EKITUNDU EKY’OKUSOMA 22
Amagezi Amalungi Agatuyamba mu Bulamu
“Yakuwa y’awa amagezi.”—NGE. 2:6.
OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa
OMULAMWAa
1. Lwaki ffenna twetaaga amagezi agava eri Katonda? (Engero 4:7)
BW’OBA nga wali obaddeko n’ekintu ekikulu kye walina okusalawo, awatali kubuusabuusa oteekwa okuba nga wasaba Katonda akuwe amagezi, kubanga wali okimanyi nti ogeetaaga. (Yak. 1:5) Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Amagezi kye kintu ekisinga obukulu.” (Soma Engero 4:7.) Kya lwatu nti Sulemaani yali tayogera ku magezi ag’engeri yonna. Yali ayogera ku magezi agava eri Yakuwa Katonda. (Nge. 2:6) Naye amagezi agava eri Katonda gasobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo leero? Yee gasobola, nga bwe tugenda okulaba mu kitundu kino.
2. Engeri emu gye tuyinza okufunamu amagezi y’eruwa?
2 Engeri emu gye tuyinza okufunamu amagezi kwe kusoma n’okukolera ku byo abasajja babiri abaali abagezi ennyo bye baayigiriza. Tugenda kusooka twekenneenye amagezi Sulemaani ge yawa. Bayibuli egamba nti: “Katonda yawa Sulemaani amagezi mayitirivu n’okutegeera kungi.” (1 Bassek. 4:29) Oluvannyuma tujja kwekenneenya amagezi Yesu ge yawa, era nga mu bantu bonna abaali babadde ku nsi Yesu y’akyasinzeeyo okuba n’amagezi amangi. (Mat. 12:42) Yesu yayogerwako bw’ati mu bunnabbi: “Omwoyo gwa Yakuwa gulimubeerako, omwoyo gw’amagezi era ogw’okutegeera.”—Is. 11:2.
3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Olw’okuba Katonda yawa Sulemaani ne Yesu amagezi mangi nnyo, bombi baali basobola okuwa amagezi agakwata ku bintu ebikulu ennyo gye tuli. Mu kitundu kino tugenda kulabayo amagezi ge baawa ku bintu bya mirundi esatu: Okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente, ku mirimu gye tukola okweyimirizaawo, n’okwetunuulira mu ngeri entuufu.
BA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU SSENTE
4. Embeera ya Sulemaani yali eyawukana etya ku ya Yesu?
4 Sulemaani yali mugagga nnyo, era yalina amaka amalungi ennyo agaalimu buli kimu. (1 Bassek. 10:7, 14, 15) Ku luuyi olulala, Yesu yalina ebintu bitono era teyalina nnyumba yiye ku bubwe. (Mat. 8:20) Wadde kiri kityo, abasajja abo bombi baalina endowooza entuufu ku by’obugagga, kubanga amagezi ge baalina Yakuwa Katonda ye yagabawa.
5. Ndowooza ki entuufu Sulemaani gye yalina ku ssente?
5 Sulemaani yagamba nti ssente kintu kya “bukuumi.” (Mub. 7:12) Bwe tuba ne ssente tusobola okugula ebintu bye twetaaga mu bulamu, oboolyawo ne bye twagala. Kyokka, wadde nga Sulemaani yali mugagga nnyo, yakiraba nti waliwo ebintu ebikulu ennyo okusinga ssente. Ng’ekyokulabirako, yagamba nti: “Okulondawo erinnya eddungi kisinga okulondawo eby’obugagga ebingi.” (Nge. 22:1) Ate era Sulemaani yakiraba nti abantu abaagala ennyo ssente tebatera kuba bamativu ne bye balina. (Mub. 5:10, 12) Era yalaga nti kya kabi okussa obwesige bwaffe mu ssente, kubanga omuntu ne bw’aba ne ssente ezenkana wa, zisobola okuggwaawo mu bwangu.—Nge. 23:4, 5.
6. Ndowooza ki etagudde lubege Yesu gye yalina ku bintu? (Matayo 6:31-33)
6 Yesu yalina endowooza etagudde lubege ku bintu. Yalyanga, yanywanga, era ebintu eyo byamuleetera essanyu. (Luk. 19:2, 6, 7) Lumu yakola n’omwenge omulungi ennyo, era ng’ekyo kye kyamagero kye yasooka okukola. (Yok. 2:10, 11) Ate ku lunaku lwe yafa, yali ayambadde ekyambalo eky’ebbeeyi. (Yok. 19:23, 24) Naye ebintu yali tabitwala nti bye bisinga obukulu mu bulamu. Yagamba abagoberezi be nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri . . . Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba byabugagga.” (Mat. 6:24) Yesu yagamba nti singa tukulembeza Obwakabaka, Yakuwa ajja kutuwa bye twetaaga.—Soma Matayo 6:31-33.
