Tusaanidde Kuyisa Tutya Abalala?
“Nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.”—LUK. 6:31.
1, 2. (a) Okubuulira okw’Oku Lusozi kwe kuluwa? (b) Biki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino n’ekiddako?
TEWALI kubuusabuusa nti Yesu Kristo ye yali Omuyigiriza Omukulu. Abalabe be bwe batuma abasajja okumukwata, abasajja abo baddayo ngalo njereere ne bagamba, “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” (Yok. 7:32, 45, 46) Ebimu ku bintu ebiwuniikiriza Yesu bye yayigiriza by’ebyo ebiri mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi. Bisangibwa mu Njiri ya Matayo essuula 5 okutuuka ku 7, era ebintu kumpi bye bimu byogerwako ne mu Lukka 6:20-49.a
2 Ebigambo ebiyinza okuba nga bye bisinga okumanyibwa mu kubuulira okwo by’ebyo ebikwata ku ngeri y’okuyisaamu abalala. Yesu yagamba nti: “Nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.” (Luk. 6:31) Yesu yakolera abantu ebirungi bingi. Yawonya abalwadde era yazuukiza n’abafu. Naye okusingira ddala abantu baaganyulwa bwe bakkiriza amawulire amalungi ge yabuulira. (Soma Lukka 7:20-22.) Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuli basanyufu okwenyigira mu mulimu gwe gumu ogw’okubuulira Obwakabaka. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kwetegereza Yesu bye yayogera ku mulimu ogwo, tulabe n’ebirala ebiri mu Kubuulira kw’Oku Lusozi ebikwata ku ngeri gye tulina okuyisaamu abalala.
Beera Muteefu
3. Kitegeeza ki okuba omuteefu?
3 Yesu yagamba, “Balina omukisa [“essanyu,” NW] abateefu, kubanga abo balisikira ensi.” (Mat. 5:5) Mu Byawandiikibwa, okuba omuteefu tekitegeeza kuba munafu. Kitegeeza kuba mugonvu n’okola Katonda by’akwetaagisa. Kino kyeyolekera mu ngeri gye tukolaganamu n’abalala. Ng’ekyokulabirako, ‘tetuwalana muntu kibi olw’ekibi.’—Bar. 12:17-19.
4. Lwaki abateefu balina essanyu?
4 Abantu abateefu basanyufu kubanga ‘bajja kusikira ensi.’ Yesu, eyali ‘omuteefu era omuwombeefu mu mutima,’ ye ‘yassibwawo okuba omusika wa byonna,’ era bwe kityo ye musika omukulu ow’ensi. (Mat. 11:29; Beb. 1:2; Zab. 2:8) Kyalagulwa nti “omwana w’omuntu” era Masiya yandibadde n’abalala b’afuga nabo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Dan. 7:13, 14, 21, 22, 27) ‘Ng’abasikira awamu ne Kristo,’ abantu abateefu 144,000 abaafukibwako amafuta nabo bandisikidde ensi. (Bar. 8:16, 17; Kub. 14:1) Abantu abalala abateefu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda.—Zab. 37:11.
5. Okuba abateefu nga Kristo kituyamba kitya?
5 Bwe tuba abakambwe, abantu bajja kutwesalako era batwewale. Naye, bwe tuba abateefu nga Kristo, tujja kuba bantu balungi era tujja kusobola okuzimba bakkiriza bannaffe mu by’omwoyo. Omutume Pawulo yalaga nti obuteefu kye kimu ku bibala omwoyo bye yawandiika nti: “Obuteefu, okwefuga. Ebiri ng’ebyo tebikontana na mateeka.” Omwoyo gwa Katonda gujja kutuyamba okubala ebibala ng’ebyo bwe ‘tukulemberwa era ne tugoberera obulagirizi bw’omwoyo.’ (Abaggalatiya 5:23, 25, NW) Tewali kubuusabuusa nti twandyagadde okuba mu abo abateefu abakulemberwa omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu!
