Essuula ey’Omukaaga
Okubikkula Ekyama ky’Omuti Omunene
1. Kiki ekyatuuka ku Kabaka Nebukadduneeza, era kireetawo bibuuzo ki?
YAKUWA yakkiriza Kabaka Nebukadduneeza okufuuka omufuzi w’ensi yonna. Nga kabaka wa Babulooni, yalina eby’obugagga bingi, emmere ennungi, olubiri olulungi ennyo, na buli kimu kye yali ayagala. Naye yatoowazibwa mu ngeri ey’embagirawo. Nebukadduneeza yatabuka obwongo n’atandika okweyisa ng’ensolo! Ng’agobeddwa mu lubiri lwe, yabeeranga mu nsiko era n’alyanga omuddo ng’ente. Kiki ekyaviirako emitawaana gino? Era lwaki twandifuddeyo ku nsonga eno?—Geraageranya Yobu 12:17-19; Omubuulizi 6:1, 2.
KABAKA AGULUMIZA OYO ALI WAGGULU ENNYO
2, 3. Kabaka wa Babulooni yayagaliza ki abantu be, era yatwala atya Katonda Ali Waggulu Ennyo?
2 Ng’obwongo bwe bwakatereera, Nebukadduneeza yaweereza mu ttwale lye lyonna obubaka obukwata ku ekyo ekyali kibaddewo. Yakuwa yaluŋŋamya nnabbi Danyeri okuwandiika ebintu ebyo. Butandika n’ebigambo bino: “Nebukadduneeza kabaka nze mbawandiikidde abantu bonna, amawanga, n’ennimi, abatuula mu nsi zonna: emirembe gyeyongere gye muli. Ndabye nga kirungi okulaga obubonero n’eby’amagero Katonda Ali waggulu ennyo bye yakola gye ndi. Obubonero bwe nga bukulu! n’eby’amagero bye nga bya maanyi! obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n’okufuga kwe kwa mirembe na mirembe.”—Danyeri 4:1-3.
3 Abafugibwa Nebukadduneeza baali ‘babeera mu nsi yonna,’ ng’obwakabaka bwe bumaamidde ekitundu ekisinga obunene eky’ensi ey’omu biseera bya Baibuli. Ng’ayogera ku Katonda wa Danyeri, kabaka yagamba: “Obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo.” Ng’ebigambo ebyo byagulumiza nnyo Yakuwa mu Bwakabaka bwa Babulooni bwonna! Ate era, guno gwe gwali omulundi ogw’okubiri nga Nebukadduneeza alagibwa nti Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe bw’olubeerera, nga bwa kubaawo “emirembe gyonna.”—Danyeri 2:44.
4. Ku bikwata ku Nebukadduneeza, ‘obubonero n’eby’amagero’ bya Yakuwa byatandika bitya?
4 “Katonda Ali waggulu ennyo” yakola ‘bubonero ki n’eby’amagero’? Bino byatandikira ku bintu ebyatuuka ku kabaka kennyini ebyogerwako mu bigambo bino: “Nze Nebukadduneeza n[n]ali mpummulidde mu nnyumba yange, era nga njeerera [“nneeyagalira,” NW] mu lubiri lwange. Ne ndaba ekirooto ekyantiisa; n’ebyo bye nnalowoolezanga ku kitanda kyange, n’omutwe gwange bye gwayolesebwanga, ne binneeraliikiriza.” (Danyeri 4:4, 5) Kabaka wa Babulooni yakola atya ng’afunye ekirooto ekyo ekyeraliikiriza?
