Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri eky’Okubiri
BWE tukimanya nti Yakuwa ye mufuzi kitwetaagisa okumugondera mu buli kimu? Omuntu bw’abeera omwesigwa kitegeeza nti buli ky’akola kiba kituufu mu maaso ga Katonda? Muntu wa ngeri ki Katonda ow’amazima ‘gw’asiima’? (1 Samwiri 13:14) Ekitabo kya Samwiri eky’Okubiri kiwa eby’okuddamu ebimatiza ku bibuuzo ebyo.
Ekitabo kya Samwiri eky’Okubiri kyawandiikibwa Gaadi ne Nasani, bannabbi ababiri abaalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kabaka Dawudi, owa Isiraeri ey’edda.a Ekitabo kino kyaggwa okuwandiikibwa awo nga mu 1040 B.C.E., ng’obufuzi bwa Dawudi obwamala emyaka 40 bunaatera okukoma, era kyogera ku Dawudi n’enkolagana gye yalina ne Yakuwa. Kiraga engeri eggwanga eryali lyeyawuddeyawudde gye lyafuuka obwakabaka obumu nga bufugibwa kabaka omu omuzira. Kiraga enneewulira z’abantu ab’enjawulo aboolekaganye n’embeera ezitali zimu.
DAWUDI ‘YEEYONGERA OKUBA OMUKULU’
Ekyo Dawudi ky’akola ng’ategeezeddwa nti Sawulo ne Yonasaani bafudde kiraga engeri gy’abaagalamu n’engeri gy’ayagalamu Yakuwa. Ng’ali e Kebbulooni, Dawudi alondebwa okuba kabaka ow’ekika kya Yuda. Ate mutabani wa Sawulo Isubosesi alondebwa okuba kabaka w’ebika ebirala byonna ebya Isiraeri. Dawudi ‘yeeyongera okuba omukulu’ era oluvannyuma lw’emyaka nga musanvu n’ekitundu afuulibwa Kabaka wa Isiraeri yonna.—2 Samwiri 5:10.
Dawudi agoba Abayebusi mu Yerusaalemi era akifuula ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwe. Bw’agezaako okutwala essanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi omulundi ogusooka, alemererwa. Kyokka, ku mulundi ogw’okubiri agituusa bulungi era Dawudi azina olw’essanyu. Yakuwa akola naye endagaano ey’obwakabaka. N’obuyambi bwa Katonda Dawudi awangula abalabe be.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:18—Lwaki Yowaabu ne baganda be ababiri baayitibwa batabani ba Zeruyiya, nnyaabwe? Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, olunyiriri lw’obuzaale bw’omuntu lwayitiranga mu kitaawe. Kyandiba nti bba wa Zeruyiya yali yafa dda oba nga yali tasaana kwogerwako mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Ate era kiyinza n’okuba nti Zeruyiya yayogerwako kubanga yali mwannyina wa Dawudi. (1 Ebyomumirembe 2:15, 16) Kitaawe w’abalenzi bano abasatu w’ayogererwako wokka weewo awakwata ku kifo we yaziikibwa e Besirekemu.—2 Samwiri 2:32.
3:29—Ebigambo “eyeesigama ku muggo” bitegeeza ki? Abakazi be baakolanga omulimu gw’okutunga engoye. N’olw’ekyo, ebigambo ebyo kirabika bitegeeza abasajja abaali batasobola kugenda mu lutalo nga balina kukola mirimu egyakolebwanga abakazi.
5:1, 2—Oluvannyuma lw’okutemulwa kwa Isubosesi, waayitawo bbanga ki Dawudi n’afuulibwa kabaka wa Isiraeri yonna? Kirabika Isubosesi yatandika obufuzi bwe obwamala emyaka ebiri nga wayise akaseera katono oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo era mu kiseera ekyo ne Dawudi we yatandikira okufuga e Kebbulooni. Dawudi yafuga Yuda ng’ali e Kebbulooni okumala emyaka musanvu n’ekitundu. Oluvannyuma lw’okufuulibwa Kabaka wa Isiraeri yonna, yafuula Yerusaalemi ekibuga kye ekikulu. N’olwekyo, waayita emyaka ng’etaano nga Isubosesi amaze okufa, Dawudi n’afuuka kabaka wa Isiraeri yonna.—2 Samwiri 2:3, 4, 8-11; 5:4, 5.
