Yakuwa Ye “Mubikkuzi w’Ebyama”
“Mazima Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w’ebyama.”—DAN. 2:47.
WANDIZZEEMU OTYA?
Bintu ki ebikwata ku biseera eby’omu maaso Yakuwa by’atuyambye okutegeera?
Emitwe gy’ensolo omukaaga egisooka gikiikirira ki?
Bitundu ki eby’ensolo ebirina amakulu ge gamu n’ebyo ebiri mu kifaananyi Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto?
1, 2. Kiki Yakuwa ky’atuyambye okutegeera, era lwaki atuyambye okukitegeera?
BUFUZI ki kirimaanyi obunaaba bufuga mu kiseera Obwakabaka bwa Katonda we bunaazikiririza gavumenti z’abantu zonna? Eky’okuddamu tukimanyi kubanga Yakuwa Katonda, ‘Omubikkuzi w’ebyama,’ atuyamba okubutegeera okuyitira mu nnabbi Danyeri n’omutume Yokaana.
2 Yakuwa yawa Danyeri ne Yokaana okwolesebwa okw’emirundi egiwerako okukwata ku nsolo ezitali zimu. Ate era yabuulira Danyeri amakulu g’ekifaananyi ekinene Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto. Yakuwa yakakasa nti ebintu ebyo biwandiikibwa mu Bayibuli bisobole okutuganyula. (Bar. 15:4) Ekyo yakikola ng’ayagala tube n’essuubi nti mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka bwe bujja kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna.—Dan. 2:44.
3. Okusobola okutegeera obulungi obunnabbi obuli mu Bayibuli, kiki kye tulina okusooka okutegeera, era lwaki?
3 Obunnabbi bwa Danyeri n’obwa Yokaana bwogera ku bakabaka munaana oba obufuzi munaana, era bulaga n’engeri obufuzi obwo gye bwandiddiriŋŋanyemu. Naye okusobola okutegeera obulungi obunnabbi obwo, tulina okusooka okutegeera obunnabbi obwasookera ddala okwogerwa mu Bayibuli. Lwaki? Kubanga obunnabbi bwonna obuli mu Bayibuli n’ebintu ebirala byonna ebigirimu byesigamye ku bunnabbi obwo.
EZZADDE LY’OMUSOTA N’ENSOLO
4. Baani abali mu zzadde ly’omukazi, era ezzadde eryo linaakola ki?
4 Amangu ddala nga Adamu ne Kaawa baakoonoona, Yakuwa yagamba nti “omukazi” yandizadde “ezzadde.”a (Soma Olubereberye 3:15.) Oluvannyuma ezzadde eryo lyandibetense omutwe gw’omusota, era ng’omusota ogwo ye Sitaani. Nga wayise ekiseera Yakuwa yagamba nti ezzadde eryo lyandivudde mu Ibulayimu, mu ggwanga lya Isiraeri, mu kika kya Yuda, era lyandiyitidde mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. (Lub. 22:15-18; 49:10; Zab. 89:3, 4; Luk. 1:30-33) Kristo Yesu lye zzadde ly’omukazi ekkulu. (Bag. 3:16) Abakristaayo abaafukibwako amafuta be balala abali mu zzadde eryo. (Bag. 3:26-29) Yesu awamu n’abaafukibwako amafuta be bakola gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda. Katonda ajja kukozesa Obwakabaka obwo okubetenta Sitaani.—Luk. 12:32; Bar. 16:20.
5, 6. (a) Mu kwolesebwa kwa Danyeri n’okwa Yokaana, obufuzi obw’amaanyi bwa mirundi emeka obwogerwako? (b) Emitwe gy’ensolo eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa gikiikirira ki?
5 Obunnabbi obwasooka okwogerwa mu Bayibuli era bwalaga nti Sitaani naye yandibadde ‘n’ezzadde.’ Ezzadde lye lyandikyaye ezzadde ly’omukazi. Baani abali mu zzadde ly’omusota? Beebo bonna abakyawa Katonda era abaziyiza abantu be, nga Sitaani bw’akola. Okumala ebyasa bingi, Sitaani ategese ezzadde lye ng’ateekawo obufuzi oba obwakabaka obutali bumu. (Luk. 4:5, 6) Obumu ku bufuzi obwo bulwanyisizza butereevu abantu ba Katonda, kwe kugamba, eggwanga lya Isiraeri oba ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Ekyo kituyamba okutegeera ensonga lwaki obufuzi obw’amaanyi munaana bwokka bwe bwogerwako mu kwolesebwa kwa Danyeri n’okwa Yokaana, wadde nga wabaddewo n’obufuzi obulala.
