Essuula Eyekkumi
Obwakabaka “Obutalizikirizibwa Emirembe Gyonna”
1. Embeera eziriwo mu bantu ziraze ki?
EMBEERA eziriwo mu nsi leero ziraga nti abantu tebafunye ssanyu bwe beesambye obufuzi bwa Yakuwa ne bagezaako okwefuga bokka. Tewali gavumenti ya muntu yonna ereetedde bantu miganyulo gya lubeerera. Wadde ng’abantu bakulaakulanye mu sayansi okusinga bwe kyali kibadde, tebasobodde kumalawo bulwadde oba okukomya okufa. Obufuzi bw’abantu tebusobodde kumalawo ntalo, ttemu, bumenyi bw’amateeka, bulyi bwa nguzi, oba obwavu. Gavumenti ez’obwannakyemalira zikyanyigiriza abantu mu nsi nnyingi. (Omubuulizi 8:9) Ettaka, amazzi n’empewo nabyo byonoonese olwa tekinologiya, omululu, n’obutamanya bw’abantu. Abakulembeze okugootanya eby’enfuna kiviirako abantu bangi okufuna obuzibu mu kwetuusaako ebyetaagisa mu bulamu. Obufuzi bw’abantu obumaze enkumi n’enkumi z’emyaka bulaze kaati amazima gano nti: “Ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”—Yeremiya 10:23.
2. Kiki ekinaagonjoola ebizibu by’abantu?
2 Kiki ekinaagonjoola ebizibu ebyo? Obwakabaka bwa Katonda Yesu bwe yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bwogerwako mu 2 Peetero 3:13 nga “eggulu eriggya,” erijja okufuga “ensi empya,” kwe kugamba, ekibiina ky’abantu abatuukirivu. Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bukulu nnyo ne kiba nti Yesu bwe yassaako essira ng’abuulira. (Matayo 4:17) Yalaga ekifo kye bwandibadde nakyo mu bulamu bwaffe, ng’agamba: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe.”—Matayo 6:33.
3. Lwaki kikulu nnyo okuyiga ku Bwakabaka bwa Katonda kati?
3 Kikulu nnyo okuyiga ku Bwakabaka bwa Katonda kati kubanga, mangu ddala Obwakabaka obwo bujja kuleetawo enkyukakyuka ey’enkalakkalira mu bufuzi bw’ensi. Danyeri 2:44 lulagula nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo [gavumenti ezifuga kati], Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [mu ggulu], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala [abantu tebaliddamu nate kufuga nsi]: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” Bwe kityo, Obwakabaka bujja kukomya ennaku zino ez’enkomerero nga buzikiriza embeera y’ebintu eno embi. Oluvannyuma lw’ekyo, Obwakabaka obw’omu ggulu bujja kufuga ensi awatali kuwakanyizibwa. Nga twandibadde basanyufu nnyo olw’okuba obwakabaka obwo buli kumpi okuleeta obuweerero!
4. Ku bikwata ku Bwakabaka, kiki ekyaliwo mu ggulu mu 1914, era lwaki ekyo kikulu gye tuli?
4 Mu 1914, Yesu Kristo yatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka era n’aweebwa obuyinza ‘okufugira wakati mu balabe be.’ (Zabbuli 110:1, 2) Era mu mwaka ogwo, ‘ennaku ez’oluvannyuma’ ez’embeera z’ebintu bino zaatandika. (2 Timoseewo 3:1-5, 13) Mu kiseera kye kimu, ebintu Danyeri bye yalaba mu kwolesebwa byaliwo mu ggulu. “Omukadde eyaakamala ennaku ennyingi,” Yakuwa Katonda, yawa Omwana w’omuntu, Yesu Kristo, “okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga.” Ng’ayogera ku kwolesebwa okwo, Danyeri yawandiika: “Okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” (Danyeri 7:13, 14) Okuyitira mu Bwakabaka buno obw’omu ggulu obukulemberwa Yesu Kristo, Katonda ajja kusobozesa abaagala obutuukirivu okufuna ebintu ebirungi bye yagenderera bwe yateeka bazadde baffe abaasooka mu Lusuku lwe.
