Okutegeera Amakubo ga Yakuwa
“Ondage amakubo go, nkumanye.”—OKUVA 33:13.
1, 2. (a) Lwaki Musa yatta Omumisiri gwe yalaba ng’ayisa bubi Omwebbulaniya? (b) Okusobola okukola omulimu gwa Yakuwa, kiki Musa kye yalina okutegeera?
MUSA yali akulidde mu maka ga Falaawo era nga yayigirizibwa mu magezi g’e Misiri. Wadde kyali kityo, yakitegeera nti teyali Mumisiri. Bazadde be baali Bebbulaniya. Ng’awezezza emyaka 40, yagenda okulaba baganda be, kwe kugamba, abaana ba Isiraeri. Bwe yalaba Omumisiri ng’ayisa bubi Omwebbulaniya, Musa yawulira bubi nnyo. Yatta Omumisiri oyo. Musa yasalawo okwegatta ku bantu ba Yakuwa era n’alowooza nti Katonda yali amukozesa okununula baganda be. (Ebikolwa 7:21-25; Abaebbulaniya 11:24, 25) Ekyo Musa kye yakola bwe kyategeerwa, abakulu b’e Misiri baakitwala nti yeewagudde, ne kiba nti yalina okudduka asobole okuwonya obulamu bwe. (Okuva 2:11-15) Bwe kiba nti Katonda yali agenda kukozesa Musa, Musa yalina okutegeera obulungi amakubo ge. Naye, yandikkirizza okuyigirizibwa?—Zabbuli 25:9.
2 Emyaka 40 egyaddirira, Musa yagimala mu buwaŋŋanguse era ng’akola ng’omusumba. Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi olw’okuba baganda be Abebbulaniya tebaamusiima, Musa yakkiriza ekyo Katonda kye yaleka okumutuukako. Wadde emyaka mingi gyekulungula nga talina ky’agambiddwa, Musa yakkiriza okutendekebwa Yakuwa. Nga teyeewaana wabula ng’aluŋŋamiziddwa omwoyo gwa Katonda, Musa yawandiika: “Omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.” (Okubala 12:3) Yakuwa yakozesa Musa mu ngeri ey’ekyamagero. Singa naffe tunoonya obuwombeefu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.—Zeffaniya 2:3.
Aweebwa Omulimu
3, 4. (a) Mulimu ki Yakuwa gwe yawa Musa? (b) Biki Yakuwa bye yawa Musa ebyandimuyambye okukola omulimu ogwo?
3 Lumu, malayika wa Yakuwa yayogera ne Musa ng’ali kumpi n’Olusozi Kolebu mu ddungu ly’e Sinaayi. Yamugamba: “Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe; era nzise okubawonya mu mukono ogw’Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n’omubisi gw’enjuki.” (Okuva 3:2, 7, 8) Okusinziira ku bigambo ebyo, Katonda yalina omulimu gwe yali ayagala okuwa Musa, era Musa yalina okugukola ng’agoberera obulagirizi bwa Yakuwa.
4 Malayika wa Yakuwa yeeyongera n’amugamba: “Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo, obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri.” Kyokka, Musa teyasooka kukkiririzaawo. Yawulira nti talina bisaanyizo kukola mulimu ogwo, era ku bubwe teyandigusobodde. Naye Yakuwa yamukakasa nti: “Ndibeera wamu naawe.” (Okuva 3:10-12) Yakuwa yawa Musa amaanyi okukola ebyamagero, ekyandikakasizza nti yali atumiddwa Katonda. Ne muganda we Alooni yali wa kumuwerekerako akole ng’omwogezi we. Ate era Yakuwa yandibawadde eby’okwogera n’eby’okukola. (Okuva 4:1-17) Musa yandisobodde okutuukiriza omulimu ogwo?