5. Nebukadduneeza yatwala atya Danyeri, era lwaki?
5 Nebukadduneeza yayita abagezigezi b’e Babulooni n’ababuulira ekirooto ekyo. Naye kyabalema! Baalemererwa ddala okuwa amakulu gaakyo. Ebyawandiikibwa bigattako: “Oluvannyuma Danyeri n’ayingira gye ndi, erinnya lye Berutesazza, ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu; ne njatulira ekirooto mu maaso ge.” (Danyeri 4:6-8) Mu lubiri, Danyeri yali ayitibwa Berutesazza, ate katonda ow’obulimba kabaka gwe yayita “katonda wange” yandiba nga yali Beri oba Nebo oba Maruduki. Olw’okuba yali asinza bakatonda bangi, Nebukadduneeza yakitwala nti Danyeri yalimu “omwoyo gwa bakatonda abatukuvu.” Era olw’okuba Danyeri ye yali omukulu w’abagezigezi bonna ab’e Babulooni, kabaka yamuyita “omukulu wa bakabona b’eby’obusamize.” (Danyeri 2:48; 4:9, NW; geraageranya Danyeri 1:20.) Kya lwatu, Danyeri omwesigwa teyava ku kusinza Yakuwa ne yenyigira mu by’obusamize.—Eby’Abaleevi 19:26, NW; Ekyamateeka 18:10-12.
OMUTI OMUNENE ENNYO
6, 7. Oyinza kunnyonnyola otya Nebukadduneeza bye yalaba mu kirooto kye?
6 Biki ebyali mu kirooto ekyatiisa kabaka wa Babulooni? Nebukadduneeza yagamba: “Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: n[n]atunula, era, laba, omuti wakati mu nsi, n’obuwanvu bwagwo bunene. Omuti ne gukula, ne guba gwa maanyi, n’obuwanvu bwagwo ne butuuka mu ggulu, n’okulengerwa kwagwo ne kutuuka ku nkomerero y’ensi zonna. Amalagala gaagwo malungi, n’ebibala byagwo bingi, era mu gwo mwalimu emmere emala bonna: ensolo ez’omu nsiko zeggamanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo, ne byonna ebirina omubiri ne bigulyangako.” (Danyeri 4:10-12) Kigambibwa nti Nebukadduneeza yali ayagala nnyo emivule eminene egyali mu Lebanooni, era yagendanga okugiraba, n’aleetako n’embaawo zaagyo e Babulooni. Naye yali talabangako muti ogwenkana ogwo gwe yalaba mu kirooto. Gwali mu kifo we gulabikira amangu “wakati mu nsi,” nga gusobola okulabibwa mu nsi yonna, era nga guliko ebibala bingi ebyaliibwanga buli kyonna ekirina omubiri.
7 Ekirooto kino kyalimu ebirala bingi, kubanga Nebukadduneeza yagattako: “N[n]alaba mu ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange, era laba, omutunuzi era omutukuvu n’akka ng’ava mu ggulu. N’ayogerera waggulu, n’agamba bw’ati nti Temera ddala omuti, ogutemeko amatabi gaagwo, ogukunkumuleko amalagala gaagwo, osaasaanye ebibala byagwo: ensolo zive wansi waagwo, n’ennyonyi ku matabi gaagwo. Era naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omugonvu ogw’omu nsiko: era kitobenga omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe [“gwakyo,” NW] gubenga n’ensolo mu muddo ogw’ensi.”—Danyeri 4:13-15.
8. “Omutunuzi” yali ani?
8 Abababulooni baalina endowooza yaabwe ku bikwata ku bitonde eby’omwoyo ebirungi n’ebibi. Naye ani yali “omutunuzi” ono eyava mu ggulu? Olw’okuyitibwa “omutukuvu,” yali malayika omutuukirivu akiikirira Katonda. (Geraageranya Zabbuli 103:20, 21.) Teeberezaamu ebibuuzo Nebukadduneeza bye yeebuuza! Lwaki omuti ogwo gwatemebwa? Ekikonge ekisibiddwa enkoba z’ekyuma n’ekikomo ezikiziyiza okukula kyandibadde na mugaso ki oba kigendererwa ki?
9. Omutunuzi yayogera ki, era kireetawo bibuuzo ki?
9 Nebukadduneeza alina okuba nga yasoberwa nnyo bwe yawulira ebigambo ebirala ebyayogerwa omutunuzi: “Omutima [gwakyo] guwaanyisibwe obutaba gwa muntu, [ki]weebwe omutima gw’ensolo: era ebiseera omusanvu bi[ki]yiteko. Omusango ogwo guvudde mu tteeka ery’abatunuzi, n’okuteesa okwo kuvudde mu kigambo eky’abatukuvu: abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era ng’abuwa buli gw’ayagala, era ng’akuza ku bwo asinga abantu bonna obunaku.” (Danyeri 4:16, 17) Ekikonge tekibeera na mutima gwa bantu. Kati olwo, kisobola kitya okuweebwa omutima gw’ensolo? “Ebiseera omusanvu” bye biruwa? Era bino byonna bikwatagana bitya n’obufuzi mu “bwakabaka bw’abantu”? Mazima ddala Nebukadduneeza yayagala okumanya bino.
