Ogoberera Ebyo Yesu Bye Yayigiriza ng’Osaba?
“Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe.”—MAT. 7:28.
1, 2. Lwaki engeri Yesu gye yayigirizaamu yawuniikiriza nnyo abantu?
TUSAANIDDE okukkiriza ebyo Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo, bye yayigiriza n’okubikolerako mu bulamu bwaffe. Engeri gye yayigirizaamu yali ya waggulu nnyo ku y’omuntu omulala yenna. Mu butuufu, abantu baawuniikirira olw’engeri gye yayigirizaamu mu Kubuulira okw’Oku Lusozi!—Soma Matayo 7:28, 29.
2 Omwana wa Yakuwa teyayigiriza ng’abawandiisi, abaayogeranga ebigambo ebingi ate nga babyesigamya ku njigiriza z’abantu abatatuukiridde. Kristo yayigiriza “nga nannyini buyinza” kubanga bye yayogera byali biva eri Katonda. (Yok. 12:50) Kati ka tulabe engeri ebintu ebirala Yesu bye yayigiriza mu Kubuulira okw’Oku Lusozi gye bisobola okutuganyula nga tusaba.
Temukolanga nga Bannanfuusi nga Musaba
3. Makulu ki agali mu bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:5?
3 Okusaba kintu kikulu nnyo mu kusinza okw’amazima, era tulina okwogera ne Yakuwa mu kusaba bulijjo. Naye tusaanidde okusaba nga twesigama ku ebyo Yesu bye yayigiriza mu Kwogera okw’Oku Lusozi. Yagamba nti: “Bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi: kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g’enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe.”—Mat. 6:5.
4-6. (a) Lwaki Abafalisaayo baayagalanga nnyo okusaba “nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g’enguudo”? (b) Mu ngeri ki bannanfuusi abo gye ‘baaweebwanga empeera yaabwe’ mu bujjuvu?
4 Nga basaba, abayigirizwa ba Yesu baalina okwewala okukoppa “bannanfuusi” gamba ng’Abafalisaayo abaali beetwala okuba abatuukirivu, kyokka ng’obutuukirivu bwe balaga bwa kungulu. (Mat. 23:13-32) Bannanfuusi abo baali baagala nnyo okusaba “nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g’enguudo.” Lwaki? Basobole ‘okulabibwa abantu.’ Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baasabiranga wamu ng’ekibiina bwe baabanga bawaayo ssaddaaka ku kyoto mu yeekaalu (ku ssaawa nga ssatu ez’oku makya ne ku mwenda ez’olw’eggulo). Abatuuze bangi ab’omu Yerusaalemi beegattanga ku bantu abaabanga basabira mu yeekaalu. Ebweru w’ekibuga, Abayudaaya abettanira eby’eddiini baasabanga emirundi ebiri buli lunaku “nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro.”—Geraageranya Lukka 18:11, 13.
5 Olw’okuba abantu abasinga baabanga tebali kumpi na yeekaalu oba na kkuŋŋaaniro lyonna, baasabiranga mu kifo we baabanga bali ng’essaawa ezo zituuse. Abamu baakigendereranga essaawa ez’okusabiramu zibasange “ku mabbali g’enguudo.” Olwo baabanga basobola ‘okulabibwa abantu’ bonna abaabanga bayitawo. Bannanfuusi abo ‘baasabanga essaala mpanvu okweraga’ eri abantu babeegombe. (Luk. 20:47, NW) Tetusaanidde kukola bwe tutyo.
6 Yesu yagamba nti bannanfuusi abo baabanga ‘baweereddwa empeera yaabwe’ mu bujjuvu. Ekigendererwa kyabwe kwabanga kulabibwa na kutenderezebwa bantu—era ekyo kye baafunangamu kyokka. Baabanga bafunye empeera yaabwe mu bujjuvu kubanga Yakuwa teyadangamu kusaba kwabwe. Ku luuyi olulala, Katonda yaddangamu okusaba kw’abagoberezi ba Kristo ab’amazima, ng’ebigambo bya Yesu ebiddako bwe biraga.
7. Okusabira “mu kisenge munda” kitegeeza ki?
7 “Naye ggwe bw’osabanga, yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi, olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera.” (Mat. 6:6) Yesu bwe yatukubiriza okusabira mu kisenge nga n’oluggi luggale yali tategeeza nti omuntu tasobola kukiikirira balala mu kusaba, wabula yali atulabula twewale okusaba mu lujjudde nga twagala abalala batulabe batuwaane. Kino tulina okukijjukira bwe tuweebwa enkizo ey’okukiikirira abantu ba Katonda mu kusaba. Waliwo n’ebirala Yesu bye yayigiriza bye tulina okulowoozaako nga tusaba.