7. Ow’oluganda omu aganyuddwa atya mu kuba n’endowooza etagudde lubege ku ssente?
7 Bakkiriza bannaffe bangi baganyuddwa mu kukolera ku magezi Yakuwa g’atuwa agakwata ku ngeri gye tusaanidde okutwalamu ssente. Lowooza ku w’oluganda ali obwannamunigina ayitibwa Daniel. Agamba nti: “Bwe nnali mu myaka egy’obutiini, nnasalawo okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwange.” Olw’okuba Daniel teyeemalidde ku kunoonya bya bugagga, asobodde okukozesa ebiseera bye n’obumanyirivu bw’alina okukola ebintu ebitali bimu mu buweereza bwe eri Yakuwa. Agamba nti: “Ekituufu kiri nti, ekyo kye nnasalawo sikyejjusangako. Singa nnali nsazeewo kukulembeza kunoonya ssente, nnandibadde nfuna ssente nnyingi nnyo. Naye ssente tezandinsobozesezza kufuna mikwano emirungi ennyo gye nnina. Era sandifunye ssanyu lingi lye nnina olw’okukulembeza Obwakabaka. Ne bwe nnandibadde ne ssente ezenkana wa, tezandisobodde kumpa ssanyu lye nfunye olw’emikisa Yakuwa gy’ampadde.” Mazima ddala tuganyulwa nnyo bwe tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu kifo ky’okukulembeza ssente.
BA N’ENDOWOOZA ETAGUDDE LUBEGE KU MULIMU GW’OKOLA OKWEYIMIRIZAAWO
8. Tumanya tutya nti Sulemaani yalina endowooza etagudde lubege ku mirimu? (Omubuulizi 5:18, 19)
8 Sulemaani yakiraga nti emirimu gye tukola gisobola okutuleetera essanyu, era essanyu eryo yaliyita “kirabo ekiva eri Katonda.” (Soma Omubuulizi 5:18, 19.) Yagamba nti: “Kya muganyulo okukola omulimu gwonna ogw’amaanyi.” (Nge. 14:23) Ekyo Sulemaani yali akimanyi nti kituufu, kubanga naye kennyini yali mukozi munyiikivu! Yazimba amayumba, yasimba ennimiro z’emizabbibu, ennimiro z’ebimuli, era yakola ebidiba. Ate era yazimba n’ebibuga. (1 Bassek. 9:19; Mub. 2:4-6) Ekyo kiraga nti yakolanga n’obunyiikivu, era awatali kubuusabuusa yafuna essanyu lingi. Naye Sulemaani yali akimanyi nti okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, yalina okukola ekisingawo ku ekyo. Yalina okwenyigira ne mu bintu eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, yalabirira omulimu gw’okuzimba yeekaalu ya Yakuwa eyali ennungi ennyo, era ng’omulimu ogwo gwatwala emyaka musanvu! (1 Bassek. 6:38; 9:1) Oluvannyuma lwa Sulemaani okukola ebintu ebitali bimu, yakiraba nti ekintu ekisinga obukulu omuntu ky’asobola okukola kwe kuweereza Yakuwa. Yagamba nti: “Ng’ebintu byonna bimaze okuwulirwa, eky’enkomerero kye kino: Tyanga Katonda ow’amazima era okwatenga ebiragiro bye.”—Mub. 12:13.
9. Yesu yakiraga atya nti okukola omulimu gw’okweyimirizaawo si kye kintu ekyali kisinga obukulu gy’ali?
9 Yesu naye yali mukozi munyiikivu. Bwe yali omuto, yakolanga omulimu gw’okubajja. (Mak. 6:3) Bazadde be bateekwa okuba nga baasima nnyo emirimu gye yakolanga ng’abayambako okufuna ebyetaago by’ab’omu maka gaabwe agaali amanene. Olw’okuba Yesu yali atuukiridde, ebintu bye yabajjanga abantu bateekwa okuba nga baali babyagala nnyo! Yesu ateekwa okuba nga yanyumirwanga nnyo omulimu gw’okubajja. Kyokka, wadde nga Yesu yakolanga n’obunyiikivu, yafissangawo ebiseera okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. (Yok. 7:15) Oluvannyuma bwe yali ng’akola omulimu gw’okubuulira ekiseera kyonna, yagamba abaali bamuwuliriza nti: “Temukolerera mmere eggwaawo, wabula mukolerere emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:27) Ate bwe yali abuulira ku Lusozi, yagamba nti “Mweterekere eby’obugagga mu ggulu.”—Mat. 6:20.
