Baibuli Etubuulira Byonna Ebikwata ku Yesu?
Baibuli egamba nti Yesu yafa era nti baamuttira e Ggologoosa, kyandiba ng’ekyo si kituufu? Kyandiba nti yawasa Maliyamu Magudaleena n’amuzaalamu n’abaana? Oba kyandiba nti yali muntu eyeesamba amasanyu g’ensi eno era ng’obulamu bwe yalimu bwali bwa kwerumya olw’okwagala okusanyusa Katonda? Kyandiba nti bye yayigiriza byawukana ku ebyo bye tusoma mu Baibuli?
FIRIMU n’ebitabo ebimu bikoze kinene nnyo mu kutumbula endowooza ezo ezicaase ennyo leero. Ng’oggyeko ekyo, waliwo n’ebirala bingi abantu bye bawandiise nga babyesigamya ku bitabo abamu bye batwala okuba nti byaluŋŋamizibwa; ebyawandiikibwa mu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu E.E. (Embala Eno) Kigambibwa nti mu bitabo ebyo mulimu ebintu ebikwata ku Yesu ebitali mu Njiri. Ddala ebyo bye bagamba bituufu? Tusobola okuba abakakafu nti Baibuli etubuulira byonna ebikwata ku Yesu, era nti by’etubuulira bituufu?
Okusobola okuddamu ebibuuzo ng’ebyo, kirungi okwekenneenya ebintu ebikulu bisatu. Ekisooka, twetaaga okumanya ebikwata ku basajja abaawandiika Enjiri ne ddi lwe baaziwandiika; eky’okubiri, twetaaga okutegeera ani yasalawo ebitabo ebirina okubeera ku lukalala lw’Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa era yakikola atya; n’eky’okusatu, twetaaga okumanya ebikwata ku bitabo abamu bye batwala okuba nti byaluŋŋamizibwa, n’engeri gye byawukanamu ku ebyo ebyaluŋŋamizibwa.a
Baani Abaawandiika Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani era Baabiwandiika Ddi?
Abamu bagamba nti Enjiri ya Matayo yawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 41 E.E., nga waakayita emyaka munaana gyokka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu. Naye ate bo abeekenneenya bangi bagamba nti yawandiikibwa nga wayiseewo ekiseera ekiwerako. Wadde kiri kityo, abasinga obungi bakikkiriza nti Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani byawandiikibwa mu kyasa ekyasooka.
Abo abaalaba ku Yesu ng’akyali mulamu era abaalaba ebyaliwo mu kiseera ky’okufa kwe n’okuzuukira kwe baali bakyaliwo mu kyasa ekyasooka, era singa Enjiri yalimu ebintu ebitali bituufu, bandisobodde okubyanika. Polofeesa F. F. Bruce agamba nti: “Ekimu ku ebyo ebyayamba abatume nga babuulira, kyali nti abo be baabuuliranga baali bamanyiiko ku ebyo bye baali bababuulira; baabagamba nti, ‘Tuli bajulirwa b’ebintu bino,’ era nti, ‘Nga nammwe bwe mumanyi’ (Ebikolwa 2:22).”
Baani abaawandiika Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani? Abaabiwandiika kwaliko abamu ku batume 12. Abo awamu n’abalala abaawandiika Baibuli gamba nga Yakobo, Yuda, era oboolyawo ne Makko baaliwo ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., ekibiina Ekikristaayo lwe kyatandikibwawo. Abaawandiika Baibuli bonna nga mw’otwalidde ne Pawulo baali bakolaganira wamu n’akakiiko akafuzi ak’ekibiina Ekikristaayo akasooka, okwali abatume n’abakadde b’omu kibiina ky’e Yerusaalemi.—Ebikolwa 15:2, 6, 12-14, 22; Abaggalatiya 2:7-10.
