Yigira ku Lugero Olukwata ku Ttalanta
“Omu n’amuwa ttalanta ttaano, omulala bbiri, n’omulala emu.”—MAT. 25:15.
1, 2. Lwaki Yesu yagera olugero lwa ttalanta?
MU LUGERO olukwata ku ttalanta, Yesu yalaga bulungi obuvunaanyizibwa abagoberezi be abaafukibwako amafuta bwe balina. Twetaaga okutegeera obulungi ebyo ebiri mu lugero olwo, kubanga bikwata ku Bakristaayo ab’amazima bonna, ka babe nga balina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi.
2 Yesu yagera olugero olukwata ttalanta bwe yali addamu ekibuuzo ky’abayigirizwa be ekikwata ku ‘kabonero akandiraze okubeerawo kwe n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’ (Mat. 24:3) N’olwekyo, ebyo ebiri mu lugero olwo bituukirira mu kiseera kyaffe era bye bimu ku ebyo ebiri mu kabonero akalaga nti Yesu afuga nga Kabaka.
3. Biki bye tuyigira ku ngero eziri mu Matayo essuula 24 ne 25?
3 Olugero olukwata ku ttalanta lwe lumu ku ngero ennya eziri mu Matayo 24:45 okutuuka ku 25:46. Olugero olwo awamu n’engero endala essatu, kwe kugamba, olugero olukwata ku muddu omwesigwa era ow’amagezi, olukwata ku bawala ekkumi embeerera, n’olwo olukwata ku ndiga n’embuzi, Yesu yazigera ng’ayogera ku kabonero akandiraze okubeerawo kwe. Mu ngero ezo zonna ennya, Yesu yalaga ebintu ebyandyawuddewo abagoberezi be ab’amazima mu nnaku zino ez’enkomerero. Ebyo ebiri mu lugero olukwata ku muddu omwesigwa, ku bawala embeerera, ne ku ttalanta bikwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta. Mu lugero olukwata ku muddu omwesigwa, Yesu akiraga nti abaafukibwako amafuta abatonotono abandibadde n’obuvunaanyizibwa obw’okuliisa ab’omu nju ye bandibadde balina okuba abeesigwa era ab’amagezi. Mu lugero olukwata ku bawala embeerera, Yesu akiraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna balina okusigala nga beetegefu era nga bali bulindaala, nga bakimanyi nti Yesu ajja kujjira ku lunaku n’essaawa bye batamanyi. Mu lugero lwa ttalanta, Yesu akiraga nti abaafukibwako amafuta balina okuba abanyiikivu nga bakola omulimu ogwabakwasibwa. Ate ebyo ebiri mu lugero olw’endiga n’embuzi bikwata ku abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Yesu yakiraga nti abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi balina okuba abeesigwa n’okuwagira mu bujjuvu baganda be abaafukibwako amafuta.a Kati ka twetegereze ebyo ebiri mu lugero lwa ttalanta.
OMUSAJJA AKWASA ABADDU BE SSENTE NNYINGI
4, 5. Omusajja ayogerwako mu lugero lwa ttalanta akiikirira ani, era ttalanta yali yenkanankana na ki?
4 Soma Matayo 25:14-30. Ebitabo byaffe bizze bikiraga nti omusajja ayogerwako mu lugero lwa ttalanta ye Yesu era nti yagenda mu nsi ey’ewala bwe yaddayo mu ggulu mu mwaka gwa 33 E.E. Mu lugero olulala lwe yagera, Yesu yalaga nti yali agenda mu nsi ey’ewala okusobola “okulya obwakabaka.” (Luk. 19:12) Bwe yaddayo mu ggulu, Yesu teyafuukirawo Kabaka.b Mu kifo ky’ekyo, ‘yatuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo n’alindirira okutuusa abalabe be lwe banditeekeddwa wansi w’ebigere bye.’—Beb. 10:12, 13.
5 Omusajja ayogerwako mu lugero yalina ttalanta munaana, era mu kiseera ekyo, ssente ezo zaali nnyingi nnyo.c Bwe yali tannagenda mu nsi ey’ewala, yakwasa abaddu be ttalanta ezo ng’abasuubira okuzisuubuza ng’agenze. Okufaananako omusajja oyo, Yesu bwe yali tannaba kuddayo mu ggulu yalina ekintu eky’omuwendo ennyo. Kintu ki ekyo? Gwe mulimu gwe yakola ng’akyali ku nsi.
