Abebbulaniya
6 N’olwekyo, kaakano nga bwe tulese enjigiriza ezisookerwako+ ezikwata ku Kristo, ka tufube okukula,+ tuleme kuddamu kuzimba musingi nate, nga tuyigiriza ebikwata ku kwenenya ebikolwa ebifu, okukkiririza mu Katonda, 2 okuyigiriza okukwata ku kubatiza, okussaako emikono,+ okuzuukira kw’abafu,+ n’okusala omusango ogw’olubeerera. 3 Era ekiruubirirwa ekyo tujja kukituukako, Katonda ng’ayagadde.
4 Abo abamaze okufuna ekitangaala,+ abamaze okulega ku kirabo eky’omu ggulu, abamaze okufuna omwoyo omutukuvu, 5 era abamaze okulega ku kigambo kya Katonda ekirungi ne ku bintu eby’amaanyi eby’enteekateeka y’ebintu ejja,* 6 naye ne bagwa,+ tewali ayinza kubaleetera kwenenya nate, kubanga baddamu okukomerera Omwana wa Katonda ne bamuswaza mu lujjudde.+ 7 Ettaka lifuna omukisa okuva eri Katonda bwe linywa enkuba eritonnyako emirundi emingi, ne limerako ebimera ebiriibwa abalirimako. 8 Naye singa limerako amaggwa n’amatovu, lirekebwa awo era liba linaatera okukolimirwa, era oluvannyuma lyokebwa.
9 Kyokka, wadde nga twogera bwe tuti, tuli bakakafu nti mmwe abaagalwa mukutte ekkubo erisinga obulungi, ekkubo erinaabaviiramu okufuna obulokozi. 10 Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye,+ bwe mwaweereza abatukuvu era nga mukyeyongera okuweereza. 11 Naye twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okwoleka obunyiikivu obwo asobole okuba n’essuubi ekkakafu+ okutuukira ddala ku nkomerero,+ 12 muleme kubeera bagayaavu,+ naye mukoppe abo abafuna* ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.
13 Katonda bwe yawa Ibulayimu ekisuubizo, yeerayirira yekka+ kubanga tewaaliwo amusinga bukulu gwe yali ayinza kulayira. 14 Yagamba nti: “Nja kukuwa omukisa, era nja kukwaza.”+ 15 Era Ibulayimu bwe yamala okwoleka obugumiikiriza, yafuna ekisuubizo ekyo. 16 Kubanga abantu balayira oyo abasinga obukulu era ebirayiro byabwe bye bimalawo enkaayana zonna, kubanga mu mateeka biba ng’akakalu gye bali.+ 17 Mu ngeri y’emu, Katonda bwe yasalawo okulaga abasika b’ekisuubizo+ nti ekigendererwa kye tekikyuka, yakakasa ekigambo kye ng’akola ekirayiro, 18 kibe nti, okuyitira mu bintu ebyo ebibiri ebitakyuka nga mu bino Katonda tayinza kulimba,+ ffe abaddukidde eri obubudamo tusobole okuzzibwamu amaanyi tunywereze ddala essuubi erituweereddwa. 19 Essuubi lye tulina+ liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu era liyingira mu lutimbe,+ 20 Yesu omusaale waffe gye yayingira ku lwaffe,+ era yafuuka kabona asinga obukulu ow’emirembe n’emirembe nga Merukizeddeeki.+