8:2—Abamowaabu bameka abattibwa mu lutalo olwaliwo wakati waabwe n’Abaisiraeri? Kyandiba nti okumanya omuwendo gwabwe baapima bupimi so tebaababala muntu kinnoomu. Kirabika Dawudi yalagira Abamowaabu okugalamira wansi nga bali mu lunyiriri. Oluvannyuma baapima olunyiriri olwo n’omugwa. Kirabika Abamowaabu abattibwa baaweza obuwanvu bw’emigwa ebiri, oba bibiri bya kusatu, ate abo abaalekebwawo baaweza obuwanvu bw’omugwa gumu, oba kimu kya kusatu.
Bye Tuyigamu:
2:1; 5:19, 23. Dawudi yasooka kwebuuza ku Yakuwa nga tannatandika kubeera Kebbulooni era ne bwe yali nga tannalumba balabe be. Naffe tusaanidde okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga tetunnakola kusalawo kwonna okuyinza okukwata ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.
3:26-30. Ebiva mu kuwoolera eggwanga tebiba birungi.—Abaruumi 12:17-19.
3:31-34; 4:9-12. Dawudi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’obutawoolera ggwanga n’obutasiba kiruyi.
5:12. Tetwerabiranga nti Yakuwa atuyigirizza amakubo ge era n’atusobozesa okufuna enkolagana ennungi naye.
6:1-7. Wadde nga Dawudi yalina ebiruubirirwa ebirungi, bwe yagezaako okutwalira Essanduuko y’Endagaano ku ggaali ebyavaamu tebyali birungi kubanga ekyo kyali kimenya etteeka lya Katonda. (Okuva 25:13, 14; Okubala 4:15, 19; 7:7-9) Uzziya bwe yakwata ku Ssanduuko eyo nakyo kyalaga nti wadde ng’omuntu ayinza okukola ekintu ng’alina ekiruubirirwa ekirungi, ekyo tekikyusa mu ekyo Yakuwa ky’ayagala.
6:8, 9. Ng’ali mu mbeera enzibu, Dawudi yasooka kunyiiga, n’atya, oboolyawo n’anenya Yakuwa olw’ekyo ekyali kibaddewo. Tetusaanidde kunenya Yakuwa nga twolekaganye n’ebizibu ebiva mu kusuula omuguluka amateeka ge.
7:18, 22, 23, 26. Olw’okuba Dawudi yali mwetoowaze, nga yeemalidde ku Yakuwa era ng’ayagala nnyo okugulumiza erinnya lya Katonda yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okukoppa.
8:2. Obunnabbi obwali buweereddwa emyaka nga 400 emabega butuukirizibwa. (Okubala 24:17) Buli kiseera ekigambo kya Yakuwa kituukirira.
9:1, 6, 7. Dawudi yakuuma ekisuubizo kye. Naffe tuteekwa okutuukiriza buli kye tweyama.
YAKUWA ALEETERA GWE YAFUKAKO AMAFUTA EBIZIBU
Yakuwa agamba Dawudi nti: “Ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe era nditwala bakazi bo mu maaso go ne mbawa muliraanwa wo, era alisula ne bakazi bo mu maaso g’enjuba eno.” (2 Samwiri 12:11) Lwaki Dawudi aweebwa ekibonerezo ekyo? Kubanga ayenze ku Basuseba. Wadde nga Dawudi yeenenyezza era ng’asonyiyiddwa, ayolekagana n’ebizibu ebiva mu kibi ky’akoze.
Okusooka omwana Basuseba gw’azaala, afa. Oluvannyuma Amunoni akwata mwannyina Tamali, muwala wa Dawudi embeerera. Mwannyina Tamali omulala, Abusaalomu, atta Amunoni olw’okukwata mwannyina. Abusaalomu yeefuulira kitaawe era yeerangirira okuba Kabaka ng’ali e Kebbulooni. Dawudi adduka mu Yerusaalemi. Abusaalomu asula ne baka kitaawe kkumi, abaali basigadde okukuuma awaka. Dawudi akomawo mu bwakabaka bwe nga Abusaalomu attiddwa. Seeba Omubenyamini yeewaggula era kimuviiramu okufa.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
14:7—Ebigambo “eryanda lyange erisigaddewo” bitegeeza ki? Ebigambo eryanda erisigaddewo bikozesebwa okutegeeza omwana eyali asigaddewo.
