Yesu Bye Yayigiriza Bireeta Bitya Essanyu?
‘Yesu yalinnya ku lusozi, abayigirizwa be ne bajja gy’ali n’atandika okubayigiriza.’—MAT. 5:1, 2.
1, 2. (a) Biki ebyaliwo nga Yesu tannatandika Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi? (b) Yesu bwe yali ayigiriza yatandikira ku ki?
OMWAKA gwa 31 E.E. Yesu ayimirizzaamu ku mulimu gw’okubuulira gw’aliko e Ggaliraaya, asobole okubaawo ku mbaga y’Okuyitako e Yerusaalemi. (Yok. 5:1) Bw’akomawo e Ggaliraaya, asaba Katonda ekiro kyonna amuwe obulagirizi mu kulonda abatume 12. Ku lunaku oluddako abantu bakuŋŋaana era Yesu awonya abalwadde. Yesu atuula ku lusozi n’abayigirizwa be awamu n’abantu abalala, n’atandika okuyigiriza.—Mat. 4:23–5:2; Luk. 6:12-19.
2 Ku ntandikwa y’okuyigiriza okwo—Okubuulira okw’Oku Lusozi—Yesu alaga nti okuba n’essanyu kiva mu kuba na nkolagana nnungi ne Katonda. (Soma Matayo 5:1-12.)a Okuba n’essanyu kwe ‘kuba nga muli owulira bulungi era ng’oli mumativu.’ Ebintu omwenda ebireeta essanyu Yesu bye yayogerako biraga ensonga lwaki Abakristaayo basanyufu, era na kati bikyali bya mugaso wadde nga byayogerwa emyaka kumpi 2,000 emabega. Kati ka tubyetegereze kimu ku kimu.
Abo “Abamanyi Obwetaavu Bwabwe obw’Eby’Omwoyo”
3. Okumanya obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo kitegeeza ki?
3 “Balina essanyu [abo] abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” (Mat. 5:3) Abo “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” bakiraba nti beetaaga obulagirizi bwa Katonda n’obusaasizi bwe.
4, 5. (a) Lwaki abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo basanyufu? (b) Tuyinza tutya okweriisa obulungi mu by’omwoyo?
4 Abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo basanyufu “kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” Okukkiririza mu Yesu nga Masiya kyawa abayigirizwa be abaasooka essuubi ery’okufuga naye mu Bwakabaka bwa Katonda mu ggulu. (Luk. 22:28-30) Ka kibe nti essuubi lyaffe lya kufuga ne Kristo mu ggulu oba nga lya kubeera ku nsi mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda, ffenna tusobola okuba abasanyufu bwe tukiraba nti tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo.
5 Bangi tebakimanyi nti balina obwetaavu obw’eby’omwoyo, tebalina kukkiriza era ebikwata ku Katonda tebabitwala nga kikulu. (2 Bas. 3:1, 2; Beb. 12:16) Okweriisa obulungi mu by’omwoyo kizingiramu okwesomesa ennyo Baibuli, okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa, n’obutayosa kugenda mu nkuŋŋaana za Kikristaayo.—Mat. 28:19, 20; Beb. 10:23-25.
Abakungubaga “Balina Essanyu”
6. Abo “abakungubaga,” be baani era lwaki “balina essanyu”?
6 “Balina essanyu abakungubaga, kubanga balibudaabudibwa.” (Mat. 5:4) Abantu “abakungubaga” era baba ‘bamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.’ Tebakungubaga lwa kuba nti balina ebizibu mu bulamu wabula bakungubaga lwa kukimanya nti boonoonyi, n’olw’embeera embi eriwo eva ku butali butuukirivu bw’abantu. Lwaki abantu ng’abo abakungubaga “balina essanyu”? Kubanga bakkiririza mu Katonda ne mu Kristo, era babudaabudibwa olw’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Yok. 3:36.
7. Twanditutte tutya ebintu ebiri mu nsi ya Setaani?
7 Naawe okungubaga olw’obutali butuukirivu obweyongedde ennyo mu nsi ya Setaani? Muli ggwe otunuulira otya ebintu ensi eno by’etwala ng’eby’omuwendo? Omutume Yokaana yawandiika nti: “Buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe.” (1 Yok. 2:16) Naye watya nga tuwulira nti tutandise okuddirira mu by’omwoyo ‘olw’omwoyo gw’ensi’—amaanyi agakolera mu bantu abatatya Katonda—okugenda nga gutusensera? Bwe kiba kityo, tusaanidde okusaba ennyo, okwesomesa Ekigambo kya Katonda, n’okutuukirira abakadde batuyambe. Bwe tunaasemberera Yakuwa, tujja ‘kubudaabudibwa,’ ka kibe kiki ekinaaba kituleetera okukungubaga.—1 Kol. 2:12; Zab. 119:52, NW; Yak. 5:14, 15.
