Katonda Atulaga Okwagala Kwe
“Ekisa eky’ensusso kijja kufuga nga kabaka okuyitira mu butuukirivu olw’okuleeta obulamu obutaggwaawo.”—BAR. 5:21.
1, 2. Birabo ki ebibiri abantu bye bayinza okulowoozaako, naye kiruwa ekisinga okuba eky’omuwendo?
OMUSOMESA omu ow’omu yunivasite y’e Melbourne, mu Australia, yagamba nti: ‘Amateeka g’Obwakabaka bwa Rooma kirabo kya muwendo eri abantu bonna abaagala obugunjufu.’ Kyokka Bayibuli eraga nti waliwo ekirabo eky’omuwendo ennyo Katonda kye yatuwa ekisinga ekyo. Ekirabo ekyo Katonda kye yatuwa kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi naye era n’okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.
2 Katonda bwe yali awa abantu ekirabo kino, amateeka ge gaali gazingirwamu. Omutume Pawulo bwe yali ayogera ku mateeka ago mu Abaruumi essuula 5, teyattottola bikwata ku mateeka ago mu ngeri etasikiriza. Mu kifo ky’ekyo, yatandika n’ebigambo bino ebibuguumiriza: “Tuyitiddwa abatuukirivu olw’okukkiriza, [n’olwekyo] ka tubeere mu mirembe ne Katonda okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo.” Abo abafuna ekirabo kino ekiva eri Katonda bakwatibwako nnyo, ekyo ne kibakubiriza nabo okumwagala. Pawulo naye yayagala nnyo Katonda. Yawandiika nti: “Okwagala kwa Katonda kufukiddwa mu mitima gyaffe okuyitira mu mwoyo omutukuvu.”—Bar. 5:1, 5.
3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Naye lwaki ekirabo ekyo kyali kyetaagisa? Katonda yandisobodde atya okukiwaayo mu ngeri eyoleka obwenkanya? Era abantu basaanidde kukola ki okusobola okukifuna? Ka tufune eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo era tulabe engeri gye biraga okwagala kwa Katonda.
Okwagala kwa Katonda
4, 5. (a) Yakuwa yayoleka atya okwagala kwe okungi ennyo? (b) Kiki ekitusobozesa okutegeera Abaruumi 5:12?
4 Olw’okwagala kwe okungi, Yakuwa yatuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka okuyamba abantu. Pawulo yagamba nti: “Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiiririra.” (Bar. 5:8) Lowooza ku bigambo bino: “Twali nga tukyali boonoonyi.” Abantu bonna beetaaga okumanya engeri gye twafuukamu aboonoonyi.
5 Pawulo agamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Bar. 5:12) Kino tusobola bulungi okukitegeera kubanga Katonda yateeka mu buwandiike ebikwata ku ngeri obulamu bw’omuntu gye bwatandikamu. Yakuwa yatonda abantu babiri, Adamu ne Kaawa. Olw’okuba Omutonzi waffe atuukiridde, ne bazadde baffe abaasooka baali batuukiridde. Katonda alina etteeka lye yabawa era n’abagamba nti bwe bandirimenye ekibonerezo kyandibadde kufa. (Lub. 2:17) Kyokka, baasalawo okumenya etteeka lya Katonda, mu ngeri eyo ne bakiraga nti baali bagaanyi Yakuwa okuba Omufuzi waabwe era Omuwi w’Amateeka.—Ma. 32:4, 5.
6. (a) Kiki ekyaviirako bazzukulu ba Adamu okufa, era Amateeka ga Musa gaasobola okukyusa embeera eyo? (b) Kiki ekiyinza okugeraageranyizibwa ku bulwadde omwana bw’ayinza okusikira okuva ku bazadde be?
