Beewaayo Kyeyagalire—Mu Ghana
OLINAYO ow’oluganda oba mwannyinaffe gw’omanyi aweereza mu nsi endala awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Wali weebuuzizzaako ebibuuzo nga bino: ‘Kiki ekikubiriza baganda baffe ne bannyinaffe abo okugenda okuweereza mu nsi endala? Beetegekera batya obuweereza obwo? Nange nsobola okwenyigira mu buweereza obwo?’ Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo, twetaaga okubuuza baganda baffe ne bannyinaffe abo abeenyigidde mu buweereza obwo. Ka tulabe abamu ku bo kye bagamba.
KIKI EKIBAKUBIRIZA OKWENYIGIRA MU BUWEEREZA OBWO?
Kiki ekyakuleetera okutandika okulowooza ku ky’okugenda okuweereza mu nsi endala awali obwetaavu obusingako? Amy, alina emyaka nga 35, eyava mu Amerika, agamba nti: “Okumala emyaka mingi nnali ndowooza ku ky’okugenda okuweereza mu nsi endala naye nga ndaba nti sikisobola.” Kiki ekyamuyamba okukyusa endowooza ye? “Mu 2004, ow’oluganda omu ne mukyala we abaali baweereza mu Belize bampita mbakyalireko mbuulireko nabo okumala omwezi gumu. Nnagenda era nnanyumirwa nnyo! Nga wayise omwaka gumu, nnagenda e Ghana okuweereza nga payoniya.”
Emyaka mitono emabega, Stephanie, kati anaatera okuweza emyaka 30 era nga naye ava mu Amerika, yatunula mu mbeera ye n’akiraba nti yali mulamu bulungi era nti teyalina buvunaanyizibwa bw’amaka. Yakiraba nti yali asobola okugaziya ku buweereza bwe. Ekyo kyamuleetera okusalawo okugenda okuweereza mu Ghana awali obwetaavu obusingako. Ow’oluganda Filip ne mukyala we Ida, abava mu Denmark, baalina ekiruubirirwa eky’okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako. Baafuba okulaba engeri gye basobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Filip agamba nti: “Akakisa bwe kajja, Yakuwa yalinga atugamba nti: ‘Mugende!’ ” Mu 2008 baagenda okuweereza mu Ghana era baamalayo emyaka egisukka mu esatu.
Hans ne mukyala we Brook, bapayoniya abalina emyaka nga 35, baweerereza mu Amerika. Mu 2005 baayambako mu kudduukirira abo abaali bakoseddwa omuyaga Katrina. Oluvannyuma, baasaba okuyambako mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe byaffe mu nsi yonna naye okusaba kwabwe ne kutayitamu. Hans agamba nti: “Mu kiseera ekyo, twafuna olukuŋŋaana olunene era mu emu ku mboozi ezaaweebwa baalaga nti Kabaka Dawudi bwe baamugamba nti yali tagenda kuzimba yeekaalu, yakikkiriza era n’akyusa ekiruubirirwa kye. Ekyo kyatuyamba okukiraba nti si kikyamu okukyusa mu biruubirirwa bye tuba nabyo nga tuweereza Katonda.” (1 Byom. 17:1-4, 11, 12; 22:5-11) Brook agattako nti, “Yakuwa yali ayagala tukonkone ku luggi olulala.”
Oluvannyuma lw’okuwulira ku mikisa mikwano gyabwe gye baali bafunye mu kuweereza mu nsi endala, Hans ne Brook baasalawo okugenda okuweereza nga bapayoniya mu nsi endala. Mu 2012 baagenda okuweereza mu Ghana era baamalayo emyezi ena nga bayambako ekibiina kya bakiggala. Wadde nga baddayo mu Amerika, okuweerezaako mu Ghana kyabaleetera okwongera okuba abamalirivu okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Oluvannyuma baayambako mu kuzimba ofiisi y’ettabi eya Micronesia.
BYE BAAKOLA OKUSOBOLA OKUTUUKA KU KIRUUBIRIRWA KYABWE
Weeteekateeka otya okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako? Stephanie agamba nti: “Nnasoma ebitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ebyogera ku kugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako.a Era nnayogerako n’abakadde n’omulabirizi akyalira ebibiina awamu ne mukyala we ne mbategeeza ku kiruubirirwa kye nnalina eky’okugenda okuweereza mu nsi endala. N’ekisinga obukulu, nnasabanga Yakuwa ne mmutegeeza ku kiruubirirwa kyange ekyo.” Okugatta ku ekyo, Stephanie yeerekereza ebintu ebimu, ekyamuyamba okubaako ssente z’afissaawo ezandimuyambye okweyimirizaawo ng’agenze okuweereza mu nsi endala.