Balina Essanyu Abasaasizi
6. Ngeri ki ennungi abantu ‘abasaasizi’ ze baba nazo?
6 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu era yagamba nti: “Balina essanyu abasaasira abalala, kubanga balisaasirwa.” (Mat. 5:7, NW) Abo “abasaasira abalala” balumirirwa abantu abanaku era babakwatirwa ekisa. Yesu yakola eby’amagero okuyamba abantu abaali babonaabona kubanga ‘yabasaasira,’ oba ‘yabakwatirwa ekisa.’ (Mat. 14:14; 20:34) N’olwekyo, okulumirirwa abalala n’okubakwatirwa ekisa byandituleetedde okuba abasaasizi.—Yak. 2:13.
7. Obusaasizi bwaleetera Yesu kukola ki?
7 Yesu yasanga ekibinja ky’abantu bwe yali agenda okuwummulamu, “n’abasaasira, kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba.” Awo “n’atanula okubayigiriza ebigambo bingi.” (Mak. 6:34) Nga naffe tufuna essanyu lingi bwe tubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’obusaasizi bwe nga Yesu bwe yakola!
8. Lwaki abo abalaga obusaasizi basanyufu?
8 Abantu abasaasizi basanyufu kubanga balagibwa ‘obusaasizi.’ Bwe tulaga abalala obusaasizi, emirundi egisinga nabo batuyisa mu ngeri y’emu. (Luk. 6:38) Ng’oggyeko ekyo, Yesu yagamba nti: “Bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe.” (Mat. 6:14) Abantu abalaga abalala obusaasizi be bokka abamanyi essanyu eriva mu kusonyiyibwa ebibi n’okusiimibwa Katonda.
Ensonga Lwaki “Abatabaganya” Baba Basanyufu
9. Bwe tuba abatabaganya tulina kukola ki?
9 Ng’ayogera ku kintu ekirala ekireeta essanyu, Yesu yagamba: “Balina omukisa [“essanyu,” NW] abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.” (Mat. 5:9) Bwe tuba abatabaganya, tetujja kwenyigira mu kintu kyonna ekiyinza ‘okukyawaganya ab’omukwano,’ gamba ng’okwogera ebintu ebyonoona erinnya ly’abalala. (Nge. 16:28) Mu bigambo ne mu bikolwa, tujja kufuba okutabagana obulungi n’abantu abali mu kibiina Ekikristaayo n’abo abali ebweru waakyo. (Beb. 12:14) N’okusingira ddala, tujja kufuba okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda.—Soma 1 Peetero 3:10-12.
10. Lwaki “abatabaganya” balina essanyu?
10 Yesu yagamba nti “abatabaganya” balina essanyu ‘kubanga baliyitibwa baana ba Katonda.’ Olw’okuba bakkiririza mu Yesu nga Masiya, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baweebwa “obuyinza okufuuka abaana ba Katonda.” (Yok. 1:12; 1 Peet. 2:24) Ate kiri kitya ku batabaganya ‘ab’endiga endala’ abakkiririza mu Yesu? Yesu ajja kuba ‘Kitaabwe ataggwawo’ mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi wamu ne basika banne mu ggulu. (Yok. 10:14, 16; Is. 9:6; Kub. 20:6) Ku nkomerero y’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, abantu ng’abo abatabaganya bajja kufuukira ddala baana ba Katonda ab’oku nsi.—1 Kol. 15:27, 28.
11. Bwe tukolera ku ‘magezi agava waggulu,’ tunaayisa tutya abalala?
11 Okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, “Katonda ow’emirembe,” tuteekwa okukoppa engeri ze omuli n’okuba abatabaganya. (Baf. 4:9) Bwe tukolera ku ‘magezi agava waggulu,’ tujja kuyisa abalala mu ngeri ereetawo okutabagana. (Yak. 3:17) Yee, tujja kuba batabaganya basanyufu.
“Omusana Gwammwe Gwakenga”
12. (a) Yesu yayogera ki ku kitangaala eky’eby’omwoyo? (b) Tulina kukola ki ekitangaala kyaffe okwaka?
12 Bwe tuyamba abantu okulaba ekitangaala ky’eby’omwoyo ekiva eri Katonda, tuba tubakoledde ekintu ekisingayo okuba ekirungi. (Zab. 43:3) Yesu yagamba abayigirizwa be nti baali “musana gwa nsi” era yabakubiriza okulekanga omusana gwabwe gwake, abantu balabe ‘ebirungi bye bakola,’ oba ebirungi bye bandikoledde abalala. Olwo ekitangaala eky’eby’omwoyo kyandyase “mu maaso g’abantu,” oba kyandiganyudde abantu. (Soma Matayo 5:14-16.) Leero, ekitangaala kyaffe kyaka bwe tukolera baliraanwa baffe ebirungi era bwe twenyigira mu kubuulira amawulire amalungi “mu nsi zonna,” oba “mu mawanga gonna.” (Mat. 26:13; Mak. 13:10) Ng’eno nkizo ya nnungi nnyo!