6 Adamu we yazaalira abaana, yali amaze okwonoona era abaana be bonna baasikira ekibi n’ebizibu ebyava mu kibi ekyo. Kyo kituufu nti abaana be bo tebaamenya tteeka lya Katonda nga Adamu, era tebazza musango gwe gumu nga ye; ate era mu kiseera ekyo baali tebannaweebwa tteeka lyonna. (Lub. 2:17) Wadde kyali kityo, bazzukulu ba Adamu baasikira ekibi. Bwe kityo, ekibi n’okufa byafuga nga kabaka okutuusa Katonda bwe yawa Abaisiraeri Amateeka, agaabayamba okukiraba nti baali boonoonyi. (Soma Abaruumi 5:13, 14.) Ekibi kye twasikira kiyinza okugeraageranyizibwa ku bulwadde abaana bwe bayinza okusikira okuva ku bazadde baabwe. Wadde ng’abaana abamu mu maka bayinza okusikira obulwadde obwo, abalala bayinza obutabusikira. Kyokka ekyo si bwe kiri bwe kituuka ku kibi. Ffenna twasikira ekibi okuva ku Adamu era eyo ye nsonga lwaki ffenna tufa. Naye tusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo?
Ekyo Katonda Kye Yakola Okuyitira mu Yesu
7, 8. Ebyo abasajja ababiri abatuukiridde bye baakola byavaamu bintu ki eby’enjawulo?
7 Olw’okwagala kwe okungi, Yakuwa yakola enteekateeka okuyamba abantu okuva mu kibi kye baasikira. Pawulo yagamba nti kino kyasoboka okuyitira mu muntu omulala atuukiridde—Adamu ow’okubiri. (1 Kol. 15:45) Naye ebyo abasajja ababiri abatuukiridde bye baakola byavaamu ebintu bya njawulo. Lwaki tugamba bwe tutyo?—Soma Abaruumi 5:15, 16.
8 Pawulo yawandiika nti: “Ebyava mu kirabo tebiringa ebyo ebyava mu kibi.” Adamu yalina omusango olw’ekibi kye yakola era yafuna ekibonerezo ekimugwanira—yafa. Kyokka si ye yekka eyali ow’okufa. Tusoma nti: “Olw’okwonoona kw’omu bangi baafa.” Okusinziira ku mitindo gya Katonda egy’obwenkanya, bazzukulu ba Adamu bonna, nga naffe mw’otutwalidde, bagwanidde okufa kubanga bonna boonoonyi. Wadde kiri kityo, kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti omusajja atuukiridde Yesu yatuyamba. Kiki ekyavaamu? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo bya Pawulo ebiraga nti “abantu aba buli ngeri baayitibwa batuukirivu olw’obulamu.”—Bar. 5:18.
9. Nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 5:16, 18, Katonda okuyita abantu abatuukirivu kitegeeza ki?
9 Makulu ki agali mu bigambo by’Oluyonaani ebyavvuunulwa “okuyitibwa abatuukirivu” ne “baayitibwa batuukirivu”? Omuvvuunuzi wa Bayibuli omu yagamba nti: “Ebigambo ebyo lulimi lwa kabonero olufaananako olwo olukozesebwa mu kkooti. Biwa ekifaananyi eky’okuba nti ennyimirira y’omuntu mu maaso ga Katonda eba ekyuse, naye nga si lwa kuba nti omuntu oyo aba takyali mwonoonyi . . . Ebigambo ebyo biraga nti Katonda alinga omulamuzi alamula omuwawaabirwa gwe baleese mu maaso ge ng’avunaanibwa omusango ogw’obutaba mutuukirivu, naye Katonda n’asalawo okumuggyako omusango ogwo.”
10. Kiki Yesu kye yakola ekyasobozesa abantu okuyitibwa abatuukirivu?
10 Naye ‘Omulamuzi w’ensi yonna’ omutuukirivu yandisinzidde ku ki okuggya omusango ku bantu abatali batuukirivu? (Lub. 18:25) Katonda yasalawo okusindika ku nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka. Yesu yakola Kitaawe by’ayagala mu ngeri etuukiridde wadde nga yakemebwa, yavumibwa, era yakubibwa. Yakuuma obugolokofu bwe okutuukira ddala okufa ku muti ogw’okubonaabona. (Beb. 2:10) Mu kuwaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka, Yesu yawaayo ekinunulo okununula bazzukulu ba Adamu okuva mu kibi n’okufa.—Mat. 20:28; Bar. 5:6-8.