6 Ekyasa ekyasooka bwe kyali kinaatera okuggwako, Yesu yawa omutume Yokaana okwolesebwa okutali kumu. (Kub. 1:1) Mu kwolesebwa okumu, Yokaana yalaba ogusota nga guyimiridde ku lubalama lw’ennyanja. Ogusota ogwo ye Mulyolyomi. (Soma Okubikkulirwa 13:1, 2.) Yokaana era yalaba ensolo etali ya bulijjo ng’eva mu nnyanja. Ensolo eyo yalina emitwe musanvu, era Omulyolyomi yagiwa obuyinza bungi. Oluvannyuma Yokaana yalaba ensolo emmyufu, nga nayo erina emitwe musanvu. Ensolo eyo kifaananyi kya nsolo eyogerwako mu Okubikkulirwa 13:1. Malayika yagamba Yokaana nti emitwe omusanvu egy’ensolo emmyufu gikiikirira ‘bakabaka musanvu,’ oba obufuzi musanvu. (Kub. 13:14, 15; 17:3, 9, 10) Yokaana we yawandiikira ekitabo ky’Okubikkulirwa, bataano ku bakabaka abo baali bamaze okuvaawo, omu yali afuga, ate omulala yali “tannajja.” Bakabaka abo, oba obufuzi kirimaanyi, be baani? Kati ka twetegereze buli gumu ku mitwe gy’ensolo eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Ate era tujja kulaba engeri obunnabbi bwa Danyeri gye butuyamba okweyongera okutegeera ebikwata ku bumu ku bufuzi obwo. Obunnabbi obwo bwayogerwa ng’ekyabulayo emyaka mingi obumu ku bwakabaka obwo butandike okufuga.
EMITWE EBIRI EGISOOKA—MISIRI NE BWASULI
7. Omutwe gw’ensolo ogusooka gukiikirira ki, era lwaki?
7 Omutwe gw’ensolo ogusooka gukiikirira Misiri. Lwaki? Kubanga Misiri bwe bufuzi kirimaanyi obwasooka okwoleka obukyayi eri abantu ba Katonda. Bazzukulu ba Ibulayimu, ezzadde essuubize mwe lyandiyitidde, beeyongera obungi nga bali mu Misiri. N’ekyavaamu, Abamisiri baatandika okubonyaabonya Abaisiraeri. Sitaani yali ayagala kusaanyaawo abantu ba Katonda ng’ezzadde terinnajja. Bw’atyo yaleetera Falaawo okugezaako okutta abaana b’Abaisiraeri bonna ab’obulenzi. Naye ekyo Yakuwa teyakikkiriza kubaawo, era abantu be yabanunula okuva mu buddu e Misiri. (Kuv. 1:15-20; 14:13) Oluvannyuma yawa Abaisiraeri Ensi Ensuubize.
8. Omutwe gw’ensolo ogw’okubiri gukiikirira ki, era kiki kye gwagezaako okukola?
8 Omutwe ogw’okubiri ogw’ensolo gukiikirira Bwasuli. Obufuzi obwo obwali obw’amaanyi ennyo nabwo bwagezaako okusaanyaawo abantu ba Katonda. Kyo kituufu nti Yakuwa yakozesa Bwasuli okubonereza obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi olw’okuba abantu abaali mu bwakabaka obwo baali bajeemu era nga basinza ebifaananyi. Kyokka, Bwasuli yagezaako n’okuzikiriza Yerusaalemi. Oboolyawo Sitaani yali ayagala kuzikiriza olunyiriri lwa bakabaka Yesu mwe yali ajja okuva. Kyokka Yakuwa yali tayagala Yerusaalemi kizikirizibwe, bw’atyo yazikiriza eggye lya Bwasuli n’anunula abantu be abeesigwa.—2 Bassek. 19:32-35; Is. 10:5, 6, 12-15.
OMUTWE OGW’OKUSATU— BABULOONI
9, 10. (a) Kiki Yakuwa kye yakkiriza Abababulooni okukola? (b) Obunnabbi obumu okusobola okutuukirira, kiki ekyalina okusooka okubaawo?