Nga “Balina Essanyu Abateefu”!
8, 9. Okuba omuteefu kitegeeza ki, era lwaki abantu abateefu baba basanyufu?
8 “Balina essanyu abateefu, kubanga balisikira ensi.” (Mat. 5:5) ‘Obuteefu’ obwa nnamaddala tebuba bunafu, ate era tebuba bwa kungulu. (1 Tim. 6:11, NW) Bwe tuba abateefu, tujja kukiraga nga tukola Yakuwa by’ayagala era nga tukkiriza obulagirizi bwe. Obuteefu bwaffe bujja kweyolekera ne mu ngeri gye tukolaganamu ne bakkiriza bannaffe era n’abantu abalala. Obuteefu obw’engeri eyo butuukana bulungi n’okubuulirira kwa Pawulo.—Soma Abaruumi 12:17-19.
9 Lwaki ‘abateefu balina essanyu’? Yesu, eyali omuteefu, yagamba nti basanyufu kubanga “balisikira ensi.” Yesu ye Musika w’ensi omukulu. (Zab. 2:8; Mat. 11:29; Beb. 2:8, 9) Kyokka, waliwo abantu abateefu “abasikira [ensi] awamu ne Kristo.” (Bar. 8:16, 17) Yesu bw’anaaba afuga ensi eno nga Kabaka, ejja kubaamu abalala abawombeefu bangi abanaaweebwa obulamu obutaggwawo.—Zab. 37:10, 11.
10. Bwe tutaba bateefu kiyinza kutuviiramu ki mu kibiina, era kiyinza kukwata kitya ku nkolagana yaffe n’abalala?
10 Okufaananako Yesu, naffe tusaanidde okuba abateefu. Naye watya nga tumanyiddwa ng’abantu abaagala ennyo okuleetawo enkaayana? Ekyo kiyinza okuviirako abalala okutwewala. Ab’oluganda abalina omuze ogwo tebasaanidde kuweebwa nkizo mu kibiina. (1 Tim. 3:1, 3) Pawulo yakubiriza Tito okujjukizanga Abakristaayo b’omu Kuleete “obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.” (Tito 3:1, 2) Nga bwe tuba abateefu kiganyula nnyo abalala!
Abalumwa Enjala “olw’Obutuukirivu”
11-13. (a) Okulumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu kitegeeza ki? (b) Abo abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu ‘bakkusibwa’ batya?
11 “Balina essanyu abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu, kubanga balikkusibwa.” (Mat. 5:6) “Obutuukirivu” Yesu bwe yali ayogerako wano kwe kukola Katonda by’ayagala n’okunywerera ku biragiro bye. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti emmeeme ‘yamukutuka olw’okuyaayaanira’ emisango gya Katonda egy’obutuukirivu. (Zab. 119:20) Naffe tulumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu?
12 Yesu yagamba nti abo abalumwa enjala n’ennyonta olw’okwagala obutuukirivu bandibadde basanyufu kubanga ‘bandikkusiddwa.’ Kino kyatuukirira oluvannyuma lwa Pentekoote 33 E.E., olw’okuba ku olwo omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwatandika ‘okulumiriza ensi ku bikwata ku butuukirivu.’ (Yok. 16:8) Ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Katonda yaluŋŋamya abasajja okuwandiika Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ebituyamba okumanya ‘okubuulirira okuli mu butuukirivu.’ (2 Tim. 3:16) Omwoyo gwa Katonda era gutuyamba “okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu.” (Bef. 4:24) Tekizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti abo abeenenya era ne basaba okusonyiyibwa ebibi byabwe okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu basobola okuweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda?—Soma Abaruumi 3:23, 24.
13 Abasinga ku ffe, enjala n’ennyonta ey’obutuukirivu gye tulina ejja kutuggwerako ddala nga tufunye obulamu obutaggwawo mu mbeera ez’obutuukirivu ku nsi. Nga tulindirira ekyo okutuukirira, ka tube bamalirivu okutambulira ku mitindo gya Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Musooke munoonye obwakabaka n’obutuukirivu [bwa Katonda].” (Mat. 6:33) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba na bingi eby’okukola mu buweereza bwaffe eri Katonda era tujja kufuna essanyu erya nnamaddala.—1 Kol. 15:58.
