Temufuuka Bawulizi Abeerabira
“Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba.”—YAKOBO 1:22.
1. Abaisiraeri ab’edda baalaba bya magero ki?
EBY’AMAGERO Yakuwa bye yakola mu Misiri eky’edda tebiyinza kwerabirwa. Buli kimu ku Bibonoobono Ekkumi awatali kubuusabuusa byali byewuunyisa. Ebibonoobono ebyo byaddirirwa okununulibwa okw’ekitalo ng’Abaisiraeri bayita mu mazzi g’Ennyanja Emmyufu agaawuddwamu. (Ekyamateeka 34:10-12) Singa wali olabye ebyaliwo ebyo, kisuubirwa nti tewandyerabidde Oyo eyabikola. Kyokka, omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “[Abaisiraeri] ne beerabira Katonda omulokozi waabwe, eyakolera ebikulu mu Misiri. Eby’amagero mu nsi ya Kaamu, n’eby’entiisa ku Nnyanja Emmyufu.”—Zabbuli 106:21, 22.
2. Kiki ekiraga nti okusiima Abaisiraeri kwe baalina eri ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo kwali kwa kaseera buseera?
2 Oluvannyuma lw’okusomoka Ennyanja Emmyufu, Abaisiraeri ‘baatandika okutya Mukama n’okumukkiririzaamu.’ (Okuva 14:31) Musa n’abasajja Abaisiraeri baayimbira Yakuwa oluyimba olw’obuwanguzi, era Miryamu n’abakazi abalala n’abo baakuba ensaasi era ne bazina. (Okuva 15:1, 20) Yee, abantu ba Yakuwa baawuniikirira olw’ebikolwa bye eby’ekitalo. Naye okusiima kwe baalina eri Oyo eyakola ebikolwa ebyo, kwali kwa kaseera buseera. Mangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, bangi beeyisa ng’abaali batajjukira kye baalaba. Baatandika okwemulugunyiza Yakuwa. Abamu benyigira mu kusinza ebifaananyi n’empisa ez’obugwenyufu.—Okubala 14:27; 25:1-9.
Kiki Ekiyinza Okutwerabiza?
3. Olw’okuba tetutuukiridde, kiki kye tuyinza okwerabira?
3 Kyewuunyisa nnyo nti Abaisiraeri tebaayoleka kusiima. Naye, ekintu kye kimu naffe kiyinza okututuukako. Kituufu nti tetulabanga ku byamagero ng’ebyo okuva eri Katonda. Kyokka, mu nkolagana gye tulina ne Katonda, wabaddewo ebintu bye tutayinza kwerabira. Abamu ku ffe tuyinza okujjukira ekiseera lwe twakkiriza amazima okuva mu Baibuli. Ebiseera ebirala eby’essanyu biyinza okuba lwe twewaayo eri Yakuwa mu kusaba era ne tubatizibwa mu mazzi ng’Abakristaayo ab’amazima. Bangi ku ffe tulabye engeri Yakuwa gy’atuyambyemu mu biseera ebirala mu bulamu bwaffe. (Zabbuli 118:15) Okusinga byonna, okuyitira mu kufa kw’Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, tufunye essuubi ery’obulokozi. (Yokaana 3:16) Wadde kiri kityo, olw’okuba tetutuukiridde, bwe tufuna okwegomba okubi era ne tubaako n’ebitweraliikiriza mu bulamu, naffe tuyinza okwerabira ebintu ebirungi Yakuwa by’atukoledde.
4, 5. (a) Yakobo alabula atya ku kabi k’okubeera abawulizi abeerabira? (b) Ekyokulabirako kya Yakobo eky’okweraba mu ndabirwamu tuyinza kukigeraageranya ku ki?
4 Mu bbaluwa gye yawandiikira Bakristaayo banne, Yakobo, muganda wa Yesu yalabula ku kabi k’okufuuka abawulizi abeerabira. Yawandiika: “Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. Kubanga omuntu yenna bw’aba omuwulizi w’ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng’omuntu eyeeraba . . . mu ndabirwamu: kubanga yeeraba n’agenda, amangu ago ne yeerabira bw’afaananye.” (Yakobo 1:22-24) Yakobo yali ategeeza ki bwe yayogera ebigambo ebyo?
