Obulokozi eri Abo Abalondawo Ekitangaala
“Yakuwa kye kitangaala kyange n’obulokozi bwange. Ani gwe nnaatyanga?”—ZABBULI 27:1, NW.
1. Bintu ki ebibeesaawo obulamu Yakuwa by’awa?
YAKUWA ye Nsibuko y’ekitangaala ekisobozesa obulamu okubeerawo ku nsi. (Olubereberye 1:2, 14) Era ye Mutonzi w’ekitangaala eky’eby’omwoyo, ekijjawo ekizikiza kya Setaani ekireeta okufa mu nsi. (Isaaya 60:2; 2 Abakkolinso 4:6; Abaefeso 5:8-11; 6:12) Abo abalondawo ekitangaala bayinza okwogera ng’omuwandiisi wa Zabbuli: “Yakuwa kye kitangaala kyange n’obulokozi bwange. Ani gwe nnaatyaga?” (Zabbuli 27:1a, NW) Kyokka, nga bwe kyali mu kiseera kya Yesu, abo abalondawo ekizikiza kye bayinza okusuubira kyokka kwe kusalirwa omusango.—Yokaana 1:9-11; 3:19-21, 36.
2. Mu biseera eby’edda, kiki ekyatuuka ku abo abaagaana ekitangaala kya Yakuwa era n’abo abaawulira ekigambo kye?
2 Mu biseera bya Isaaya, abantu ba Yakuwa ab’endagaano abasinga obungi baagaana ekitangaala. N’ekyavaamu, Isaaya yalaba okuzikirizibwa kw’obwakabaka obw’ebukiika kkono obw’eggwanga lya Isiraeri. Era mu 607 B.C.E., Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo byazikirizibwa abatuuze b’omu Yuda ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse. Kyokka, abo abaawuliriza ekigambo kya Yakuwa baanywezebwa okuziyiza obwewaguzi obw’omu biseera ebyo. Ku bikwata ku 607 B.C.E., Yakuwa yasuubiza nti abo abaamuwuliriza bandiwonye. (Yeremiya 21:8, 9) Leero, ffe abaagala ekitangaala tuyinza okuyiga bingi okuva ku byaliwo mu kiseera ekyo.—Abaefeso 5:5.
Essanyu ly’Abo Abali mu Kitangaala
3. Leero, bwesige ki bwe tuyinza okubeera nabwo, ‘ggwanga ki ettuukirivu’ lye twagala, era ‘kibuga ki eky’amaanyi’ eggwanga eryo lye kirina?
3 “Tulina ekibuga eky’amaanyi; [Katonda] obulokozi bw’alissaawo okuba bbugwe n’enkomera. Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire.” (Isaaya 26:1, 2) Bino bye bigambo eby’okutendereza eby’abantu abaali beesiga Yakuwa. Abayudaaya abeesigwa ab’omu kiseera kya Isaaya beesiga Yakuwa okuba Ensibuko y’obukuumi bwabwe obwa nnamaddala, so si bakatonda ab’obulimba aba bannansi bannaabwe. Leero, tulina obwesige bwe bumu. Ate era twagala ‘eggwanga lya Yakuwa ettuukirivu’—“Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16; Matayo 21:43) Era, Yakuwa ayagala eggwanga eryo olw’empisa zaalyo ez’obwesigwa. Awamu n’omukisa gwe, Isiraeri wa Katonda alina “ekibuga eky’amaanyi,” entegeka eringa ekibuga ekiwa obuwagizi n’obukuumi.
4. Ndowooza ki gye tulina okukulaakulanya?
4 Abo abali mu ‘kibuga’ kino bamanyi bulungi nti “endowooza esembebwa [Yakuwa anaa] gikuumanga mu mirembe ekiseera kyonna, kubanga mu [Yakuwa] omuntu mw’atadde obwesige.” Yakuwa asemba abo abamwesiga era abakolera ku mitindo gye egy’obutuukirivu. N’olwekyo, abeesigwa ab’omu Yuda baagoberera okubuulirira kwa Isaaya: “Mwesige Yakuwa, mmwe abantu, ennaku zonna, kubanga mu Ya Yakuwa mwe muli Olwazi olutaliggwaawo.” (Isaaya 26:3, 4, NW; Zabbuli 9:10; 37:3; Engero 3:5) Abo abalina endowooza eyo batunuulira “Ya Yakuwa” nga lwe Lwazi lwokka olw’obukuumi. Banyumirwa ‘emirembe ennaku zonna.’—Abafiripi 1:2; 4:6, 7.