Ensonga Lwaki “Abasaasira Abalala” Basanyufu
14, 15. Tuyinza tutya okulaga abalala obusaasizi, era lwaki “abasaasira abalala” basanyufu?
14 “Balina essanyu abo abasaasira abalala, kubanga balisaasirwa.” (Mat. 5:7) Abo “abasaasira abalala” baba babalumirirwa. Yesu yawonya abantu bangi endwadde olw’okuba yabasaasira. (Mat. 14:14) Abantu balaga abalala obusaasizi bwe babasonyiwa nga balina ekibi kye babakoze, nga ne Yakuwa bw’asaasira abo abeenenyezza era n’abasonyiwa. (Kuv. 34:6, 7; Zab. 103:10) Era tusobola okulaga obusaasizi nga twogera oba nga tukola ebintu ebiyamba abo abali mu bizibu. Engeri ennungi ey’okulagamu abalala obusaasizi kwe kubabuulira amawulire amalungi agali mu Baibuli. Abantu bwe baakwasa Yesu ekisa, ‘yatandika okubayigiriza ebintu bingi.’—Mak. 6:34.
15 Tukkiriziganya n’ekyo Yesu kye yagamba nti: “Balina essanyu abo abasaasira abalala, kubanga balisaasirwa.” Bwe tulaga abalala obusaasizi, nabo bajja kutukolera ekintu kye kimu. Okulaga abalala obusaasizi kiyinza n’okuleetera Katonda okutukendeereza ku kibonerezo ng’atulamula. (Yak. 2:13) Abo abalaga obusaasizi be bokka abasonyiyibwa ebibi, era be bajja okufuna obulamu obutaggwawo.—Mat. 6:15.
Ensonga Lwaki “Abalongoofu mu Mutima” Basanyufu
16. Okuba “abalongoofu mu mutima” kitegeeza ki, era mu ngeri ki abali ng’abo gye ‘balaba Katonda’?
16 “Balina essanyu abalongoofu mu mutima, kubanga baliraba Katonda.” (Mat. 5:8) Bwe tuba “abalongoofu mu mutima,” tujja kukyolekera mu mikwano gye tukola, mu bintu bye twagala, era ne mu biruubirirwa bye tulina. Tujja kulaga ‘okwagala okuva mu mutima omulongoofu.’ (1 Tim. 1:5) Bwe tuba abalongoofu mu mutima, tujja ‘kulaba Katonda.’ Kino tekitegeeza nti tuba tujja kulaba Yakuwa n’amaaso gaffe, kubanga ‘tewali muntu ayinza kulaba Katonda n’aba mulamu.’ (Kuv. 33:20) Kyokka olw’okuba Yesu yayolekera ddala engeri za Katonda, yali asobola okugamba nti: “Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.” (Yok. 14:7-9) Ng’abasinza ba Yakuwa abali ku nsi, ‘tulaba Katonda’ bwe tufumiitiriza ku bintu by’atukolera. (Yobu 42:5) Abakristaayo abaafukibwako amafuta bo batuusa ekiseera ne balabira ddala Kitaabwe ow’omu ggulu n’amaaso gaabwe nga bazuukiziddwa mu bulamu obw’omwoyo.—1 Yok. 3:2.
17. Okuba abalongoofu mu mutima kituyamba kitya?
17 Olw’okuba omuntu alina omutima omulongoofu aba muyonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, ebirowoozo bye tabiteeka ku bintu bitali birongoofu mu maaso ga Yakuwa. (1 Byom. 28:9; Is. 52:11) Bwe tuba abalongoofu mu mutima, bye twogera ne bye tukola bijja kuba birongoofu, era obuweereza bwaffe eri Yakuwa tebujja kubaamu bukuusa.
“Abaleetawo Emirembe” Bafuuka Baana ba Katonda
18, 19. Abo “abaleetawo emirembe” beeyisa batya?
18 “Balina essanyu abaleetawo emirembe, kubanga baliyitibwa ‘baana ba Katonda.’” (Mat. 5:9) Abantu “abaleetawo emirembe” balabirwa ku ngeri gye beeyisaamu. Bwe tuba nga tuli bantu ba kisa ng’abo Yesu be yali ayogerako, tujja kufuba okuleetawo emirembe era ‘tetujja kuwalana muntu kibi olw’ekibi.’ Mu kifo ky’ekyo, tujja kufuba ‘okugoberera ekirungi eri bonna.’—1 Bas. 5:15.
