Okutegeera Obulungi Yesu Asinga Dawudi ne Sulemaani Obukulu
“Laba, asinga Sulemaani ali wano.”—MAT. 12:42.
1, 2. Mu ndaba ey’obuntu, lwaki kyewuunyisa okuba nti Samwiri yalagirwa okufuka amafuta ku Dawudi afuuke kabaka?
SAMWIRI bwe yatunuulira Dawudi, yalaba omusumba akyali omuto era atasaanira kuba kabaka. Ng’oggyeko ekyo, ekibuga Besirekemu gye yali yazaalibwa kyali tekimanyiddwa nnyo, era kyayogerwako ‘ng’omuto mu nkumi za Yuda.’ (Mi. 5:2) Wadde kyali kityo, omuvubuka oyo omuto eyali ava mu kabuga akatono nnabbi Samwiri gwe yali agenda okufukako amafuta, afuuke kabaka wa Isiraeri mu kiseera eky’omu maaso.
2 Dawudi si ye mwana kitaawe, Yese, gwe yasooka okuleeta eri nnabbi Samwiri amufukeko amafuta; teyali wa kubiri oba wa kusatu. Dawudi, eyali asembayo obuto ku batabani ba Yese omunaana, teyaliiwo nga Samwiri azze okufuka amafuta ku omu ku batabani b’omusajja oyo omwesigwa, afuuke kabaka eyandizzeeko. Kyokka ye Yakuwa yali alonze Dawudi, era ekyo kye kyali ekikulu.—1 Sam. 16:1-10.
3. (a) Kiki Yakuwa ky’asinga okutwala ng’ekikulu bw’atunuulira omuntu? (b) Kiki ekyaliwo ku Dawudi bwe yafukibwako amafuta?
3 Yakuwa yali alaba ekyo Samwiri kye yali tasobola kulaba. Katonda yali amanyi omutima gwa Dawudi era yamusiima. Mu maaso ga Katonda, endabika ey’okungulu si kye kikulu, wabula ekyo omuntu ky’ali munda. (Soma 1 Samwiri 16:7.) Bwe kityo, Samwiri bwe yakimanya nti ku batabani ba Yese omusanvu tekuli n’omu Yakuwa gwe yali alonze, yasaba baleete esembayo obuto okuva ku ttale gye yali. Ebyawandiikibwa bigamba nti: ‘Bw’atyo Yese yatumya Dawudi n’ajja. Era yali mumyufu n’amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Awo Yakuwa n’agamba nti Yimuka omufukeko amafuta, kubanga ye wuuyo! Bw’atyo Samwiri yaddira ejjembe ery’amafuta n’amufukako amafuta wakati mu baganda be. Era omwoyo gwa Yakuwa gwatandika okukolera ku Dawudi okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo.’—1 Sam. 16:12, 13, NW.
Dawudi Yasonga ku Kristo
4, 5. (a) Ebimu ku bintu Dawudi ne Yesu bye bafaanaganya bye biruwa. (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yesu asinga Dawudi obukulu?
4 Okufaananako Dawudi, Yesu yazaalibwa mu Besirekemu, nga wayise emyaka nga 1,100 bukya Dawudi azaalibwa. Okusinziira ku ndaba y’abantu, Yesu yali tasaana kuba kabaka wa Isiraeri. Kyokka nga bwe kyali ku Dawudi, ye Yakuwa gwe yali alonze, era gwe yali ayagala.a (Luk. 3:22) Ne Yesu ‘omwoyo gwa Yakuwa gwamukolerako.’