8. Okusinziira ku Matayo 6:7, biki bye tulina okwewala nga tusaba?
8 “Bwe musabanga, temuddiŋŋananga mu bigambo, ng’ab’amawanga bwe bakola: kubanga balowooza nga banaawulirwa olw’ebigambo byabwe ebingi.” (Mat. 6:7) Bw’atyo Yesu yalaga ekintu ekirala kye tulina okwewala nga tusaba—okuddiŋŋana ebigambo. Yali tategeeza nti bye twogeddeko nga tusaba Katonda oba nga tumwebaza tetulina kubiddamu. Yesu kennyini bwe yali mu nnimiro y’e Gesusemane mu kiro ekyasembayo nga tannafa, yasaba emirundu egiwera ng’akozesa ‘ebigambo bye bimu.’—Mak. 14:32-39.
9, 10. Lwaki si kirungi kusaba nga tuddiŋŋana ebintu bye bimu?
9 Tekiba kituufu kukoppa ngeri “ab’amawanga” gye basabamu. ‘Baddiŋŋana,’ essaala ze baakwata mu mutwe, era nga bingi ku bigambo ebizirimu tebirina makulu. Abasinza ba Baali baakoowoola katonda waabwe ow’obulimba “okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ai Baali, tuwulire,” naye tekyabayamba. (1 Bassek. 18:26) Leero abantu bukadde na bukadde basaba nga baddamu essaala ze zimu emirundi n’emirundi nga balowooza nti “banaawulirwa.” Naye Yesu atuyamba okukiraba nti Yakuwa tawuliriza ssaala zaffe bwe ziba ‘ez’ebigambo ebingi,’ nga mpanvu ate nga tuziddamu emirundi n’emirundi. Ate era Yesu yagamba nti:
10 “Kale, temufaanana nga bo: kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.” (Mat. 6:8) Okusaba kw’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bangi kwafuuka ng’okw’ab’amawanga olw’ebigambo ebingi bye baakozesanga. Okusaba okuviira ddala ku mutima, nga kulimu okutendereza, okwebaza awamu n’okwegayirira, kintu kikulu nnyo mu kusinza okw’amazima. (Baf. 4:6) Naye era tekiba kirungi bwe twogera ebintu bye bimu emirundi n’emirundi nga tulowooza nti olwo Katonda lw’ajja okutuwuliriza. Bwe tuba tusaba, tusaanidde okukijjukira nti tusaba Oyo ‘amanyi bye twetaaga nga temunnaba na kumusaba.’
11. Biki bye tulina okujjukira nga tukiikiridde abalala mu kusaba?
11 Yesu bye yayogera ku kusaba bitulaga nti okukozesa ebigambo eby’amaanyi oba ebingi tekisanyusa Katonda. Kikulu n’okukijjukira nti bwe tuba tukiikiridde abalala mu kusaba, tetulina kugezaako kwogera binaabaleetera kutuwaana oba okusaba essaala empanvu ereetera abawuliriza okwetamwa. Ate era, Yesu bye yayigiriza mu Kubuulira okw’Oku Lusozi biraga nti bwe tuba tusaba, tekiba kituufu kukozesa mukisa ogwo kubuulirira abo abatuwuliriza oba okubaako bye tubategeeza.
Yesu Atuyigiriza Engeri y’Okusaba
12. Makulu ki agali mu bigambo “erinnya lyo litukuzibwe”?
12 Wadde nga Yesu yalabula abayigirizwa be beegendereze obutakozesa bubi nkizo ya kusaba, yabayigiriza engeri y’okusabamu. (Soma Matayo 6:9-13.) Essaala eyo gye yatulekera okulabirako teyali ya kukwatibwa bukusu tusobole okuddangamu ebigambo ebyo buli kiseera. Mu kifo ky’ekyo, etulaga biki bye tusaanidde okwogerako nga tusaba era n’engeri y’okubisengekamu. Ng’ekyokulabirako, ebigambo Yesu bye yasoosa bikwata ku Katonda: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.” (Mat. 6:9) Tugwanidde okuyita Yakuwa “Kitaffe” kubanga ye Mutonzi waffe abeera “mu ggulu,” ewala ennyo okuva ku nsi. (Ma. 32:6; 2 Byom. 6:21; Bik. 17:24, 28) Okukozesa ekigambo “Kitaffe” kisaanidde okutujjukiza nti bakkiriza bannaffe nabo balina enkolagana ennungi ne Katonda. Bwe tugamba nti “erinnya lyo litukuzibwe,” tuba tusaba Yakuwa akole ekyetaagisa okutukuza erinnya lye ng’aliggyako enziro ezze erisiigibwako okuviira ddala obujeemu lwe bwabalukawo mu lusuku Adeni. Yakuwa ajja kuddamu okusaba okwo nga aggyawo obubi bwonna ku nsi.—Ez. 36:23.