5. Lwaki Abaisiraeri baawa Musa obuzibu?
5 Mu kusooka abakadde b’Abaisiraeri bakkiriza Musa ne Alooni. (Okuva 4:29-31) Kyokka, waayita mbale, ‘abakadde b’abaana ba Isiraeri’ ne batandika okunenya Musa ne muganda we nti ‘babakyayisizza’ Falaawo n’abaweereza be. (Okuva 5:19-21; 6:9) Abaisiraeri bwe baali bava e Misiri, baatya nnyo bwe baalaba ng’amaggye g’Abamisiri gabawondera. Bwe baalaba nga gye balaga eriyo Ennyanja Emmyufu, ate ng’emabega evaayo amagye g’Abamisiri, Abaisiraeri baalowooza nti ebyabwe biwedde era ne batandika okunenya Musa. Ggwe wandikoze ki mu mbeera ng’eyo? Wadde Abaisiraeri tebaalina maato, Yakuwa yalagira Musa abagambe beeteeketeeke okusomoka ennyanja. Katonda yayawulamu Ennyanja Emmyufu Abaisiraeri ne basobola okusomoka.—Okuva 14:1-22.
Ekintu Ekikulu Okusinga Okununulibwa
6. Kiki Yakuwa kye yaggumiza ng’atuma Musa?
6 Bwe yali atuma Musa, Yakuwa yaggumiza obukulu bw’erinnya lye. Kyali kikulu nnyo okuwa erinnya eryo ekitiibwa. Bwe yabuuzibwa ebikwata ku linnya lye, Yakuwa yagamba Musa nti: “Nninga bwe ndi.” Era Musa yalina okugamba abaana ba Isiraeri nti: “[Yakuwa] Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe.” Ate era Yakuwa yagattako: “Lino lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n’ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.” (Okuva 3:13-15) Na guno gujwa, abaweereza ba Katonda mu nsi yonna bamanyi nti erinnya lye ye Yakuwa.—Isaaya 12:4, 5; 43:10-12.
7. Kiki Katonda kye yagamba Musa okukola wadde nga Falaawo yali mukakanyavu?
7 Nga batuuse eri Falaawo, Musa ne Alooni baalaga nti obubaka bwabwe buvudde eri Yakuwa. N’obunyoomi obungi, Falaawo yagamba: ‘Yakuwa y’ani, ndyoke mpulire eddoboozi lye ndeke Isiraeri? Nze Yakuwa simumanyi, era sirireka Isiraeri.’ (Okuva 5:1, 2, NW) Wadde nga Falaawo yali mukakanyavu era nga mulimba, Yakuwa yakubiriza Musa okuddayo enfunda n’enfunda. (Okuva 7:14-16, 20-23; 8:1, 2, 20) Musa yakiraba nti Falaawo avudde mu mbeera. Kyandivuddemu akalungi konna okuddayo eri Falaawo? Abaisiraeri baali beesunga okununulibwa, kyokka Falaawo yali agaanyi. Singa wali Musa, wandikoze ki?
8. Miganyulo ki egyava mu ngeri Yakuwa gye yakwatamu Falaawo, era ebyaliwo bitukwatako bitya?
8 Musa yaddayo eri Falaawo n’amugamba nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Yakuwa, Katonda w’Abebbulaniya, nti Leka abantu bange bampeereze.’ Ate era Katonda yagamba: “Kaakano nandigolodde omukono gwange, nandikukubye ggwe n’abantu bo ne kawumpuli, wandizikiridde mu nsi: naye ddala kyenvudde nkuyimiriza okukulaga amaanyi gange ggwe, era erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna.” (Okuva 9:13-16) Yakuwa yayagala okulaga Falaawo eyali omukakanyavu amaanyi ge, kibe kya kuyiga eri abo bonna abandimujeemedde. Mu bano mwe muli Setaani Omulyolyomi, Yesu Kristo gwe yayogerako ‘ng’omufuzi w’ensi.’ (Yokaana 14:30; Abaruumi 9:17-24) Nga bwe kyalagulwa, erinnya lya Yakuwa lyabunyisibwa mu nsi yonna. Obugumiikiriza bwa Yakuwa bwaviirako Abaisiraeri, n’abo bonna abaabegattako mu kumusinza okuwonyezebwawo. (Okuva 9:20, 21; 12:37, 38) Okuva olwo, okubunyisa erinnya lya Yakuwa kisobozesezza abantu bukadde na bukadde okukkiriza okusinza okw’amazima.