Hans agamba nti: “Twasaba Yakuwa atuwe obulagirizi kubanga twali twagala okugenda eyo yonna gye yali ayagala tugende. Era mu ssaala yaffe, twategeeza Yakuwa olunaku lwennyini lwe twali tugenda okukolera ku ekyo kye twali tusazeewo.” Hans ne mukyala we baawandiikira ofiisi z’ettabi nnya. Ofiisi y’ettabi ey’omu Ghana bwe yabaddamu, baasalawo okugenda e Ghana bamaleyo emyezi ebiri. Hans agamba nti: “Twanyumirwa nnyo okukolera awamu n’ekibiina ne tusalawo okusigalayo emyezi emirala ebiri.”
George ne mukyala we Adria, abanaatera okuweza emyaka 40 abaava mu Canada, baakijjukiranga nti Yakuwa okusobola okuwa omuntu omukisa, omuntu oyo talina kukoma bukomi ku kuba na biruubirirwa birungi naye era alina okubaako ky’akolawo okubituukako. Bwe kityo, baalina kye baakolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe. Baayogerako ne mwannyinaffe eyali aweereza mu Ghana, awaali obwetaavu obusingako, era ne bamubuuza ebibuuzo ebiwerako. Ate era baawandiikira ofiisi y’ettabi ey’omu Canada n’ey’omu Ghana. Adria agamba nti: “Twanoonya engeri gye tuyinza okwongera okubaako ebintu ebirala bye twerekereza.” N’ekyavaamu, mu 2004, baasobola okugenda okuweereza mu Ghana.
OKWAŊŊANGA OKUSOOMOOZA
Kusoomooza ki kwe wayolekagana nakwo ng’ogenze mu nsi endala era wasobola otya okukwaŋŋanga? Okusoomooza Amy kwe yasooka okufuna kwe kuwulira ekiwuubaalo olw’okuba ewala n’ab’eŋŋanda ze. Agamba nti: “Buli kimu kyali kya njawulo nnyo ku ebyo bye nnali mmanyidde.” Kiki ekyamuyamba? Agamba nti: “Ab’eŋŋanda zange bankubiranga essimu ne bakiraga nti basiima obuweereza bwange era ekyo kyannyamba okujjukiranga ensonga lwaki nnali nsazeewo okugenda okuweereza mu nsi endala. Oluvannyuma nnatandika okwogera n’ab’eŋŋanda zange nga tweraba ku kompyuta. Okuva bwe kiri nti twali tweraba, kyannyamba okulekera awo okuwulira nti nnali wala nnyo nabo.” Amy agamba nti okukola omukwano ku mwannyinaffe omu enzaalwa y’omu Ghana eyali akuze mu by’omwoyo kyamuyamba okutegeera obulungi empisa z’omu kitundu. Amy era agamba nti: “Abantu bwe beeyisanga mu ngeri gye sitegeera, nneebuuzanga ku muganda wange oyo. Yannyamba okumanya ebintu bye nnalina okukola ne bye nnalina okwewala, era ekyo kyannyamba okunyumirwa obuweereza bwange.”
George ne Adria bagamba nti bwe baali baakatuuka mu Ghana, baawulira ng’abaali bazzeeyo mu myaka egy’edda ennyo. Adria agamba nti: “Mu kifo ky’okukozesa ebyuma ebyoza engoye, twali tuzeekunyiza mu bbaketi. Ekiseera kye twamalanga nga tufumba emmere twawuliranga ng’ekyali kikubisaamu emirundi kkumi ekyo kye twamalanga nga tufumba emmere nga tukyali ewaffe. Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono embeera twali tugimanyidde.” Brook agamba nti: “Wadde nga tufuna okusoomooza okutali kumu nga tuweereza nga bapayoniya, tufuna essanyu lingi. Bwe tulowooza ku birungi enkumu bye tufunye mu buweereza bwaffe, tetulina kye twejjusa.”