Okutoowazibwa kw’Abalabe ba Katonda
5, 6. (a) Babulooni eky’edda kyatoowazibwa kitya? (b) “Babulooni Ekinene” kyatoowazibwa mu ngeri ki?
5 Kiba kitya singa abo abeesiga Yakuwa babonyaabonyezebwa? Tekibeetaagisa kutya. Yakuwa akkiriza ebintu ng’ebyo okubeerawo okumala akaseera, naye oluvannyuma aleeta obuweerero, era abo abaleeta okubonyaabonya abasalira omusango. (2 Abasessaloniika 1:4-7; 2 Timoseewo 1:8-10) Lowooza ku “kibuga ekigulumivu.” Isaaya agamba: “[Yakuwa] akkakkanyizza abo abatuula waggulu, ekibuga ekigulumivu: akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu. Ekigere kirikirinnyirira; ebigere by’omwavu, n’ebisinde by’oyo atalina kintu.” (Isaaya 26:5, 6) Ekibuga ekigulumivu ekyogerwako wano kiyinza okuba Babulooni. Awatali kubuusabuusa ekibuga ekyo kyabonyaabonya abantu ba Katonda. Naye kiki ekyatuuka ku Babulooni? Mu 539 B.C.E., kyawambibwa Abameedi n’Abaperusi. Nga kuno kwali kutoowazibwa kwa maanyi nnyo!
6 Mu nnaku zaffe obunnabbi bwa Isaaya bunnyonnyola bulungi ekyo ekyatuuka ku “Babulooni Ekinene” okuva mu 1919. Ekibuga ekyo ekigulumivu kyagwa mu mwaka ogwo bwe kyawalirizibwa okusumulula abantu ba Yakuwa okuva mu buwambe obw’eby’omwoyo. (Okubikkulirwa 14:8) Ekyaddirira kyali kitoowaza nnyo n’okusingawo. Akabinja kano akatono ak’Abakristaayo kaatandika okulinnyirira abo abaali babawambye. Mu 1922 baatandika okulangirira enkomerero ya Kristendomu eyali ejja, nga balangirira obubaka obukwatagana n’obugombe obuna obwa bamalayika obuli mu Okubikkulirwa 8:7-12 era n’ebibonyoobonyo ebisatu ebyalagulwa mu Okubikkulirwa 9:1–11:15.
“Ekkubo ery’Omutuukirivu Bugolokofu”
7. Bulagirizi ki abo abadda eri ekitangaala kya Yakuwa bwe bafuna, ani gwe balindirira, era kiki kye batwala ng’eky’omuwendo?
7 Yakuwa anunula abo abadda eri ekitangaala kye, era abaluŋŋamya mu kkubo lyabwe, nga Isaaya bw’ayogera nate: “Ekkubo ery’omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw’omutuukirivu. Weewaawo, mu kkubo ery’emisango gyo, ai Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n’eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw’obulamu bwaffe.” (Isaaya 26:7, 8) Yakuwa Katonda mutuukirivu, n’abo abamusinza bateekwa okukwata emitindo gye egy’obutuukirivu. Bwe bakola bwe batyo, Yakuwa abakulembera, ng’aluŋŋamya olugendo lwabwe. Bwe bagoberera obulagirizi bwe, abawombeefu bano balaga nti balindirira Yakuwa era nti erinnya lye balitwala nga lya muwendo nnyo—‘ekijjukizo kye.’—Okuva 3:15.
8. Ndowooza ki ennungi Isaaya gye yayoleka?
8 Isaaya yatwala erinnya lya Yakuwa nga lya muwendo. Kino kirabikira mu bigambo bye ebiddako: “Nnakwoyanga n’obulamu bwange [“n’emmeeme yange,” NW] ekiro; weewaawo, nnakeeranga mu makya okukunoonyanga n’omwoyo gwange munda yange: kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, abatuula ku ttaka lwe bayiga obutuukirivu.” (Isaaya 26:9) Isaaya yayagala Yakuwa ‘n’emmeeme ye’ yonna—n’obulamu bwe bwonna. Kubamu ekifaananyi nga nnabbi akozesa ebiseera ebisirifu eby’ekiro okusaba Yakuwa, ng’amutegeeza byonna ebimuli ku mutima era ng’anoonya obulagirizi bwa Yakuwa. Ekyo nga kyakulabirako kirungi nnyo! Ate era, Isaaya yayiga obutuukirivu okuva ku misango gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Mu ebyo, atujjukiza obwetaavu obw’okubeera obulindaala, nga tutegeera Yakuwa by’ayagala.