MAWULIRE MABI ERI KABAKA
10. (a) Mu Byawandiikibwa, emiti gisobola kukiikirira ki? (b) Omuti omunene gukiikirira ki?
10 Ng’amaze okuwulira ekirooto, Danyeri yeewuunya okumala akaseera, era n’atya. Bwe yakubirizibwa Nebukadduneeza okukinnyonnyola, nnabbi ono yagamba bw’ati: “Mukama wange, ekirooto kibe eri abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo eri abalabe bo. Omuti gwe walabye, ogwameze ne guba gwa maanyi . . . , ye ggwe, ai kabaka, akuze n’oba wa maanyi: kubanga obukulu bwo bukuze, ne butuuka mu ggulu, n’okufuga kwo ku nkomerero y’ensi zonna.” (Danyeri 4:18-22) Mu Byawandiikibwa, emiti gisobola okukiikirira abantu, abafuzi, n’obwakabaka. (Zabbuli 1:3; Yeremiya 17:7, 8; Ezeekyeri, essuula 31) Okufaananako omuti omunene ogw’omu kirooto kye, Nebukadduneeza yali ‘afuuse mukulu era wa maanyi’ ng’omukulembeze w’obufuzi kirimaanyi. Naye omuti ogwo omunene ennyo gukiikirira ‘obufuzi obutuuka ku nkomerero y’ensi,’ obuzingiramu obwakabaka bwonna obw’abantu. N’olwekyo, kabonero akakiikirira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna, naddala engeri gye bukwata ku nsi.—Danyeri 4:17.
11. Ekirooto kya kabaka kyalaga kitya nti yali ajja kufeebezebwa?
11 Nebukadduneeza yali agenda kufeebezebwa nnyo. Ng’akyogerako, Danyeri yagattako: “Kubanga kabaka yalabye omutunuzi era omutukuvu ng’akka ng’ava mu ggulu, era ng’ayogera nti Temera ddala omuti, oguzikirize: era naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kirekere mu ttaka: nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omugonvu ogw’omu nsiko: era kitobenga n’omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo [gwakyo] gubenga n’ensolo ez’omu nsiko: okutuusa ebiseera omusanvu lwe biri[ki]yitako: amakulu ge gano, ai kabaka, era lye tteeka ly’Oyo Ali waggulu ennyo, erijjidde mukama wange kabaka.” (Danyeri 4:23, 24) Mazima ddala obuvumu bwali bwetaagisa okusobola okuwa kabaka ow’amaanyi obubaka obwo!
12. Biki ebyali bigenda okutuuka ku Nebukadduneeza?
12 Biki ebyali bigenda okutuuka ku Nebukadduneeza? Teeberezaamu Nebukadduneeza bwe yawulira Danyeri bwe yagamba bw’ati: “Oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n’ensolo ez’omu nsiko, era oliriisibwa omuddo ng’ente, era olitoba omusulo ogw’omu ggulu, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’ayagala.” (Danyeri 4:25) Kirabika nti n’abakungu ab’omu lubiri lwa Nebukadduneeza ‘bandimugobye okuva mu bantu.’ Naye abalunzi oba abasumba ab’ekisa bandimulabiridde? Nedda, kubanga Katonda yali alagidde nti Nebukadduneeza yali wa kubeera wamu “n’ensolo ez’omu nsiko,” ng’alya muddo.