13. Bintu ki abantu bye batulabamu?
13 Yesu yagamba nti: “Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa.” Ekibuga ekiri ku lusozi kiba kyangu nnyo okulaba. Mu ngeri y’emu, abantu balaba ebikolwa byaffe ebirungi nga tulangirira Obwakabaka, era balaba n’empisa zaffe ennungi.—Tito 2:1-14.
14. (a) Ettabaaza ez’omu kyasa ekyasooka zaali zifaanana zitya? (b) Obutavuunikira kitangaala kyaffe eky’eby’omwoyo mu “kibbo” kitegeeza ki?
14 Yesu yagamba nti ettabaaza bw’ekoleezebwa, tevuunikirwa mu kibbo, wabula eteekebwa ku kikondo esobole okumulisiza abali mu nju bonna. Mu kyasa ekyasooka, ettabaaza yabanga ya bbumba era ng’eteekebwamu olutambi okusika amafuta esobole okwaka. Ettabaaza yateekebwanga waggulu ku kikondo eky’omuti oba eky’ekyuma esobole ‘okwakira abali mu nju bonna.’ Omuntu bwe yakoleezanga ettabaaza nga tagivuunikira mu “kibbo.” Yesu yali tayagala bayigirizwa be bateeke kitangaala kyabwe mu kibbo eky’akabonero. N’olwekyo, tuteekwa okuleka ekitangaala kyaffe okwaka, era tetulina kusirikira mazima ga mu Byawandiikibwa, ka tube nga tuwakanyizibwa oba nga tuyigganyizibwa.
15. Abamu bakola ki bwe balaba “ebirungi” bye tukola?
15 Yesu bwe yamala okwogera ku ttabaaza, n’alyoka agamba abayigirizwa be nti: “Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g’abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.” “Ebirungi” bye tukola bireetera abamu ‘okugulumiza’ Katonda nga bafuuka abaweereza be. Ng’ekyo kyanditukubirizza okweyongera okwaka ‘ng’ettabaaza mu nsi’!—Baf. 2:15.
16. Okuba “omusana gw’ensi” kitegeeza nti tulina kukola ki?
16 Okuba ‘omusana gw’ensi’ kitegeeza nti tulina okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. Naye, ebyo byokka si bye byetaagisa. Omutume Pawulo yagamba, “Mutambulenga ng’abaana b’omusana (kubanga ebibala by’omusana biri mu bulungi bwonna n’obutuukirivu n’amazima).” (Bef. 5:8, 9) Tulina okuba ebyokulabirako ebirungi nga twoleka empisa eziraga okutya Katonda. Tuteekwa okukolera ku kubuulirira kw’omutume Peetero eyagamba nti: ‘Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga, bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.’ (1 Peet. 2:12) Naye tuyinza kukola ki singa tufuna obutategeeragana ne mukkiriza munnaffe?
‘Tabagana ne Muganda Wo’
17-19. (a) “Ssaddaaka” eyogerwako mu Matayo 5:23, 24 yeruwa? (b) Okutabagana ne muganda wo kikulu kwenkana wa, era kino Yesu yakiraga atya?
17 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalabula abayigirizwa be obutasibira wa luganda yenna kiruyi, oba okumuvuma. Mu kifo ky’ekyo, baali balina okufuba okutabagana amangu ddala n’ow’oluganda abasunguwalidde. (Soma Matayo 5:21-25.) Wekkaanye bulungi ebigambo bya Yesu ebyo. Bwe wabanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo akulinako omutawaana, ng’olina kukola ki? Wabanga olina okuleka ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto ogenda osooke otabagane ne muganda wo. Olwo wabanga osobola okudda n’owaayo ssaddaaka yo.