Abamu Balondawo Ekizikiza
9, 10. Bikolwa ki eby’ekisa Yakuwa bye yakolera eggwanga lye eritaali lyesigwa, naye baayanukula batya?
9 Yakuwa yalaga Yuda ekisa kingi nnyo, kyokka eky’ennaku, si bonna nti baayanukula. Enfunda n’enfunda, abasinga obungi baalondawo okujeema n’obwewagguzi mu kifo ky’ekitangaala eky’amazima ga Yakuwa. Isaaya yagamba: “Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey’obugolokufu mw’anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.”—Isaaya 26:10.
10 Mu biseera bya Isaaya omukono gwa Yakuwa bwe gwakuuma Yuda eri abalabe be, abantu abasinga obungi baagaana okukitegeera. Bwe yabawa emirembe, eggwanga teryalaga kusiima. Bwe kityo, Yakuwa yabaabulira ne batandika okuweereza “abaami abalala,” mu nkomerero n’aleka Abayudaaya ne batwalibwa mu buwambe e Babulooni mu 607 B.C.E. (Isaaya 26:11-13) Wadde kyali bwe kityo, oluvannyuma ensigalira y’eggwanga baakomawo mu nsi ya boobwe.
11, 12. (a) Biseera ki eby’omu maaso abaali bawambye Yuda bye baalina? (b) Mu 1919 biseera ki eby’omu maaso abaali bawambye abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta bye baalina?
11 Naye ate abaali bawambye Yuda? Isaaya addamu mu ngeri ey’obunnabbi: “Bafudde, tebaliba balamu; bazikiridde, tebalizuukira: kyewava obajjira n’obasangulawo n’obuza okujjukirwa kwabwe kwonna.” (Isaaya 26:14) Yee, oluvannyuma lw’okugwa kwakyo mu 539 B.C.E., Babulooni tekyalina biseera birungi mu maaso. Ekiseera kyandituuse, ekibuga ne kiba nga tekikyaliwo. Kyandibadde ‘kifudde,’ era n’etwale lyakyo eddene ennyo lyandisigadde busigazi mu byafaayo. Nga kulabula kwa maanyi nnyo eri abo abeesiga ab’amaanyi eb’ensi eno!
12 Ebintu ebimu mu bunnabbi buno byatuukirizibwa Katonda bwe yakkiriza abaweereza be abaafukibwako amafuta okugenda mu buwambe mu by’omwoyo mu 1918 era ne banunulibwa mu 1919. Okuva olwo, ekiseera eky’omu maaso eky’abo abaali babawambye, okusingira ddala Kristendomu, kyali kya kizikiza. Naye emikisa egyali girinze abantu ba Yakuwa gyali mingi nnyo.
“Wayaza Eggwanga”
13, 14. Mikisa ki emingi abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta gye bafunye okuva mu 1919?
13 Katonda yawa omukisa abaweereza be abaafukibwako amafuta abeenenya mu 1919 era n’abayamba okweyongera. Okusooka, ab’ensigalira ya Isiraeri wa Katonda be baakuŋŋaanyizibwa, n’oluvannyuma ‘ekibiina ekinene’ ‘eky’endiga endala’ kyatandika okukuŋŋaanyizibwa. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Emikisa gino gyalagulwa mu bunnabbi bwa Isaaya: “Wayaza eggwanga, ai Mukama, wayaza eggwanga; ogulumizibwa: ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi. Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjukidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo.”—Isaaya 26:15, 16.
14 Leero, ensalo za Isiraeri wa Katonda zigaziye okubuna ensi zonna, era n’ekibiina ekinene ekigattiddwako kati kirimu abantu abawerera ddala obukadde nga mukaaga n’obunyiikivu abeenyigidde mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. (Matayo 24:14) Nga mukisa gwa maanyi nnyo okuva eri Yakuwa! Era nga kino kireetera erinnya lye ettendo lya maanyi nnyo! Erinnya eryo leero liwulirwa mu nsi ezisukka mu 235—okutuukirizibwa okw’ekitalo ennyo okw’ebisuubizo bye.
15. Kuzuukira ki okw’akabonero okwaliwo mu 1919?
15 Yuda yali yeetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okuva mu buwambe e Babulooni. Tebandisobodde kukikola ku lwabwe. (Isaaya 26:17, 18) Mu ngeri y’emu, okununulibwa kwa Isiraeri wa Katonda mu 1919 bwali bukakafu bw’obuyambi bwa Yakuwa. Tekyandisobose kubeerawo awatali ye. Era n’ekyali kyewuunyisa ennyo ye nkyukakyuka eyaliwo mu mbeera yaabwe ne kiba nti Isaaya yagigeraageranya n’okuzuukira: “Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng’omusulo ogw’oku middo, n’ettaka liriwandula abafu.” (Isaaya 26:19; Okubikkulirwa 11:7-11) Yee, abo abaali bafudde, bandizuukiziddwa ne beenyigira mu mirimu egiziddwa obugya!
