Abebbulaniya
2 Eyo ye nsonga lwaki kitwetaagisa okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira,+ tuleme kuwaba kuva mu kukkiriza.+ 2 Bwe kiba nti ekigambo ekyayogerwa okuyitira mu bamalayika+ kyakakasibwa nti tekikyukakyuka, era okwonoona kwonna n’ebikolwa eby’obujeemu ne biweebwa ekibonerezo ekigwanira,+ 3 tunaawonawo tutya bwe tuba nga tulagajjalidde obulokozi obukulu bwe butyo?+ Mukama waffe ye yasooka okubwogerako+ era abo abaamuwulira be baabutukakasa, 4 era ne Katonda naye yabuwaako obujulirwa ng’akozesa obubonero, ebyamagero, n’ebikolwa eby’amanyi ebitali bimu,+ era ng’agaba ebirabo eby’omwoyo omutukuvu nga bwe yayagala.+
5 Bamalayika si be yawa okufuga ensi gye twogerako egenda okujja.+ 6 Naye omujulirwa omu yagamba nti: “Omuntu kye ki, ggwe okumulowoozaako, oba omwana w’omuntu kye ki, ggwe okumufaako?+ 7 Wamukola ng’abulako katono okuba nga bamalayika; wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo, era wamuwa obuyinza ku mirimu gy’emikono gyo. 8 Wateeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”+ Mu kuteeka ebintu byonna wansi w’obuyinza bwe,+ Katonda talina kintu kyonna ky’atassa wansi wa buyinza bwe.+ Wadde nga kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi w’obuyinza bwe.+ 9 Naye tulaba Yesu, eyafuulibwa owa wansiko katono ku bamalayika,+ nga kati atikkiddwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo olw’okuba yafa.+ Yafa asobole okulega ku kufa ku lwa buli muntu+ olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso.
10 Ebintu byonna biriwo ku lw’ekitiibwa kya Katonda era biriwo okuyitira mu ye. N’olwekyo, okusobola okuleeta abaana abangi mu kitiibwa,+ yali agwanidde okufuula Omubaka Omukulu ow’obulokozi bwabwe+ okuba atuukiridde okuyitira mu kubonaabona.+ 11 Kubanga oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa+ bava mu muntu omu,+ era olw’ensonga eyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be+ 12 ng’agamba nti: “Nja kulangirira erinnya lyo eri baganda bange; nja kukutendereza n’oluyimba wakati mu kibiina.”+ 13 Era nti: “Nja kumwesiga.”+ Era nti: “Laba! Nze n’abaana Yakuwa* be yampa.”+
14 N’olwekyo, okuva “abaana” bwe bali ab’omusaayi n’omubiri, naye kennyini yafuuka wa musaayi na mubiri,+ okuyitira mu kufa kwe asobole okuzikiriza oyo alina obusobozi obw’okuleetawo okufa,+ nga ye Mulyolyomi;+ 15 era asobole okusumulula abo bonna abaali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw’okutya okufa.+ 16 Kubanga bamalayika si b’ayamba, wabula ayamba zzadde lya Ibulayimu.+ 17 Bwe kityo yalina okufuuka nga “baganda” be mu byonna,+ alyoke afuuke kabona asinga obukulu, omusaasizi era omwesigwa mu kuweereza Katonda, asobole okuwaayo ssaddaaka etangirira ebibi by’abantu+ era ebatabaganya ne Katonda.+ 18 Olw’okuba ye kennyini yabonaabona ng’agezesebwa,+ asobola okuyamba abo abagezesebwa.+