19 Okusobola okuba abantu abaleetawo emirembe, tulina okufuba okubaako kye tukolawo okutumbula emirembe. Abantu baleetawo emirembe beewala okukola ekintu kyonna ekiyinza ‘okukyawaganya ab’omukwano.’ (Nge. 16:28) Ng’abantu abaleetawo emirembe, ‘tuluubirira okuba mu mirembe n’abantu bonna.’—Beb. 12:14, NW.
20. Baani abaafuuka ‘abaana ba Katonda,’ era baani abalifuuka abaana ba Katonda?
20 Abo abaleetawo emirembe baba basanyufu kubanga “baliyitibwa ‘baana ba Katonda.’” Abakristaayo abaafukibwako amafuta Yakuwa yabafuula ‘baana be.’ Ng’abaana be, kati balina enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa kubanga bakkiririza mu Kristo era basinza ‘Katonda ow’okwagala era ow’emirembe’ n’omutima gwabwe gwonna. (2 Kol. 13:11; Yok. 1:12) Ate kiri kitya ku bagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala,’ abaleetawo emirembe? Yesu ajja kufuuka ‘Kitaabwe ow’Emirembe n’Emirembe’ mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi. Kyokka nabo bajja kufuuka baana ba Katonda mu bujjuvu ku nkomerero y’ekiseera ekyo, Yesu bw’anessa wansi wa Yakuwa.—Yok. 10:16; Is. 9:6, NW; Bar. 8:21; 1 Kol. 15:27, 28.
21. Bwe tuba nga tukulemberwa “omwoyo mu bulamu bwaffe,” tuneeyisa tutya?
21 Bwe tuba tukulemberwa “omwoyo mu bulamu bwaffe,” kijja kweyoleka bulungi eri abalala nti tuli bantu ba mirembe. Tetujja kugezaako ‘kuvuganya’ na balala. (Bag. 5:22-26, NW) Mu kifo ky’ekyo, tujja kufuba ‘okutabagana n’abantu bonna.’—Bar. 12:18.
Basanyufu Wadde nga Bayigganyizibwa!
22-24. (a) Lwaki abo abayigganyizibwa olw’obutuukirivu baba basanyufu? (b) Biki bye tugenda okulaba mu bitundu by’okusoma ebibiri ebiddako?
22 “Balina essanyu abayigganyizibwa olw’obutuukirivu, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” (Mat. 5:10) Yesu yagattako nti: “Mulina essanyu abantu bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, era ne babawaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika ku lwange. Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu; kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaabasooka mmwe.”—Mat. 5:11, 12.
23 Okufaananako bannabbi ba Katonda ab’edda, Abakristaayo basuubira okuvumibwa, okuyigganyizibwa, n’okwogerwako eby’obulimba “olw’obutuukirivu.” Kyokka, tufuna essanyu bwe tugumira okugezesebwa ng’okwo kubanga tumanyi nti tuba tusanyusizza Yakuwa era nga tumuweesezza ekitiibwa. (1 Peet. 2:19-21) Okubonaabona tekuyinza kutumalako ssanyu lye tufuna mu kuweereza Yakuwa, ka kibe kati oba mu biseera eby’omu maaso. Era tekuyinza kukendeeza ssanyu lye tulina olw’essuubi ery’okufuga ne Kristo mu Bwakabaka bwe mu ggulu oba ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. Emikisa ng’egyo gitulaga nti Katonda asiima bye tukola, mulungi era mugabi.
24 Waliwo ebirala bingi bye tuyiga mu Kubuulira kw’Oku Lusozi. Ebimu ku byo tujja kubiraba mu bitundu eby’okusoma ebibiri ebiddako. Tujja kulaba engeri gye tuyinza okukolera ku ebyo Yesu Kristo bye yayigiriza.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo ky’Oluyonaani ma·kaˈri·oi kyavvuunulwa “balina omukisa” mu Matayo 5:3-11 mu Baibuli y’Oluganda, naye ekituufu kyandibadde kigamba nti “balina essanyu,” nga bwe kyavvuunulwa mu New World Translation. Bwe kityo mu kitundu kino ennyiriri ezo waggulu zijja kuva mu New World Translation.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki abo “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” basanyufu?
• Lwaki “abateefu” balina essanyu?
• Lwaki Abakristaayo basanyufu wadde nga bayigganyizibwa?
• Mu bintu ebireeta essanyu Yesu bye yayogerako, kiruwa ekisinga okukukwatako?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Ebintu omwenda ebireeta essanyu Yesu bye yayogerako ne leero bikyali bya muganyulo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Engeri ennungi ey’okulagamu obusaasizi kwe kubuulira abalala amawulire amalungi