10. Bwe tuba abakozi abalungi, buzibu ki obuyinza kubaawo?
10 Bwe tukolera ku magezi Yakuwa g’atuwa, kituyamba okuba n’endowooza etagudde lubege ku mirimu gye tukola okweyimirizaawo. Abakristaayo tukubirizibwa okukola emirimu n’obunyiikivu. (Bef. 4:28) Emirundi mingi abo ababa batukozesa bakiraba nti tuli beesigwa era nti tuli bakozi banyiikivu, era bayinza n’okutugamba nti basiima nnyo engeri gye tukolamu emirimu. Olw’okuba tuba twagala abo abatukozesa okweyongera okuba n’ekifaananyi ekirungi ku Bajulirwa ba Yakuwa, tuyinza okutandika okumala obudde bungi ku mulimu. Kyokka ekyo kiyinza okutuviirako okutandika okulagajjalira ebintu eby’omwoyo n’obuvunaanyizibwa bwaffe mu maka. N’olwekyo, tuba tulina okufuba okulaba nti tuba n’ebiseera okwenyigira mu bintu ebisinga obukulu.
11. Kiki ow’oluganda omu kye yayiga ekikwata ku kuba n’endowooza etagudde lubege ku mirimu gye tukola?
11 Ow’oluganda ayitibwa William akyali omuvubuka, yalaba obukulu bw’okuba n’endowooza entuufu ku mirimu gye tukola okweyimirizaawo. Ayogera bw’ati ku w’oluganda omu aweereza ng’omukadde gwe yalinga akolera: “Endowooza ow’oluganda ono gy’alina ku mulimu gw’akola okweyimirizaawo kyakulabirako kirungi nnyo. Akola n’obunyiikivu, era bakasitoma be bamwagala nnyo olw’okuba emirimu gye agikola bulungi. Kyokka ekiseera ky’okunnyuka bwe kituuka, alekera awo okukola era ebiseera bye ebisigadde abikozesa okubeerako awamu n’ab’omu maka ge n’okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Mu butuufu ow’oluganda oyo musanyufu nnyo!”b
WEETUNUULIRE MU NGERI ENTUUFU
12. Sulemaani yakiraga atya nti yali yeetunuulira mu ngeri entuufu, naye yakyuka atya?
12 Sulemaani bwe yali akyaweereza Yakuwa n’obwesigwa, yali yeetunuulira mu ngeri entuufu. Bwe yali akyali muvubuka, yali akimanyi nti waaliwo ebintu bye yali tasobola kukola mu busobozi bwe era yasaba Yakuwa amuwe obulagirizi. (1 Bassek. 3:7-9) Ate era mu myaka egyasooka egy’obufuzi bwe, Sulemaani yali amanyi akabi akali mu kuba ow’amalala. Yagamba nti: “Amalala gaviirako omuntu okugwa, era okwegulumiza kuviirako omuntu okwesittala.” (Nge. 16:18) Eky’ennaku, Sulemaani yalemererwa okukolera ku bigambo bye ebyo. Ekiseera kyatuuka n’afuna amalala era n’atandika okujeemera amateeka ga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, erimu ku mateeka ago lyali ligamba nti kabaka Omwebbulaniya “tawasanga bakazi bangi, omutima gwe guleme okukyuka.” (Ma. 17:17) Sulemaani yajeemera etteeka eryo n’awasa abakazi 700 n’abazaana 300, era nga bangi ku bo baali tebasinza Yakuwa! (1 Bassek. 11:1-3) Oboolyawo Sulemaani yalowooza nti tewali buzibu bwonna bwandivudde mu kumenya tteeka eryo. Ka kibe ki kye yalowooza, yayolekagana n’ebintu ebibi ebyava mu kujeemera Yakuwa.—1 Bassek. 11:9-13.
13. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako Yesu kye yatuteerawo eky’okuba omwetoowaze?
13 Yesu yali yeetunuulira mu ngeri entuufu era yali mwetoowaze. Bwe yali nga tannajja ku nsi, yakola ebintu bingi eby’ekitalo ng’aweereza Yakuwa. Okuyitira mu Yesu, “ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi.” (Bak. 1:16) Yesu bwe yamala okubatizibwa, kirabika yajjukira ebintu byonna bye yali yakolera awamu ne Kitaawe. (Mat. 3:16; Yok. 17:5) Naye ekyo tekyamuleetera kufuna malala. Talina muntu yenna gwe yeegulumirizaako. Yagamba abayigirizwa be nti yajja ku nsi “okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Mat. 20:28) Ate era yagamba nti yali tayinza kukola kintu kyonna ku bubwe. (Yok. 5:19) Nga Yesu yayoleka obwetoowaze obw’ekitalo! Mazima ddala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo.