Obukuumi mu Biseera eby’Akabi
16, 17. (a) Mu 539 B.C.E., kiki Abayudaaya kye baali balina okukola okusobola okuwonawo mu kugwa kwa Babulooni? (b) Kirabika ‘ebisenge’ kye ki leero, era bituganyula bitya?
16 Abaweereza ba Yakuwa bulijjo beetaaga obukuumi bwe. Kyokka, mu bwangu ddala, ajja kugolola omukono gwe omulundi ogusembayo eri ensi ya Setaani, era abaweereza be bajja kwetaaga obuyambi bwe n’okusinga bwe kyali kibadde. (1 Yokaana 5:19) Ku bikwata ku kiseera ekyo eky’akabi, Yakuwa atulabula: “Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okunyiiga lwe kuliggwaawo. Kubanga, laba, Mukama ajja ng’afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw’obutali butuukirivu bwabwe: n’ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.” (Isaaya 26:20, 21; Zeffaniya 1:14) Okulabula kuno kwalaga Abayudaaya engeri y’okuwonawo mu kugwa kwa Babulooni mu 539 B.C.E. Abo abaakugoberera bandisigadde mu nnyumba zaabwe, ne batatuusibwako kabi eggye eddwanyi eryali ebweru mu nguudo.
17 Leero, ‘ebisenge’ ebyogerwako mu bunnabbi kirabika bikwata ku nkumi n’enkumi z’ebibiina by’abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna. Ebibiina ng’ebyo bya bukuumi ne mu kiseera kino, kifo Abakristaayo gye bafuna obukuumi mu baganda baabwe, wansi w’obulabirizi bw’abakadde abalina okwagala. (Isaaya 32:1, 2; Abaebbulaniya 10:24, 25) Kino kituufu nnyo nnaddala okuva enkomerero y’embeera zino ez’ebintu bw’eri okumpi ng’ate okuwonawo kujja kwesigama ku buwulize.—Zeffaniya 2:3.
18. Mangu ddala Yakuwa anatta atya “ogusota oguli mu nnyanja”?
18 Ku bikwata ku kiseera ekyo, Isaaya alagula: “Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n’ekitala kye eky’obwogi ekinene eky’amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja.” (Isaaya 27:1) “Ogusota” ogw’omu kiseera kyaffe kye ki? Kirabika, gwe ‘musota ogw’edda,’ Setaani kennyini, awamu n’entegeka ye ey’ebintu embi, gy’akozesa okulwanyisa Isiraeri wa Katonda. (Okubikkulirwa 12:9, 10, 17; 13:14, 16, 17) Mu 1919, Ogusota gwali tegukyalina buyinza ku bantu ba Katonda. Ekiseera bwe kinaatuuka, gujja kuviirawo ddala. (Okubikkulirwa 19:19-21; 20:1-3, 10) Bwe kityo, Yakuwa ajja “[ku]tta ogusota oguli mu nnyanja.” Kyokka, ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tewali kintu na kimu Ogusota ogwo kye guyinza kukola abantu ba Yakuwa ekinaabawangulira ddala. (Isaaya 54:17) Nga kizzaamu amaanyi okukakasibwa bwe tutyo!
“Olusuku olw’Emizabbibu olw’Omwenge”
19. Embeera y’ensigalira leero eri etya?
19 Okusinziira ku kitangaala kino kyonna ekiva eri Yakuwa, tetulina buli nsonga yonna okuba abasanyufu? Yee, mazima ddala! Isaaya annyonnyola bulungi essanyu ly’abantu ba Yakuwa bw’awandiika: “Ku lunaku luli Olusuku olw’emizabbibu olw’omwenge muliruyimbira. Nze Mukama ndukuuma; naalufukiriranga amazzi buli kaseera: ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, naalukuumanga emisana n’ekiro.” (Isaaya 27:2, 3) Yakuwa alabiridde ‘olusuku lwe olw’emizabbibu,’ ensigalira ya Isiraeri wa Katonda, era ne bannaabwe abakola ennyo. (Yokaana 15:1-8) Ebivuddemu bibadde ebibala ebireetera erinnya lye ettendo era ne lireetera abaweereza be ab’oku nsi okujaguza.