11. Mu ngeri ki ekinunulo gye kituukirawo?
11 Ssaddaaka ya Yesu, Pawulo era yagiyita “ekinunulo ekituukirawo.” (1 Tim. 2:6) Mu ngeri ki ekinunulo gye kyali kituukirawo? Adamu yasikiza bazzukulu be bonna obutali butuukirivu n’okufa. Kituufu nti Yesu ng’omuntu atuukiridde yandisobodde okuzaala abantu abatuukiridde.a Bwe kityo, kyali kirowoozebwa nti obulamu bwa Yesu awamu n’obw’abazzukulu abatuukiridde abandisobodde okumuvaamu, ye yali ssaddaaka esobola okutangirira ebibi bya Adamu awamu ne bazzukulu be abatatuukiridde. Kyokka Bayibuli tekiraga nti ekinunulo kyandibadde kizingiramu n’abaana Yesu be yandisobodde okuzaala. Abaruumi 5:15-19 walaga nti okufa ‘kw’omuntu omu’ yekka kwe kwasobozesa abantu okununulibwa. Yee, obulamu bwa Yesu obutuukiridde bwali butuukana bulungi oba nga bwenkanankana n’obwa Adamu. N’olwekyo, ekinunulo kyali tekizingiramu mulala yenna okuggyako Yesu Kristo. Abantu aba buli ngeri basobola okuweebwa ekirabo n’obulamu ‘olw’ekikolwa kya Yesu ekimu ekyoleka obutuukirivu,’ kwe kugamba, obuwulize bwe n’obwesigwa bwe okutuukira ddala okufa. (2 Kol. 5:14, 15; 1 Peet. 3:18) Ekyo kyasoboka kitya?
Ekinunulo Kisobozesa Abantu Okuggibwako Omusango
12, 13. Lwaki abo abayitibwa abatuukirivu beetaaga Katonda okubalaga ekisa n’okwagala?
12 Yakuwa Katonda yakkiriza ssaddaaka y’ekinunulo Omwana we gye yawaayo. (Beb. 9:24; 10:10, 12) Wadde kyali kityo, abayigirizwa ba Yesu, nga mw’otwalidde n’abatume be, baasigala nga bakyali abantu abatatuukiridde. Wadde nga baafubanga okwewala okukola ebintu ebibi, oluusi baalemererwanga. Lwaki? Kubanga baali baasikira ekibi. (Bar. 7:18-20) Naye Katonda yali asobola okubaako ky’akolawo okubayamba era yakikola. Yakkiriza “ekinunulo ekituukirawo” era yali mwetegefu okusobozesa abaweereza be abatatuukiridde okukiganyulwamu.
13 Kyokka Katonda okusobozesa abatume awamu n’abantu abalala okuganyulwa mu kinunulo tekyali nti yali abasasula olw’okuba baali baliko ebintu ebirungi bye baali bakoze, wabula kino yakikola olw’ekisa kye n’okwagala kwe okungi. Yasalawo okusonyiwa abatume n’abantu abalala omusango ogwali gubavunaanibwa, n’atandika okubatunuulira ng’abatalina musango. Kino Pawulo yakyogerako ng’agamba nti: “Mazima ddala, olw’ekisa kino eky’ensusso mufunye obulokozi okuyitira mu kukkiriza; era temwabufuna ku lwammwe, wabula kirabo kya Katonda.”—Bef. 2:8.
14, 15. Kiki Katonda ky’agenda okuwa abo b’atwala okuba abatuukirivu, naye kintu ki kye balina okukola?