Yesu yalagira abagoberezi be okukola omulimu gwe yatandikawo ogw’okubuulira n’okuyigiriza. (Matayo 28:19, 20) Era yagamba nti: “Oyo abawuliriza nange aba ampuliriza.” (Lukka 10:16) Ate era yabasuubiza nti omwoyo gwa Katonda, oba amaanyi ge agakola, gwandibawadde amaanyi ge beetaaga okusobola okukola omulimu ogwo. N’olw’ensonga eyo, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bakkiriza obulagirizi obwalinga mu bitabo bye baafunanga okuva eri abatume n’abasajja abalala abaakoleranga awamu nabo—abasajja abaakolanga ebintu ebyali biraga nti baalina omwoyo gwa Katonda omutukuvu.
Abawandiisi ba Baibuli abamu baakiraga nti bannaabwe bye baawandiika bituufu era nti byaluŋŋamizibwa Katonda. Ng’ekyokulabirako omutume Peetero yayogera ku bbaluwa za Pawulo n’agamba nti nazo zaaluŋŋamizibwa ‘ng’ebyawandiikibwa ebirala.’ (2 Peetero 3:15, 16) Pawulo naye yakiraga nti abatume ne bannabbi Abakristaayo baaluŋŋamizibwa Katonda.—Abeefeso 3:5.
N’olwekyo, waliwo obukakafu bwa maanyi obulaga nti ebyo ebiri mu Njiri si nfumo bufumo, wabula nti bituufu era nti byesigika. Byafaayo ebyawandiikibwa n’obwegendereza, abantu bye beerabirako n’agaabwe, era ebyawandiikibwa abasajja abaaluŋŋamizibwa omwoyo gwa Katonda.
Ani Yasalawo Ebitabo Ebirina Okubeera ku Lukalala lw’Ebyawandiikibwa Ebyaluŋŋamizibwa?
Abawandiisi abamu bagamba nti ebitabo ebiri ku lukalala lw’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani byalondebwa nga wayiseewo ebyasa bingi, era nti kino kyakolebwa bannaddiini abaali bakulemberwa Empura Constantine. Naye obukakafu obuliwo bulaga kirala.
Ng’ekyokulabirako, Oskar Skarsaune Omukenkufu mu Byafaayo by’Eddiini agamba nti: ‘Okusalawo ebitabo ebirina okubeera mu Ndagaano Empya tekwakolebwa muntu omu wadde akakiiko k’eddiini. . . Enkola eyagobererwa yali ya mazima era nga ya magezi: Ebitabo ebyawandiikibwa mu kyasa ekyasooka ebyatwalibwa okuba nti byawandiikibwa batume oba abo abaakoleranga awamu nabo, byakkirizibwa nti bituufu. Ebitabo, ebbaluwa, ‘n’enjiri’ ebyawandiikibwa oluvannyuma tebyateekebwamu . . . Ebitabo ebyo byamalirizibwa okulondebwa ng’ebulayo ekiseera kiwanvu Constantine azaalibwe era nga n’eddiini gye yalimu tennatandikibwawo. Abakristaayo abaali bayigganyizibwa be baalonda ebyo ebiri mu Ndagaano Empya so si bannaddiini abajjawo oluvannyuma.’
Omukenkufu omulala eyeekeneenya Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani, ayitibwa Ken Berding, ayogera ku ngeri ebitabo ebyaluŋŋamizibwa gye byalondebwamu. Agamba nti: “Abakulembeze b’eddiini si be baalonda ebitabo ebyo, wabula tusobola okugamba nti bakkiriza ebitabo Abakristaayo bye baatwalanga okuba Ekigambo ekyava ewa Katonda.”
Naye ddala Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka be baasalawo ku bwabwe ebitabo ebirina okubeera ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa? Nedda, Baibuli etubuulira nti waliwo ekintu ekikulu era eky’amaanyi ennyo ekyabayambako.
Baibuli ekiraga nti ekimu ku birabo eby’omwoyo ebyaweebwa Abakristaayo abasooka kwe ‘kutegeera ebigambo ebyaluŋŋamizibwa.’ (1 Abakkolinso 12:4, 10) Abamu ku Bakristaayo abo baaweebwa obusobozi obutali bwa bulijjo ne basobola okwawula ebigambo ebyaluŋŋamizibwa Katonda ku ebyo ebitaaluŋŋamizibwa. N’olwekyo, Abakristaayo leero basobola okuba abakakafu nti ebyo ebiri mu Baibuli byakakasibwa nti byaluŋŋamizibwa.