5 Waliwo ebintu ebirala bingi Dawudi ne Yesu bye bafaanaganya. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yaliibwamu olukwe omuwi we ow’amagezi, Akisoferi, ne Yesu yaliibwamu olukwe omutume we Yuda Isukalyoti. (Zab. 41:9; Yok. 13:18) Dawudi ne Yesu bombi baali bafaayo nnyo ku kifo kya Yakuwa eky’okumusinzizaamu. (Zab. 27:4; 69:9; Yok. 2:17) Era Yesu yali musika wa Dawudi. Yesu bwe yali tannazaalibwa, malayika yagamba nnyina nti: “Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe.” (Luk. 1:32; Mat. 1:1) Kyokka, olw’okuba ebisuubizo byonna ebikwata ku Masiya bituukirizibwa ku Yesu, asingira wala nnyo Dawudi. Oyo asinga Dawudi obukulu era ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya eyasuubizibwa.—Yok. 7:42.
Goberera Omusumba era Kabaka
6. Mu ngeri ki Dawudi gye yali omusumba omulungi?
6 Yesu naye musumba. Omusumba omulungi omutegeerera ku ki? Omutegeerera ku kuba nti afaayo ku ndiga ze, aziriisa bulungi era azikuuma. (Zab. 23:2-4) Bwe yali omuvubuka, Dawudi yali musumba era yalabirira bulungi nnyo endiga za kitaawe. Yalaganga obuvumu ng’endiga ze ziri mu kabi era yateeka obulamu bwe mu kabi n’aziwonya okuliibwa empologoma n’eddubu.—1 Sam. 17:34, 35.
7. (a) Kiki ekyayamba Dawudi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga kabaka? (b) Yesu yalaga atya nti ye Musumba Omulungi?
7 Dawudi bye yayiga mu kiseera kye yamala ku ttale ne mu nsozi ng’alunda endiga byamuyamba okusobola okutuukiriza omulimu omuzibu ogw’okulunda eggwanga lya Isiraeri.b (Zab. 78:70, 71) Yesu naye akiraze nti musumba mulungi. Afuna amaanyi n’obulagirizi okuva eri Yakuwa ng’alunda “ekisibo ekitono” ‘n’endiga endala.’ (Luk. 12:32; Yok. 10:16) N’olwekyo, Yesu ye Musumba Omulungi. Amanyi bulungi endiga ze era buli emu agimanyi erinnya. Olw’okuba endiga ze azaagala nnyo, yawaayo obulamu bwe kyeyagalire ku lw’obulungi bwazo. (Yok. 10:3, 11, 14, 15) Ng’Omusumba Omulungi, Yesu atuukiriza ekyo Dawudi kye yali tasobola kukola. Ssaddaaka y’ekinunulo kye esobozesa olulyo lw’omuntu okununulibwa okuva mu kufa. Tewali kijja kumulemesa kuwa ndiga ze ‘ez’ekisibo ekitono’ obulamu obw’omu ggulu obw’obutafa, ssaako okutuusa ‘ab’endiga endala’ mu bulamu obutaggwawo mu nsi empya etaliimu kabi konna.—Soma Yokaana 10:27-29.
Goberera Kabaka Omuwanguzi
8. Lwaki tuyinza okugamba nti Dawudi yali kabaka muwanguzi?
8 Nga kabaka, Dawudi yali mulwanyi nnamige, eyakuuma ensi y’abantu ba Katonda era ‘Yakuwa yamuwanga obuwanguzi buli gye yagendanga.’ Mu kiseera ky’obufuzi bwe, Dawudi yagaziya ensalo z’eggwanga lye okuva ku mugga gw’e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati. (2 Sam. 8:1-14) Yakuwa yamufuula omufuzi ow’amaanyi ennyo. Baibuli egamba nti: “Ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna; Mukama n’aleeta entiisa ye ku mawanga gonna.”—1 Byom. 14:17.
9. Mu ngeri ki Yesu eyalondebwa okuba Kabaka gye yali omuwanguzi?
9 Okufaananako Kabaka Dawudi, Yesu yali muvumu nnyo. Nga Kabaka eyali alondeddwa, Yesu yalaga nti alina obuyinza ku dayimooni n’awonya abo be zaali zibonyaabonya. (Mak. 5:2, 6-13; Luk. 4:36) N’omulabe lukulwe, Setaani Omulyolyomi, talina buyinza ku Yesu. Olw’okuba awagirwa Yakuwa, Yesu yawangula ensi eno eri mu buyinza bwa Setaani.—Yok. 14:30; 16:33; 1 Yok. 5:19.