5 Bwe tuzuukuka ku makya, tutera okutunula mu ndabirwamu okulaba enkyukakyuka ze tulina okukola ku ndabika yaffe. Bwe twenyigira mu bintu ebitali bimu era ne tulowooza ku bintu ebirala, twerabira ekyo kye twalabye mu ndabirwamu. Kino kiyinza okubaawo ne mu ngeri ey’eby’omwoyo. Bwe tutunula mu Kigambo kya Katonda, tuyinza okugeraageranya kye tuli n’ekyo Yakuwa ky’atusuubira okuba. Bwe kityo twolekagana n’obunafu bwaffe. Okumanya kuno kwandituleetedde okukola enkyukakyuka mu ngeri zaffe. Naye bwe twenyigira mu mirimu gyaffe egya buli lunaku, ne twolekagana n’ebizibu byaffe, tuyinza okwerabira ensonga ez’eby’omwoyo. (Matayo 5:3; Lukka 21:34) Kiba ng’okwerabira ebikolwa eby’okwagala Katonda by’atukoledde. Singa kino kibaawo, tuyinza okutwalirizibwa ekibi.
6. Kwekenneenya ki okuva mu Byawandiikibwa okuyinza okutuyamba obuteerabira kigambo kya Yakuwa?
6 Mu bbaluwa ye eyasooka eyaluŋŋamizibwa gye yawandiikira Abakkolinso, omutume Pawulo ayogera ku Baisiraeri abaali mu ddungu abeerabira. Ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baaganyulwa mu bigambo bya Pawulo, okwekenneenya bye yawandiika kiyinza okutuyamba obuteerabira kigambo kya Yakuwa. N’olwekyo, ka twekenneenye 1 Abakkolinso 10:1-12.
Weesambe Okwegomba kw’Ensi
7. Bujulizi ki obulaga okwagala kwa Yakuwa Abaisiraeri bwe baafuna?
7 Pawulo ky’ayogera ku Baisiraeri, kulabula eri Abakristaayo. Pawulo awandiika: “Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab’oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w’ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja; era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja.” (1 Abakkolinso 10:1-4) Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Musa baali balabye okweyoleka okw’amaanyi ga Katonda, nga mw’otwalidde n’ekire kye eky’ekyamagero ekyabakulemberanga emisana era ekyabayamba okuwonawo mu Nnyanja Emmyufu. (Okuva 13:21; 14:21, 22) Yee, Abaisiraeri abo baafuna obujulizi obulaga nti Yakuwa abaagala.
8. Kiki ekyavaamu Abaisiraeri bwe beerabira mu ngeri ey’eby’omwoyo?
8 Pawulo ayongerako: “Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima: kubanga baazikirizibwa mu ddungu.” (1 Abakkolinso 10:5) Nga kya nnaku nnyo! Abaisiraeri abasinga obungi abaava mu Misiri bavunaanyizibwa olw’okulemererwa okuyingira mu Nsi Ensuubize. Olw’obutaba na kukkiriza, Katonda teyabasiima era baafiira mu ddungu. (Abaebbulaniya 3:16-19) Kiki kye tuyinza okuyigira ku kino? Pawulo agamba: “Naye ebyo byali byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba.”—1 Abakkolinso 10:6.
9. Nteekateeka ki Yakuwa ze yakolera Abaisiraeri, era baazitwala batya?
9 Abaisiraeri baalina bingi ebyandibayambye okulowooza ku by’omwoyo nga bali mu ddungu. Baakola endagaano ne Yakuwa ne bafuuka eggwanga eryewaddeyo gy’ali. Ate era, baaweebwa obwakabona, eweema ey’okusinzizaamu, n’enteekateeka ey’okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa. Kyokka, mu kifo ky’okusanyukira ebirabo bino eby’eby’omwoyo, tebaali bamativu n’ebyo Katonda bye yali abawadde.—Okubala 11:4-6.