Okukolagana n’Abantu Abazibu Ennyo
9. Abaisiraeri baalaga batya nti tebawa Yakuwa kitiibwa?
9 Abebbulaniya baali bamanyi erinnya lya Katonda. Wadde Musa yalikozesanga ng’ayogera nabo, tebaawanga Nnyini lyo kitiibwa kimugwanira. Nga Yakuwa amaze okubaggya e Misiri mu ngeri ey’ekyamagero, kiki Abaisiraeri kye baakola nga tebalina mazzi ga kunywa? Beemulugunyiza Musa. Nga wayise ekiseera baddamu okwemulugunya olw’emmere. Musa yabagamba nti baali tebeemulugunyiza ye ne Alooni wabula nti baali beemulugunyiza Yakuwa. (Okuva 15:22-24; 16:2-12) Nga bali ku Lusozi Sinaayi, Yakuwa yawa Abaisiraeri Amateeka era ne balaba n’ebintu eby’ekyewuunyo. Wadde kyali kityo, baajeema ne baakola akayana ak’okusinza nga beekwasa nti bakolera ‘Yakuwa embaga.’—Okuva 32:1-9.
10. Lwaki okusaba kwa Musa okuli mu Okuva 33:13 kwa makulu eri abakadde Abakristaayo leero?
10 Kati olwo, Musa yandikoledde ki abantu abo Yakuwa kennyini be yayogerako ng’abalina ensingo enkakanyavu? Musa yasaba Yakuwa: “Bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go.” (Okuva 33:13) Leero, ekisibo ky’Abajulirwa ba Yakuwa abakadde Abakristaayo kye balabirira, kiwombeefu nnyo okusinga eggwanga lya Isiraeri. Wadde kiri kityo, abakadde Abakristaayo nabo basaba nti: ‘Ondage amakubo go, ai Yakuwa; onjigirize empenda zo.’ (Zabbuli 25:4) Abakadde bwe bayiga amakubo ga Yakuwa kibasobozesa okukola ku nsonga mu ngeri etuukana n’Ekigambo kya Katonda awamu n’engeri ze.
Ekyo Yakuwa Kye Yeetaaza Abantu Be
11. Mateeka ki Yakuwa ge yawa Musa, era lwaki twandifuddeyo okugamanya?
11 Yakuwa yategeeza abantu be kye yali abeetaaza nga bali ku Lusozi Sinaayi. Oluvannyuma Musa yafuna amayinja abiri agaali gawandiikiddwako Amateeka Ekkumi. Musa bwe yava ku lusozi, yasanga Abaisiraeri basinza akayana aka zaabu, era olw’obusungu obungi yasuula amayinja okwali amateeka ne gamenyekamenyeka. Yakuwa yaddamu okuwandiika Amateeka Ekkumi ku mayinja Musa ge yali akoze. (Okuva 32:19; 34:1) Amateeka ago gaali ge gamu n’agasooka. Musa yalina okugondera amateeka ago. Ate era Katonda yategeeza Musa engeri ze era n’amulaga engeri gye yali alina okweyisaamu ng’amukiikirira. Wadde Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka, ebyo Yakuwa bye yagamba Musa birimu emisingi emikulu abo bonna abasinza Yakuwa gye bakyagoberera. (Abaruumi 6:14; 13:8-10) Ka tulabeyo egimu ku misingi egyo.
12. Yakuwa bwe yagamba Abaisiraeri okusinza ye yekka, kyandikutte kitya ku ngeri gye beeyisaamu?
12 Sinza Yakuwa yekka. Abaisiraeri bonna baaliwo Yakuwa bwe yagamba nti ayagala basinze ye yekka. (Okuva 20:2-5) Abaisiraeri baali balabye ebintu bingi ebikakasa nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima. (Ekyamateeka 4:33-35) Wadde ng’abamawanga baali basinza ebifaananyi, Yakuwa yakiraga bulungi nti abantu be tebaalina kusinza bifaananyi wadde okwenyigira mu by’obusamize. Okusinza kwabwe tekwali kwa kutuusa butuusa mukolo. Bonna baalina okwagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna, n’amaanyi gaabwe gonna. (Ekyamateeka 6:5, 6) Kino kyandyeyolekedde mu njogera yaabwe, mu mpisa zaabwe—era ne mu mbeera zaabwe zonna ez’obulamu. (Eby’Abaleevi 20:27; 24:15, 16; 26:1) Yesu Kristo naye yakiraga nti Yakuwa ye yekka gwe tulina okusinza.—Makko 12:28-30; Lukka 4:8.