9 Omutwe ogw’okusatu ogw’ensolo Yokaana gye yalaba gukiikirira obwakabaka obwalina ekibuga ekikulu ekyali kiyitibwa Babulooni. Yakuwa yakkiriza Abababulooni okuzikiriza Yerusaalemi n’okutwala abantu be mu buwambe. Naye ekyo bwe kyali tekinnabaawo, Yakuwa yabuulira Abaisiraeri abajeemu ekyo Abababulooni kye baali bagenda okukola. (2 Bassek. 20:16-18) Yakuwa era yagamba Abaisiraeri nti teyandizzeemu kukkiriza bakabaka baabwe kutuula ku “ntebe” ye mu Yerusaalemi. (1 Byom. 29:23) Kyokka Yakuwa yasuubiza nti omu ku bazzukulu ba Kabaka Dawudi, oyo eyalina obwannannyini ku ntebe y’obwakabaka, yandizze era n’agimuwa.—Ez. 21:25-27.
10 Obunnabbi obulala bwalaga nti Masiya, Oyo Eyafukibwako Amafuta, we yandijjidde, Abayudaaya bandibadde bakyasinziza Yakuwa mu yeekaalu e Yerusaalemi. (Dan. 9:24-27) Obunnabbi obulala obwayogerwa ng’Abaisiraeri tebannatwalibwa mu buwambe e Babulooni, bwalaga nti oyo eyandifuuse Masiya yandizaaliddwa mu Besirekemu. (Mi. 5:2) Obunnabbi obwo okusobola okutuukirira, Abayudaaya baali balina okusooka okununulibwa okuva mu buwambe, ne baddayo ku butaka, era ne baddamu okuzimba yeekaalu. Kyokka, teyali nkola ya Bababulooni okuta abantu be baabanga bawambye. Kati olwo Abayudaaya bandisobodde batya okuddayo ku butaka? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo Yakuwa yakibuulira bannabbi be.—Am. 3:7.
11. Bintu ki ebikiikirira obwakabaka bwa Babulooni? (Laba obugambo obwa wansi.)
11 Nnabbi Danyeri y’omu ku Baisiraeri abaatwalibwa mu buwambe e Babulooni. (Dan. 1:1-6) Yakuwa yalaga Danyeri engeri obufuzi kirimaanyi gye bwandigenze buddiriŋŋanamu oluvannyuma lw’obufuzi bwa Babulooni okuvaawo. Ekyo yakikola ng’akozesa ebintu ebitali bimu eby’akabonero. Ng’ekyokulabirako, yaleetera Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni okuloota ekirooto mwe yalabira ekifaananyi ekinene. (Soma Danyeri 2:1, 19, 31-38.) Okuyitira mu Danyeri, Yakuwa yagamba nti omutwe gw’ekifaananyi ekyo ogwa zzaabu gukiikirira obwakabaka bwa Babulooni.b Ekifuba n’emikono ebya ffeeza bikiikirira obufuzi kirimaanyi obwaddirira Babulooni. Obufuzi obwo bwe buliwa, era bwayisa butya abantu ba Katonda?
OMUTWE OGW’OKUNA—BUMEEDI NE BUPERUSI
12, 13. (a) Kiki Yakuwa kye yayogera ku kuwambibwa kwa Babulooni? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti omutwe gw’ensolo ogw’okuna gukiikirira Bumeedi ne Buperusi?
12 Ng’ebula emyaka egisukka mu kikumi ekiseera kya Danyeri kituuke, Yakuwa yayitira mu nnabbi Isaaya n’ayogera ku bintu ebimu ebikwata ku bufuzi kirimaanyi obwali bugenda okuwamba Babulooni. Yakuwa yalaga engeri ekibuga Babulooni gye kyandiwambiddwamu era n’ayogera n’erinnya ly’omufuzi eyandikiwambye. Omufuzi oyo yali Kuulo, Omuperusi. (Is. 44:28-45:2) Danyeri era yafuna okwolesebwa okulala kwa mirundi ebiri okukwata ku Bufuzi Kirimaanyi obwa Bumeedi ne Buperusi. Mu kwolesebwa okumu, obwakabaka obwo bwogerwako ng’eddubu eriyimusizzaako oluuyi olumu. Eddubu eryo lyagambibwa ‘okulya ennyama ennyingi.’ (Dan. 7:5) Mu kwolesebwa okulala, Danyeri yalaba endiga eyalina amayembe abiri. Endiga eyo nayo yali ekiikirira Obufuzi Kirimaanyi obwa Bumeedi ne Buperusi.—Dan. 8:3, 20.