5. Biki ebikwata ku Bwakabaka bye twandyagadde okumanya era lwaki?
5 Oyagala okufugibwa Obwakabaka obwo? Bwe kiba bwe kityo, ojja kwagala okumanya ebikwata ku nsengeka n’enkola ya gavumenti eyo ey’omu ggulu. Ojja kwagala okumanya kye bukola kati, kye bunaakola mu biseera eby’omu maaso, ne kye bukwetaagisa okukola. Bw’oneeyongera okumanya ebikwata ku Bwakabaka obwo, ojja kweyongera okubusiima. Bw’onoosiima obufuzi bw’obwakabaka, kijja kukwanguyira okubuulira abalala ebintu eby’ekitalo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakolera abantu abawulize.—Zabbuli 48:12, 13.
Abafuzi mu Bwakabaka bwa Katonda
6. (a) Ebyawandiikibwa biraga nti bufuzi bw’ani obweyolekera mu Bwakabaka bwa Masiya? (b) Twandikwatiddwako tutya ebyo bye tuyiga ku Bwakabaka?
6 Ekimu ku bintu by’oyinza okusooka okuzuula mu kwekenneenya ng’okwo kiri nti obufuzi bwa Yakuwa kennyini bwe bweyolekera mu Bwakabaka bwa Masiya. Yakuwa ye yawa Omwana we ‘obufuzi n’ekitiibwa n’obwakabaka.’ Oluvannyuma lw’Omwana wa Katonda oyo okuweebwa obuyinza okutandika okufuga nga Kabaka, amaloboozi mu ggulu gaagamba: “Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe [Yakuwa Katonda], era bwa Kristo we; era [Yakuwa] anaaafuganga emirembe n’emirembe.” (Okubikkulirwa 11:15) N’olwekyo, buli kintu kye tuyiga ku Bwakabaka buno ne kye bujja okukola kyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa kennyini. Bye tuyiga byandituleetedde okwagala okugondera obufuzi bwe emirembe gyonna.
7. Lwaki kitusanyusa nti Yesu Kristo ye Mufuzi addirira Yakuwa?
7 Era fumiitiriza ku nsonga nti Yakuwa atuuzizza Yesu Kristo ku ntebe y’obwakabaka ng’Omufuzi amuddirira. Ng’Omukozi Omukulu, Katonda gwe yakozesa okutonda ensi n’abantu, Yesu amanyi bye twetaaga okusinga omuntu yenna. Ate era, okuva ku ntandikwa y’ebyafaayo by’abantu, yakiraga nti yali ‘ayagala nnyo abaana b’abantu.’ (Engero 8:30, 31; Abakkolosaayi 1:15-17) Yayagala nnyo abantu n’atuuka n’okujja ku nsi ye kennyini n’awaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lwaffe. (Yokaana 3:16) Bwe kityo, yatuggulirawo ekkubo tusobole okusumululwa okuva mu kibi n’okufa era tube n’omukisa ogw’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Matayo 20:28.
8. (a) Okwawukana ku bufuzi bw’abantu, lwaki gavumenti ya Katonda ejja kuba ya lubeerera? (b) Kakwate ki akaliwo wakati wa ‘omuddu omwesigwa ow’amagezi’ ne gavumenti ey’omu ggulu?
8 Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya lubeerera era enkola yaayo tekyukakyuka. Eri bw’etyo kubanga Yakuwa kennyini tayinza kufa. (Zabbuli 146: 3-5, 10) Okwawukana ku bantu abafuga, Yesu Kristo, Katonda gw’akwasizza obufuzi, naye tafa. (Abaruumi 6:9; 1 Timoseewo 6:15, 16) Awamu ne Kristo ku ntebe z’obwakabaka mu ggulu walibaawo abaweereza ba Katonda abeesigwa abalala 144,000 okuva ‘mu buli kika, olulimi, n’eggwanga.’ Ne bano baweebwa obulamu obutayinza kuzikirizibwa. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1-4; 1 Abakkolinso 15:42-44, 53) Abasinga obungi ku abo baamala dda okutuuka mu ggulu, era ensigalira yaabwe abakyaliwo ku nsi ye ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ atuukiriza ebigendererwa by’Obwakabaka obwo wano ku nsi.—Matayo 24:45-47.