Ebyo biraga nti ebitabo ebiri ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa byalondebwa mu kiseera kya mabegako wansi w’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Ng’ekyasa eky’okubiri kinaatera okuggwako, waliwo abawandiisi abaawandiika ku bikwata ku kuluŋŋamizibwa kw’ebitabo bya Baibuli. Kyokka, abawandiisi bano si be baasalawo ebitabo ebirina okuba ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, wabula bye baawandiika byawagira obutuufu bw’ebyo Katonda bye yali amaze okukkiriza ng’ayitira mu babaka be abaaluŋŋamizibwa omwoyo gwe.
Ebiwandiiko bya Baibuli ebyasooka nabyo biwa obukakafu bwa maanyi obulaga nti ebitabo ebiri ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, abantu abasinga obungi leero bye bakkiririzaamu, bituufu. Waliwo ebiwandiiko bya Baibuli eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ebisoba mu 5,000 ebiri mu lulimi olwasooka okukozesebwa nga babiwandiika, nga mw’otwalidde n’ebimu ku ebyo ebyawandiikibwa mu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu. Ebiwandiiko bino bye byatwalibwanga okuba ebituufu mu byasa ebyo ebyasooka, so si ebyo abamu bye batwala okuba nti byaluŋŋamizibwa. Eno ye nsonga lwaki byakoppololwa era ne bibunyisibwa.
Kyokka, ebyo ebiri mu bitabo ebyo bwe bukakafu obusingirayo ddala okulaga nti byaluŋŋamizibwa. Ebitabo ebiri ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bikwatagana ‘n’ebigambo eby’obulamu’ ebisangibwa mu Baibuli yonna. (2 Timoseewo 1:13) Bikubiriza ababisoma okwagala, okusinza Yakuwa, n’okumuweereza, era bibalabula okwewala obulombolombo, okusinza ebitonde n’okusinza badayimooni. Byafaayo bituufu, birimu obunnabbi, era bikubiriza ababisoma okwagala bantu bannaabwe. Ebitabo ebiri mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani birimu ebintu ng’ebyo eby’enjawulo. N’ebitabo abamu bye batwala okuba nti byaluŋŋamizibwa nabyo birimu obukakafu ng’obwo?
Ebitabo Abamu bye Batwala Okuba nti Byaluŋŋamizibwa Byo Byawukana Bitya?
Ebitabo ebyo byawukana nnyo ku ebyo ebiri ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa. Ebitabo ebyo byawandiikibwa awo nga mu makkati g’ekyasa eky’okubiri, nga wayiseewo emyaka mingi ng’ebitabo ebiri ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bimaze okuwandiikibwa. Ebintu bye byogera ku Yesu n’Obukristaayo, tebikwatagana na Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa.
Ng’ekyokulabirako, Enjiri ya Tomasi, kye kimu ku bitabo ebyo, era erimu ebintu bingi Yesu by’ataayogera, okugeza, egamba nti Yesu yagamba nti yali ajja kukyusa Maliyamu afuuke omusajja asobole okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Enjiri ya Tomasi endala eraga nti Yesu bwe yali akyali mwana muto yalina omutima omubi era nti yattisa omwana omulala mu bugenderevu. Ekitabo ekiyitibwa Ebikolwa bya Pawulo n’ekirala ekiyitibwa Ebikolwa bya Peetero, bikubiriza okwewalira ddala ebikolwa eby’okwegatta era bigamba nti abatume baapikirizanga abakazi okwawukana n’abaami baabwe. Enjiri ya Yuda egamba nti Yesu yasekerera abayigirizwa be olw’okuba baasaba Katonda abawe eky’okulya. Endowooza ezo zikontana n’ebyo ebisangibwa mu bitabo ebiri ku lukalala lw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa.—Makko 14:22; 1 Abakkolinso 7:3-5; Abaggalatiya 3:28; Abebbulaniya 7:26.