14 Ng’Omuyinza w’Ebintu Byonna okusonyiwa omuntu ekibi ekisikire n’ebibi bye yakola kiba kirabo kya muwendo nnyo! Tetusobola kumanya bungi bwa bibi omuntu by’akola nga tannaba kufuuka Mukristaayo; kyokka, ng’asinziira ku kinunulo, Katonda asobola okusonyiwa ebibi ebyo. Pawulo yagamba nti: “Ekirabo ekyava mu bibi ebingi kyaviirako [abantu] okuyitibwa abatuukirivu.” (Bar. 5:16) Abatume awamu n’abantu abalala abandifunye ekirabo kino (okuyitibwa abatuukirivu) kyandibadde kibeetaagisa okweyongera okusinza Katonda ow’amazima mu kukkiriza. Naye bandiganyuddwa batya mu biseera eby’omu maaso? “Abo abafuna ekisa eky’ensusso n’ekirabo eky’obutuukirivu [balifugira] mu bulamu nga bakabaka okuyitira mu muntu omu, Yesu Kristo.” Mu butuufu ekirabo eky’obutuukirivu kivaamu obulamu.—Bar. 5:17; soma Lukka 22:28-30.
15 Abo abafuna ekirabo ekyo, eky’okuyitibwa abatuukirivu, bafuuka baana ba Katonda ab’omwoyo. Ng’abasika awamu ne Kristo, balina essuubi ery’okuzuukizibwa ng’abaana ab’omwoyo bagende mu ggulu ‘bafuge nga bakabaka’ awamu ne Yesu Kristo.—Soma Abaruumi 8:15-17, 23.
Okwagala kwa Katonda Kweyoleka eri Abalala
16. Kirabo ki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi kye basobola okufuna ne mu kiseera kino?
16 Naye tekiri nti buli Mukristaayo akkiririza mu kinunulo era aweereza Katonda n’obwesigwa nti ajja kuba mu abo ‘abanaafuga nga bakabaka’ ne Kristo mu ggulu. Okufaananako abaweereza ba Katonda abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo, Abakristaayo bangi leero balina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Naye ne mu kiseera kino basobola okufuna ekirabo okuva eri Katonda ne batwalibwa ng’abatuukirivu mu maaso ge? Okusinziira ku ebyo Pawulo bye yawandiikira Abaruumi, eky’okuddamu kiri nti yee!
17, 18. (a) Olw’okukkiriza okw’amaanyi Ibulayimu kwe yalina, Katonda yamutwala atya? (b) Lwaki Yakuwa yali asobola okutwala Ibulayimu ng’omutuukirivu?
17 Pawulo yayogera ku Ibulayimu, omusajja eyalina okukkiriza eyaliwo nga Yakuwa tannaba kuwa Baisiraeri Mateeka era nga ne Kristo tannaggulawo kkubo ery’okufuna obulamu mu ggulu. (Beb. 10:19, 20) Tusoma nti: “Ibulayimu n’ezzadde lye baaweebwa ekisuubizo eky’okusikira ensi olw’obutuukirivu bwe yafuna olw’okukkiriza so si olw’amateeka.” (Bar. 4:13; Yak. 2:23, 24) Bwe kityo Katonda yatwala Ibulayimu okuba omutuukirivu.—Soma Abaruumi 4:20-22.
18 Naye ekyo kitegeeza nti mu kiseera kyonna Ibulayimu kye yamala ng’aweereza Yakuwa teyakola kibi kyonna? Nedda, obutuukirivu obw’engeri eyo Pawulo si bwe yali ayogerako. (Bar. 3:10, 23) Mu magezi ge agataliiko kkomo, Yakuwa yalaba okukkiriza okw’amaanyi Ibulayimu kwe yalina n’ebikolwa bye ebyali biraga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi. N’okusingira ddala Ibulayimu yayoleka nti yali akkiririza mu ‘zzadde’ eryasuubizibwa eryandiyitidde mu lunyiriri lwe. Oluvannyuma kyeyoleka lwatu nti Ezzadde eryo ye yali Masiya, oba Kristo. (Lub. 15:6; 22:15-18) Bwe kityo, ng’asinziira ku ‘kinunulo Kristo Yesu kye yasasula,’ Omulamuzi w’ensi yonna yali asobola okusonyiwa ebibi ebyakolebwa mu biseera eby’edda. N’olwekyo, Ibulayimu n’abasajja abalala abeesigwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo bajja kuzuukizibwa.—Soma Abaruumi 3:24, 25; Zab. 32:1, 2.