9, 10. (a) Bintu ki ebibi era ebireetawo enjawukana Obwakabaka bye bujja okuggyawo? (b) Bwe tuba tetwagala kufuuka balabe b’Obwakabaka bwa Katonda, biki bye tulina okwewala?
9 Mangu ddala, mu kiseera kye ekigereke, Yakuwa ajja kusindika eggye lye okulongoosa ensi. Lijja kuzikiririza ddala abantu abagaanye okukkiriza obufuzi bwe era n’abanyooma enteekateeka ez’okwagala z’akola okuyitira mu Yesu Kristo. (2 Abasessalonika 1:6-9) Olwo lwe lujja okuba olunaku lwa Yakuwa, olunaku mulindwa, kw’anaalagira nti ye Mufuzi Omutuufu ow’Obutonde Bwonna. “Laba, olunaku lwa Mukama lujja, olukambwe, nga lulina obusungu n’ekiruyi; . . . okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.” (Isaaya 13:9) “Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike, n’okulaba ennaku, lunaku lwa [kuzi]kirirako n’okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n’ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte.”—Zeffaniya 1:15.
10 Eddiini zonna ez’obulimba ne gavumenti z’abantu zonna n’amagye gaazo, ebibadde bikubirizibwa omufuzi w’ensi eno omubi atalabika bijja kuzikiririzibwa ddala. Bonna abawagira ensi eno nga beerowoozaako bokka, nga bakumpanya, era nga benyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu bajja kuzikirizibwa. Setaani ne balubaale be bajja kusibibwa emyaka lukumi babe nga tebakyalina buyinza bwonna ku bantu abali ku nsi. Mu kiseera ekyo, Obwakabaka bwa Katonda bujja kukola ku nsonga z’abantu zonna. Nga buliba buweerero bwa maanyi nnyo eri abo bonna abaagala obutuukirivu!—Okubikkulirwa 18:21, 24; 19:11-16, 19-21; 20:1, 2.
Engeri Ebigendererwa by’Obwakabaka Gye Bituukirizibwamu
11. (a) Obwakabaka bwa Masiya bunaatuukiriza butya ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi? (b) Obufuzi bw’Obwakabaka bulikolera ki abantu abalibeera ku nsi mu kiseera ekyo?
11 Obwakabaka bwa Masiya bujja kutuukiriza mu bujjuvu ekigendererwa kya Katonda ekyasooka eri ensi. (Olubereberye 1:28; 2:8, 9, 15) Na guno gujwa, abantu balemereddwa okusiima ekigendererwa ekyo. Kyokka, ‘ensi egenda okubaawo,’ ejja kufugibwa Omwana w’omuntu, Yesu Kristo. Bonna abanaawonawo nga Yakuwa azikiriza enteekateeka eno enkadde bajja kukolera wamu n’essanyu kyonna Kristo Kabaka ky’anaabalagira, ensi esobole okufuuka Olusuku lwa Katonda. (Abaebbulaniya 2:5-9) Abantu bonna bajja kusanyukira emirimu gy’engalo zaabwe era baganyulwe mu bujjuvu okuva mu bibala by’ensi.—Zabbuli 72:1, 7, 8, 16-19; Isaaya 65:21, 22.