19:29—Lwaki Dawudi yakola bw’atyo nga Mefibosesi amaze okumunnyonnyola? Oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo bya Mefibosesi, Dawudi ateekwa okuba nga yakitegeera nti yakola kikyamu okukkiriza ebigambo bya Ziba nga tamaze kwetegereza nsonga. (2 Samwiri 16:1-4; 19:24-28) Kirabika Dawudi yanyiiga nnyo olw’ebyo Ziba bye yamugamba era n’atuuka n’okuba nga takyayagala kuwulira kintu kyonna kikwata ku nsonga eyo.
Bye Tuyigamu:
11:2-15. Okuba nti ensobi za Dawudi zaateekebwa mu Byawandiikibwa kiraga nti Baibuli Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa.
11:16-27. Bwe tukola ekibi eky’amaanyi tetusaanidde kukibikkirira nga Dawudi bwe yakola. Mu kifo ky’ekyo, twandyenenyezza ekibi ekyo era ne tufuna n’obuyambi bw’abakadde mu kibiina.—Engero 28:13; Yakobo 5:13-16.
12:1-14. Nasani yateerawo abakadde mu kibiina ekyokulabirako ekirungi. Abakadde balina okuyamba abo ababa bakoze ensobi basobole okutereeza amakubo gaabwe. Ekyo bateekwa okukikola n’amagezi.
12:15-23. Olw’okuba yalina endowooza entuufu, Dawudi teyeemulugunya olw’ebyo ebyamutuukako.
15:12; 16:15, 21, 23. Bwe kyamulabikira nti Abusaalomu ayinza okweddiza entebe, amalala n’okwagala obukulu byaleetera Akisoferi omuwi w’amagezi nnakinku okulya mu Dawudi olukwe. Kiba kya kabi nnyo omuntu okuba n’amagezi amangi naye nga si mwetoowaze era nga si mwesigwa.
19:24, 30. Mefibosesi yasiima nnyo Dawudi olw’ekisa kye yamulaga. Yakkiriza ekyo Kabaka kye yali asazeewo. Bwe tuba tusiima Yakuwa awamu n’ekibiina tujja kuba bawulize.
20:21, 22. Omuntu omu bwe yeeyisa mu ngeri ey’amagezi kisobola okuwonya obulamu bw’abalala bangi.—Omubuulizi 9:14, 15.
KA TUGWE “MU MUKONO GWA YAKUWA”
Wabaawo enjala okumala emyaka esatu olw’omusaayi Sawulo gwe yayiwa bwe yatta Abagibyoni. (Yoswa 9:15) Olw’okwagala okuwoolera eggwanga, Abagibyoni basaba batabani ba Sawulo musanvu babatte. Dawudi abawaayo mu mikono gy’Abagibyoni era ekyeya kikoma, enkuba n’etonnya. Abafirisuuti bana “bagwa n’omukono gwa Dawudi n’abaddu be.”—2 Samwiri 21:22.
Dawudi akola ekibi eky’amaanyi bw’alagira okubala abantu, nga tebamulagidde. Yeenenya era alondawo ‘okugwa mu mukono gwa Yakuwa.’ (2 Samwiri 24:14) N’ekivaamu abantu 70,000 bafa kawumpuli. Dawudi agoberera obulagirizi bwa Yakuwa, era kawumpuli akoma.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
21:8—Lwaki kiyinza okugambibwa nti muwala wa Sawulo, Mikali, yalina abaana ab’obulenzi bataano ng’ate 2 Samwiri 6:23 walaga nti yafa talina mwana? Kyandiba nga abaana aboogerwako baali ba muganda we Merabu eyafumbirwa Aduliyeri. Kirabika Merabu bwe yafa, muganda we Mikali eyali talina mwana yakuza abaana be.