13. Ekirooto ekikwata ku muti kyalaga ki ekyandituuse ku kifo kya Nebukadduneeza ng’omufuzi w’ensi yonna?
13 Ng’omuti bwe gwatemebwa, Nebukadduneeza yandimaamuddwa ku bufuzi bw’ensi, naye okumala akaseera katono. Danyeri yannyonnyola: “Kubanga balagidde okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti: obwakabaka bwo bulinywera gy’oli bw’olimala okutegeera ng’eggulu lye lifuga.” (Danyeri 4:26) Mu kirooto kya Nebukadduneeza ekikonge ky’omuti ogwatemebwa kyalekebwa mu ttaka, wadde nga kyasibibwako enkoba kireme okukula. Mu ngeri y’emu, “ekikonge” kya kabaka wa Babulooni kyali kya kusigalawo, wadde nga kyali kikugiddwa okukula okumala ‘ebiseera musanvu.’ Ekifo kye ng’omufuzi w’ensi kyandifaananyeko ekikonge ekyo ekisibiddwako enkoba. Kyandikuumiddwa bulungi okutuusa ebiseera musanvu lwe byandiweddeko. Yakuwa yandikakasizza nti mu bbanga eryo tewali muntu yanditutte kifo kya Nebukadduneeza ng’omufuzi wa Babulooni, wadde nga mutabani we ayitibwa Evirumerodaki ye yafuganga nga taliiwo.
14. Kiki Danyeri kye yakubiriza Nebukadduneeza okukola?
14 Ng’alowooza ku ebyo ebyalagulwa ku Nebukadduneeza, n’obuvumu Danyeri yamukubiriza: “Kale, ai kabaka, okuteesa kwange kukkirizibwe mu maaso go, era omalire ddala ebibi byo ng’okola eby’obutuukirivu, n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu ng’osaasira abaavu, mpozzi okuwummula kwo kwongerweko.” (Danyeri 4:27) Singa Nebukadduneeza yandireseeyo ekkubo lye ebbi ery’okunyigiriza era n’amalala, oboolyawo ebintu byandimulongookedde. Kubanga n’ebyasa nga bibiri emabegako, Yakuwa yali amaliridde okuzikiriza abantu b’e Nineeve, ekibuga ekikulu ekya Busuuli, naye teyakikola olw’okuba kabaka waakyo n’abantu be beenenya. (Yona 3:4, 10; Lukka 11:32) Ate, ye, Nebukadduneeza ow’amalala? Yandikyusizza amakubo ge?
OKUTUUKIRIZIBWA OKWASOOKA OKW’EKIROOTO
15. (a) Ndowooza ki Nebukadduneeza gye yeeyongera okwoleka? (b) Ebiwandiiko biraga ki ku ebyo Nebukadduneeza bye yakola?
15 Nebukadduneeza yasigala nga wa malala. Bwe yali atambulatambula waggulu ku kasolya k’olubiri lwe, emyezi nga 12 oluvannyuma lw’ekirooto kye ekikwata ku muti, yeewaana: “Kino si Babulooni ekikulu, kye nnazimba okuba ennyumba ya kabaka n’amaanyi ag’obuyinza bwange n’olw’ekitiibwa eky’obukulu bwange?” (Danyeri 4:28-30) Nimuloodi ye yatandikawo Babulooni (Baberi), naye Nebukadduneeza ye yakifuula okuba eky’ettendo. (Olubereberye 10:8-10) Mu kimu ku biwandiiko bye, yeewaana: “Nze Nebukadduneeza, Kabaka wa Babulooni, eyazza obuggya Esagila ne Ezida, ndi mutabani wa Nabopolaasa. . . . Ebigo bya Esagila ne Babulooni nze nnabinyweza, era nnywezezza obufuzi bwange emirembe gyonna.” (Archaeology and the Bible, ekya George A. Barton, 1949, empapula 478-9) Ekiwandiiko ekirala kyogera ku yeekaalu 20 ze yaddaabiriza oba ze yaddamu okuzimba. Ekitabo The World Book Encyclopedia kigamba nti “Mu bufuzi bwa Nebukadduneeza, Babulooni kyafuuka ekimu ku bibuga ebisingayo okulabika obulungi mu nsi ey’edda. Mu biwandiiko bye, teyayogera nnyo ku bikolwa bye eby’obujaasi, naye yawandiika ku ebyo bye yazimba era ne bye yakolera bakatonda b’e Babulooni. Nebukadduneeza oboolyawo ye yakola Ennimiro z’Ebimuli ez’Ekyewuunyo ez’e Babulooni, ekimu ku Byewuunyo Omusanvu eby’Ensi ey’Edda.”