OBUWEEREZA OBULEETA ESSANYU
Lwaki wandikubirizza abalala okwenyigira mu buweereza buno? Stephanie agamba nti: “Okubuulira mu kitundu omuli abantu abaagala ennyo okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli kireeta essanyu lingi nnyo. Okugenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako, kye kimu ku bintu ebisingayo obulungi bye nnali nsazeewo okukola!” Mu 2014, Stephanie yafumbirwa Aaron, era kati baweerereza ku ofiisi y’ettabi mu Ghana.
Christine, payoniya eyava mu Bugirimaani era kati alina emyaka nga 35 agamba nti: “Obuweereza buno buleeta essanyu lingi.” Christine yaweerezaako mu Bolivia nga tannagenda mu Ghana. Agattako nti: “Okuva bwe kiri nti siri kumpi na ba ŋŋanda zange, ntera okusaba Yakuwa annyambe. Yakuwa yeeyongedde okuba owa ddala gye ndi. Ate era nneeyongedde okukiraba nti abantu ba Katonda mu nsi yonna bali bumu. Nfunye emikisa mingi mu buweereza buno.” Gye buvuddeko awo, Christine yafumbirwa Gideon, era bombi baweerereza mu Ghana.
Filip ne Ida batubuulira kye baakola okusobola okuyamba abayizi baabwe aba Bayibuli okukulaakulana. Bagamba nti: “Emabegako, twabanga n’abayizi ba Bayibuli nga 15 oba n’okusingawo, naye omuwendo ogwo twagukendeeza ne kiba nti twali tetusussa bayizi 10. Ekyo kyatuyamba okuwa abayizi ba Bayibuli obudde obumala.” Ekyo kyayamba abayizi baabwe? Filip agamba nti: “Nnasoma Bayibuli n’omuvubuka omu ayitibwa Michael. Twasomanga buli lunaku era yategekanga bulungi. Akatabo Baibuli ky’Eyigiriza twakasomera omwezi gumu era bwe twakamalaako, Michael n’afuuka omubuulizi atali mubatize. Ku mulundi Michael gwe yasooka okubuulira awamu n’ekibiina, yaŋŋamba nti, ‘Osobola okumperekerako ku Bayizi bange aba Bayibuli?’ Ekyo kyanneewuunyisa nnyo. Michael yaŋŋamba nti yalina abantu basatu b’ayigiriza Bayibuli era nti yali ayagala mmuyambeko okubayigiriza.” Obwetaavu bw’ababuulizi bwa maanyi nnyo ne kiba nti n’abayizi ba Bayibuli nabo bayigiriza abalala Bayibuli!
Amy ayogera ku bwetaavu obulala bwe yalabirawo amangu. Agamba nti: “Bwe twali twakatuuka mu Ghana, twabuulirako mu kyalo ekimu nga tunoonya bakiggala. Mu kyalo ekyo, twazuulamu bakiggala munaana balamba!” Amy yafumbirwa Eric, era bombi baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Baweereza mu kibiina kya bakiggala era kati mu Ghana ababuulizi bakiggala awamu ne bakiggala abayiga Bayibuli basukka mu 300. George ne Adria bawulira nti okuweereza mu Ghana kyabayamba okutegeera kye kitegeeza okuba omuminsani. Nga kyabasanyusa nnyo bwe baayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 126! Leero baweereza ng’abaminsani mu Mozambique.
OKWAGALA KWE KUBAKUBIRIZA OKUWEEREZA
Kisanyusa nnyo okulaba ng’ab’oluganda ne bannyinaffe okuva mu nsi endala bakolera wamu n’ab’oluganda ab’omu kitundu mwe baba balaze mu mulimu gw’amakungula. (Yok. 4:35) Okutwalira awamu buli wiiki abantu nga 120 be babatizibwa mu Ghana. Okufaananako ab’oluganda ne bannyinaffe 17 abaagenda okuweereza mu Ghana awali obwetaavu obusingako, waliwo ababuulizi abalala bangi okwetooloola ensi ‘abeewaayo kyeyagalire’ okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako olw’okuba baagala Yakuwa. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa!—Zab. 110:3; Nge. 27:11.
a Ng’ekyokulabirako, laba ekitundu “Osobola Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingawo obw’Ababuulizi b’Obwakabaka?” ne “Osobola Okugenda e Makedoni?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15 n’ogwa Ddesemba 15, 2009.