10, 11. Yesu alina buvunaanyizibwa ki nga Kabaka era Omulwanyi?
10 Nga wayise emyaka nga 60 oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, omutume Yokaana yafuna okwolesebwa n’alaba Yesu mu kifo Kye nga Kabaka era Omulwanyi. Yokaana yagamba nti: “Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n’oyo atuddeko ng’alina omutego; n’aweebwa engule: n’agenda ng’awangula, era awangule.” (Kub. 6:2) Eyali yeebagadde embalaasi enjeru ye Yesu. ‘Yaweebwa engule’ mu 1914 bwe yatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka mu ggulu. Ekyo bwe kyaggwa, “n’agenda ng’awangula.” Yee, okufaananako Dawudi, Yesu ye kabaka omuwanguzi. Amangu ddala nga yaakatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, yalwanyisa Setaani ne bamalayika be n’abawangula, era n’abasuula ku nsi. (Kub. 12:7-9) Ajja kugenda mu maaso okutuusa ‘lw’alimaliriza okuwangula kwe’ bw’alizikiriza enteekateeka ya Setaani eno embi.—Soma Okubikkulirwa 19:11, 19-21.
11 Okufaananako Dawudi, Yesu Kabaka wa kisa, era ajja kukuuma ‘ab’ekibiina ekinene’ okuyita mu Kalumagedoni. (Kub. 7:9, 14) Ate era, wajja kubaawo ‘okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu’ mu bufuzi bwa Yesu ne basika banne 144,000. (Bik. 24:15) Abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi bajja kuba n’omukisa okuba abalamu emirembe gyonna. Ng’ebyo bijja kuba biseera birungi nnyo! Ka ffenna tube bamalirivu okweyongera ‘okukola obulungi’ tusobole okubeera mu nsi ejjudde abantu abatuukirivu era abasanyufu, abafugibwa oyo asinga Dawudi obukulu.—Zab. 37:27-29.
Sulemaani Yasaba Amagezi ne Gamuweebwa
12. Kiki Sulemaani kye yasaba?
12 Mutabani wa Dawudi, Sulemaani, naye yasonga ku Yesu.c Sulemaani bwe yafuuka kabaka, Yakuwa yamulabikira mu kirooto era yamugamba asabe kyonna ky’ayagala akimuwe. Sulemaani yali asobola okusaba okwogerwako obugagga, obuyinza, oba obuwangaazi. Naye mu kifo ky’ekyo, yasaba Yakuwa nti: “Mpa nno amagezi n’okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g’abantu bano: kubanga ani ayinza okusalira emisango abantu bo bano abenkanidde awo obukulu?” (2 Byom. 1:7-10) Yakuwa yaddamu okusaba kwa Sulemaani.—Soma 2 Ebyomumirembe 1:11, 12.
13. Lwaki kiyinza okugambibwa nti tewaali n’omu yali asinga Sulemaani magezi, era ani yali Ensibuko yaago?
13 Mu kiseera kyonna Sulemaani kye yamala nga mwesigwa eri Yakuwa, tewaali yamwenkanya magezi. Sulemaani yayogera “engero enkumi ssatu.” (1 Bassek. 4:30, 32, 34) Nnyingi ku zo zaawandiikibwa era zikyali za muganyulo nnyo eri abo abanoonya amagezi. Kabaka omukazi ow’e Seeba yatambula olugendo lwa mayiro nga 1,500 n’agenda agezese amagezi ga Sulemaani ng’amubuuza “ebibuuzo ebizibu.” Yawuniikirira olw’ebyo Sulemaani bye yayogera n’olw’enkulaakulana eyaliwo mu bwakabaka bwe. (1 Bassek. 10:1-9) Ng’eraga Ensibuko y’amagezi ga Sulemaani, Baibuli egamba nti: “Ensi yonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge, Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.”—1 Bassek. 10:24.