10. Lwaki buli kiseera twanditaddenga ebirowoozo byaffe ku Katonda?
10 Wadde Yakuwa teyasiima Baisiraeri mu ddungu, asiima abantu be leero. Kyokka, ng’abantu kinnoomu, kikulu nnyo okussa ebirowoozo byaffe ku Katonda. Okukola ekyo kijja kutuyamba okwesamba okwegomba okuyinza okutulemesa okulala obulungi eby’eby’omwoyo. Tuteekwa okuba abamalirivu “okugaananga [“okwesambanga,” NW] obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi, tulyoke tubeerenga abalamu mu mirembe egya kaakano mu kwegendereza.” (Tito 2:12) Abamu ku ffe ababadde bakolagana n’ekibiina Ekikristaayo okuva mu buto, tetulowoozanga nti tulina kyonna ekirungi kye tufiirwa. Singa tufuna ebirowoozo ng’ebyo, kiba kirungi okujjukira Yakuwa n’emikisa egy’ekitalo gy’ateeseteese okutuwa.—Abaebbulaniya 12:2, 3.
Obuwulize Obwa Nnamaddala eri Yakuwa
11, 12. Wadde ng’omuntu aba tasinzizza bifaananyi byole, ayinza atya okusinza ebifaananyi?
11 Pawulo awa okulabula okulala bw’awandiika: “So temubanga basinza ba bifaananyi, ng’abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n’okunywa, ne bagolokoka okuzannya.” (1 Abakkolinso 10:7) Pawulo ayogera ku kiseera Abaisiraeri bwe baawaliriza Alooni okukola akayana aka zaabu. (Okuva 32:1-4) Wadde kirabika nga tetuyinza kusinza bifaananyi butereevu, tuyinza okusinza ebifaananyi nga tuleka okwegomba kwaffe okutuwugula okuva ku kusinza Yakuwa n’emmeeme yaffe yonna.—Abakkolosaayi 3:5.
12 Ku mulundi omulala, Pawulo yawandiika ku abo abakulembeza ebintu eby’omubiri mu kifo ky’ebintu eby’omwoyo. Ku bikwata ku ‘balabe ba Kristo,’ yawandiika: “Enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto.” (Abafiripi 3:18, 19) Baali tebasinza kifaananyi kyole. Kyokka, baali beegomba ebintu eby’omubiri. Kya lwatu okwegomba kwonna si kukyamu. Yakuwa yatutonda nga tulina ebyetaago n’obusobozi bw’okunyumirwa ebintu ebitali bimu. Naye abo abakulembeza eby’amasanyu mu kifo ky’enkolagana yaabwe ne Katonda, mazima ddala bafuuka basinza ba bifaananyi.—2 Timoseewo 3:1-5.
13. Kiki kye tuyinza okuyiga ku bikwata ku kayana aka zaabu?
13 Oluvannyuma lw’okuva mu Misiri, Abaisiraeri baakola akayana aka zaabu ak’okusinza. Ng’oggyeko okulabula okukwata ku kusinza ebifaananyi, waliwo ekintu ekirala ekikulu eky’okuyiga mu kino. Abaisiraeri baajeemera obulagirizi obuva eri Yakuwa. (Okuva 20:4-6) Naye tebaalina kigendererwa kya kugaana Yakuwa nga Katonda waabwe. Baawaayo ssaddaaka eri akayana era omukolo ogwo ne baguyita ‘embaga ya Yakuwa.’ Beerimba nti Katonda yandibuusizza amaaso obujeemu bwabwe. Kuno kwali kunyooma Yakuwa, era kyamunyiiza nnyo.—Okuva 32:5, 7-10; Zabbuli 106:19, 20.
14, 15. (a) Lwaki Abaisiraeri tebaalina kya kwekwasa kyonna okufuuka abawulizi abeerabira? (b) Singa tumalirira obutafuuka bawulizi abeerabira, tunaatwala tutya ebiragiro bya Yakuwa?
