Noonya Bwakabaka, So Si Bintu
“Munoonyenga Obwakabaka [bwa Katonda], era ebintu ebyo biribongerwako.”—LUK. 12:31.
1. Njawulo ki eriwo wakati w’ebintu bye twetaaga ne bye twagala?
EBINTU omuntu bye yeetaaga bitono naye by’ayagala bingi nnyo. Bangi tebamanyi njawulo eriwo wakati w’ebintu omuntu bye yeetaaga n’ebyo by’ayagala. Njawulo ki eriwo wakati w’ebintu bye twetaaga ne bye twagala? Ebintu bye “twetaaga” by’ebyo bye tulina okuba nabyo okusobola okuba abalamu. Bizingiramu, emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Ebintu bye “twagala” by’ebyo bye twandyagadde okuba nabyo naye nga tusobola okubaawo nga tetubirina.
2. Ebimu ku bintu abantu bye baagala bye biruwa?
2 Ebintu abantu bye baagala byawukana okusinziira ku kitundu gye babeera. Ng’ekyokulabirako, mu nsi ezikyakula abantu bangi baagala okufuna ssente basobole okugula essimu, ppikipiki, oba poloti. Mu nsi ezaakula edda, bangi batera okwagala okugula engoye ez’ebbeeyi, ennyumba ennene, oba emmotoka ey’ebbeeyi. Abantu ka babe nga babeera mu kitundu ki, kyangu okugwa mu katego ak’okwagala ebintu, ka babe nga babyetaaga oba nedda oba nga basobola okubigula oba nedda.
WEEWALA OMWOYO GW’OKWAGALA EBINTU
3. Kiki ekiraga nti omuntu alina omwoyo ogw’okwagala ebintu?
3 Kiki ekiraga nti omuntu alina omwoyo ogw’okwagala ebintu? Omuntu ng’oyo buli kiseera aba alowooza ku bya bugagga, so si ku bintu eby’omwoyo. Omwoyo gw’okwagala ebintu gweyolekera mu bintu omuntu by’ayagala, by’akulembeza, n’ebiruubirirwa by’aba nabyo mu bulamu. Omuntu alina omwoyo ogwo aba ayagala nnyo okwefunira ebintu. Ayinza n’okuba nga talina ssente nnyingi oba nga tagula bintu bya bbeeyi. N’omuntu omwavu asobola okuba n’omwoyo ogw’okwagala ebintu era asobola okulekera awo okusooka okunoonya Obwakabaka.—Beb. 13:5.
4. Sitaani akozesa atya “okwegomba kw’amaaso” okukwasa abantu?
4 Sitaani akozesa bannabyabusuubuzi okutuleetera okulowooza nti twetaaga ebintu bingi okusobola okubeera abasanyufu, ne bwe kiba nti ebintu ebyo tetubyetaaga. Alina obumanyirivu mu kuleetera abantu okutwalirizibwa “okwegomba kw’amaaso.” (1 Yok. 2:15-17; Lub. 3:6; Nge. 27:20) Mu nsi mulimu ebintu bingi ebisikiriza, ng’ebimu birungi nnyo ate ng’ebirala tebigasa na kugasa. Wali oguzeeko ekintu, si lwa kuba nti wali okyetaaga naye lwa kuba nti wasikirizibwa akalango ke baakuba nga bakiranga oba olw’okuba kyakulabikira bulungi ng’okitunuulidde? Oluvannyuma wakiraba nti wali osobola okubeerawo ng’ekintu ekyo tokirina? Okuba n’ebintu ng’ebyo bye tuteetaaga, kikaluubiriza bukaluubiriza bulamu bwaffe. Ebintu ng’ebyo bisobola okutuwugula ne tulagajjalira ebintu eby’omwoyo, gamba ng’okwesomesa, okweteekerateekera enkuŋŋaana n’okuzibaamu, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Omutume Yokaana yagamba nti: “Ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo.”
5. Kiki ekisobola okubaawo singa omuntu amalira ebiseera bingi mu kunoonya ebintu?
5 Sitaani ayagala tubeere baddu ba bya bugagga so si baddu ba Yakuwa. (Mat. 6:24) Abantu abamalira ebiseera byabwe ebisinga obungi mu kunoonya ebintu obulamu bwabwe tebuba na makulu, tebaba na nkolagana ya ku lusegere ne Katonda, era beereetera ennaku nnyingi. (1 Tim. 6:9, 10; Kub. 3:17) Ensonga eyo Yesu yagikkaatiriza mu lugero olukwata ku musizi. Obubaka bw’Obwakabaka bwe ‘busigibwa mu maggwa, okwegomba ebintu ebirala byonna kuyingira ne kuzisa ekigambo ne kitabala.’—Mak. 4:14, 18, 19.