13 Ng’obunnabbi bwe bwalaga, Yakuwa yakozesa obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi okuwamba Babulooni n’okuta Abaisiraeri okuddayo ku butaka. (2 Byom. 36:22, 23) Kyokka oluvannyuma obufuzi obwo bwali bwagala okusaanyaawo abantu ba Katonda. Ekitabo kya Eseza kyogera ku lukwe olwali lukoleddwa Kamani, eyali katikkiro wa Buperusi. Kamani yali ateeseteese okutta Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwa Buperusi era ng’ataddewo n’olunaku kwe yali ayagala ekyo kikolebwe. Kyokka ne ku mulundi ogwo, Yakuwa yakuuma abantu be ezzadde lya Sitaani ne litabasaanyaawo. (Es. 1:1-3; 3:8, 9; 8:3, 9-14) N’olwekyo, omutwe ogw’okuna ogw’ensolo eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa gukiikirira Bumeedi ne Buperusi.
OMUTWE OGW’OKUTAANO—BUYONAANI
14, 15. Bintu ki Yakuwa bye yayogera ku bwakabaka bwa Buyonaani?
14 Omutwe ogw’okutaano ogw’ensolo eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa gukiikirira Buyonaani. Bwe annyonnyola amakulu g’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto, Danyeri yalaga nti olubuto n’ebisambi eby’ekikomo bikiikirira Buyonaani. Ate era Yakuwa yawa Danyeri okwolesebwa okulala kwa mirundi ebiri okwali kulaga ebintu ebirala ebikwata ku bwakabaka bwa Buyonaani awamu n’omufuzi waabwo eyasinga okwatiikirira.
15 Mu kwolesebwa okumu, Danyeri yalaba engo eyalina ebiwawaatiro bina. Engo eyo ekiikirira Buyonaani, eyandirwanyisizza era n’ewangula amawanga mangi mu bwangu obw’ekitalo. (Dan. 7:6) Mu kwolesebwa okulala, Danyeri yalaba embuzi eyalina ejjembe eddene limu. Embuzi eyo yatomera era n’etta endiga ey’amayembe abiri. Endiga eyo ekiikirira Bumeedi ne Buperusi. Yakuwa yagamba Danyeri nti embuzi eyo yali ekiikirira obwakabaka bwa Buyonaani era nti ejjembe lyayo eddene lyali likiikirira omu ku bakabaka baabwo. Danyeri era yawandiika nti ejjembe eryo eddene lyandimenyese era mu kifo kyalyo ne mumeramu amayembe ana amatono. Wadde ng’obunnabbi obwo bwayogerwa ng’ebula emyaka mingi nga Buyonaani tennafuuka bufuzi kirimaanyi, ebintu byonna ebyali mu bunnabbi obwo byatuukirira. Alekizanda Omukulu ye yali ejjembe eddene. Ye kabaka wa Buyonaani eyasingayo okuba omwatiikirivu era ye yakulembera eggye lya Buyonaani nga lirwanyisa Bumeedi ne Buperusi. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera kitono ejjembe eryo lyamenyeka, Alekizanda bwe yafa. Yafa ng’alina emyaka 32 gyokka era nga wa maanyi nnyo. Oluvannyuma lw’okufa kwe, obwakabaka bwe bwayawulwamu ebitundu bina ne bifugibwa abaduumizi b’omu ggye lye bana.—Soma Danyeri 8:20-22.
16. Kiki Antiyokasi IV kye yakola?
16 Oluvannyuma lw’okuwangula Buperusi, Buyonaani yatandika okufuga Isiraeri. Mu kiseera ekyo, Abayudaaya baali baamala dda okuddayo mu Nsi Ensuubize era nga baamala dda n’okuddamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Baali bakyali bantu ba Katonda era yeekaalu eyali ezzeemu okuzimbibwa yali ekyali ntabiro y’okusinza okw’amazima. Kyokka, mu kyasa eky’okubiri E.E.T., Buyonaani, omutwe ogw’okutaano ogw’ensolo eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa, yalumba abantu ba Katonda. Antiyokasi IV, omu ku abo abaafuga mu bwakabaka bwa Alekizanda obwali bugabanyiziddwamu, yazimba ekyoto kya bakatonda ab’obulimba ku ttaka lya yeekaalu eyali mu Yerusaalemi era n’agamba nti omuntu yenna eyandigenze mu maaso ng’agoberera enzikiriza y’Ekiyudaaya yali wa kuttibwa. Ne ku mulundi ogwo, ezzadde lya Sitaani lyayoleka obukyayi eri abantu ba Katonda. Naye waayita ekiseera kitono, obufuzi obulala kirimaanyi ne budda mu kifo kya Buyonaani. Omutwe gw’ensolo ogw’omukaaga gukiikirira ki?