20. Yakuwa akuuma atya ekibiina Ekikristaayo?
20 Tuyinza okusanyuka olw’okuba obusungu bwa Yakuwa obwasooka ku abaweereza be abaafukibwako amafuta—obwaviirako okubaleka ne bagenda mu buwambe mu by’omwoyo mu 1918—bukomye. Yakuwa kennyini agamba: “Ekiruyi tekiri mu nze: singa katazamiti n’amaggwa gannumbye mu lutalo! [N]andigatabadde, nandigookedde wamu. Oba akwate ku maanyi gange, atabagane nange; weewaawo, atabagane nange.” (Isaaya 27:4, 5) Okukakasa nti emizabbibu gye gyeyongera okuvaamu “omwenge,” Yakuwa aggirawo ddala ebizibu byonna ebiringa amaggwa ebiyinza okugwonoona. Bwe kityo, ka waleme kubeerawo muntu yenna aleeta akabi ku mbeera ennungi ey’ekibiina Ekikristaayo! Bonna ka ‘beesige amaanyi ga Yakuwa,’ nga banoonya ekisa kye n’obukuumi. Bwe tukola bwe tutyo, tutabagana ne Katonda—ekintu ekikulu ennyo ne kiba nti Isaaya akyogerako emirundi ebiri.—Zabbuli 85:1, 2, 8; Abaruumi 5:1.
21. Ensi ejjuziddwamu etya “ebibala”?
21 Emikisa gyeyongerayo mu maaso: “Mu biro ebiribaawo Yakobo alisimba emmizi; Isiraeri alyanya alimulisa: era balijjuza ensi yonna ebibala.” (Isaaya 27:6) Olunyiriri luno lutuukirizibwa okuva mu 1919, nga lulaga obujulizi obw’ekitalo ennyo obw’amaanyi ga Yakuwa. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘bajjuziza’ ensi n’ebibala, n’emmere ennungi ey’eby’omwoyo. Wakati mu nsi embi, n’essanyu bakuuma emitindo gya Katonda egya waggulu. Era Yakuwa yeeyongera okubawa omukisa ogw’okweyongerayongera. N’ekivuddemu, obukadde n’obukadde bwa bannaabwe, ab’endiga endala, ‘benyigira mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro.’ (Okubikkulirwa 7:15) Ka tuleme kwerabira enkizo ey’ekitalo ennyo ey’okulya ku ‘bibala’ n’okubigabirako abalala!
22. Mikisa ki egijjira abo abakkiriza ekitangaala?
22 Mu biseera bino eby’akazigizigi, ng’ekizikiza kibisse ensi era nga n’ekizikiza ekikutte kibisse amawanga, tetuli basanyufu nnyo nti Yakuwa awa abantu be ekitangaala eky’eby’omwoyo? (Isaaya 60:2; Abaruumi 2:19; 13:12) Eri bonna abakikkiriza, ekitangaala ekyo kitegeeza eddembe mu mutima n’essanyu kaakano n’obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso. Nga tulina ensonga ennungi, ffe abaagala ekitangaala tuyimusa emitima gyaffe nga tutendereza Yakuwa era ne tugamba ng’omuwandiisi wa Zabbuli: “Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; anankankanyanga ye ani? Lindirira Mukama: ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; weewaawo, lindirira Mukama.”—Zabbuli 27:1b, 14.
Ojjukira?
• Abo abanyigiriza abantu ba Yakuwa balina biseera ki eby’omu maaso?
• Kweyongerayongera ki okulagulwa mu Isaaya?
• Mu “bisenge” ki mwe tulina okusigala era lwaki?
• Lwaki embeera y’abantu ba Yakuwa emuleetera okutenderezebwa?
[Akasanduuko akali ku lupapula 30]
EKITABO EKIPPYA
Bingi ku ebyo ebikubaganyiziddwako ebirowoozo mu bitundu bino ebibiri byaweebwa ng’emboozi mu lukuŋŋaana olunene olwa district olwa 2000/2001. Ku nkomerero y’emboozi, ekitabo ekippya kyafulumizibwa, nga kirina omutwe Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind I. Ekitabo kino eky’empapula 416 kirimu okukubaganya ebirowoozo lunyiriri ku lunyiriri ku ssuula 40 ezisooka ez’ekitabo kya Isaaya.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abatuukirivu bokka be bakkirizibwa mu ‘kibuga kya Yakuwa eky’amaanyi,’ entegeka ye
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Isaaya yanoonyanga Yakuwa “ekiro”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Yakuwa akuuma ‘olusuku lwe olw’emizabbibu’ era alubaza