Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yeremiya
NG’EBYO Yeremiya bye yalangirira eri abantu be birina okuba nga byabatisa nnyo! Yeekaalu ey’ekitiibwa mwe baali basinzirizza okumala ebyasa bisatu yali ya kwokebwa esaanewo. Ekibuga Yerusaalemi n’ebitundu bya Yuda byandisigadde matongo, era abatuuze baamu ne batwalibwa mu buwambe. Bino byonna n’ebirala bisangibwa mu kitabo kya Yeremiya, nga kino kye kitabo kya Baibuli eky’okubiri mu bunene. Kiraga n’ebyo Yeremiya kennyini bye yayitamu mu myaka 67 ng’aweereza n’obwesigwa nga nnabbi. Ebiri mu kitabo kino, tebyawandiikibwa nga bwe byajja biddiriŋŋana.
Ekitabo kya Yeremiya kituganyula kitya? Obunnabbi obukirimu obwatuukirizibwa bunyweza okukkiriza kwaffe mu Yakuwa ng’Oyo Atuukiriza ebisuubizo bye. (Isaaya 55:10, 11) Omulimu gwa Yeremiya nga nnabbi n’engeri abantu gye baatwalamu obubaka bwe bifaanagana n’ebyo ebiriwo mu kiseera kyaffe. (1 Abakkolinso 10:11) Ate era, ebyo ebikwata ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abantu be byoleka engeri ze era bisaanidde okutukwatako.—Abaebbulaniya 4:12.
“ABANTU BANGE BAKOZE EBIBI BIBIRI”
Yeremiya yaweebwa omulimu gw’obwannabbi mu mwaka ogw’ekkumi ne ssatu ogw’obufuzi bwa Yosiya, kabaka wa Yuda, ng’ebulayo emyaka 40 Yerusaalemi kizikirizibwe mu 607 B.C.E. (Yeremiya 1:1, 2) Ebyo bye yalangirira naddala mu myaka 18 egyasembayo egy’obufuzi bwa Yosiya byalaga obubi bwa Yuda n’emisango Yakuwa gye yali asalidde obwakabaka obwo. Yakuwa yagamba nti: “Ndifuula Yerusaalemi okuba ekifunvu . . . era ndifuula ebibuga bya Yuda okuba amatongo awatali abituulamu.” (Yeremiya 9:11) Lwaki? “Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri.”—Yeremiya 2:13.
Obubaka era bukwata ne ku kukomezebwa kw’abo abeenenya. (Yeremiya 3:14-18; 12:14, 15; 16:14-21) Kyokka obubaka bwa Yeremiya tebabusanyukira. “Omwami omukulu ow’ennyumba ya Mukama” akuba Yeremiya era amusiba mu nvuba ekiro kyonna.—Yeremiya 20:1-3.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:11, 12 (NW)—Lwaki Yakuwa okusigala ng’atunula ku bikwata ku kigambo kye, kikwataganyizibwa ‘n’omutunsi ogw’omulozi’? Omulozi “gwe gumu ku miti egisooka okumulisa mu ttogo.” (Olunyiriri 11, obugambo obwa wansi) Mu ngeri ey’akabonero, Yakuwa ‘yagolokokanga buli ku makya n’atuma bannabbi be’ okulabula abantu be ku misango gye, era ‘yasigala ng’atunula’ okutuusa nga gimaze okutuukirira.—Yeremiya 7:25.
2:10, 11—Kiki ekyaleetera ebikolwa by’Abaisiraeri abataali beesigwa okuba ebibi ennyo? Wadde nga abantu b’amawanga amakaafiiri ag’ebugwanjuba wa Kittimu n’ebuvanjuba wa Kedali baali basobola okusinza bakatonda b’amawanga amalala ng’oggyeko abaabwe, baali tebasobola kulekerayo ddala kusinza bakatonda baabwe ne badda mu kusinza abo ab’amawanga ago. Kyokka Abaisiraeri bo baaleka Yakuwa ne batandika okugulumiza ebifaananyi ebitalina bulamu mu kifo kya Katonda omulamu.
