Okuba ow’Ekisa Katonda Akitwala nga Kikulu Nnyo
O MUVUBUKA omu mu Japan yasanyuka nnyo olw’ekisa omusajja omukadde kye yamulaga. Omusajja oyo omuminsani, yali yaakamala emyaka mitono mu Japan era nga tannayiga bulungi Lujapaani. Wadde kyali kityo, buli wiiki yakyaliranga omuvubuka oyo ne bakubaganya ebirowoozo ku Bayibuli. Ebibuuzo byonna omuvubuka oyo bye yamubuuzanga, yabiddangamu ng’aliko akamwenyumwenyu era ng’ayogera mu ngeri ey’ekisa.
Omuvubuka oyo yakwatibwako nnyo olw’ekisa omuminsani kye yamulaga. Yagamba nti: ‘Bwe kiba nti Bayibuli eyamba omuntu okuba ow’ekisa n’okwoleka okwagala, nteekwa okugiyiga.’ Ekyo kyamusikiriza okutandika okuyiga Bayibuli. Mu butuufu, omuntu bw’omulaga ekisa akwatibwako nnyo okusinga ebigambo obugambo by’oba oyogedde.
Ensonga Lwaki Twoleka Ekisa
Kya bulijjo okulaga ekisa abo be twagala. Naye tusaanidde okukijjukira nti ekisa y’emu ku ngeri za Katonda. Yesu yagamba nti Kitaawe ow’omu ggulu ekisa takiraga abo bokka abamwagala naye era akiraga n’abo “abateebaza.” Yesu yakubiriza abagoberezi be okukoppa Katonda mu kwoleka ekisa. Yagamba nti: “Mulina okuba abatuukirivu nga Kitammwe ow’omu ggulu bw’ali omutuukirivu.”—Lukka 6:35; Matayo 5:48; Okuva 34:6.
Olw’okuba abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, basobola okwoleka ekisa nga ye. (Olubereberye 1:27) Mu butuufu, tusobola okukoppa Katonda ne tutakoma ku kulaga kisa abo bokka be twagala. Bayibuli eraga nti ekisa y’emu ku ngeri ezisikiriza eziri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Abaggalatiya 5:22) N’olwekyo, omuntu asobola okuyiga okwoleka ekisa singa yeeyongera okuyiga ebikwata ku Mutonzi n’aba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.
Katonda yatutonda nga tusobola okwoleka ekisa era akitwala nga kikulu nnyo, eyo ye nsonga lwaki atugamba nti, “mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne.” (Abeefeso 4:32) Ate era tujjukizibwa nti: “Temwerabiranga kusembeza bagenyi” oba abo be tutamanyi.—Abebbulaniya 13:2.
Ddala mu nsi y’akakyo kano omujjudde abantu abatalina kisa era abatasiima, kisoboka okulaga abantu abalala ekisa nga mw’otwalidde n’abo be tutamanyi? Kiki ekinaatuyamba okukola ekyo? Ye lwaki twandifuddeyo okusembeza abagenyi?
Katonda Akitwala nga Kikulu Nnyo
Omutume Pawulo bwe yamala okwogera ku ky’okusembeza abagenyi, yagattako nti: “Kubanga abamu abaakola batyo baasembeza bamalayika nga tebamanyi.” Wandiwulidde otya singa oweebwa akakisa okukyaza bamalayika? Mu kukozesa ebigambo “baasembeza bamalayika nga tebamanyi,” Pawulo yali alaga nti bwe tulaga abalala ekisa, nga mw’otwalidde n’abo be tutamanyi, tusobola okufuna emikisa mingi.
Pawulo yali ayogera ku ekyo Ibulayimu ne Lutti kye baakola ekyogerwako mu Olubereberye essuula 18 ne 19. Essuula ezo zombi ziraga nti bamalayika baakyalira Ibulayimu ne Lutti nga babatwalidde obubaka obukulu ennyo. Bwe baakyalira Ibulayimu, baamutegeeza nti Katonda yali agenda kumuwa omwana gwe yali amusuubizza, ate ye Lutti baamutegeeza nti baali bazze kumuwonyaawo olw’okuba ebibuga Sodomu ne Ggomola byali binaatera okuzikirizibwa.—Olubereberye 18:1-10; 19:1-3, 15-17.
Bw’osoma ebyawandiikibwa ebyo ebiragiddwa waggulu, ojja kukiraba nti Ibulayimu ne Lutti baalaga ekisa abo be baali batamanyi. Kyo kituufu nti mu biseera by’edda abantu baateranga okusembeza abalala nga mw’otwalidde n’abo be baabanga batamanyi. Mu butuufu, Amateeka Katonda ge yawa Musa gaali gakubiriza Abaisiraeri okufaayo ku banamawanga abaali mu Isiraeri. (Ekyamateeka 10:17-19) Kyokka, Ibulayimu ne Lutti baalaga ekisa eky’ensusso abo be baali batamanyi wadde nga mu kiseera ekyo tewaaliwo Mateeka, era Katonda yabawa emikisa.