6, 7. Ttalanta zikiikirira ki?
6 Omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa, Yesu yali agutwala nga mukulu nnyo. Okuyitira mu mulimu ogwo, Yesu yayamba abantu bangi okufuuka abayigirizwa be. (Soma Lukka 4:43.) Naye era yali akimanyi nti waali wakyaliwo omulimu munene ogw’okukola era nti abantu bangi bandikkirizza amawulire amalungi. Emabegako, yali agambye abayigirizwa be nti: “Muyimuse amaaso gammwe mulabe ennimiro; zituuse okukungula.” (Yok. 4:35-38) Okufaananako omulimi omulungi, Yesu yali tasobola kuleka nnimiro eyo eyali etuuse okukungula nga teriiko agirabirira. Bwe kityo, bwe yamala okuzuukira naye nga tannaddayo mu ggulu, Yesu yakwasa abayigirizwa be omulimu omukulu ennyo. Yabagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” (Mat. 28:18-20) Mu ngeri eyo, Yesu yakwasa abagoberezi be eky’obugagga eky’omuwendo ennyo, nga guno gwe mulimu gw’okubuulira.—2 Kol. 4:7.
7 Okufaananako omusajja eyakwasa abaddu be “ebintu bye” oba ttalanta ze, Yesu yakwasa abagoberezi be omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 25:14) N’olwekyo, ttalanta zikiikirira omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa.
8. Wadde ng’abaddu tebaafuna ttalanta ze zimu, kiki bonna mukama waabwe kye yali abasuubira okukola?
8 Olugero lwa ttalanta lulaga nti omusajja yawa omuddu we omu ttalanta ttaano, omulala bbiri, ate omulala n’amuwa emu yokka. (Mat. 25:15) Wadde ng’abaddu tebaafuna ttalanta ze zimu, bonna mukama waabwe yali abasuubira okukozesa ttalanta ezo mu bujjuvu, kwe kugamba, okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. (Mat. 22:37; Bak. 3:23) Mu kyasa ekyasooka, okuviira ddala ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., abagoberezi ba Kristo baatandika okusuubuza ttalanta ezo. Ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, biraga obunyiikivu bwe baayoleka nga bakola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa.d—Bik. 6:7; 12:24; 19:20.
OKUSUUBUZA TTALANTA MU NNAKU EZ’ENKOMERERO
9. (a) Abaddu ababiri abeesigwa baakozesa batya ttalanta ezaabakwasibwa, era ekyo kiraga ki? (b) Kiki ‘ab’endiga endala’ kye balina okukola?
9 Mu kiseera eky’enkomerero, naddala okuva mu 1919, abaafukibwako amafuta abeesigwa babadde basuubuza ttalanta Mukama waabwe ze yabakwasa. Okufaananako abaddu ababiri abaasooka, abasajja n’abakazi abaafukibwako amafuta bakozesezza bulungi ttalanta ezaabakwasibwa. Tekyetaagisa kuteebereza ani yafuna ttalanta ettaano oba ani eyafuna ttalanta ebbiri. Okusinziira ku lugero olwo, abaddu bombi ttalanta ze baafuna baazikubisaamu emirundi ebiri, ekitegeeza nti bombi baali banyiikivu. Naye ekyo kitegeeza nti abaafukibwako amafuta be bokka abalina okwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa? Nedda! Olugero lwa Yesu olw’endiga n’embuzi lulaga nti abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi balina okuyamba baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta mu mulimu ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Mu nnaku zino ez’enkomerero, abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bakolera wamu ‘ng’ekisibo ekimu,’ nga bakola n’obunyiikivu omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa.—Yok. 10:16.