3:11-22; 11:10-12, 17—Lwaki obubaka bwa Yeremiya obw’omusango bwazingiramu obwakabaka obw’ebika ekkumi, ng’ate Samaliya kyali kyazikirizibwa dda mu 740 B.C.E.? Kino kyali bwe kityo kubanga mu kuzikiriza Yerusaalemi mu 607 B.C.E., Yakuwa yali abonereza ggwanga lya Isiraeri lyonna awamu so si Yuda yokka. (Ezeekyeri 9:9, 10) Ate era, obubaka bwa bannabbi ba Katonda eri Yerusaalemi bwali buzingiramu n’okukomezebwawo kw’Abaisiraeri ab’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi.
4:3, 4—Etteeka lino litegeeza ki? Abayudaaya abataali beesigwa kyali kibeetaagisa okulima n’okulongoosa ettaka ly’emitima gwabwe. Baalina okuggyako “ebikuta” by’emitima gyabwe, kwe kugamba, okweggyamu ebirowoozo, n’ebigendererwa ebibi. (Yeremiya 9:25, 26; Ebikolwa 7:51) Kino kyali kibeetaagisa okukyusa enneeyisa yaabwe—okulekera awo okukola ebibi batandike okukola ebyo Katonda by’asiima.
4:10; 15:18—Mu ngeri ki Yakuwa gye yalimba abantu be abaali beewaggudde? Mu kiseera kya Yeremiya, waliwo bannabbi ‘abaalagulanga eby’obulimba.’ (Yeremiya 5:31; 20:6; 23:16, 17, 25-28, 32) Yakuwa teyabaziyiza kulangirira bubaka bwa bulimba.
16:16—Kitegeeza ki Yakuwa ‘okutumya abavubi abangi n’abayizzi abangi’? Kino kiyinza okutegeeza okusindikira Abayudaaya abataali beesigwa Yakuwa be yali asalidde omusango amaggye g’abalabe baabwe. Kyokka okusinziira ku Yeremiya 16:15, olunyiriri olwo era luyinza okuba nga lwogera ku kunoonya Abaisiraeri abandyenenyeza.
20:7—Mu ngeri ki Yakuwa gye yalimba Yeremiya ‘ng’akozesa amaanyi ge’? Olw’okuba bwe yali alangirira obubaka bwa Yakuwa obw’omusango abantu baali tebeefiirayo era ng’ayigganyizibwa, Yeremiya ayinza okuba nga yawulira nti tasobola kweyongera kubuulira. Kyokka, Yakuwa yamuwa amaanyi ne yeeyongera mu maaso n’omulimu gwe. Eno ye ngeri Yakuwa gye yalimbamu nnabbi Yeremiya ng’amusobozesa okutuukiriza ebyo bye yali talowooza nti abisobola.
Bye Tuyigamu:
1:8. Ebiseera ebimu Yakuwa asobola okununula abantu be bwe baba bayigganyizibwa—oboolyawo ng’akozesa abalamuzi abatalina kyekubiira, oba nga abakungu ababayigga- nya bakyusibwa, oba ng’awa abasinza be amaanyi okusobola okugumira okuyigganyizibwa.—1 Abakkolinso 10:13.
2:13, 18. Abaisiraeri abataali beesigwa baakola ebintu ebibi bibiri. Baaleka Yakuwa, ensibuko y’emikisa, obulagirizi, n’obukuumi. Era beesimira enzizi ez’akabonero nga bakola emikago ne Misiri ne Bwasuli. Mu kiseera kyaffe, omuntu okuleka Katonda ow’amazima ne yeesiga obufirosoofo ne bannabyabufuzi aba ng’alese “oluzzi olw’amazzi amalamu” ne yeesimira ‘ebidiba ebitayinza kubaamu mazzi.’
6:16. Yakuwa akubiriza abantu be abajeemu okwekuba mu mutima badde eri “amakubo” ga bajjajjaabwe. Tetwandyekebedde buli luvannyuma lwa kiseera okulaba obanga ddala tutambulira mu makubo ga Yakuwa?
7:1-15. Wadde Abayudaaya bassa obwesige mu yeekaalu nga balowooza nti kino kiyinza okubawa obukuumi, tekyabayamba. Tusaanidde kutambula lwa kukkiriza so si lwa kulaba.—2 Abakkolinso 5:7.