12. Abanaafugibwa Obwakabaka banaasobola batya okufuuka abatuukiridde mu ndowooza ne mu mubiri?
12 Adamu ne Kaawa baatondebwa nga batuukiridde, era kyali kigendererwa kya Katonda ensi ejjule ezzadde lyabwe, nga bonna batuukiridde mu ndowooza ne mu mubiri. Wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka, ekigendererwa ekyo kijja kutuukirizibwa. Kino kijja kwetaagisa okuggyawo ebintu byonna ebyajjawo olw’ekibi. Era okusobola okutuukiriza ekyo, Kristo ky’ava aweereza nga Kabaka era nga Kabona Omukulu. N’obugumiikiriza, ajja kuyamba abantu b’afuga okuganyulwa mu ssaddaaka y’obulamu bwe etangirira ebibi.
13. Mikisa ki egiribaawo wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka?
13 Wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka, abanaabeera ku nsi bajja kufuna emikisa mingi. “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba.” (Isaaya 35:5, 6) Omubiri ogwonoonese olw’obukadde oba obulwadde guliba muggya okusinga ogw’omwana omuto, era ababadde abalwadde mu ngeri yonna bajja kuwona. “Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw’omwana omuto; adda mu nnaku z’obuto bwe.” (Yobu 33:25) Olunaku lujja kutuuka nga tewali agamba nti, ‘ndi mulwadde.’ Lwaki? Kubanga abantu abatya Katonda bajja kutikkulwako omugugu gw’ekibi n’eby’ennaku ebikivaamu. (Isaaya 33:24; Lukka 13:11-13) Yee, Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.
14. Okubeera abantu abatuukiridde kizingiramu ki?
14 Kyokka, okubeera abantu abatuukiridde kizingiramu ekisingawo ku kubeera obubeezi abatuukiridde mu mubiri ne mu ndowooza. Kizingiramu okwoleka engeri za Yakuwa, okuva bwe twakolebwa mu ‘kifaananyi kye.’ (Olubereberye 1:26) Okusobola okutuukiriza ekyo, kijja kutwetaagisa okuyigirizibwa ennyo mu nsi empya, ‘obutuukirivu mwe bulituula.’ N’olwekyo, nga Isaaya bwe yalagula, ‘abalituula mu nsi baliyiga obutuukirivu.’ (2 Peetero 3:13; Isaaya 26:9) Engeri eno esobozesa emirembe okubaawo wakati w’abantu ab’amawanga ag’enjawulo, ab’emikwano, mu maka, era n’okusinga byonna ne Katonda kennyini. (Zabbuli 85:10-13; Isaaya 32:17) Abo abayiga obutuukirivu bajja kuyigirizibwa mpolampola Katonda by’ayagala. Bwe baneeyongera okwagala Yakuwa, bajja kugoberera amakubo ge mu bulamu bwabwe bwonna. Bajja kusobola okwogera nga Yesu nti, ‘bulijjo nkola Kitange by’asiima.’ (Yokaana 8:29) Ng’obulamu buliba bwa ssanyu nnyo ng’abantu bonna bakola ekyo!
Ebimaze Okukolebwa
15. Ng’okozesa ebibuuzo ebiri mu katundu kano, laga ebyo Obwakabaka bye bukoze ne kye tusaanidde okukola kati.
15 Ebyo ebikoleddwa Obwakabaka bwa Katonda n’abo bwe bufuga birabika lwatu. Ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiddirira bijja kukujjukiza ebimu ku bintu ebyo ebikoleddwa, awamu n’ebyo abafugibwa Obwakabaka bye basaanidde okukola kati.
Obwakabaka bwasooka kulwanyisa ani era kiki ekyavaamu? (Okubikkulirwa 12:7-10, 12)
Nsigalira ya kibinja ki ebadde ekuŋŋaanyizibwa okuva Kristo bwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka? (Okubikkulirwa 14:1-3)
Okusinziira ku Matayo 25:31-33, Yesu yalagula nti alikola mulimu ki oluvannyuma lw’okubalukawo kw’ekibonyoobonyo ekinene?