10. Ekimu ku ebyo ebiri mu kabonero Yesu ke yawa akakwata ku nnaku ez’enkomerero kye kiruwa?
10 Yesu asuubira abagoberezi be okwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. Ekyo kyennyini abayigirizwa be abeesigwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka kye baakola. Ne mu kiseera kino eky’enkomerero, ng’olugero lwa Yesu olwa ttalanta lutuukirira, abagoberezi be bakola omulimu ogwo n’obunyiikivu. Leero, amawulire amalungi gatuuse ku bantu bangi okusinga bwe kyali kibadde era abantu bangi bafuuse abayigirizwa. Olw’okuba abagoberezi ba Kristo bonna boolese obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, abantu nkumi na nkumi babatizibwa buli mwaka era nabo ne bayamba abalala okufuuka abayigirizwa. Omulimu gw’okubuulira ogukolebwa leero kye kimu ku ebyo ebiri mu kabonero Yesu ke yawa akakwata ku nnaku ez’enkomerero. Mu butuufu, Yesu ateekwa okuba nga musanyufu nnyo.
MUKAMA W’ABADDU ANAJJA DDI OKUBABUUZA EBIKWATA KU TTALANTA ZE?
11. Lwaki tugamba nti Yesu ajja kujja mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene okubuuza ebikwata ku ttalanta ze?
11 Yesu ajja kujja okubuuza abaddu be ebikwata ku ttalanta ze, mu kiseera ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako. Lwaki tugamba bwe tutyo? Mu bunnabbi bwe obuli mu Matayo essuula 24 ne 25, Yesu yayogera ku kujja kwe enfunda eziwerako. Bwe yali ayogera ku kulamula abantu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Yesu yagamba nti abantu “baliraba Omwana w’omuntu ng’ajjira mu bire eby’eggulu.” Yakubiriza abagoberezi be abandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero okubeera obulindaala. Yabagamba nti: “Temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako,” era “Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.” (Mat. 24:30, 42, 44) N’olwekyo, Yesu bwe yagamba nti ‘mukama w’abaddu abo yajja n’ababuuza ebikwata ku ssente ze,’ ateekwa okuba nga yali ayogera ku kiseera lw’anajja okulamula abantu n’okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu.e—Mat. 25:19.
12, 13. (a) Kiki mukama w’abaddu ky’agamba omuddu asooka n’ow’okubiri, era lwaki? (b) Abaafukibwako amafuta bateekebwako ddi akabonero akasembayo? (Laba akasanduuko “Balibuuzibwa Ebikwata ku Ttalanta Ezaabakwasibwa.”) (c) Mpeera ki abo abanaalamulwa nti ndiga gye banaaweebwa?
12 Okusinziira ku lugero olwo, mukama w’abaddu bw’akomawo, abaddu ababiri abasooka, oyo gwe yakwasa ttalanta ettaano n’oyo gwe yakwasa ebbiri, abasanga bazikozesezza bulungi, nga bazikubisizzaamu emirundi ebiri. Bombi mukama waabwe abagamba ebigambo bye bimu. Buli omu amugamba nti: “Weebale nnyo omuddu omulungi era omwesigwa! Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukukwasa ebintu bingi.” (Mat. 25:21, 23) Kati olwo kiki Yesu Kristo ky’anaakola ng’azze okulamula mu kiseera eky’omu maaso?
13 Ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira, abo abakiikirirwa abaddu ababiri abaasooka, nga bano be bayigirizwa ba Yesu abaafukibwako amafuta abanyiikivu, bajja kuba bamaze okuteekebwako akabonero akasembayo. (Kub. 7:1-3) Olutalo Kalumagedoni bwe lunaaba terunnatandika, Yesu Kristo ajja kubawa empeera yaabwe ng’abatwala mu ggulu. Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi abawagira baganda ba Kristo nabo bajja kuba bamaze okulamulwa nti ndiga era bajja kuweebwa enkizo ey’okubeera ku nsi mu Bwakabaka bwa Katonda.—Mat. 25:34.
OMUDDU OMUBI ERA OMUGAYAAVU
14, 15. Yesu yalaga nti bangi ku baganda be abaafukibwako amafuta bandifuuse ababi era abagayaavu? Nnyonnyola.