15:16, 17. Okufaananako Yeremiya, tusobola okubaako kye tukola ne tutaggwaamu maanyi. Tukikola nga twesomesa Baibuli, tugulumiza erinnya lya Yakuwa mu buweereza bwaffe, era nga twewala emikwano emibi.
17:1, 2. Ebibi by’abantu b’omu Yuda byaleetera Yakuwa obutasiima biweebwayo byabwe. Bwe tutaba na mpisa nnungi kiviirako ebiweebwayo byaffe eby’okutendereza obutasiimibwa.
17:5-8. Tusobola okwesiga abantu n’enteekateeka zaabwe singa ziba tezikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala oba okumenya emisingi gya Baibuli. Naye bwe kituuka ku bintu ng’obulokozi, emirembe n’obutebenkevu ebyannamaddala, obwesige bwaffe tulina kubussa mu Yakuwa yekka.—Zabbuli 146:3.
20:8-11. Tetwandiddiridde mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira singa abantu baba tebeefiirayo, oba baba batuyigganya.—Yakobo 5:10, 11.
“MUTEEKE ENSINGO ZAMMWE WANSI W’EKIKOLIGO KYA KABAKA WE BABULOONI”
Yeremiya alangirira obubaka obw’emisango eri bakabaka abana abasembayo aba Yuda, bannabbi ab’obulimba, abasumba, ne bakabona ababi. Ng’ayogera ku nsigalira abeesigwa ng’ettiini ennungi, Yakuwa agamba nti: “Nditeeka amaaso gange ku bo olw’obulungi.” (Yeremiya 24:5, 6) Obunnabbi bwa mirundi esatu obuli mu ssuula 25 bwogera mu bufunze ku misango egyogerwako mu bulambulukufu mu ssuula eziddako.
Bakabona ne bannabbi beekobaana okutta Yeremiya. Abagamba nti bajja kufuuka baddu ba kabaka wa Babulooni. Yeremiya agamba Kabaka Zeddekiya nti: “Muteeke ensingo zammwe wansi w’ekikoligo kya kabaka we Babulooni.” (Yeremiya 27:12) Kyokka, “Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya.” (Yeremiya 31:10) Olw’okukola obulungi, Abalekabu baweebwa ekisuubizo. Yeremiya ateekebwa “mu luggya olw’abambowa.” (Yeremiya 37:21) Yerusaalemi kizikirizibwa, era bangi ku bakituulamu batwalibwa mu buwambe. Yeremiya n’omuwandiisi we Baluki, be bamu ku bataatwalibwa mu buwambe. Wadde Yeremiya abalabula obutagenda Misiri, bagaana. Essuula 46 okutuuka ku 51 zittottola Yeremiya bye yayogera eri amawanga.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
22:30—Ekiragiro kino kyali kitegeeza nti Yesu Kristo tajja kutuula ku ntebe ya Dawudi? (Matayo 1:1, 11) Nedda. Ekiragiro ekyo kyagaana omuntu yenna ow’omu lunyiriri lwa Yekoyakini ‘okutuula ku ntebe ya Dawudi mu Yuda.’ Yesu yali wa kutuula ku ntebe afuge ng’ali mu ggulu, so si mu Yuda.
23:33—“Omugugu gwa Mukama” kye ki? Mu kiseera kya Yeremiya, emisango egy’amaanyi nnabbi ono gye yalangirira egikwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi gyali mugugu eri batuuze banne. Ate era, abantu abaali tebeefiirayo bali mugugu eri Yakuwa era yandibaabulidde. Mu ngeri yemu, obubaka obuli mu Byawandiikibwa obukwata ku kuzikiriza Kristendomu mugugu eri Kristendomu, era abantu abatassaayo mwoyo ku kulabulwa, mugugu munene eri Katonda.
31:33—Mu ngeri ki etteeka lya Katonda gye liwandiikibwa mu mitima? Omuntu bw’ayagala ennyo etteeka lya Katonda n’akola ebyo Yakuwa bya yagala, kiyinza okugambibwa nti etteeka lya Katonda liwandiikiddwa mu mutima gwe.