Mulimu ki ogukolebwa leero? Baani abagwenyigiddemu? (Zabbuli 110:3; Matayo 24:14; Okubikkulirwa 14:6, 7)
Lwaki bannabyabufuzi ne bannaddiini abatuziyiza tebasobodde kuyimiriza mulimu gwa kubuulira? (Zekkaliya 4:6; Ebikolwa 5:38, 39)
Nkyukakyuka ki ezibaddewo mu bulamu bw’abo abagondera obufuzi bw’Obwakabaka? (Isaaya 2:4; 1 Abakkolinso 6:9-11)
Obwakabaka obw’Emyaka Olukumi
16. (a) Kristo anaafugira bbanga ki? (b) Bintu ki eby’ekitalo ebirikolebwa mu kiseera ekyo era n’oluvannyuma lwakyo?
16 Oluvannyuma lw’okusibibwa kwa Setaani ne balubaale be, Yesu Kristo ne basika banne 144,000 bajja kufuga nga bakabaka era bakabona okumala emyaka lukumi. (Okubikkulirwa 20:6) Mu kiseera ekyo, abantu bajja kuddamu okuba abatuukiridde, ng’ekibi n’okufa biggiddwaawo ddala. Ku nkomerero y’Obufuzi obwo obw’Emyaka Olukumi, nga Yesu amaze okutuukiriza omulimu ogwamuweebwa nga Kabaka era Kabona, ‘ajja kuwaayo obwakabaka’ eri Kitaawe, ‘Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.’ (1 Abakkolinso 15:24-28) Mu kiseera ekyo, Setaani ajja kusumululwa okumala akabanga, abantu abanunuddwa bagezesebwe okulaba oba nga ddala bawagira Obufuzi bwa Yakuwa. Oluvannyuma lw’ekigezo ekyo ekisembayo, Yakuwa ajja kuzikiriza Setaani n’abajeemu abalimwegattako. (Okubikkulirwa 20:7-10) Abo abaliwagira obufuzi bwa Yakuwa, kwe kugamba, obwannannyini bw’alina okufuga, bajja kuba balaze mu bujjuvu nga beesigwa gy’ali. Olwo nno, bajja kuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, abakkirize ng’abaana be, era abawe obulamu obutaggwaawo.—Abaruumi 8:21.
17. (a) Kiki ekirituuka ku Bwakabaka ku nkomerero y’emyaka olukumi? (b) Mu ngeri ki gye kiri nti Obwakabaka ‘tebulizikirizibwa emirembe gyonna’?
17 N’olwekyo, ekifo kya Yesu n’ekya 144,000 kijja kukyuka. Banaaba na mulimu ki mu biseera eby’omu maaso? Baibuli tetubuulira. Naye singa tuwagira obufuzi bwa Yakuwa, tujja kuba balamu ku nkomerero y’Obufuzi bw’Emyaka Olukumi okumanya ekyo Yakuwa ky’aliba abategekedde bo era n’obutonde bwonna. Wadde kiri kityo, obufuzi bwa Kristo obw’emyaka olukumi bujja kuba ‘bwa mirembe gyonna egitaliggwaawo’ era Obwakabaka bwe ‘tebulizikirizibwa.’ (Danyeri 7:14) Mu ngeri ki? Ensonga emu eri nti, obufuzi tebulidda mu mikono gy’abalala abalina ebiruubirirwa ebirala, kubanga Yakuwa y’aliba Omufuzi. Era, Obwakabaka ‘tebulizikirizibwa emirembe gyonna’ kubanga bye bulikola bijja kubaawo emirembe gyonna. (Danyeri 2:44) Ate era, Kabaka era Kabona ne b’alifuga nabo bajja kussibwamu ekitiibwa emirembe gyonna olw’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.
Ebibuuzo Eby’Okwejjukanya
• Lwaki Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu? Kabaka w’Obwakabaka obwo yatandika ddi okufuga?
• Kiki ekisinga okukusikiriza ku Bwakabaka bwa Katonda, era bulikola ki?
• Biki bye tulaba ebikoleddwa Obwakabaka, era tulina mugabo ki mu bino?
[Ekifaananyi ekiri ku empapula 92, 93]
Wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, abantu bonna bajja kuyiga obutuukirivu