Semberera Katonda
‘Ai Yakuwa Ommanyi’
OMUWANDIISI w’ebitabo ayitibwa Arthur H. Stainback yawandiika ng’agamba nti: “Tewali mugugu muzito ng’okuwulira muli nti tewali muntu akufaako oba akutegeera.” Naawe bw’otyo bwe weewulira? Wali obaddeko mu mbeera ng’eyo nga muli owulira nti tewali akufaako, ategeera embeera gy’olimu, oba engeri gye weewuliramu? Bwe kiba bwe kityo, toggwamu maanyi: Yakuwa afaayo nnyo ku abo abamusinza ne kiba nti afaayo okumanya buli kimu ekibatuukako mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 139 bikakasa ensonga eyo.
Olw’okuba yali akimanyi nti Katonda amufaako, Dawudi yagamba nti: “Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya.” (Olunyiriri 1) Dawudi akozesa ebigambo ebirungi ebituyamba okufuna ekifaananyi ekituufu. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “okunoonya” kisobola okutegeeza okusima eky’obugagga eky’omu ttaka (Yobu 28:3), okukebera ensi (Ekyabalamuzi 18:2), oba okwekenneenya obujulizi obukwata ku musango (Ekyamateeka 13:14). Yee, Yakuwa atumanyi bulungi ne kiba nti alinga eyekenneenyezza buli kimu ekitukwatako. Mu kukozesa ekigambo “nze,” Dawudi atuyigiriza nti Katonda afaayo ku baweereza be kinnoomu. Abeekenneenya era n’abamanya kinnoomu.
Dawudi ayongera okulaga engeri Katonda gy’atwekenneenyaamu ng’agamba nti: ‘Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, ne bye ndowooza obimanyira wala.’ (Olunyiriri 2) Kwe kugamba, Yakuwa ali “wala,” abeera mu ggulu. Wadde kiri kityo, amanya bwe tutuula, oboolyawo oluvannyuma lw’okukola olunaku lwonna era bwe tugolokoka ku makya okukola emirimu gyaffe egya bulijjo. Ate era, amanyi ebirowoozo byaffe, bye twagala, n’ebiruubirirwa byaffe. Eky’okuba nti Yakuwa amwekenneenya kireetera Dawudi okutya? Nedda, Dawudi kennyini akisanyukira. (Olunyiriri 23, 24) Lwaki akisanyukira?
Dawudi akimanyi nti Yakuwa aba n’ekiruubirirwa ekirungi nga yeekenneenya abo abamusinza. Dawudi ayogera ku kiruubirirwa ekyo ng’agamba nti: “Onoonyeza ddala ekkubo lyange n’okwebaka kwange, era omanyi amagenda gange gonna.” (Olunyiriri 3) Buli lunaku, Yakuwa alaba ‘amagenda gaffe gonna,’ kwe kugamba, ensobi zaffe n’ebirungi bye tukola. Atunuulira nsobi zaffe zokka, oba alaba n’ebirungi bye tukola? Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “okunoonyeza ddala” kisobola okutegeeza “okukuŋŋunta,” oba “okuwewa,” ng’omulimi bw’awewa ebirime n’aggyamu ebisusunku asobole okusigaza ensigo ennungi. Ekigambo “omanyi” kyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekisobola okutegeeza “okutwala ekintu nga kya muwendo.” Bw’aba yeekenneenya ebyo abasinza be bye boogera ne bye bakola buli lunaku, Yakuwa asiima ebirungi. Lwaki? Okufuba kwonna kwe bakola nga baagala okumusanyusa akutwala nga kwa muwendo.
Zabbuli 139 etuyigiriza nti Yakuwa afaayo nnyo ku abo abamusinza. Abeekenneenya era alaba byonna bye bakola buli lunaku. N’olw’ensonga eyo, amanyi ebizibu byonna bye boolekagana nabyo era ategeera bulungi obulumi bwe bayitamu. Wandyagadde okusinza Katonda oyo afaayo bw’atyo? Bwe kiba bwe kityo, beera mukakafu nti, Yakuwa tayinza ‘kwerabira mulimu gwo n’okwagala kwe walaga erinnya lye.’—Abebbulaniya 6:10.