18 “Ssaddaaka” emirundi egisinga kyabanga kintu omuntu ky’awaayo mu yeekaalu ya Yakuwa. Ssaddaaka z’ensolo zaali nkulu nnyo kubanga okusinziira ku Mateeka ga Musa, Katonda yalagira Abaisiraeri okuwangayo ssaddaaka ezo mu kusinza kwabwe. Naye bwe wajjukiranga nti muganda wo akulinako ensonga, kyabanga kikulu okusooka okugigonjoola nga tonnawaayo ssaddaaka yo. Yesu yagamba nti: “Leka awo ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.” Okutabagana ne muganda wo kye kyalina okusooka, olwo ssaddaaka n’elyoka eweebwayo ng’Amateeka bwe gaali galagira.
19 Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo yatwaliramu ssaddaaka zonna n’ebibi byonna. N’olwekyo, omuntu yali tateekwa kuwaayo ssaddaaka n’emu ng’ajjukidde nti muganda we amulinako ensonga. Ssaddaaka bwe yabanga nga nsolo, yalina okulekebwa awo nga nnamu “mu maaso g’ekyoto” ky’ebiweebwayo ebyokebwa mu lujja lwa yeekaalu olwa bakabona. Bwe yamalanga okugonjoola ekizibu ekyo, ng’olwo asobola okukomawo n’awaayo ssaddaaka ye.
20. Lwaki twandyanguye okutabagana ne muganda waffe gwe tuba tunyiigidde?
20 Eri Katonda, okukolagana bulungi ne baganda baffe kikulu nnyo mu kusinza okw’amazima. Ssaddaaka z’ensolo tezaalina makulu eri Yakuwa ng’abo abaziwaayo tebayisa bulungi bantu bannaabwe. (Mi. 6:6-8) N’olwekyo, Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okutabagana amangu.’ (Mat. 5:25, NW) Ng’ayogera ku nsonga y’emu, Pawulo yawandiika: “Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe: so temuwanga bbanga Setaani.” (Bef. 4:26, 27) Bwe tuba n’ensonga entuufu etuleetedde okunyiiga, tulina okugigonjoola mu bwangu tuleme kusiba kiruyi kubanga ekyo kiwe Setaani omwagaanya.—Luk. 17:3, 4.
Wanga Abalala Ekitiibwa
21, 22. (a) Tuyinza tutya okussa mu nkola okubuulirira kwa Yesu kwe tuva okulaba? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
21 Okwekkaanya ebintu ebimu Yesu bye yayogera mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi kyandituleetedde okuyisa abalala obulungi n’okubawa ekitiibwa. Wadde nga ffenna tetutuukiridde, tusobola okukolera ku kubuulirira kwa Yesu kubanga ye ne Kitaffe ow’omu ggulu bakimanyi bulungi nti obusobozi bwaffe buliko we bukoma. Bwe tusaba, ne tukola buli kye tusobola, era Yakuwa n’atuwa emikisa gye, tusobola okuba abateefu, abasaasizi, era abatabaganya. Bwe tuleka ekitangaala kyaffe eky’eby’omwoyo okwaka, Yakuwa aweebwa ekitiibwa. Ate era tusobola okutabagana ne baganda baffe buli lwe tuba tufunye obutategeeragana.
22 Okusinza Yakuwa kw’asiima kutwaliramu okuyisa obulungi balirwana baffe. (Mak. 12:31) Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya ebirala ebiri mu Kubuulira kw’Oku Lusozi ebinaatuyamba okwongera okukolera abalala ebirungi. Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku bintu ebyo eby’ekitalo Yesu bye yayogera, buli omu ku ffe ayinza okwebuuza, ‘Mpisa ntya abalala?’
[Obugambo obuli wansi]
a Nga tonnateekateeka kitundu kino n’ekyo ekiddako, ojja kuganyulwa nnyo bw’onoosooka kusoma essuula ezo waggulu.
Wandizzeemu Otya?
• Kitegeeza ki okuba omuteefu?
• Lwaki abo “abasaasira abalala” balina essanyu?
• Tulina kukola ki omusana gwaffe okwaka?
• Lwaki tusaanidde okwanguwa ‘okutabagana ne muganda waffe’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Okulangirira amawulire g’Obwakabaka y’emu ku ngeri enkulu mwe tulekera ekitangaala kyaffe okwaka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Abakristaayo basaanidde okuteekawo ekyokulabirako ekirungi mu mpisa ezooleka okutya Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Fuba okutabagana ne muganda wo