6. Kiki kye tuyigira ku Baluki?
6 Lowooza ku Baluki, eyali omuwandiisi wa Yeremiya. Yerusaalemi bwe kyali kinaatera okuzikirizibwa, Baluki yatandika ‘okwenoonyeza ebikulu,’ ebintu ebitaali bya lubeerera. Naye ekintu kyokka kye yandisuubidde okusigaza, ky’ekyo Yakuwa kye yamusuubiza bwe yamugamba nti: “Nja kuwonyaawo obulamu bwo.” (Yer. 45:1-5) Katonda yali tagenda kutaasa kintu kya muntu yenna mu kibuga ekyo ekyali kigenda okuzikirizibwa. (Yer. 20:5) Ng’enkomerero y’ensi eno egenda esembera, kino si kye kiseera okwetuumako ebintu. Tewali kintu na kimu ku bintu bye tulina, ka kibe kya bbeeyi kitya, ekigenda okusigalawo tuyingire nakyo mu nsi empya.—Nge. 11:4, obugambo obuli wansi; Mat. 24:21, 22; Luk. 12:15.
7. Kiki kye tugenda okwekenneenya, era lwaki?
7 Yesu yatuwa amagezi agasingayo obulungi agasobola okutuyamba okufuna ebintu bye twetaaga nga tetugudde mu katego ka kwagala nnyo bintu, ne kituyamba okwewala okweraliikirira ekiteetaagisa. Amagezi ago yagawa bwe yali ng’abuulira ku Lusozi. (Mat. 6:19-21) Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebiri mu Matayo 6:25-34. Ekyo kijja kutuyamba okuba abamalirivu okweyongera ‘okunoonya Obwakabaka,’ so si bintu.—Luk. 12:31.
YAKUWA AKOLA KU BYETAAGO BYAFFE EBY’OMUBIRI
8, 9. (a) Lwaki tetusaanidde kweraliikirira kisukkiridde ebintu bye twetaaga mu bulamu? (b) Kiki Yesu kye yali amanyi ku bantu n’ebyo bye beetaaga?
8 Soma Matayo 6:25. Yesu yagamba abo abaali bamuwuliriza nti: “Mulekere awo okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwammwe.” Baali beeraliikirira ebintu bye baali batasaanidde kweraliikirira. Amagezi Yesu ge yabawa gaali malungi nnyo. Omuntu bwe yeeraliikirira ekiteetaagisa, ne bwe kiba nti ebintu bye yeeraliikirira bikulu, kisobola okumuwugula n’aggya ebirowoozo bye ku bintu ebintu eby’omwoyo, ebisinga obukulu. Yesu yali afaayo nnyo ku bayigirizwa be ne kiba nti ensonga eyo yeeyongera okugyogerako emirundi emirala ena ku olwo bwe yali ng’abuulira ku Lusozi.—Mat. 6:27, 28, 31, 34.
9 Lwaki Yesu yatugamba obuteeraliikirira kye tunaalya, kye tunaanywa, oba kye tunaayambala? Ebyo si bye bimu ku bintu bye twetaaga ennyo mu bulamu? Ebintu ebyo ddala tubyetaaga era singa tulemererwa okubifuna tweraliikirira. Ekyo Yesu naye yali akimanyi. Yesu yali amanyi bulungi ebintu abantu bye beetaaga buli lunaku. Ate era yali amanyi embeera enzibu abayigirizwa be abandibaddewo mu “nnaku ez’enkomerero” gye bandiyiseemu. (2 Tim. 3:1) Bandibadde boolekagana n’ebizibu, gamba ng’ebbula ly’emirimu, ebbeeyi y’ebintu okulinnya, enjala, n’obwavu obuyitiridde. Wadde kiri kityo, Yesu era yali akimanyi nti ‘obulamu businga emmere n’omubiri gusinga eby’okwambala.’
10. Yesu bwe yali ayigiriza abagoberezi be okusaba, kintu kiki kye yalaga nti kye basaanidde okutwala ng’ekisinga obukulu?
10 Yesu yayigiriza abaali bamuwuliriza okusaba Katonda ebyetaago byabwe eby’omubiri bwe yabagamba basabenga nti: “Tuwe emmere yaffe eya leero.” (Mat. 6:11) Ne ku mulundi omulala bwe yali ayigiriza, yagamba abantu basabenga nti: “Tuwe emmere yaffe buli lunaku okusinziira ku bwetaavu bwaffe obw’olunaku.” (Luk. 11:3) Naye ekyo tekitegeeza nti ebyetaago byaffe eby’omubiri bye tusaanidde okumalirako ebirowoozo, kubanga mu ssaala eyo y’emu Yesu yakiraga nti okusaba Obwakabaka bwa Katonda okujja kikulu nnyo okusinga okusaba okufuna ebyetaago byaffe. (Mat. 6:10; Luk. 11:2) Okusobola okuyamba abaali bamuwuliriza okutegeera obulungi ensonga, Yesu yakiraga nti Yakuwa alabirira ebitonde bye byonna.