16. Nebukadduneeza yali agenda kufeebezebwa atya?
16 Wadde yeewaana, Nebukadduneeza ow’amalala yali ali kumpi kufeebezebwa. Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bigamba: “Ekigambo kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka, eddoboozi ne ligwa nga liva mu ggulu, nti Ggwe kabaka Nebukadduneeza, kyogerwa eri ggwe: obwakabaka bukuvuddeko. Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n’ensolo ez’omu nsiko: era oliriisibwa omuddo ng’ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’ayagala.”—Danyeri 4:31, 32.
17. Kiki ekyatuuka ku Nebukadduneeza ow’amalala, era yeesanga mu mbeera ki oluvannyuma lw’ebbanga ttono?
17 Amangu ago Nebukadduneeza yagwa eddalu. Yagobebwa okuva mu bantu, era n’alyanga muddo “ng’ente.” Ng’ali wamu n’ensolo ez’omu nsiko, teyali mu kwesiima n’akatono. Mu ggwanga lya Iraq, amatongo ga Babulooni gye gasangibwa, embeera y’obudde ekyuka okuva ku bbugumu eringi ennyo (50°C) mu biseera eby’omusana n’etuuka ku bunnyogovu bwa bbalaafu mu biseera eby’obutiti. Ng’ali bweru mu mbeera y’obudde bw’etyo, enviiri za Nebukadduneeza zaatuuka okufaanana ng’ebyoya by’empungu ate enjala z’oku ngalo n’obugere ezitaasalibwangako ne zifaanana ng’ez’ekinyonyi. (Danyeri 4:33) Omufuzi ono ow’amalala, nga yafeebezebwa nnyo!
18. Mu biseera ebyo omusanvu, kiki ekyaliwo ku bikwata ku ntebe ya kabaka wa Babulooni?
18 Mu kirooto kya Nebukadduneeza, omuti ogwo omunene ennyo gwatemebwa n’ekikolo kyagwo ne kisibibwako enkoba kireme okukula okumala ebiseera musanvu. Mu ngeri y’emu, Nebukadduneeza ‘yagobebwa ku ntebe y’obwakabaka bwe’ Yakuwa bwe yamusuula eddalu. (Danyeri 5:20) Mu ngeri eno, omutima gwa kabaka ne gukyuka okuva ku gw’omuntu okufuuka ogw’ente. Kyokka, Katonda yaterekera Nebukadduneeza entebe ye okutuusa ebiseera omusanvu lwe byaggwaako. Oboolyawo nga Evirumerodaki ye yali omukulembeze okumala akaseera, Danyeri ye yali atwala ‘essaza lyonna erya Babulooni era nga y’akulira abagezigezi bonna ab’e Babulooni.’ Bebbulaniya banne abasatu beeyongera okuba n’ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu ssaza eryo. (Danyeri 1:11-19; 2:48, 49; 3:30) Danyeri ne banne baalindirira ekiseera Nebukadduneeza lwe yandizziddwa ku ntebe ng’ategedde nti “Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’ayagala.”
OKUZZIBWA KWA NEBUKADDUNEEZA MU NTEBE
19. Nga Yakuwa amaze okuwonya Nebukadduneeza eddalu, kiki kabaka wa Babulooni ono kye yategeera?
19 Yakuwa yawonya Nebukadduneeza eddalu ku nkomerero y’ebiseera omusanvu. Olwo, ng’ategedde ekifo kya Katonda Ali Waggulu ennyo, kabaka oyo yagamba: “Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe: n’abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw’ayagala mu ggye ery’omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti Okola ki?” (Danyeri 4:34, 35) Yee, Nebukadduneeza yakitegeera nti Oyo Ali waggulu ennyo mazima ddala ye Mufuzi ow’Oku Ntikko mu bwakabaka bw’abantu.
20, 21. (a) Okuggya enkoba ez’ekyuma ku kikonge kikwataganyizibwa naki ku ebyo ebyatuuka ku Nebukadduneeza? (b) Nebukadduneeza yayogera ki, era kino kyamufuula omusinza wa Yakuwa?