Ne Leero Osobola Okuyitibwa Omutuukirivu
19. Lwaki engeri Katonda gye yatwalamu Ibulayimu ezzaamu nnyo bangi amaanyi leero?
19 Okuba nti Katonda ow’okwagala yatwala Ibulayimu okuba omutuukirivu kizzaamu nnyo amaanyi Abakristaayo ab’amazima abaliwo leero. Yakuwa teyamutwala kuba mutuukirivu mu ngeri y’emu nga bw’atwala abo b’afukako amafuta okuba ‘abasika awamu ne Kristo.’ Abaafukibwako amafuta “abaayitibwa okubeera abatukuvu” bo batwalibwa okuba ‘abaana ba Katonda.’ (Bar. 1:7; 8:14, 17, 33) Naye ye Ibulayimu yafuuka “mukwano gwa Yakuwa” era ekyo kyaliwo nga ssaddaaka y’ekinunulo tennaweebwayo. (Yak. 2:23; Is. 41:8) Ate kiri kitya eri Abakristaayo ab’amazima abalina essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?
20. Kiki Katonda ky’asuubira mu bantu b’atwala okuba abatuukirivu, nga Ibulayimu?
20 Bano bo tebafuna ‘kirabo eky’obutuukirivu’ nga basuubira okufuna obulamu mu ggulu okuyitira mu ‘kinunulo Kristo Yesu kye yasasula.’ (Bar. 3:24; 5:15, 17) Wadde kiri kityo, balina okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda ne mu kinunulo, era booleka okukkiriza kwabwe nga bakola ebikolwa ebirungi. Ekimu ku bikolwa ebyo kwe ‘kubuulira ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda n’okuyigiriza ebintu ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo.’ (Bik. 28:31) Bwe kityo, Yakuwa asobola okubatwala okuba abatuukirivu mu ngeri y’emu nga bwe yatwala Ibulayimu okuba omutuukirivu. Ekirabo kye bafuna—okuba mikwano gya Katonda—kyawukana ku ‘kirabo’ abaafukibwako amafuta kye bafuna. Ekirabo kino bakitwala nga kya muwendo nnyo.
21. Tuganyulwa tutya mu kwagala kwa Katonda n’obwenkanya bwe?
21 Bw’oba ng’olina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi, osaanidde okukijjukira nti obulamu obwo si muntu buntu y’abusuubizza. Essuubi ly’obulamu obutaggwaawo lyesigamiziddwa ku kigendererwa ky’Omufuzi w’Obutonde Bwonna ow’amagezi. Yakuwa azze akola ebintu ebitali bimu okusobola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira. Ebintu ebyo abikoze mu ngeri ey’obwenkanya. Ate era ebyo Katonda by’akoze byoleka okwagala kwe okw’ekitalo. N’olwekyo, Pawulo yali asobola okugamba nti: “Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiiririra.”—Bar. 5:8.
[Obugambo obuli wansi]
a Ng’ekyokulabirako, endowooza eyo ekwata ku bazzukulu oba abaana yawandiikibwako mu Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 736, akatundu 4 ne 5.
Ojjukira?
• Kiki bazzukulu ba Adamu kye baasikira, era biki ebyavaamu?
• Ekinunulo ekituukirawo kyaweebwayo kitya, era mu ngeri ki gye kyali kituukirawo?
• Ekirabo eky’okuyitibwa abatuukirivu kikuwa ssuubi ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Omusajja eyali atuukiridde Adamu yayonoona. Omusajja eyali atuukiridde Yesu yawaayo “ekinunulo ekituukirawo”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Amawulire amalungi —Okuyitira mu Yesu tusobola okuyitibwa abatuukirivu