21:9, 10—Lizupa yamala bbanga ki ng’akuuma emirambo gy’abatabani be ababiri ne bazzukulu ba Sawulo abataano Abagibyoni be batta? Abaana bano bonna omusanvu battibwa ‘ng’amakunguula gakatandika’—wakati wa Maaki ne Apuli. Emirambo gyabwe gyalekebwa ku lusozi nga tegiziikiddwa. Lizupa yakuuma emirambo egyo omusanvu emisana n’ekiro okutuusa Yakuwa lwe yaggyawo ekyeya ng’alaga nti obusungu bwe busse. Kirabika enkuba ey’amaanyi yali tesobola kutonnya ng’ekiseera ky’amakungula tekinnaggwaako mu Okitobba. N’olwekyo, kirabika Lizupa yamala emyezi nga mukaaga oba etaano ng’akuuma emirambo gy’abaana abo. Era oluvannyuma lw’ekiseera ekyo Dawudi yaziika amagumba g’abaana abo.
24:1—Lwaki Dawudi bwe yabala abantu kyatwalibwa ng’ekibi eky’amaanyi? Okubala abantu ku bwakyo kyali tekigaanibwa mu Mateeka. (Okubala 1:1-3; 26:1-4) Baibuli teraga kiruubirirwa Dawudi kye yalina mu kubala abantu. Kyokka, 1 Ebyomumirembe 21:1 walaga nti Setaani ye yamukubiriza okukikola. Yowaabu omukulu w’eggye lye yali akimanyi nti Dawudi kye yali asazeewo eky’okubala abantu kikyamu era yagezaako okumugaana.
Bye Tuyigamu:
22:2-51. Ng’oluyimba lwa Dawudi lulaga bulungi nnyo nti Yakuwa, Katonda ow’amazima gwe tulina okussaamu obwesige!
23:15-17. Dawudi yali assa ekitiibwa mu mateeka ga Yakuwa agakwata ku bulamu n’omusaayi ye nsonga lwaki ku lunaku olwo yeewala okukola ekyali kirabika ng’ekimenya amateeka ago. Tuteekwa okukulaakulanya okutya okw’engeri eyo bwe kituuka ku mateeka ga Katonda.
24:10. Omuntu wa Dawudi ow’omunda yamukubiriza okwenenya. Omuntu waffe ow’omunda naye asobola okutuyamba mu ngeri ng’eyo?
24:14. Dawudi yali amanyi nti Yakuwa musaasizi okusinga abantu. Naffe tulina obwesige ng’obwo mu Yakuwa?
24:17. Dawudi yejjusa olw’okuba eggwanga lyonna lyali libonaabona ku lulwe. Omuntu aboneredde olw’ekibi ky’aba akoze asaanidde okuba ng’anakuwira ekivume ky’atadde ku kibiina olw’ekibi ky’aba akoze.
Tusobola ‘Okusiimibwa Katonda’
Kabaka wa Isiraeri ow’okubiri yeeraga okuba omuntu ‘asiimibwa mu maaso ga Katonda.’ (1 Samwiri 13:14) Dawudi teyabuusabuusa butuukirivu bwa misingi gya Yakuwa, era teyakolanga kintu kyonna nga tamwebuuzizzaako. Buli lwe yakolanga ensobi, yakkirizanga ensobi ye, n’akkiriza okukangavvulwa era n’akyusa amakubo ge. Dawudi yatambulira mu bugolokofu. Tekyandibadde kya magezi okukoppa ekyokulabirako kye naddala nga tukoze ensobi?
Ebyo ebyatuuka ku Dawudi biraga nti bwe tumanya nti Yakuwa y’afuga kitwetaagisa okugoberera emitindo Gye egikwata ku kirungi n’ekibi, era ne tufuba okuba abeesigwa. Kino buli omu asobola okukikola. Nga tuli basanyufu nnyo olw’eby’okuyiga ebiri mu kitabo kya Samwiri eky’Okubiri! Obubaka obukirimu obwaluŋŋamizibwa, bulamu era bulina kye busobola okukola ku muntu.—Abaebbulaniya 4:12.
[Obugambo obuli wansi]
a Wadde Samwiri teyali omu ku abo abaawandiika ekitabo kino, kiyitibwa erinnya lye kubanga ebitabo byombi ebya Samwiri mu kusooka gwali muzingo gumu mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Samwiri ye yawandiika ekitundu ekisinga obunene eky’ekitabo kya Samwiri Ekisooka.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Olw’okuba Dawudi yali amanyi oyo eyamulonda okuba kabaka, ekyo kyamuyamba okusigala nga muwombeefu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
“Ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo”
Basuseba
Tamali
Amunoni