20 Nebukadduneeza bwe yadda mu ntebe ye, enkoba z’ekyuma ku kikonge ky’omuti ogw’omu kirooto zaali ng’eziggiddwako. Ku bikwata ku kudda kwe mu ntebe, yagamba: “Mu kiseera ekyo amagezi gange ne ganziramu: n’olw’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange, obukulu bwange n’okumasamasa kwange ne binziramu: n’abakungu bange n’abaami bange ne bannoonya; ne nnywezebwa mu bwakabaka bwange, n’obukulu obungi ennyo ne bunnyongerwako.” (Danyeri 4:36) Bwe kiba nti waaliwo abakungu abaali banyoomye kabaka ng’agudde eddalu, kati baali ‘bamunoonya’ okumuweereza.
21 Katonda Ali waggulu ennyo nga yali akoze ‘obubonero n’eby’amagero’ bya maanyi nnyo! Tekyanditwewuunyisizza nti kabaka wa Babulooni yagamba: “Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w’eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n’amakubo ge ga nsonga: n’abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza [“okubafeebya,” NW].” (Danyeri 4:2, 37) Kyokka, Nebukadduneeza okwogera bw’atyo tekyamufuula Munnaggwanga asinza Yakuwa.
WALIWO OBUJULIZI EBWERU W’EBYAWANDIIKIBWA?
22. Bulwadde ki abamu bwe bakwataganyizza n’eddalu lya Nebukadduneeza, naye kiki kye tusaanidde okutegeera ku bikwata ku nsibuko y’obulwadde bwe?
22 Abamu bagamba nti Nebukadduneeza okugwa eddalu bwali bulwadde obuyitibwa lycanthropy. Ekitabo ekimu ekiwa amakulu g’ebigambo by’ekisawo kigamba: “LYCANTHROPY . . . kiva mu bigambo [lyʹkos], lupus, omusege; [anʹthro·pos], homo, omuntu. Erinnya lino lyaweebwa obulwadde obuba bukutte abantu abalowooza nti bafuuse nsolo, era ne bagezaako okugeegeenya eddoboozi, enkaaba, era n’enneeyisa y’ensolo eyo. Abantu bano batera okulowooza nti bafuuse omusege, embwa, oba kapa; oluusi ente, nga bwe kyali eri Nebukadduneeza.” (Dictionnaire des sciences médicales, par une société de médicins et de chirurgiens, Paris, 1818, Omuzingo 29, olupapula 246) Obubonero bw’obulwadde buno bufaananako obwo Nebukadduneeza bwe yalina ng’agudde eddalu. Kyokka, okuva bwe kiri nti Katonda ye yamusuula eddalu, tetusobola kukwataganya bulwadde bwe na ndwadde ya mutwe yonna emanyiddwa.
23. Bujulizi ki obuli ebweru w’ebyawandiikibwa obulaga nti Nebukadduneeza yatabuka omutwe?
23 Omwekenneenya John E. Goldingay amenya ebiwandiiko ebiwerako ebyogera ku kutabuka kwa Nebukadduneeza era n’okuwona kwe. Ng’ekyokulabirako, agamba: “Kirabika ng’ekiwandiiko ekimu ekiri mu mpandiika ey’edda ennyo kyogera ku bulwadde bwa Nebukadduneeza obw’omutwe, era oboolyawo ne ku ngeri gye yalagajjaliramu Babulooni.” Goldingay ajuliza ekiwandiiko ekiyitibwa “Yobu w’e Babulooni” era n’agamba nti “kyogera ku kubonerezebwa Katonda, obulwadde, okufeebezebwa, okunoonya amakulu g’ekirooto eky’entiisa, okusuulibwa ng’omuti, okuteekebwa ebweru, okulya omuddo, okugwa eddalu, okubeera ng’ente, okutobezebwa Maruduki, okwonooneka kw’enjala, enviiri okukula, n’okusibibwa amasamba, era n’okuwona okumuleetera okutendereza katonda.”
EBISEERA OMUSANVU EBITUKWATAKO
24. (a) Omuti omunene ogw’omu kirooto gukiikirira ki? (b) Kiki ekyakugirwa okumala ebiseera musanvu, era kino kyajjawo kitya?