11, 12. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gy’alabiriramu ebinyonyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 7.)
11 Soma Matayo 6:26. Tusaanidde ‘Okwetegereza ebinyonyi eby’omu bbanga.’ Wadde ng’omubiri gw’ebinyonyi mutono, birya mu bungi ebibala, ensigo, ebiwuka, n’ensiriŋŋanyi. Bw’ogeraageranya obunene bw’omubiri gwabyo n’obungi bw’emmere gye birya, ebinyonyi birya okusinga abantu. Kyokka tebirima wadde okusiga ensigo okusobola okufuna emmere. Yakuwa abiwa buli kimu kye byetaaga. (Zab. 147:9) Kya lwatu nti tabireetera mmere n’abiteera awo olwo byo ne birya bulyi. Birina okugenda okuginoonya era gyeri mu bungi.
12 Yesu yakiraba nti kyali tekikola makulu Kitaawe ow’omu ggulu okuwa ebinyonyi emmere, naye ate n’atawa bantu mmere n’ebintu ebirala bye beetaaga.[1] (1 Peet. 5:6, 7) Kyo kituufu nti Katonda tajja kukwata mmere agituleetere awo, naye bwe tufuba okulima emmere oba okunoonya ssente okugula emmere, awa omukisa okufuba kwaffe. Ate bwe tuba mu bwetaavu, Katonda asobola okukozesa abantu abalala okutuwa bye twetaaga. Wadde nga Yesu teyayogera ku Katonda okuwa ebinyonyi we bisula, Yakuwa ye yawa ebinyonyi amagezi agabisobozesa okuzimba ebisu. Naffe Yakuwa asobola okutuyamba okufuna aw’okusula.
13. Kiki ekikakasa nti tuli ba muwendo okusinga ebinyonyi?
13 Yesu yabuuza abaali bamuwuliriza nti: “Mmwe temuli ba muwendo nnyo [okusinga ebinyonyi]?” Kya lwatu nti Yesu yali akimanyi nti mu kiseera ekitali kya wala yandibadde awaayo obulamu bwe ku lw’abantu. (Geraageranya Lukka 12:6, 7.) Ssaddaaka ya Kristo teyaweebwayo kununula bitonde birala, okuggyako abantu. Yesu teyafiirira binyonyi, wabula yafiirira ffe tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.—Mat. 20:28.
14. Kiki omuntu eyeeraliikirira ky’atasobola kukola?
14 Soma Matayo 6:27. Lwaki Yesu yagamba nti omuntu eyeeraliikirira tayinza kwongerako wadde akatono ku kiseera ky’obulamu bwe? Ekyo kiri kityo kubanga okweraliikirira ekisukkiridde tekituyamba kwongera ku buwanvu bw’ekiseera ky’obulamu bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, okweraliikirira ekisukkiridde kisobola okukendeeza ku buwanvu bw’ekiseera ky’obulamu bwaffe.
15, 16. (a) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gy’alabiriramu amalanga ag’oku ttale? (Laba ekifaananyi ku lupapula 7.) (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza, era lwaki?
15 Soma Matayo 6:28-30. Ani ku ffe atandyagadde kwambala bulungi naddala nga yeenyigira mu bintu eby’omwoyo, gamba ng’okugenda okubuulira oba okugenda mu nkuŋŋaana ennene oba entono? Naye ekyo kyandituleetedde ‘okweraliikirira eby’okwambala’? Yesu era yatugamba okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda. Yatugamba okufumiitiriza ku ‘malanga ag’oku ttale.’ Wano Yesu ayinza okuba nga yali ayogera ku bimuli ebitali bimu eby’oku ttale, ebirabika obulungi ennyo. Ebimuli tebiranga wuzi kwekolera ngoye, naye birabika bulungi nnyo! ‘Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambala ng’ekimu ku byo’!
16 Kiki Yesu kye yali ayagala abamuwuliriza bayige? Yagamba nti: “Bwe kiba nti bw’atyo Katonda bw’ayambaza omuddo ogw’oku ttale . . . , taasinge kwambaza mmwe, mmwe abalina okukkiriza okutono?” Mazima ddala ajja kusingawo! Naye abayigirizwa ba Yesu baalina okukkiriza kutono. (Mat. 8:26; 14:31; 16:8; 17:20) Baalina okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe n’okwongera okwesiga Yakuwa. Ate ffe? Ddala twesiga Yakuwa nti asobola okutulabirira era nti ekyo ayagala okukikola?