13. (a) Kye tusaba nti “obwakabaka bwo bujje” kinaatuukirizibwa kitya? (b) Okukola Katonda by’ayagala ku nsi kinaazingiramu ki?
13 “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Mat. 6:10) Tusaanidde okukijjukira nti “obwakabaka” obwogerwako mu ssaala eno ye gavumenti ya Masiya ey’omu ggulu ekulemberwa Kristo awamu ‘n’abatukuvu’ abazuukizibwa ne bafuga naye. (Dan. 7:13, 14, 18; Is. 9:6, 7) Bwe tusaba nti “bujje,” tuba tusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje ku nsi bumalewo abo bonna ababuwakanya. Ekyo kijja kutuukirira mu kiseera ekitali kya wala, kisobozese ensi yonna okufuuka olusuku olujjudde abantu abatuukirivu, ab’emirembe, era abali mu kwesiima. (Zab. 72:1-15; Dan. 2:44; 2 Peet. 3:13) Yakuwa by’ayagala bye bikolebwa mu ggulu, era bwe tusaba nti bikolebwe ne ku nsi tuba twegayirira Katonda atuukirize ekigendererwa kye eri ensi yaffe, nga muzingiramu n’okumalawo abalabe be nga bwe yakola mu biseera by’edda.—Soma Zabbuli 83:1, 2, 13-18.
14. Lwaki tusaanidde kusaba ‘mmere ya leero’?
14 “Otuwe leero emmere yaffe eya leero.” (Mat. 6:11; Luk. 11:3) Bwe twogera ebigambo ebyo nga tusaba, tuba tusaba Katonda atuwe kye tunaalya “leero.” Kino kiba kiraga nti tukkiriza nti Yakuwa asobola okutuwa bye twetaaga buli lunaku. Bwe tusaba tutyo tuba tetunoonya kufuna bintu bingi tusobole n’okuterekako. Okusaba ebyetaago byaffe ebya buli lunaku kitujjukiza Katonda kye yalagira Abaisiraeri nti bakuŋŋaanyenga emaanu ‘ey’olunaku buli lunaku.’—Kuv. 16:4.
15. Kitegeeza ki okugamba nti “otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako”?
15 Ebigambo ebiddako mu ssaala eyo biraga nti waliwo ekintu ekirala kye twetaaga okusaba. Yesu yagamba nti: “Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako.” (Mat. 6:12) Enjiri ya Lukka eraga nti “amabanja” gano bye ‘byonoono,’ oba ebibi. (Luk. 11:4) Bwe tuba twagala Yakuwa okutusonyiwa, tulina okusooka ‘okusonyiwa’ abo ababa batusobezza. (Soma Matayo 6:14, 15.) Tulina okuba abeetegefu okusonyiwanga abalala.—Bef. 4:32; Bak. 3:13.
16. Makulu ki agali mu kusaba obutatwalibwa mu kukemebwa n’okulokolebwa eri omubi?
16 “Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi.” (Mat. 6:13) Ebintu bino ebibiri ebikwataganyiziddwa bitegeeza ki? Tukimanyi bulungi nti Yakuwa si y’atukema tukole ebibi. (Soma Yakobo 1:13.) Setaani “omubi” ye ‘Mukemi.’ (Mat. 4:3) Kyokka, Baibuli bw’eba eyogera ku bintu Katonda by’akkiriza okubaawo, ebyogerako nga ye kennyini by’akola. (Luus. 1:20, 21; Mub. 11:5) N’olwekyo, bwe tugamba nti “totutwala mu kukemebwa” tuba tusaba Yakuwa atuyambe tuleme kwekkiriranya nga tukemebwa. N’ekisembayo, bwe tusaba nti “tulokole eri omubi” tuba tusaba Yakuwa aleme kukkiriza Setaani kutuwangula, era tuli bakakafu nti ‘tajja kutuleka kukemebwa kusinga ku kye tuyinza’ kugumira.—Soma 1 Abakkolinso 10:13.
‘Musabenga, Munoonyenga, Mukonkonenga’
17, 18. Kitegeeza ki ‘okusabanga, okunoonyanga, n’okukonkonanga’?