Goberera Kabaka ow’Amagezi
14. Mu ngeri ki Yesu gye yali “asinga Sulemaani”?
14 Omuntu omu yekka eyalina amagezi agasinga aga Sulemaani ye Yesu Kristo, era yeeyogerako nga “asinga Sulemaani.” (Mat. 12:42) Yesu yayogera “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:68) Ng’ekyokulabirako, Okubuulira okw’Oku Lusozi kwongera okugaziya ku misingi egimu egiri mu ngero za Sulemaani. Sulemaani yayogera ebintu bingi ebisobola okuyamba abaweereza ba Yakuwa okufuna essanyu. (Nge. 3:13; 8:32, 33; 14:21; 16:20) Yesu yakiggumiza nti essanyu erya namaddala liva mu kukola bintu ebikwatagana n’okusinza Yakuwa awamu n’okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bye. Yagamba nti: “Balina essanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” (Mat. 5:3, NW) Abo abakolera ku misingi egiri mu ebyo Yesu bye yayigiriza bafuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, “ensibuko y’obulamu.” (Zab. 36:9, NW; Nge. 22:11; Mat. 5:8) Kristo ayoleka ‘amagezi ga Katonda.’ (1 Kol. 1:24, 30) Nga Masiya era Kabaka, Yesu Kristo alina “omwoyo ogw’amagezi.”—Is. 11:2.
15. Tuyinza tutya okuganyulwa mu magezi agava eri Katonda?
15 Ng’abagoberezi b’oyo asinga Sulemaani obukulu, tuyinza tutya okuganyulwa mu magezi agava eri Katonda? Olw’okuba amagezi agava eri Yakuwa gasangibwa mu Kigambo kye, tulina okufuba okuganoonya nga tusoma Baibuli, naddala ebigambo bya Yesu, n’okufumiitiriza ku bye tusoma. (Nge. 2:1-5) Ate era, tulina okunyiikira okusaba Katonda atuwe amagezi. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti okusaba kwaffe kujja kuddibwamu. (Yak. 1:5) Omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba okufuna amagezi ag’omuwendo okuva mu Kigambo kya Katonda tusobole okwaŋŋanga ebizibu n’okukozesa obulamu bwaffe mu ngeri ey’amagezi. (Luk. 11:13) Sulemaani era yali ayitibwa ‘Omukuŋŋaanya eyayigirizanga abantu okumanya.’ (Mub. 12:9, 10, NW) Yesu, ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, naye akuŋŋaanya abantu be. (Yok. 10:16; Bak. 1:18) N’olwekyo, kiba magezi okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, tusobole ‘okuyigirizibwanga.’
16. Biki Sulemaani ne Yesu bye bafaanaganya?
16 Kabaka Sulemaani yali mukozi nnyo. Yateekateeka mu ggwanga lyonna omulimu gw’okuzimba n’okulabirira embiri, enguudo, ebibuga eby’amaterekero g’emmere, ebibuga eby’amagaali n’ebibuga eby’abasajja abeebagala embalaasi. (1 Bassek. 9:17-19) Obwakabaka bwe bwonna bwaganyulwa mu bintu bye yazimba. Yesu naye muzimbi. Yazimba ekibiina kye ku “lwazi.” (Mat. 16:18) Era ajja kulabirira omulimu gw’okuzimba ogulikolebwa mu nsi empya.—Is. 65:21, 22.
Goberera Kabaka ow’Emirembe
17. (a) Mu ngeri ki obufuzi bwa Sulemaani gye bwali obw’enjawulo? (b) Kiki Sulemaani kye yali tasobola kukola?