32:10-15—Lwaki kyali kyetaagisa okukola ebiwandiiko by’endagaano bibiri? Ekiwandiiko ky’endagaano ekitaabangako nvumbo kyabanga kya kukeberako nga waliwo ekyebuuzibwa. Ate ekyabangako envumbo kyakakasanga nti ebyo ebiri mu kitaliiko nvumbo bituufu. Bwe tugoberera amateeka nga tukola ku nsonga enkulu ka kibe nti tukolagana na baŋŋanda zaffe oba basinza banaffe, tuba tukoppa ekyokulabirako Yeremiya kye yatuteerawo.
33:23, 24—“Enda zombi” ezoogerwako wano ze ziruwa? Enda esooka ye y’olulyo olulangira olwa Kabaka Dawudi, ate ey’okubiri, ye ya bakabona ab’enju ya Alooni. Yerusaalemi ne yeekaalu ya Yakuwa bwe byazikirizibwa, kyalabika nga Yakuwa eyali ayabulidde enda zino zombi era ng’atandizzeemu kuba na bwakabaka ku nsi oba okuzzaawo okusinza kwe.
46:22—Lwaki eddoboozi lya Misiri ligeraageranyizibwa ku ly’omusota? Kino kiyinza okutegeeza okusiiya ng’okw’omusota nga gulina kye gudduka oba eddoboozi lya Misiri okuba wansi olw’okuba awanguddwa. Okugeraageranya kuno era kulaga nti kyali kya butaliimu bakabaka ba Misiri okubeera n’akabonero k’omusota ku ngule yaabwe nga balowooza nti kino kibawa obukuumi bwa Uatchit, omusota ogwasinzibwanga.
Bye Tuyigamu:
21:8, 9; 38:19. Wadde ng’abantu b’omu Yerusaalemi baali bajeemu nga bagwanira okufa, ne ku ssaawa envannyuma Yakuwa yabalaga eky’okukola okusobola okuwonawo. Yee, “okusaasira kwe kungi.”—2 Samwiri 24:14; Zabbuli 119:156.
31:34. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa tajjukira bibi by’abo b’asonyiye n’ababonereza mu kiseera eky’omu maaso!
38:7-13; 39:15-18. Yakuwa tatwerabira bwe tumuweereza n’obwesigwa, omuli ‘n’okuweereza abatukuvu.’—Abaebbulaniya 6:10.
45:4, 5. Nga bwe kyali mu nnaku za Yuda ezaasembayo, ne “mu nnaku ez’oluvannyuma” ez’embeera y’ebintu eno tetwandimaze biseera nga tunoonya “ebikulu,” ng’eby’obugagga n’ettutumu.—2 Timoseewo 3:1; 1 Yokaana 2:17.
YERUSAALEMI KYOKEBWA
Omwaka 607 B.C.E. gwe mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya. Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yali amaze emyezi 18 ng’azingizza Yerusaalemi. Mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza, mu mwezi ogw’okutaano nga musanvu, Nebuzaladaani, omukulu w’abambowa, ‘ajja,’ oba atuuka e Yerusaalemi. (2 Bassekabaka 25:8) Oboolyawo ng’asinziira mu lusiisira lwe wabweru w’ekibuga, Nebuzaladaani yekkaanya embeera era n’asalawo eky’okukola. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, nga kkumi omwezi ogwo, ‘ajja,’ oba ayingira mu Yerusaalemi, era ayokya ekibuga.—Yeremiya 52:12, 13.
Yeremiya ayogera kalonda akwata ku kugwa kwa Yerusaalemi. Ebyo ebiri mu kitabo kya Baibuli ekiyitibwa Okukungubaga byesigamye ku ebyo bye yayogera.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Mu ebyo Yeremiya bye yalangirira mwe mwali omusango Yakuwa gwe yasalira Yerusaalemi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Yakuwa ‘yakozesa atya amaanyi ge’ eri Yeremiya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
“Ng’ettiini zino ennungi, bwe ntyo bwe ndirowooza abasibe ba Yuda.”—Yeremiya 24:5