OMUTWE OGW’OMUKAAGA N’ENSOLO “EY’ENTIISA”—ROOMA
17. Omutwe gw’ensolo ogw’omukaaga gwakola ki mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15?
17 Rooma bwe bwali obufuzi kirimaanyi mu kiseera Yokaana we yafunira okwolesebwa okukwata ku nsolo. (Kub. 17:10) Rooma gwe mutwe gw’ensolo ogw’omukaaga, era yakola kinene mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15. Sitaani yakozesa abakungu ba Rooma okubetenta “ekisinziiro” ky’ezzadde ly’omukazi. Abaruumi baatwala Yesu ng’omulabe eyali alwanyisa gavumenti yaabwe, ne bamusalira omusango, era ne bamutta. (Mat. 27:26) Naye waayita akaseera katono ekisinziiro ekyali kibetenteddwa ne kiwona, Yakuwa bwe yazuukiza Yesu.
18. (a) Ggwanga ki eriggya Yakuwa lye yalonda, era lwaki yalironda? (b) Ezzadde ly’omusota lyeyongera litya okwoleka obukyayi eri ezzadde ly’omukazi?
18 Abakulembeze b’eddiini mu Isiraeri beekobaana n’Abaruumi okutta Yesu, era n’Abaisiraeri abasinga obungi baagaana okumukkiriza. Bwe kityo, Yakuwa yalekera awo okutwala Abaisiraeri ab’omubiri ng’eggwanga lye. (Mat. 23:38; Bik. 2:22, 23) Yakuwa yalonda eggwanga eriggya, ng’ono ye “Isiraeri wa Katonda.” (Bag. 3:26-29; 6:16) Eggwanga eryo kye kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, era nga mu bo mulimu Abayudaaya n’Ab’amawanga. (Bef. 2:11-18) Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe, ezzadde ly’omusota lyeyongera okwoleka obukyayi eri ezzadde ly’omukazi. Emirundi mingi Rooma yagezaako okusaanyaawo ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta.c
19. (a) Kiki Danyeri kye yayogera ku bufuzi kirimaanyi obw’omukaaga? (b) Bibuuzo ki ebinaddibwamu mu kitundu eky’okusoma ekiddako?
19 Mu kirooto Danyeri kye yannyonnyola Nebukadduneeza, ebigere by’ekifaananyi eby’ekyuma bikiikirira Rooma. (Dan. 2:33) Danyeri yafuna okwolesebwa okulala okwali kukwata ku bufuzi bwa Rooma n’obufuzi obulala kirimaanyi obwandivudde mu Rooma. (Soma Danyeri 7:7, 8.) Okumala ebyasa bingi, Rooma yali yeeyisa ng’ensolo “ey’entiisa era ey’obuyinza, era ey’amaanyi amangi ennyo.” Kyokka, obunnabbi obwo bwalaga nti “amayembe kkumi” gandivudde mu bwakabaka obwo. Oluvannyuma “ejjembe eddala, ettono” lyandimeze mu mayembe ago era ne lifuuka lya maanyi nnyo. Amayembe ekkumi gakiikirira ki, era ejjembe ettono likiikirira ki? Kitundu ki eky’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto ekikiikirira ekintu kye kimu ng’ejjembe ettono? Ekitundu ekiri ku lupapula 14 kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Omukazi oyo akiikirira abaweereza ba Yakuwa bonna abali mu ggulu. Bayibuli ebayita omukazi wa Yakuwa.—Is. 54:1; Bag. 4:26; Kub. 12:1, 2.
b Omutwe gw’ekifaananyi ekyogerwako mu kitabo kya Danyeri n’omutwe ogw’okusatu ogw’ensolo eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa byombi bikiikirira Babulooni. Laba ekipande ekiri ku lupapula 12-13.
c Rooma we yazikiririza Yerusaalemi, mu mwaka gwa 70 E.E., Abaisiraeri baali tebakyali ggwanga lya Katonda eddonde. N’olwekyo Rooma okuzikiriza Yerusaalemi, kyali tekituukiriza bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15.