Bingi ku bitabo ebyo abamu bye batwala okuba nti byaluŋŋamizibwa byoleka enzikiriza z’ekibiina ky’eddiini ekikkiriza nti Yakuwa si Katonda mulungi. Mu ddiini eyo tebakkiriza nti eriyo okuzuukira, era bagamba nti buli kintu ekirina omubiri kibi, era nti Sitaani ye yatandikawo obufumbo n’okuzaala.
Era kigambibwa nti ebimu ku bitabo ebyo byawandiikibwa abamu ku bantu aboogerwako mu Baibuli, naye ekyo si kituufu. Waliwo abeekobaana obutateeka bitabo ebyo mu Baibuli? Omwekenneenya omu ayitibwa M. R. James, yagamba nti: ‘Tewali n’omu yeekobaana butateeka bitabo ebyo mu Ndagaano Empya: Ebitabo ebyo tebisaana kubeeramu.’
Abawandiisi ba Baibuli Baalabula ku Bwewagguzi Obwali Bugenda Okujja
Mu bitabo ebyaluŋŋamizibwa mulimu okulabula okutali kumu okukwata ku bakyewaggula abaandyonoonye ekibiina Ekikristaayo. Mu butuufu, obwewagguzi buno bwali butandise mu kyasa ekyasooka naye abatume baabulemesa okweyongera. (Ebikolwa 20:30; 2 Abassessaloniika 2:3, 6, 7; 1 Timoseewo 4:1-3; 2 Peetero 2:1; 1 Yokaana 2:18, 19; 4:1-3) Okulabula okwo kwogera ku bitabo ebyatandika okuwandiikibwa ng’abatume bamaze okufa, ebitabo ebikontana n’enjigiriza za Yesu.
Oboolyawo ebitabo ng’ebyo biyinza okuba nga bikadde era nga birabika ng’eby’omugaso eri abeekenneenya abamu ne bannabyafaayo. Naye lowooza ku kino: Singa abeekenneenya bakuŋŋaanya magazini ezoogera ebiteesigika n’ebitabo ebikubibwa obudiinidiini obw’omutawaana ne babissa mu ssanduuko ne bagisiba bulungi, ekiseera bwe kiyitawo ebintu ebiri mu bitabo ne mu magazini ezo bifuuka bya mazima? Nga wayiseewo emyaka 1,700, eby’obulimba n’ebintu ebitaliimu magezi ebiri mu bitabo ebyo bifuuka bituufu olw’okuba ebitabo ebyo biba bikaddiye?
N’akatono! Bwe kityo bwe kiri ne ku ebyo ebyogerwa nti Yesu yawasa Maliyamu Magudaleena era n’ebirala ebisangibwa mu bitabo abamu bye batwala okuba nti byaluŋŋamizibwa. Lwaki wandyesize ebitabo ng’ebyo ebiteesigika ate nga waliwo ebitabo ebyogera ebituufu? Buli kimu Katonda kyayagala tumanye ku Mwana we kiri mu Baibuli—ekitabo kye tusobola okwesiga.
[Obugambo obuli wansi]
a Waliwo ebitabo 66 abantu abasinga obungi bye batwala okuba nga bye birimu obukakafu obwenkunkunala obulaga nti byaluŋŋamizibwa Katonda, era nga bino bye biri mu Kigambo kya Katonda.
[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
OBULAMU BWA YESU OKUWANDIIKIBWA OKUWANDIIKIBWA
KW’EBYAWANDIIKIBWA KW’EBITABO
EBY’OLUYONAANI ABAMU BYE
BATWALA
OKUBA NTI
BYALUŊŊAMIZIBWA
2 B.C.E. 33 C.E. 41 98 130 300
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Kenneth Garrett/National Geographic Image Collection
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Omutume Pawulo yakola ebyamagero omwali n’okuzuukiza omuntu, ekyalaga nti omwoyo gwa Katonda gwe gwamuyamba okubikola era n’okuwandiika ebbaluwa ze yawandiika