13. Lwaki Abaisiraeri baalina okugondera Katonda, era kiki ekyanditukubirizza okumugondera? (Omubuulizi 12:13)
13 Goberera butiribiri amateeka ga Yakuwa. Abaisiraeri baali beetaaga okujjukizibwa nti, bwe baakola endagaano ne Yakuwa, beeyama okumugondera. Mu bintu bingi baalinanga eddembe okukola kye baagala, naye bwe kyatuukanga ku ebyo Yakuwa bye yabaweerako amateeka, baalinanga okugagondera. Bwe bandigagondedde kyandiraze nti baagala Katonda, era kyandibaviiriddemu emikisa wamu ne bazzukulu baabwe kubanga amateeka ga Katonda gaaliwo ku lwa bulungi bwabwe.—Okuva 19:5-8; Ekyamateeka 5:27-33; 11:22, 23.
14. Katonda yalaga atya Abaisiraeri obukulu bw’okukulembeza eby’omwoyo?
14 Kulembeza eby’omwoyo. Abaisiraeri baali tebalina kukulembeza byetaago byabwe ne balagajjalira eby’omwoyo. Okwenoonyeza ebintu si kye kyandibadde ekintu ekikulu mu bulamu bwabwe. Yakuwa yabateerawo olunaku mu wiiki lwe yatukuza, era ng’olunaku olwo baali ba kulukolerako ebyo byokka ebikwatagana n’okusinza Katonda ow’amazima. (Okuva 35:1-3; Okubala 15:32-36) Ng’oggyeko ekyo, yabateerawo ekiseera mu mwaka lwe baalinaga okugenda mu nkuŋŋaana ennene. (Eby’Abaleevi 23:4-44) Enteekateeka zino zaabasobozesanga okwogera ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo, okujjukizibwa amateeka ge, n’okumwebaza olw’obulungi bwe. Ng’abantu booleka okusiima kwabwe eri Yakuwa, bandyeyongedde okumutya n’okumwagala era ekyo kyandibayambye okutambulira mu makubo ge. (Ekyamateeka 10:12, 13) Emisingi egyali mu mateeka ago giganyula n’Abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino.—Abaebbulaniya 10:24, 25.
Okutegeera Engeri za Yakuwa
15. (a) Lwaki okutegeera engeri za Yakuwa kyali kya muganyulo eri Musa? (b) Bibuuzo ki ebiyinza okutuyamba okufumiitiriza ku ngeri za Yakuwa?
15 Okutegeera engeri za Yakuwa nakyo kyandiyambye Musa okukolagana n’abantu abo. Okuva 34:5-7 wagamba nti Yakuwa yayita mu maaso ga Musa era n’agamba: “Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi: era atalimuggyako omusango n’akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b’abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n’egya bannakana.” Fumiitiriza ku bigamba ebyo. Weebuuze: ‘Buli emu ku ngeri ezoogeddwako wano eraga ki? Yakuwa yagyoleka atya? Abakadde Abakristaayo bayinza batya okwoleka engeri eyo? Engeri eyo yandikutte etya ku nneeyisa ya buli omu?’ Ka twekenneenyeyo ezimu ku ngeri ezo.
16. Biki ebinaatuyamba okutegeera ekisa kya Katonda, era lwaki ekyo kikulu?
16 Yakuwa ye Katonda “ajjudde okusaasira era ow’ekisa.” Bw’oba olina ekitabo Insight on the Scriptures, lwaki tosoma ku ebyo bye kyogera ku “Kisa”? Oba noonyereza ku ngeri eyo ng’okozesa Watch Tower Publications Index oba Watchtower Library (CD-ROM).a Osobola n’okukozesa concordance okuzuula ebyawandiikibwa ebyogera ku kisa. Ojja kukizuula nti ng’oggyeko okuba nti asonyiwa, ekisa kya Katonda kizingiramu okufaayo ku balala. Ate era kimuleetera okubaako ky’akolawo okuyamba abantu be. Kino Katonda yakiraga bwe yawa Abaisiraeri ebyetaago byabwe eby’omubiri n’eby’omwoyo nga bagenda mu Nsi Ensuubize. (Ekyamateeka 1:30-33; 8:4) Olw’ekisa kye Yakuwa yasonyiwanga Abaisiraeri ensobi ze baakolanga. Yalaganga abaweereza be ab’edda ekisa. Kati olwo, abaweereza be ab’omu kiseera kino tebandisinzeewo nnyo okulaga bannaabwe ekisa!—Matayo 9:13; 18:21-35.