14 Kyandibadde kyewuunyisa nnyo omu ku Bajulirwa ba Yakuwa okwegatta ku ddiini ey’obulimba. Kyokka, wadde nga bakyali mu kibiina, abamu bayinza okugaana obulagirizi bwa Yakuwa mu ngeri endala. Abaisiraeri tebaalina kya kwekwasa okufuuka abawulizi abeerabira. Baawulira Amateeka Ekkumi, era baaliwo Musa bwe yabawa ekiragiro kya Katonda: “Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b’effeeza, newakubadde bakatonda b’ezzaabu, temubeekoleranga.” (Okuva 20:18, 19, 22, 23) Kyokka, Abaisiraeri baasinza akayana aka zaabu.
15 Naffe tetwandibadde na nsonga yonna ntuufu okufuuka abawulizi abeerabira. Mu Byawandiikibwa, tulina obulagirizi okuva eri Katonda ku bintu bingi mu bulamu. Ng’ekyokulabirako, Ekigambo kya Yakuwa kivumirira ekikolwa eky’okwewola n’otasasula. (Zabbuli 37:21) Abaana balagirwa okuwulira bazadde baabwe, era bataata basuubirwa okukuza abaana baabwe mu ‘kuyigiriza kwa Yakuwa.’ (Abaefeso 6:1-4) Abakristaayo abatali bafumbo balagirwa ‘okufumbiriganwa mu Mukama waffe,’ era abaweereza ba Katonda abafumbo bagambibwa: “Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.” (1 Abakkolinso 7:39; Abaebbulaniya 13:4) Bwe tumalirira obutafuuka bawulizi abeerabira, ebiragiro bino n’ebirala okuva eri Katonda, tujja kubitwala nga bikulu nnyo era tubigoberere.
16. Biki ebyava mu kusinza akayana aka zaabu?
16 Yakuwa teyakkiriza Baisiraeri kumusinza nga bwe baagala. Wabula, abantu 3,000 baazikirizibwa, oboolyawo okusingira ddala olw’okusinza akayana aka zaabu. Aboonoonyi abalala, Yakuwa yabaleetera ebibonyoobonyo. (Okuva 32:28, 35) Nga kya kuyiga kikulu eri abo abasoma Ekigambo kya Katonda naye ne beeronderawo kye baagala okugondera!
“Mwewalenga Obwenzi”
17. 1 Abakkolinso 10:8 lwogera ku ki?
17 Ekifo ekimu okwegomba okw’omubiri mwe kuyinza okutuleetera okwerabira mu ngeri ey’eby’omwoyo, kyogerwako Pawulo bw’agamba: “Era tetwendanga, ng’abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku lunaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu.” (1 Abakkolinso 10:8) Wano Pawulo ayogera ku kyaliwo ku Nsenyi za Mowaabu ku nkomerero y’ekiseera eky’emyaka 40 Abaisiraeri kye baamala mu ddungu. Abaisiraeri baali kye bajje bafune obuyambi bwa Yakuwa mu kuwamba ensi ezaali ebuvanjuba bwa Yoludaani. Naye, abantu bangi ekyo baakyerabira era ne batasiima. Ku nsalo y’Ensi Ensuubize, baatwalirizibwa empisa ez’obugwenyufu n’okusinza kwa Baali okutaali kulongoofu. Abantu 24,000, nga 1,000 ku bo be baali abakulembeze b’akeddiimo, baazikirizibwa.—Okubala 25:9.
18. Nneeyisa ya ngeri ki eyinza okuvaamu empisa ez’obugwenyufu?
18 Abantu ba Yakuwa leero bamanyiddwa olw’empisa zaabwe eziri ku mutindo ogwa waggulu. Naye bwe bakemebwa okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu, Abakristaayo abamu balekera awo okulowooza ku Katonda n’emisingi gye. Bafuuka abawulizi abeerabira. Mu kusooka, okukemebwa kuyinza obutakwata ku kikolwa eky’obwenzi. Kuyinza okuba okutunuulira ebifaananyi eby’obugwenyufu, okusaaga mu ngeri etasaana oba okuzannyirira mu ngeri etasaana ne be tutafaananya kikula, oba okubeera awamu n’abantu abanafu mu mpisa. Bino byonna bireetedde Abakristaayo okwonoona.—1 Abakkolinso 15:33; Yakobo 4:4.
