Lukka
12 Mu kiseera ekyo, abantu nkumi na nkumi baakuŋŋaana ne batuuka n’okulinnyaganako, n’asookera ku bayigirizwa be n’abagamba nti: “Mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo, nga bwe bunnanfuusi.+ 2 Naye tewali kyakwekebwa ekitalikwekulwa, era tewali kyama ekitalimanyibwa.+ 3 N’olwekyo, ebyo bye mwogerera mu kizikiza biriwulirwa mu kitangaala, era bye mwogerera mu kaama nga muli mu bisenge, birirangirirwa waggulu ku nnyumba. 4 Ate era mbagamba mmwe mikwano gyange,+ temutya abo abatta omubiri naye ng’oluvannyuma lw’ekyo tebalina kisingawo kye bayinza kukola.+ 5 Naye ka mbalage gwe mulina okutya: Mutye Oyo amala okutta ate n’aba n’obuyinza okusuula omuntu mu Ggeyeena.*+ Mbagamba nti, mutye Oyo.+ 6 Enkazaluggya ttaano tezigula ssente bbiri ez’omuwendo omutono ennyo?* Kyokka tewali n’emu ku zo Katonda gye yeerabira.*+ 7 Naye mmwe n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa.+ Temutya; muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.+
8 “Mbagamba nti, buli anjatula mu maaso g’abantu,+ Omwana w’omuntu naye alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda.+ 9 Naye buli anneegaanira mu maaso g’abantu, Omwana w’omuntu naye alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda.+ 10 Era buli muntu ayogera obubi ku Mwana w’omuntu, alisonyiyibwa; naye avvoola omwoyo omutukuvu talisonyiyibwa.+ 11 Bwe babatwalanga mu nkiiko z’abantu* n’eri abakungu ba gavumenti n’ab’obuyinza, temweraliikiriranga ngeri gye muneewozaako oba kye munaayogera;+ 12 kubanga omwoyo omutukuvu gulibayigiriza ku ssaawa eyo yennyini ebintu bye musaanidde okwogera.”+
13 Omu ku abo abaali mu kibiina ky’abantu n’amugamba nti: “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika.” 14 N’amugamba nti: “Ani yannonda okuba omulamuzi wammwe oba oyo ow’okubagabanyizaamu ebyammwe?” 15 N’abagamba nti: “Mutunule era mwekuume okwegomba* okwa buli ngeri,+ kubanga omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.”+ 16 Awo n’abagerera olugero ng’agamba nti: “Ennimiro y’omusajja omu omugagga yabala nnyo. 17 N’atandika okulowooza mu mutima gwe nti: ‘Nnaakola ntya kati nga sirina we nkuŋŋaanyiza birime byange?’ 18 Awo n’agamba nti, ‘Nja kukola bwe nti:+ Nja kumenya amawanika gange nzimbe agasingako obunene era omwo mwe nja okukuŋŋaanyiza ebirime byange byonna eby’empeke n’ebintu byange byonna ebirungi; 19 era nja kwegamba nti: “Olina ebintu ebirungi bingi ebinaakumazaako emyaka mingi; weewummulire, olye, onywe, era osanyuke.”’ 20 Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe, mu kiro kino bagenda kukuggyako obulamu bwo. Kati olwo ani agenda okutwala ebintu by’oterese?’+ 21 Bwe kityo bwe kibeera eri omuntu eyeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.”+
22 Awo n’agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti, mulekere awo okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwammwe, nti munaalya ki, oba ebikwata ku mibiri gyammwe, nti munaayambala ki.+ 23 Kubanga obulamu bwa muwendo okusinga emmere, n’omubiri gwa muwendo okusinga eby’okwambala. 24 Mutunuulire nnamuŋŋoona: tezisiga, tezikungula, era tezirina ggwanika, kyokka Katonda aziriisa.+ Mmwe temuli ba muwendo nnyo okusinga ebinyonyi?+ 25 Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongerako wadde akatono* ku kiseera ky’obulamu bwe? 26 N’olwekyo, bwe muba nga temuyinza kukola kintu kitono ng’ekyo, lwaki mweraliikirira ebintu ebirala?+ 27 Mulowooze ku ngeri amalanga gye gakulamu: Tegakuluusana, wadde okuluka engoye; naye mbagamba nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambala ng’erimu ku go.+ 28 Bwe kiba nti bw’atyo Katonda bw’ayambaza omuddo ogw’oku ttale, ogubeerawo leero ate enkya ne gusuulibwa mu kikoomi, taasingewo nnyo okubambaza mmwe, mmwe abalina okukkiriza okutono! 29 Kale, mulekere awo okweraliikirira kye munaalya ne kye munaanywa;+ 30 kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ag’ensi bye geemaliddeko okunoonya; Kitammwe akimanyi nti ebintu ebyo mubyetaaga.+ 31 Wabula munoonyenga Obwakabaka bwe, era ebintu ebyo biribongerwako.+
32 “Temutya mmwe ekisibo ekitono,+ kubanga Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.+ 33 Mutunde ebintu byammwe mugabire abaavu.+ Mwekolere ensawo ezitakaddiwa omuteekebwa ssente, eky’obugagga eky’olubeerera mu ggulu,+ omubbi gy’atatuuka era ebiwuka gye bitayinza kukiriira. 34 Kubanga eby’obugagga byammwe gye bibeera, n’emitima gyammwe gye gibeera.
