Yokaana
11 Awo ne wabaawo omusajja ayitibwa Laazaalo eyali omulwadde; yali wa mu kabuga Bessaniya, era eyo bannyina Maliyamu ne Maliza nabo gye baali babeera.+ 2 Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa era n’asiimuula ebigere bye ng’akozesa enviiri ze,+ era mwannyina Laazaalo ye yali omulwadde. 3 Awo bannyina Laazaalo ne baweereza Yesu obubaka, nga bamugamba nti: “Mukama waffe, oyo gw’oyagala ennyo mulwadde.” 4 Yesu bwe yawulira ekyo n’agamba nti: “Ekigendererwa ky’obulwadde buno si kutta, naye kugulumiza Katonda.+ Era okuyitira mu bwo Omwana wa Katonda ajja kugulumizibwa.”
5 Yesu yali ayagala nnyo Maliza ne muganda we, era ne Laazaalo. 6 Kyokka bwe yawulira nti Laazaalo mulwadde, yasigala gye yali ennaku endala bbiri. 7 Awo oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.” 8 Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Labbi,+ emabegako awo Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja,+ kati ate eyo gy’oyagala okudda?” 9 Yesu n’addamu nti: “Ekitangaala eky’obudde obw’emisana tekibaawo okumala essaawa 12?+ Omuntu yenna bw’atambulira mu kitangaala ekyo teyeesittala ku kintu kyonna, kubanga aba alaba ekitangaala ky’ensi eno. 10 Naye omuntu yenna bw’atambula ekiro, yeesittala, kubanga taba na kitangaala.”
11 Bwe yamala okwogera ebyo, n’abagamba nti: “Laazaalo mukwano gwaffe yeebase, naye ŋŋendayo okumuzuukusa.”+ 12 Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mukama waffe, bw’aba yeebase, ajja kuba bulungi.” 13 Kyokka Yesu yali ayogera ku kufa kwe, naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. 14 Awo Yesu n’abagamba kaati nti: “Laazaalo afudde,+ 15 era ndi musanyufu ku lwammwe nti saabaddeyo, mulyoke musobole okukkiriza. Naye ka tugende gy’ali.” 16 Tomasi eyali ayitibwa Omulongo n’agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende, tusobole okufiira awamu naye.”+
17 Yesu bwe yatuuka, yasanga Laazaalo amaze ennaku nnya mu ntaana.* 18 Bessaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, nga kikyesudde mayiro nga bbiri.* 19 Abayudaaya bangi baali bazze ewa Maliza ne Maliyamu okubakubagiza olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 20 Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, naye ye Maliyamu+ n’asigala awaka. 21 Awo Maliza n’agamba Yesu nti: “Mukama wange, singa waliwo, mwannyinaze teyandifudde. 22 Naye ne kaakano mmanyi nti kyonna ky’osaba, Katonda ajja kukikuwa.” 23 Yesu n’amugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” 24 Maliza n’amuddamu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira+ kw’oku lunaku olw’enkomerero.” 25 Yesu n’amugamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu.+ Oyo anzikiririzaamu ne bw’afa, aliba mulamu nate, 26 era buli muntu omulamu anzikiririzaamu talifa.+ Kino okikkiriza?” 27 N’amugamba nti: “Yee, Mukama wange; nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, eyali ow’okujja mu nsi.” 28 Bwe yamala okwogera ebyo, n’agenda n’ayita muganda we Maliyamu n’amuzza ku bbali n’amugamba nti: “Omuyigiriza+ azze era akuyita.” 29 Maliyamu bwe yawulira ekyo, n’ayimuka mangu n’agenda gy’ali.
30 Yesu yali tannayingira mu kabuga, naye yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana. 31 Awo Abayudaaya abaali ne Maliyamu mu nnyumba nga bamubudaabuda bwe baamulaba ng’asituse mangu n’afuluma, ne bamugoberera nga balowooza nti yali agenda ku ntaana*+ kukaabira eyo. 32 Maliyamu bwe yatuuka mu kifo Yesu we yali n’amulaba, yavunnama mu maaso ge, n’amugamba nti: “Mukama wange, singa waliwo mwannyinaze teyandifudde.” 33 Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era nga n’Abayudaaya be yali azze nabo bakaaba, n’asinda mu nda ye era n’anyolwa nnyo. 34 N’abagamba nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamuddamu nti: “Mukama waffe, jjangu olabeyo.” 35 Yesu n’akulukusa amaziga.+ 36 Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Laba bw’abadde amwagala!” 37 Naye abamu ne bagamba nti: “Omusajja ono eyazibula amaaso g’omuzibe+ yali tasobola kuziyiza ono kufa?”
38 Yesu bwe yamala okusinda nate, n’agenda ku ntaana.* Yali mpuku era yali eteekeddwako ejjinja. 39 Yesu n’agamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Maliza, mwannyina w’omugenzi n’amugamba nti: “Mukama wange, kati ateekwa okuba ng’awunya kubanga waakayita ennaku nnya.” 40 Yesu n’amugamba nti: “Saakugambye nti bw’onokkiriza ojja kulaba ekitiibwa kya Katonda?”+ 41 Awo ne baggyawo ejjinja, Yesu n’atunula waggulu+ n’agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde. 42 Kituufu, nkimanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde abantu abayimiridde wano basobole okukkiriza nti ggwe wantuma.”+ 43 Bwe yamala okwogera ebyo, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Laazaalo, fuluma!”+ 44 Omusajja eyali afudde n’afuluma ng’ebigere bye n’emikono gye bizingiddwako engoye era ng’asibiddwa ekitambaala ku maaso. Yesu n’abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”
45 Awo bangi ku Bayudaaya abaali bazze ne Maliyamu bwe baalaba kye yali akoze, ne bamukkiririzaamu,+ 46 naye abamu ne bagenda eri Abafalisaayo ne bababuulira Yesu kye yali akoze. 47 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza Olukiiko Olukulu ne bagamba nti: “Tunaakola tutya, kubanga omusajja ono akola ebyamagero bingi?+ 48 Bwe tumuleka obulesi, abantu bonna bajja kumukkiririzaamu, era Abaruumi bajja kujja batwale ekifo kyaffe* n’eggwanga lyaffe.” 49 Naye omu ku bo eyali ayitibwa Kayaafa,+ eyali kabona asinga obukulu omwaka ogwo, n’abagamba nti: “Temulina kye mumanyi, 50 era temukirowoozezzaako nti kiba kya muganyulo nnyo gye muli omuntu omu okufiirira abantu mu kifo ky’eggwanga lyonna okuzikirizibwa.” 51 Kyokka ekyo teyakyogera ku bubwe, naye olw’okuba ye yali kabona asinga obukulu omwaka ogwo, yali alagula nti Yesu yali agenda kufiirira eggwanga, 52 ate si kufiirira ggwanga kyokka, naye era n’okukuŋŋaanya awamu abaana ba Katonda abaali basaasaanye. 53 Okuva olwo, ne beekobaana okumutta.
54 Awo Yesu n’alekera awo okutambula kyere mu Bayudaaya, naye n’avaayo n’agenda mu kitundu ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu,+ n’abeera eyo n’abayigirizwa be. 55 Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako+ yali enaatera okutuuka, era abantu bangi baava mu byalo ne bagenda e Yerusaalemi ng’embaga eyo tennatuuka basobole okwetukuza. 56 Baali banoonya Yesu, era bwe baali bayimiridde mu yeekaalu beebuuzaganya nti: “Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?” 57 Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali bawadde ebiragiro nti singa wabaawo omuntu yenna amanya Yesu w’ali, abategeeze bamukwate.