Olw’okuba Ibulayimu yali wa kisa, yafuna emikisa mingi nga mw’otwalidde n’okufuna omwana, era naffe kituviiriddemu emikisa. Mu ngeri ki? Ibulayimu n’omwana we Isaaka baalina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Baali mu lunyiriri lw’obuzaale bwa Masiya, Yesu. Ibulayimu yali mwetegefu okuwaayo omwana we Isaaka, era ne Isaaka yakkiriza okuweebwayo. Ekyo kyalaga engeri Katonda gye yandyoleseemu ekisa n’okwagala ng’awaayo Omwana we okusobola okununula abantu.—Olubereberye 22:1-18; Matayo 1:1, 2; Yokaana 3:16.
Ebyo bye tulabye biraga bulungi ekyo Katonda ky’asuubira mu baweereza be era biraga nti akitwala nga kikulu nnyo okwoleka ekisa. Katonda ayagala abaweereza be bonna babe ba kisa.
Okwoleka Ekisa Kituyamba Okutegeera Katonda Obulungi
Bayibuli eraga nti mu kiseera kino kye tulimu abantu bangi bandibadde “tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda.” (2 Timoseewo 3:1-3) Tewali kubuusabuusa nti buli lunaku tusisinkana abantu abeeyisa bwe batyo. Naye ekyo tekyanditulobedde kubalaga kisa. Abakristaayo bajjukizibwa nti: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi. Mufube okukola ebintu ebirungi mu maaso g’abantu bonna.”—Abaruumi 12:17.
Tusaanidde okufuba okulaga abalala ekisa. Bayibuli egamba nti: “Buli alina okwagala . . . afuna okumanya okukwata ku Katonda,” era emu ku ngeri gye tulagamu nti twagala abalala kwe kubalaga ekisa. (1 Yokaana 4:7; 1 Abakkolinso 13:4) Bwe tulaga bantu bannaffe ekisa, tweyongera okumanya Katonda n’okufuna essanyu. Yesu bwe yali ayigiriza ku Lusozi, yagamba nti: “Balina essanyu abo abasaasira abalala, kubanga balisaasirwa. Balina essanyu abalongoofu mu mutima, kubanga baliraba Katonda.”—Matayo 5:7, 8.
Lowooza ku mukyala Omujapaani ayitibwa Aki, ow’abaana ababiri. Bwe yafiirwa nnyina, yennyamira nnyo. Oluusi kyamuyisanga bubi nnyo n’atuuka n’okulwala. Oluvannyuma, waliwo omukyala ow’abaana abataano eyasengukira okumpi ne Aki. Mu kiseera ekyo, omukyala oyo yali yaakafiirwa omwami we mu kabenje. Aki yawulira bubi nnyo olw’ekyo ekyatuuka ku maka ago era yafuba okukola omukwano ku mukyala oyo n’abaana be. Yakola kyonna ekisoboka okubayamba, yabawanga emmere, engoye ye n’abomu maka ge ze baabanga batakyetaaga, awamu n’ebintu ebirala. Ekyo Aki kye yakola kyamuleetera essanyu era kyamuyamba obutennyamira. Yakiraba nti “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Bw’oba mu mbeera ng’eyo Aki gye yalimu, okulaga abalala ekisa naawe kisobola okukuyamba obutennyamira.
‘Tuba Tuwola Yakuwa’
Okusobola okulaga abalala ekisa tekikwetaagisa kuba bagagga, kuba ba maanyi, oba kuba na busobozi bwa njawulo. Tusobola okulaga abalala ekisa nga tussaako akamwenyumwenyu, nga twogera nabo bulungi, nga tubayambako ku mirimu, nga tubatonerayo akalabo, oba mu ngeri endala yonna. Omuntu bw’aba ng’ali mu mbeera enzibu naye nga tomanyi kya kukola kumuyamba, yogera naye mu ngeri ey’ekisa oba mukolere ekintu eky’ekisa. Omuvubuka eyayogeddwako ku ntadikwa y’ekitundu kino, yakwatibwako nnyo olw’okuba omuminsani omukadde yamulaga ekisa, wadde nga yali tamanyi bulungi lulimi lwa muvubuka oyo. Ekyo kiraga ensonga lwaki Katonda yeetaagisa abaweereza be okwoleka “ekisa”!—Mikka 6:8.
Omuntu bw’omukolera ekintu eky’ekisa ne bwe kiba kitono kitya kisobola okumukwatako ennyo. Bw’okikola ng’olina ekiruubirirwa ekirungi, naddala olw’okuba oyagala okusanyusa Katonda, mwembi mufuna essanyu. Omuntu ne bw’atasiima ng’omulaze ekisa, ye Katonda asiima ekyo ky’oba okoze. Bayibuli etukakasa nti, bwe tulaga abalala ekisa, ‘tuba tuwola Yakuwa.’ (Engero 19:17) Lwaki tokozesa buli kakisa k’ofuna okulaga abalala ekisa?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 20]
Omuntu bw’aba ng’ali mu mbeera enzibu naye nga tomanyi kya kukola kumuyamba, yogera naye mu ngeri ey’ekisa oba mukolere ekintu eky’ekisa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Ibulayimu yafuna emikisa mingi olw’okwoleka ekisa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Bwe tulaga abalala ekisa, tuba nga ‘abawola Yakuwa’