17. Okutegeera obusaasizi bwa Yakuwa kituyamba kitya okutumbula okusinza okw’amazima?
17 Ekisa kya Yakuwa kigendera wamu n’okusaasira. Bw’oba olina enkuluze, noonya amakulu g’ekigambo “obusaasizi.” Geraageranya amakulu g’ekigambo ekyo n’ebyawandiikibwa ebyogera ku Yakuwa ng’omusaasizi. Baibuli eraga nti obusaasizi bwa Yakuwa bumuleetera okufaayo ku bantu be abali mu mbeera enzibu. (Okuva 22:26, 27) K’ebe nsi ki, abagwiira awamu n’abantu abalala bayinza okwesanga mu mbeera enzibu. Ng’ayigiriza abantu be okwewala obusosoze n’okulaga abali ng’abo ekisa, Yakuwa yabajjukiza nti nabo baaliko abagwiira mu Misiri. (Ekyamateeka 24:17-22) Kiri kitya eri abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kino? Bwe tuba n’obusaasizi kituyamba okuba obumu era kisikiriza n’abalala okuweereza Yakuwa.—Ebikolwa 10:34, 35; Okubikkulirwa 7:9, 10.
18. Kiki kye tuyigira ku kuba nti Yakuwa yagaana Abaisiraeri okukoppa ab’amawanga?
18 Wadde Abaisiraeri baalina okulaga ab’amawanga ekisa, baalina okukulembeza Yakuwa n’emisingi gye. Bwe kityo, baakubirizibwa okwewala empisa z’amawanga agabaliraanye n’obulombolombo bwabwe. (Okuva 34:11-16; Ekyamateeka 7:1-4) Ekyo naffe kitukwatako leero. Tulina okuba abatukuvu kubanga ne Katonda waffe, Yakuwa, mutukuvu.—1 Peetero 1:15, 16.
19. Okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abakozi b’ebibi kikuuma kitya abantu be?
19 Okusobola okuyamba Musa okutegeera amakubo Ge, Yakuwa yakiraga bulungi nti wadde yali akyawa ekibi, alwawo okusunguwala. Agumiikiriza abantu basobole okuyiga by’abeetaagisa n’okubikolerako. Omuntu bwe yeenenya Yakuwa amusonyiwa, naye talema kubonereza abo abakoze ebibi eby’amaanyi. Yagamba Musa nti ebyo Abaisiraeri bye bandikoze byandiviiriddemu abaana ne bazzukulu baabwe emikisa oba emitawaana. Abantu ba Yakuwa bwe bategeera amakubo ge, kibayamba obutamunenya olw’ebyo ebiva mu bikolwa byabwe oba okulowooza nti alwawo okubaako ky’akolawo.
20. Kiki ekiyinza okutuyamba okukolagana obulungi ne bakkiriza bannaffe wamu n’abo be tusanga mu nnimiro? (Zabbuli 86:11)
20 Bw’oba oyagala okugaziya okumanya kwo okukwata ku Yakuwa n’amakubo ge, weeyongere okunoonyereza n’okufumiitiriza ku ebyo by’osoma mu Baibuli. Noonyereza ku ngeri za Yakuwa endala. Saba era olowooze ku ngeri gy’oyinza okukoppamu Katonda osobole okutuukanya obulamu bwo n’ebigendererwa bye. Kino kijja kukuyamba okwewala ebizibu, okukolagana obulungi ne bakkiriza banno, n’okuyamba abalala okumanya n’okwagala Katonda waffe ow’ekitalo.
[Obugambo obuli wansi]
a Byakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Kiki ky’Oyize?
• Lwaki kyali kyetaagisa Musa okuba omuwombeefu, era lwaki naffe twandibadde bawombeefu?
• Birungi ki ebyava mu kuba nti Falaawo yabuulirwa ekigambo kya Yakuwa enfunda n’enfunda?
• Egimu ku misingi emikulu Musa gye yayigirizibwa gye giruwa, era gitukwatako gitya?
• Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera obulungi engeri za Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Musa yatuusa ku Falaawo obubaka obuva eri Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Yakuwa yabuulira Musa amateeka ge
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Fumiitiriza ku ngeri za Yakuwa