17. Kiki ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa?
17 Soma Matayo 6:31, 32. Tetusaanidde kuba ng’abantu mu nsi abateesiga Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo era alabirira abo bonna abakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Bwe tutandika okwemalira ku kunoonya ‘ebintu byonna amawanga bye geemaliddeko’ ekyo kijja kwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, tuli abakakafu nti singa tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe, Yakuwa tajja kutumma kintu kirungi kyonna. “Okwemalira ku Katonda” kujja kutuleetera okuba abamativu “n’eby’okulya n’eby’okwambala.”—1 Tim. 6:6-8.
OKULEMBEZA OBWAKABAKA BWA KATONDA MU BULAMU BWO?
18. Bintu ki ebitukwatako Yakuwa by’amanyi, era kiki ky’atukolera?
18 Soma Matayo 6:33. Ffenna abayigirizwa ba Yesu tulina okukulembezanga Obwakabaka mu bulamu bwaffe. Bwe tukola tutyo, Yesu yagamba nti, ‘ebirala byonna biritwongerwako.’ Lwaki yagamba bw’atyo? Mu lunyiriri olwa 32 Yesu yagamba nti: “Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu ebyo byonna mubyetaaga.” Yakuwa amanya ebintu bye twetaaga, gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula, nga ffe tetunnaba na kumanya nti tubyetaaga. (Baf. 4:19) Aba amanyi olugoye lwaffe oluba lugenda okuddako okukaddiwa. Amanyi emmere omubiri gwaffe gye gwetaaga era n’aw’okusula wenkana wa we twetaaga okusinziira ku bungi bw’abantu abali mu maka gaffe. Yakuwa ajja kukakasa nti ddala tufuna bye twetaaga.
19. Lwaki tetusaanidde kweraliikirira bya mu maaso?
19 Soma Matayo 6:34. Weetegereze nti Yesu yaddamu omulundi ogw’okubiri okugamba nti: “Temweraliikiriranga.” Ayagala tulowooze ku bizibu by’olunaku lwa leero, tuleme kubigattako bya nkya, nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba. Singa omuntu yeeraliikirira ekisukkiridde ebintu ebinaabaawo mu maaso, ayinza okutandika okukola ebintu mu magezi ge mu kifo ky’okwesiga Yakuwa, ekintu ekiyinza okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa.—Nge. 3:5, 6; Baf. 4:6, 7.
SOOKA ONOONYE OBWAKABAKA, YAKUWA AKUWE EBIRALA
20. (a) Kiruubirirwa ki eky’eby’omwoyo ky’oyinza okweteerawo? (b) Biki by’oyinza okwerekereza okusobola okugaziya ku buweereza bwo?
20 Si kya magezi kulekera awo kukulembeza Bwakabaka olw’okwagala okwefunira ebintu. Tusaanidde okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, osobola okugenda okuweereza mu kibiina awali obwetaavu obusingako? Osobola okuweereza nga payoniya? Bw’oba oweereza nga payoniya, wali olowoozezza ku ky’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Obwakabaka? Osobola okukola nga nnakyewa oboolyawo n’oyambako ku mirimu egikolebwa ku Beseri oba ku ofiisi awavvuunulirwa ebitabo byaffe? Osobola okukola nga nnakyewa mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka? Lowooza ku bintu by’oyinza okwerekereza osobole okwongera okugaziya ku buweereza bwo. Fumiitiriza ku ebyo ebiri mu kasanduuko “By’Oyinza Okukola,” era obeeko ky’okolawo okutuuka ku kiruubirirwa kyo.
21. Kiki ekinaakuyamba okwongera okusemberera Yakuwa?
21 Kya magezi okunoonya Obwakabaka, so si bintu, nga Yesu bwe yatugamba. Bwe tukola bwe tutyo, kiba tekitwetaagisa kweraliikirira byetaago byaffe eby’omubiri. Bwe twesiga Yakuwa era ne twewala okwagala okwetuusaako buli kintu ekizze ku mulembe ne bwe kiba nti tusobola okukyetuusaako, kijja kutuyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe twerekereza ebintu oba bwe tweggyako ebintu ebimu okusobola okukulembeza Obwakabaka tujja ‘kunyweza obulamu obwa nnamaddala’ obugenda okujja.—1 Tim. 6:19.
^ [1] (akatundu 12) Okusobola okumanya ensonga lwaki oluusi Yakuwa aleka abaweereza be ne bataba na mmere ebamala, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 15, 2014, olupapula 22.