14. Kiki Yesu kye yatuyigiriza ku ngeri gye tusaanidde okwetwalamu?
14 Yesu yayigiriza abagoberezi be okwetunuulira mu ngeri entuufu. Lumu yabagamba nti: “Omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa.” (Mat. 10:30) Ebigambo ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi nnaddala singa tutera okwenyooma. Biraga nti Kitaffe ow’omu ggulu atutwala nti tuli ba muwendo nnyo. Tetwagala kubuusabuusa ngeri Yakuwa gy’atutwalamu, nga tulowooza nti tetugwanidde kuba baweereza be oba okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.
15. (a) Omunaala gw’Omukuumi gwalaga nti tusaanidde kwetunuulira tutya? (b) Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi ku lupapula 24, bwe twemalirako ebirowoozo mikisa ki gye tufiirwa?
15 Emyaka 15 emabega, Omunaala gw’Omukuumi gwalaga endowooza gye tusaanidde okuba nayo. Gwagamba nti: “Kyo kituufu nti, tetwandyagadde kwetwala nti tuli ba waggulu nnyo ne tutuuka n’okufuna amalala; ate era tetwandyagadde kwenyooma kiyitiridde ne tutuuka n’okulowooza nti tetuli ba mugaso. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukimanya nti waliwo ebintu bye tukola obulungi ne bye tutakola bulungi. Omukyala omu Omukristaayo yayogera bw’ati ku nsonga eno: ‘Si nze asingayo obubi, ate era si nze asingayo obulungi. Nnina ebintu bye nkola obulungi ne bye sikola bulungi, era bwe kityo bwe kiri eri buli muntu.’”c Mazima ddala kikulu nnyo okwetunuulira mu ngeri entuufu.
16. Lwaki Yakuwa atuwa obulagirizi obulungi?
16 Yakuwa atuwa obulagirizi obulungi okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli. Atwagala nnyo era ayagala tube basanyufu. (Is. 48:17, 18) Kya magezi okukulembeza Yakuwa by’ayagala, era kye kisingayo okuleeta essanyu. Bwe tukulembeza Yakuwa by’ayagala, tuwona ebizibu ebifunibwa abo abeemalira ku kunoonya ssente, abeemalira ku mirimu gye bakola, oba abamalira ebirowoozo ku ekyo kye bali. Ka ffenna tumalirire okuba ab’amagezi tusanyuse omutima gwa Yakuwa!—Nge. 23:15.
OLUYIMBA 94 Tusiima Ekigambo kya Katonda
a Sulemaani ne Yesu baalina amagezi mangi nnyo. Yakuwa Katonda ye yabawa amagezi ago. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuganyulwa mu magezi Sulemaani ne Yesu ge baawa agakwata ku ndowooza gye tusaanidde okuba nayo ku ssente, ku mirimu gye tukola okweyimirizaawo, ne ku ngeri gye tusaanidde okwetunuuliramu. Ate era tugenda kulaba engeri abamu ku bakkiriza bannaffe gye baganyuddwa mu kukolera ku magezi agali mu Bayibuli agakwata ku bintu ebyo ebisatu.
b Laba ekitundu “Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo,” mu Omunaala gw’Omukuumi Febwali 1, 2015.
c Laba ekitundu “Bayibuli Esobola Okukuyamba Okufuna Essanyu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1, 2005.
d EBIFAANANYI: John ne Tom ba luganda abavubuka era bali mu kibiina kye kimu. John amala ebiseera bingi nnyo ng’alabirira emmotoka ye. Tom akozesa emmotoka ye okuyamba abalala okwenyigira mu buweereza n’okubaawo mu nkuŋŋaana.
e EBIFAANANYI: John amala ebiseera bingi ku mulimu. Tayagala kunyiiza mukama we. N’olwekyo mukama we bw’amugamba okukola essaawa ezisukka mu ezo z’alina okunnyukirako, akkiriza. Akawungeezi ako ke kamu, Tom, aweereza ng’omuweereza mu kibiina, awerekerako ow’oluganda aweereza ng’omukadde okuzzaamu mwannyinaffe amaanyi. Emabegako Tom yannyonnyola mukama we nti ebiseera ebisinga eby’akawungeezi abikozesa kwenyigira mu bintu eby’omwoyo, n’olwekyo tasobola kukola mu biseera ng’ebyo.
f EBIFAANANYI: John yeemalirako nnyo ebirowoozo. Olw’okuba Tom akulembeza ebintu eby’omwoyo, alina emikwano mingi era ayambako mu kuddaabiriza ekizimbe omubeera enkuŋŋaana ennene.