24 Nga bwe kiragibwa omuti omunene, Nebukadduneeza yali akiikirira obufuzi bw’ensi yonna. Naye jjukira nti omuti gukiikirira obufuzi obukulu ennyo okusinga obwa kabaka wa Babulooni. Gukiikirira obufuzi bwa “Kabaka w’eggulu,” Yakuwa, obw’obutonde bwonna, naddala ku bikwata ku nsi. Nga Yerusaalemi tekinnaba kuzikirizibwa Bababulooni, obwakabaka obwali mu kibuga ekyo nga Dawudi n’abo abaamusikira batudde ku ‘ntebe ya Yakuwa,’ bwali bukiikirira obufuzi bwa Katonda ku nsi. (1 Ebyomumirembe 29:23) Katonda kennyini yakkiriza obufuzi obwo okutemebwa n’okusibibwako enkoba mu 607 B.C.E., bwe yakozesa Nebukadduneeza okuzikiriza Yerusaalemi. Obufuzi bwa Katonda ku nsi mu lunyiriri lwa Dawudi bwakugirwa okumala ebiseera musanvu. Ebiseera bino omusanvu byali biwanvu kwenkana wa? Byatandika ddi, era kiki ekyalaga nti bikomye?
25, 26. (a) Ku bikwata ku Nebukadduneeza, “ebiseera omusanvu” byali byenkana wa, era lwaki oddamu bw’otyo? (b) Mu kutuukirizibwa okusingako obukulu, ddi era mu ngeri ki “ebiseera omusanvu” lwe byatandika?
25 Nebukadduneeza bwe yali agudde eddalu, ‘enviiri ze zaakula ne ziba ng’ebyoya by’empungu ate enjala ze ng’enjala z’ekinyonyi.’ (Danyeri 4:33) Kino kyatwala ebbanga erisukka mu nnaku omusanvu oba wiiki omusanvu. Enkyusa ezitali zimu zigamba “ebiseera musanvu,” era ng’ebigambo ebirala ebiyinza okukozesebwa biri “ebiseera ebigereke (ebikakafu)” oba “ebiro.” (Danyeri 4:16, 23, 25, 32) Enkyusa endala ey’Oluyonaani olw’Edda (Septuagint) egamba “emyaka musanvu.” Josephus, munnabyafaayo Omuyudaaya ow’omu kyasa ekyasooka, yatwala “ebiseera omusanvu” okuba “emyaka musanvu.” (Antiquities of the Jews, Ekitabo 10, Essuula 10, akatundu 6) Era abeekenneenya abamu Abebbulaniya “ebiseera” bino babitwala okuba “emyaka.” Enkyusa An American Translation, Today’s English Version, n’eya James Moffatt zigamba “emyaka musanvu.”
26 Okusinziira ku ekyo, “ebiseera omusanvu” ebya Nebukadduneeza gyali emyaka musanvu. Mu bunnabbi, omwaka gubaamu ennaku 360, oba emyezi 12 nga buli gumu gulimu ennaku 30. (Geraageranya Okubikkulirwa 12:6, 14.) N’olwekyo, “ebiseera omusanvu,” oba emyaka omusanvu egya kabaka oyo, gyali ennaku 360 emirundi 7, oba ennaku 2,520. Kati olwo okutuukirizibwa okusinga obukulu okw’ekirooto kye kwe kuluwa? “Ebiseera omusanvu” eby’obunnabbi byasukkira ddala nnyo mu nnaku 2,520. Kino kyalagibwa mu bigambo bya Yesu: “Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab’amawanga okutuusa ebiro by’ab’amawanga lwe birituukirira.” (Lukka 21:24) ‘Okulinnyirira’ okwo kwatandika mu mwaka 607 B.C.E., Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa era obwakabaka bwa Katonda ne buvaawo mu Yuda. Okulinnyirirwa okwo kwandikomye ddi? Mu “biro eby’okulongoosezaamu [ebintu] byonna,” ng’obufuzi bwa Katonda buzzeemu okufuga ensi okuyitira mu Yerusaalemi eky’akabonero, Obwakabaka bwa Katonda.—Ebikolwa 3:21.