17 Erinnya Sulemaani liva mu kigambo ekitegeeza “emirembe.” Kabaka Sulemaani yafugiranga mu Yerusaalemi, ng’erinnya lino litegeeza “Okuba n’Emirembe okw’Emirundi Ebiri.” Mu bufuzi bwe obw’emyaka 40, eggwanga lya Isiraeri lyali mu mirembe. Baibuli eyogera bw’eti ku kiseera ekyo: “Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, emirembe gyonna egya Sulemaani.” (1 Bassek. 4:25) Wadde nga Sulemaani yalina amagezi mangi, teyasobola kununula bantu be kuva mu bulwadde, mu kibi, ne mu kufa. Kyokka oyo asinga Sulemaani obukulu ajja kubanunula mu bizibu ebyo byonna.—Soma Abaruumi 8:19-21.
18. Mu kibiina Ekikristaayo tuli mu mbeera ki?
18 Ne leero, mu kibiina Ekikristaayo mulimu emirembe, era tuli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Tulina emirembe ne Katonda era ne bantu bannaffe. Embeera eno ennungi mwe tuli leero Isaaya yagiragulako bw’ati: “Baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.” (Is. 2:3, 4) Okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda kyongera ku mirembe egiri mu lusuku lwa Katonda olwo olw’eby’omwoyo.
19, 20. Nsonga ki ezituleetera okuba abasanyufu?
19 Kyokka ebiseera by’omu maaso bijja kuba birungi n’okusingawo. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Yesu ekijja okuba eky’emirembe emyereere, abantu abawulize mpolampola bajja ‘kuweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda,’ bafuuke abantu abatuukiridde. (Bar. 8:21) Bwe balimala okuyita mu kugezesebwa okusembayo ku nkomerero y’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, ‘abawombeefu bajja kusikira ensi; era basanyukirenga mu mirembe emingi.’ (Zab. 37:11; Kub. 20:7-10) Mazima ddala, obufuzi bwa Kristo Yesu bujja kusingira wala nnyo obwa Sulemaani!
20 Abaisiraeri baalina ensonga ez’amaanyi ezibaleetera essanyu nga bakulemberwa Musa, Dawudi, ne Sulemaani, naye ffe ensonga ezituleetera essanyu mu bufuzi bwa Kristo zijja kuba zisingawo nnyo. (1 Bassek. 8:66) Tuli basanyufu nti Yakuwa yatuwa Omwana we eyazaalibwa omu yekka, oyo asinga Musa, Dawudi, ne Sulemaani obukulu!
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya Dawudi liyinza okuba litegeeza “Omwagalwa.” Yesu lwe yabatizibwa ne lwe yafuusibwa, Yakuwa yayogera okuva mu ggulu n’amuyita ‘omwana wange, gwe njagala ennyo.’—Mat. 3:17; 17:5.
b Dawudi era yali ng’omwana g’endiga ogwesiga omusumba waagwo. Yateeka obwesige bwe mu Musumba Omukulu, Yakuwa, okumukuuma n’okumuwa obulagirizi. Yagamba nti: “Yakuwa ye Musumba wange, sirina kye njula.” (Zab. 23:1, NW) Yokaana Omubatiza yayogera ku Yesu nga “Omwana gw’endiga gwa Katonda.”—Yok. 1:29.
c Ekyewuunyisa, erinnya lya Sulemaani eddala lyali Yedidiya, eritegeeza ‘Omwagalwa wa Yakuwa.’—2 Sam. 12:24, 25.
Osobola Okunnyonnyola?
• Mu ngeri ki Yesu gy’asinga Dawudi obukulu?
• Mu ngeri ki Yesu gy’asinga Sulemaani obukulu?
• Kiki ekikuleetera okusiima oyo asinga Dawudi, ne Sulemaani obukulu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Amagezi Katonda ge yawa Sulemaani gaali gasonga ku magezi g’oyo asinga Sulemaani obukulu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Obufuzi bwa Yesu bujja kusingira wala nnyo obwa Sulemaani n’obwa Dawudi!