19. Kubuulirira ki okw’omu Byawandiikibwa okutuyamba ‘okwewala obwenzi’?
19 Bwe tukemebwa okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu, tetulina kulekera awo kulowooza ku Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, tuteeka okugoberera okujukizibwa okuli mu Kigambo kye. (Zabbuli 119:1, 2) Ng’Abakristaayo, abasinga obungi ku ffe tukola kyonna kye tusobola okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa. Naye kyetaagisa okufuba buli kiseera okusobola okukola ekituufu mu maaso ga Katonda. (1 Abakkolinso 9:27) Eri Abakristaayo mu Rooma, Pawulo yawandiika: “Kubanga okuwulira kwammwe kwabuna mu bonna. Kyenvudde mbasanyukira mmwe: naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mu bulungi, era abasirusiru mu bubi.” (Abaruumi 16:19) Ng’Abaisiraeri 24,000 bwe battibwa olw’ebibi byabwe, mangu ddala, abenzi n’abazzi b’emisango abalala bajja kuzikirizibwa Yakuwa. (Abaefeso 5:3-6) N’olwekyo, mu kifo ky’okufuuka abawulizi abeerabira, tuteekwa okweyongera ‘okwewala obwenzi.’—1 Abakkolinso 6:18.
Bulijjo Siima Byonna Yakuwa by’Atuwa
20. Abaisiraeri baakema batya Yakuwa, era kiki ekyavaamu?
20 Abakristaayo abasinga obungi tebeenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu. Kyokka, tulina okwegendereza obuteemulugunya ne kituviiramu obutasiimibwa Katonda. Pawulo atukubiriza: “Era tetukemanga Mukama waffe, ng’abamu ku [Baisiraeri] bwe baakema, emisota egyo ne gibatta. Era temwemulugunyanga, ng’abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza.” (1 Abakkolinso 10:9, 10) Abaisiraeri beemulugunyiza Musa ne Alooni, ne Katonda yennyini, olw’emaanu eyabaweebwa mu ngeri ey’ekyamagero. (Okubala 16:41; 21:5) Ekikolwa eky’obwenzi kyanyiiza nnyo Yakuwa okusinga eky’okwemulugunya? Baibuli eraga nti bangi ku beemulugunya battibwa emisota. (Okubala 21:6) Emabegako, abajeemu abeemulugunya abasukka mu 14,700 baazikirizibwa. (Okubala 16:49) N’olwekyo, tetukemanga Yakuwa nga tunyooma ebyo by’atuwa.
21. (a) Kubuulirira ki Pawulo kwe yaluŋŋamizibwa okuwandiika? (b) Okusinziira ku Yakobo 1:25, tuyinza tutya okubeera abasanyufu ddala?
21 Ng’awandiikira Bakristaayo banne, Pawulo afundikira olukalala lw’okulabula ng’akubiriza: “Naye ebyo byababaako okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw’okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z’emirembe. Kale alowooza ng’ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.” (1 Abakkolinso 10:11, 12) Okufaananako Abaisiraeri, tufunye emikisa mingi okuva eri Yakuwa. Kyokka, okubaawukanako, tetwerabiranga era ne tulema okusiima ebintu ebirungi Katonda by’atukolera. Bwe tuzitoowererwa ebintu ebyeraliikiriza mu bulamu, tufumiitirize ku bisuubizo bye eby’ekitalo ebisangibwa mu Kigambo kye. Tujjukirenga enkolagana ey’omuwendo gye tulina ne Yakuwa era tweyongere okukola omulimu gw’Obwakabaka ogwatukwasibwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Mazima ddala okukola ebyo kijja kutuleetera essanyu erya nnamaddala, kubanga Ebyawandiikibwa bisuubiza: “Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe n’anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.”—Yakobo 1:25.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki ekiyinza okutufuula abawulizi abeerabira?
• Lwaki obuwulize obwa nnamaddala eri Katonda bwetaagisa?
• Tuyinza tutya ‘okwewala obwenzi’?
• Twandibadde na ndowooza ki eri ebyo Yakuwa by’atukolera?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Abaisiraeri beerabira ebikolwa eby’ekitalo Yakuwa bye yabakolera
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Abantu ba Yakuwa bamalirivu okukuuma empisa eziri ku mutindo ogwa waggulu