27. Lwaki wandigambye nti “ebiseera omusanvu” ebyatandika mu 607 B.C.E., tebyalimu nnaku 2,520 eza bulijjo?
27 Singa tubala ennaku eza bulijjo 2,520 okuva ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 607 B.C.E., kitutuusa mu mwaka 600 B.C.E., omwaka ogutaalina makulu gonna mu Byawandiikibwa. Wadde mu 537 B.C.E., Abayudaaya abanunuddwa lwe baddayo mu Yuda, obufuzi bwa Yakuwa tebwaliwo ku nsi. Kyali bwe kityo kubanga Zerubbabeeri, omusika w’entebe ya Dawudi, teyafuulibwa kabaka wabula gavana wa Yuda, essaza lya Buperusi.
28. (a) Nkola ki erina okugobererwa ku bikwata ku nnaku 2,520 eza “ebiseera omusanvu” eby’obunnabbi? (b) “Ebiseera omusanvu” eby’obunnabbi byali byenkana wa; byatandika ddi era ne bikoma ddi?
28 Okuva “ebiseera omusanvu” bwe biri bya bunnabbi, tuteekwa okugoberera enkola y’omu Byawandiikibwa ku nnaku 2,520: “Buli lunaku mwaka.” Enkola eno eragibwa mu bunnabbi obukwata ku Bababulooni okuzingiza Yerusaalemi. (Ezeekyeri 4:6, 7; geraageranya Okubala 14:34.) N’olwekyo, “ebiseera omusanvu” ng’ensi emaamiddwa obufuzi bw’Ab’Amawanga awatali kukugirwa Bwakabaka bwa Katonda byamala emyaka 2,520. Byatandikira ku kuzikirizibwa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu mwezi ogw’omusanvu (Tisiri 15) mu mwaka 607 B.C.E. (2 Bassekabaka 25:8, 9, 25, 26) Okuva mu kiseera ekyo okutuuka mu mwaka 1 B.C.E., giba emyaka 606. Emyaka 1,914 egifisseewo giva awo ne gituuka mu mwaka 1914 C.E. Bwe kityo “ebiseera omusanvu,” oba emyaka 2,520, gyaggwaako nga Tisiri 15, oba Okitobba 4/5, 1914 C.E.
29. Ani “asingayo okuba owa wansi mu bantu bonna,” era Yakuwa yakola ki okumutuuza ku ntebe y’obwakabaka?
29 Mu mwaka ogwo ‘ebiseera by’ab’amawanga ebigereke’ byatuukirira, era Katonda n’awa obufuzi eri oyo “asingayo okuba owa wansi mu bantu bonna,” Yesu Kristo, abalabe be gwe baatwala okuba owa wansi ennyo ne batuuka n’okumukomerera. (Danyeri 4:17, NW) Okusobola okutikkira Kabaka Masiya, Yakuwa yasumulula enkoba ez’akabonero ez’ekyuma n’ekikomo ezaali ku ‘kikonge’ ekikiikirira obufuzi bwe. Bwe kityo, Katonda Ali Waggulu Ennyo yakkiriza “ensibuka” okumerukamu, okwoleka obufuzi bwe ku nsi okuyitira mu Bwakabaka obw’omu ggulu obuli mu mikono gya Yesu Kristo, Omusika omukulu owa Dawudi. (Isaaya 11:1, 2; Yobu 14:7-9; Ezeekyeri 21:27) Nga twebaza nnyo Yakuwa olw’enkyukakyuka eno ey’essanyu era n’olw’okutubikkulira ekyama ky’omuti omunene!
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Omuti omunene ogw’omu kirooto kya Nebukadduneeza gwakiikirira ki?
• Kiki ekyatuuka ku Nebukadduneeza mu kutuukirizibwa okwasooka okw’ekirooto kye eky’omuti?
• Ng’ekirooto kye kimaze okutuukirizibwa, Nebukadduneeza yayogera ki?
• Mu kutuukirizibwa okusingawo obukulu okw’ekirooto ky’omuti eky’obunnabbi, “ebiseera omusanvu,” byali byenkana wa, era byatandika ddi era ne bikoma ddi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 83]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 91]