Matayo
28 Nga Ssabbiiti eweddeko, ku lunaku olusooka mu wiiki, ng’obudde butandise okutangaala, Maliyamu Magudaleena ne Maliyamu omulala baagenda okulaba entaana.+
2 Musisi ow’amaanyi yali ayise, era malayika wa Yakuwa* yali asse okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja okuva ku ntaana, era yali alituddeko.+ 3 Yali ayakaayakana ng’ekimyanso era n’engoye ze nga zitukula ng’omuzira.+ 4 Olw’okumutya, abakuumi baakankana, era ne baba ng’abafudde.
5 Naye malayika n’agamba abakazi nti: “Temutya, kubanga mmanyi nti munoonya Yesu eyakomererwa ku muti.+ 6 Taliiwo wano, kubanga yazuukiziddwa nga bwe yagamba.+ Mujje mulabe ekifo we yabadde agalamiziddwa. 7 Mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti yazuukiziddwa okuva mu bafu era agenda Ggaliraaya.+ Eyo gye munaamulabira. Laba! Mbabuulidde.”+
8 Amangu ago ne bava awaali entaana ne badduka okugenda okubuulira abayigirizwa be. Wadde baali batidde, baalina essanyu lingi.+ 9 Awo Yesu n’abasisinkana n’abagamba nti: “Emirembe gibe nammwe!” Ne basembera w’ali, ne bamukwata ku bigere, ne bamuvunnamira. 10 Yesu n’abagamba nti: “Temutya! Mugende mugambe baganda bange bagende e Ggaliraaya, era eyo gye banandabira.”
11 Bwe baali bagenda, abamu ku bakuumi+ ne bagenda mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu ebintu byonna ebyali bibaddewo. 12 Awo nga bakabona abakulu bamaze okukuŋŋaana wamu n’abakadde ne bateesa, baawa abasirikale ebitundu bya ffeeza ebiwerako, 13 ne babagamba nti: “Mugambe nti, ‘Abayigirizwa be bazze ekiro nga twebase ne bamubba.’+ 14 Kino gavana bw’anaakiwulira, tujja kumunnyonnyola era temujja kuba na kibeeraliikiriza.” 15 Ne batwala ebitundu bya ffeeza, ne bakola nga bwe baalagirwa, era ebigambo bino ne bibuna wonna mu Bayudaaya n’okutuusa leero.
16 Naye abayigirizwa ekkumi n’omu ne bagenda e Ggaliraaya+ ku lusozi Yesu gye yali ow’okubasisinkana.+ 17 Bwe baamulaba ne bavunnama, naye abamu ne babuusabuusa obanga ddala ye ye. 18 Awo Yesu n’asembera we baali n’ayogera nabo n’abagamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.+ 19 N’olwekyo, mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna+ abayigirizwa, nga mubabatiza+ mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu, 20 nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.+ Era laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.”*+