga kyonna kye munaayingirangamu ne batabaaniriza, mugendanga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti, 11 ‘N’enfuufu y’omu kibuga kyammwe ekutte ku bigere byaffe tugibakunkumulidde.+ Naye, mujjukire nti Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ 12 Mbagamba nti ku lunaku luli, ekibonerezo ky’ekibuga ekyo kiriba kinene okusinga ekya Sodomu.+
13 “Zikusanze ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! kubanga ebyamagero ebyakolebwa mu mmwe singa byakolebwa mu Ttuulo ne Sidoni, abaayo bandibadde beenenya dda ne batuula mu vvu nga bambadde ebibukutu.+ 14 Bwe kityo, ku lunaku olw’okusalirako omusango, ekibonerezo kyammwe kiriba kinene okusinga ekya Ttuulo ne Sidoni. 15 Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? Ojja kukka emagombe!*
16 “Oyo abawuliriza, nange aba ampulirizza.+ Era oyo abagaana, nange aba aŋŋaanye. Ate oyo aŋŋaana aba agaana n’oyo eyantuma.”+
17 Awo ensanvu ne bakomawo nga basanyufu, ne bagamba nti: “Mukama waffe, ne dayimooni zituwulira bwe tukozesa erinnya lyo.”+ 18 N’abagamba nti: “Ndaba Sitaani ng’agudde+ nga laddu okuva mu ggulu. 19 Laba! Mbawadde obuyinza okulinnyirira emisota n’enjaba, era n’obuyinza okuvvuunuka amaanyi gonna ag’omulabe;+ tewali kintu kyonna kijja kubakolako kabi. 20 Kyokka temusanyuka olw’okuba emyoyo emibi gibawulira, naye musanyuke olw’okuba amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”+ 21 Awo mu kiseera ekyo kyennyini n’ajjula essanyu n’omwoyo omutukuvu, n’agamba nti: “Nkutendereza mu lujjudde Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu,+ n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo, Ai Kitange, kubanga bw’otyo bwe wasiima.+ 22 Kitange ampadde ebintu byonna, era tewali amanyi Mwana wabula Kitange, ate era tewali amanyi Kitange wabula Omwana,+ n’oyo yenna Omwana gw’aba ayagadde amanye Kitaawe.”+
23 Awo n’agamba abayigirizwa be nga bali bokka nti: “Balina essanyu abo abalaba ebintu bye mulaba.+ 24 Mbagamba nti bannabbi bangi ne bakabaka beegomba okulaba ebintu bye mulaba, naye ne batabiraba,+ era n’okuwulira ebintu bye muwulira naye ne batabiwulira.”
25 Awo omusajja omu eyali omukenkufu mu Mateeka n’ayimuka okumugezesa, n’amugamba nti: “Omuyigiriza, nkole ki okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?”+ 26 N’amugamba nti: “Amateeka gagamba ki? Osoma otya?” 27 N’amuddamu nti: “‘Oyagalanga Yakuwa* Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna,’+ era ‘oyagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.’”+ 28 N’amugamba nti: “Ozzeemu bulungi; kolanga bw’otyo era olifuna obulamu.”+
29 Naye olw’okwagala okulaga nti mutuukirivu,+ n’abuuza Yesu nti: “Muliraanwa* wange y’ani?” 30 Yesu n’amuddamu nti: “Waliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko n’agwa mu banyazi, ne bamwambula, ne bamukuba era ne bamuleka ng’abulako katono okufa. 31 Awo kabona yali aserengeta mu kkubo eryo, naye bwe yamulaba, n’adda ku ludda olulala n’ayitawo. 32 N’Omuleevi bwe yatuuka mu kifo ekyo, n’amulaba, n’adda ku ludda olulala n’ayitawo. 33 Naye Omusamaliya+ eyali ayita mu kkubo eryo bwe yatuuka we yali, n’amulaba, n’amukwatirwa ekisa. 34 Awo n’agenda we yali, n’afuka amafuta n’omwenge ku biwundu bye era n’abisiba. Olwamala n’amutuuza ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba omusula abatambuze n’amujjanjaba. 35 Ku lunaku olwaddako n’akwata eddinaali* bbiri n’aziwa alabirira ennyumba omusula abatambuze, n’amugamba nti, ‘Mulabirire, era n’endala z’onoosaasaanya nja kuzikusasula nga nkomyewo.’ 36 Ani ku bantu bano abasatu eyalaga nti ye yali muliraanwa*+ w’omuntu oyo eyagwa mu banyazi?” 37 N’amugamba nti: “Oyo eyamulaga obusaasizi.”+ Awo Yesu n’amugamba nti: “Naawe genda okolenga bw’otyo.”+
38 Awo bwe baali bagenda n’ayingira mu kyalo ekimu. Ng’ali eyo, omukyala ayitibwa Maliza+ n’amukyaza mu nnyumba ye. 39 Omukyala ono yalina muganda we ayitibwa Maliyamu eyatuula okumpi n’ebigere bya Mukama waffe n’awuliriza bye yali ayogera.* 40 Kyokka ye Maliza yali atwaliriziddwa eby’okukola ebingi bye yalina. Awo n’agenda awali Yesu n’agamba nti: “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andese okukola ebintu bino byonna nzekka? Mugambe ajje annyambeko.” 41 Mukama waffe n’amuddamu nti: “Maliza, Maliza, weeraliikirira era otawaana n’ebintu bingi. 42 Naye ebintu bitono bye byetaagibwa, oba kimu kyokka. Ye Maliyamu alonze ekisinga obulungi+ era tekijja kumuggibwako.”