Lwakubiri, Noovemba 19
Omwana tayinza kukola kintu kyonna ku bubwe, wabula ebyo by’alaba Kitaawe ng’akola.—Yok. 5:19.
Yesu yali yeetunuulira mu ngeri entuufu era yali mwetoowaze. Bwe yali nga tannajja ku nsi, yakola ebintu bingi eby’ekitalo ng’aweereza Yakuwa. Okuyitira mu Yesu, “ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi.” (Bak. 1:16) Yesu bwe yamala okubatizibwa, kirabika yajjukira ebintu byonna bye yali yakolera awamu ne Kitaawe. (Mat. 3:16; Yok. 17:5) Naye ekyo tekyamuleetera kufuna malala. Talina muntu yenna gwe yeegulumirizaako. Yagamba abayigirizwa be nti yajja ku nsi “okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Mat. 20:28) Ate era yagamba nti yali tayinza kukola kintu kyonna ku bubwe. Nga Yesu yayoleka obwetoowaze obw’ekitalo! Mazima ddala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. w22.05 24 ¶13
Lwakusatu, Noovemba 20
Komawo eri Yakuwa.—Is. 55:7.
Yakuwa bw’aba ng’asalawo obanga anaasonyiwa omuntu, asinziirako ku kuba nti omuntu oyo yali amanyi nti ekintu ky’akola kibi oba nedda. Ekyo Yesu yakiraga bulungi mu Lukka 12:47, 48. Omuntu akola ekibi mu bugenderevu ng’amanyi nti ekintu ky’akola kinyiiza Yakuwa, aba akoze ekibi eky’amaanyi era ayinza obutasonyiyibwa. (Mak. 3:29; Yok. 9:41) Bwe kiba bwe kityo, waliwo essuubi lyonna nti Yakuwa asobola okusonyiwa omuntu ng’oyo? Yee. Yakuwa era asinziira ku kuba nti omwonoonyi yeenenyezza mu bwesimbu. Okwenenya kitegeeza “okukyusa endowooza n’ekiruubirirwa.” Ate era omuntu aba yeenenyezza awulira bubi olw’ekibi ky’aba akoze oba olw’okulemererwa okukola ekituufu. Omuntu ng’oyo takoma ku kuwulira bubi olw’ekibi kye yakola, naye era awulira bubi olw’okuleka enkolagana ye ne Yakuwa okuddirira ne kimuviirako okukola ekibi ekyo. w22.06 5-6 ¶15-17
Lwakuna, Noovemba 21
Abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.—2 Tim. 3:12.
Abalabe baffe oluusi bakozesa emikutu gy’empuliziganya okusaasaanya eby’obulimba ku b’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. (Zab. 31:13) Ab’oluganda abamu bakwatibwa era ne bavunaanibwa ng’abamenyi b’amateeka. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayolekagana n’embeera y’emu, omutume Pawulo bwe yayogerwako eby’obulimba era n’akwatibwa. Abamu baayabulira omutume Pawulo bwe yali ng’asibiddwa mu Rooma. (2 Tim. 1:8, 15; 2:8, 9) Lowooza ku ngeri Pawulo gye yawuliramu. Yali ayise mu bizibu bingi, era ng’atadde n’obulamu bwe mu kabi ku lwabwe. (Bik. 20:18-21; 2 Kol. 1:8) Ka tuleme kuba ng’abo abaayabulira Pawulo. Tekisaanidde kutwewuunyisa nti Sitaani alumba ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina. Ayagala ab’oluganda abo balekera awo okuba abeesigwa eri Yakuwa, era naffe ayagala tutye. (1 Peet. 5:8) Weeyongere okuwagira baganda bo era n’okubanywererako.—2 Tim. 1:16-18. w22.11 16-17 ¶8-11