14 Mu lugero olwo, omuddu ow’okusatu yaziika ttalanta eyamukwasibwa mu kifo ky’okugisuubuza oba okugiwa abasuubuzi esobole okuzaala amagoba. Omuddu oyo yalina omutima omubi era teyakola ekyo mukama we kye yali ayagala. Eyo ye nsonga lwaki Mukama we yamuyita ‘omuddu omubi era omugayaavu.’ Mukama we yamuggyako ttalanta eyo n’agiwa omuddu eyalina ttalanta ekkumi. Oluvannyuma, omuddu oyo omubi yasuulibwa “ebweru mu kizikiza,” era eyo gye ‘yakaabira era n’alumwa obujiji.’—Mat. 25:24-30; Luk. 19:22, 23.
15 Okuba nti mu lugero lwa Yesu omu ku baddu abasatu yakweka ttalanta ye, kiraga nti kimu kya kusatu eky’abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta bandifuuse babi era bagayaavu? Nedda. Lowooza ku ngero endala bbiri Yesu ze yagera. Mu lugero olw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, Yesu yayogera ku muddu omubi eyakuba baddu banne. Yesu yali talaga nti wandibaddewo omuddu omubi. Mu kifo ky’ekyo, yali alabula omuddu omwesigwa okwewala okwoleka engeri ng’ezo omuddu omubi z’aba nazo. Mu ngeri y’emu, mu lugero lw’abawala ekkumi embeerera, Yesu yali talaga nti kimu kya kubiri eky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta bandibadde ng’abawala abataano abasirusiru. Mu kifo ky’ekyo, yali alabula baganda be abaafukibwako amafuta ku ekyo ekiyinza okubatuukako singa balekera awo okuba abeetegefu n’okuba obulindaala.f N’olwekyo, ne mu lugero olwa ttalanta, Yesu yali talaga nti bangi ku baganda be abaafukibwako amafuta abandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero bandibadde babi era bagayaavu. Mu kifo ky’ekyo yali alabula abagoberezi be abaafukibwako amafuta ng’abakubiriza okuba abanyiikivu nga ‘basuubuza’ ttalanta zaabwe n’okwewala endowooza n’ebikolwa omuddu omubi by’aba nabyo.—Mat. 25:16.
16. (a) Olugero lwa ttalanta lutuyigiriza ki? (b) Ekitundu kino kituyambye kitya okwongera okutegeera olugero lwa ttalanta? (Laba akasanduuko “Okutegeera Amakulu g’Olugero lwa Ttalanta.”)
16 Olugero lwa ttalanta lutuyigiriza ki? Ekisooka, Kristo akwasizza abaafukibwako amafuta ekintu ky’atwala okuba eky’omuwendo ennyo, nga guno gwe mulimu ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Eky’okubiri, ffenna Kristo atusuubira okwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Bwe tunaakola bwe tutyo, Mukama waffe ajja kutuwa empeera olw’okukkiriza kwe twolese, olw’okusigala nga tuli bulindaala, n’olw’okuba abeesigwa.—Mat. 25:21, 23, 34.
a Ebikwata ku muddu omwesigwa era ow’amagezi byogerwako mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, olupapula 21-22, akatundu 8-10. Ekyo abawala embeerera kye bakiikirira kyayogerwako mu kitundu ekyayita. Olugero olw’endiga n’embuzi lwannyonnyolwa mu Watchtower, eya Okitobba 15, 1995, olupapula 23-28, ate era lujja kwogerwako mu kitundu ekiddako.
b Laba akasanduuko “Olugero lwa Ttalanta Bye Lufaanaganya n’Olugero lwa Mina.”
c Mu kiseera kya Yesu, ttalanta emu yali yenkanankana ne ddinaali nga 6,000. Singa omukozi yabanga afuna ddinaali emu buli lunaku, kyandibadde kimutwalira emyaka nga 20 okuweza ttalanta emu.
d Oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, Sitaani yaleetawo obwakyewaggula, obwasaasaana mu kibiina Ekikristaayo. Bwe kityo, okumala ebyasa bingi, omulimu ogw’okubuulira gwali tegukolebwa na bunyiikivu. Naye mu kiseera “eky’amakungula,” kwe kugamba, mu nnaku ez’oluvannyuma, ebintu byandikyuse. (Mat. 13:24-30, 36-43) Laba Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 15, 2013, olupapula 9-12.
f Laba akatundu 13 mu kitundu ekirina omutwe, “Onoosigala ng’Oli ‘Bulindaala’?” mu magazini eno.