35 “Mubeere nga mwambadde era nga mweteeseteese,+ era n’ettaala zammwe muzikuume nga zaaka,+ 36 era mubeere ng’abasajja abalindirira mukama waabwe okudda+ okuva ku mbaga ey’obugole+ ne kiba nti bw’atuuka n’akonkona, amangu ago bamuggulirawo. 37 Balina essanyu abaddu abo mukama waabwe b’asanga nga batunula! Mazima mbagamba nti, ajja kwambala ebyambalo eby’okuweererezaamu, abatuuze ku mmeeza, abaweereze. 38 Era bw’atuuka mu kisisimuka eky’okubiri,* wadde eky’okusatu* n’abasanga nga batunula, abaddu abo baba n’essanyu! 39 Naye mumanye kino nti, singa nnyini nnyumba yali amanyi ekiseera* omubbi kye yandijjiddemu, teyandiganyizza nnyumba ye kumenyebwa.+ 40 Kale nammwe mubeere beetegefu, kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera* kye mutamusuubiriramu.”+
41 Awo Peetero n’amugamba nti: “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe oba olugeredde bonna?” 42 Mukama waffe n’agamba nti: “Ddala omuwanika* omwesigwa era ow’amagezi y’ani, mukama we gw’alisigira abaweereza be okubawanga emmere ebamala mu kiseera ekituufu?+ 43 Omuddu oyo aba musanyufu mukama we bw’ajja n’amusanga ng’akola bw’atyo! 44 Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna. 45 Naye singa omuddu oyo agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange aluddewo okujja,’ n’atandika okukuba abaddu n’abazaana, era n’okulya, n’okunywa, n’okutamiira,+ 46 mukama w’omuddu oyo alijjira ku lunaku lw’atamusuubirirako ne mu ssaawa gy’atamanyi, era alimubonereza nnyo era n’amuteeka wamu n’abo abatali beesigwa. 47 Omuddu oyo eyategeera mukama we ky’ayagala naye n’ateeteekateeka oba n’atakola nga mukama we bwe yamulagira,* alikubibwa emiggo mingi.+ 48 Naye oyo ataategeera kyokka n’akola ebintu ebimugwanyiza okukubibwa emiggo, alikubibwa mitono. Mazima ddala oyo yenna eyaweebwa ebingi, alisabibwa bingi, era oyo eyakwasibwa ebingi, alisabibwa ebisingawo.+
49 “Nnajja kukoleeza muliro ku nsi; bwe guba nga gumaze okukoleera, kiki ekirala kye mba nkyayagala? 50 Mazima ddala waliwo okubatizibwa kwe ŋŋenda okubatizibwa, era nga nnina ennaku ya maanyi okutuusa lwe kuliggwa!+ 51 Mulowooza nnajja kuleeta mirembe ku nsi? Nedda; mazima mbagamba nti sajja kuleeta mirembe wabula enjawukana.+ 52 Okuva leero abantu bataano mu nju emu baliba tebakwatagana; abasatu nga tebakwatagana n’ababiri, n’ababiri nga tebakwatagana n’abasatu. 53 Bano baliba tebakwatagana: taata ne mutabani we, mutabani ne taata we, maama ne muwala we, omuwala ne maama we, nnyazaala ne muka mwana, muka mwana ne nnyazaala we.”+
54 Awo n’agamba n’ekibiina ky’abantu nti: “Bwe mulaba ebire nga biva ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti, ‘Enkuba ey’amaanyi ejja,’ era bwe kityo bwe kiba. 55 Era bwe mulaba embuyaga eva mu bukiikaddyo ng’ekunta, mugamba nti, ‘Ebbugumu lijja kuba lingi,’ era bwe kityo bwe kiba. 56 Bannanfuusi mmwe, mumanyi okwekenneenya endabika y’ensi n’ey’eggulu, naye lwaki temumanyi kwekenneenya biseera bino?+ 57 Lwaki eky’obutuukirivu nakyo temukyesalirawo? 58 Ng’ekyokulabirako, ggwe n’oyo akuvunaana bwe muba mugenda ew’oyo ali mu buyinza, fuba okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme okukuwaayo eri omulamuzi, ate omulamuzi n’akuwaayo eri omuweereza w’omu kkooti, n’omuweereza w’omu kkooti n’akusuula mu kkomera.+ 59 Nkugamba nti, tolivaayo okutuusa ng’omaze okusasula ssente yo esembayo obutono.”*