17 Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne nti: “Munyiikirenga mu kusaba.” (Bar. 12:12) Yesu yali atukubiriza tukole kye kimu bwe yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, buli anoonya, azuula, na buli akonkona, aggulirwawo.” (Mat. 7:7, 8, NW) Tekiba kikyamu ‘okusaba’ ekintu kyonna ekikwatagana n’ekigendererwa kya Katonda. Ng’ajjuliriza ebigambo bya Yesu ebyo, omutume Yokaana yawandiika nti: “Buno bwe bugumu bwe tulina eri [Katonda], nti bwe tusaba ekintu nga bw’ayagala, atuwulira.”—1 Yok. 5:14.
18 Yesu bwe yatukubiriza ‘okusabanga n’okunoonyanga,’ yali alaga nti tetulina kulekera awo kusaba okutuusa nga tuddiddwamu. Era tulina ‘okukonkonanga’ tusobole okukkirizibwa okuyingira mu Bwakabaka tufune emikisa gyonna gye bunaaleeta. Naye ddala Katonda anaddamu okusaba okwo? Yee, ajja kukuddamu bwe tunaasigala nga tuli beesigwa gy’ali, kubanga Kristo yagamba nti: “Buli asaba aweebwa, buli anoonya, azuula, na buli akonkona, aggulirwawo.” Wabaddewo ebintu bingi mu bulamu bw’abaweereza ba Yakuwa ebiraga nti ddala Katonda “awulira okusaba.”—Zab. 65:2.
19, 20. Okusinziira ku Yesu bye yayogera mu Matayo 7:9-11, Yakuwa afaananako atya taata ayagala abaana be?
19 Yesu yageraageranya Katonda ku taata ayagala ennyo abaana be era ng’abawa buli kirungi kye beetaaga. Kubamu akafaananyi nga waliwo ku Kubuulira kw’Oku Lusozi era n’owulira Yesu ng’agamba nti: “Muntu ki mu mmwe, omwana we bw’alimusaba emmere, alimuwa ejjinja, oba bw’alisaba eky’ennyanja, alimuwa omusota? Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi [abo] abamusaba?”—Mat. 7:9-11.
20 Wadde nga bataata boogerwako ‘ng’ababi’ olw’ekibi ekisikire, baagala nnyo abaana baabwe. Mu kifo ky’okulimba abaana baabwe, bafuba okubawa “ebintu ebirungi.” Kitaffe ow’omu ggulu atulaga omutima ogw’ekizadde ng’atuwa “ebintu ebirungi,” gamba ng’omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Omwoyo ogwo gutuyamba ne tuweereza mu ngeri esiimibwa Yakuwa, Oyo agaba ‘buli kirabo ekirungi na buli kitone ekitukuvu.’—Yak. 1:17.
Weeyongere Okuganyulwa mu Ebyo Yesu Bye Yayigiriza
21, 22. Lwaki ebiri mu Kubuulira okw’Oku Lusozi bya njawulo, era owulira otya bw’obifumiitirizaako?
21 Tewali kubuusabuusa nti Okubuulira okw’Oku Lusozi kwali kwa njawulo ku kulala kwonna okwali kuwuliddwa ku nsi. Kutuyigiriza ebintu bingi nnyo ku Katonda, ate nga bitegeerekeka bulungi. Ebintu bye tuyize mu bitundu bino ebisatu bikyoleka bulungi nti tuganyulwa nnyo bwe tukolera ku kubuulirira okwo kwonna. Ebintu ebyo Yesu bye yayigiriza bisobola okututuusa ku bulamu obw’essanyu mu kiseera kino, era bituyamba okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.
22 Mu bitundu bino ebisatu, tulabyeko bitono nnyo ku bintu eby’omuganyulo Yesu bye yayigiriza mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi. Tulaba ensonga lwaki abo abaamuwuliriza ‘beewuunya nnyo okuyigiriza kwe.’ (Mat. 7:28) Tewali kubuusabuusa nti naffe tujja kuwulira tutyo bwe tunaateeka ebirowoozo byaffe n’emitima gyaffe ku biri mu kubuulira okwo, era ne ku birala byonna ebyayogerwa Omuyigiriza Omukulu, Yesu Kristo.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki Yesu kye yayogera ku ssaala ezooleka obunnanfuusi?
• Lwaki tusaanidde okwewala okuddiŋŋana ebigambo nga tusaba?
• Okusinziira ku ssaala Yesu gye yatulekera, biki bye tuyinza okusaba?
• Tuyinza tutya ‘okusabanga, okunoonyanga, n’okukonkonanga’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Yesu yavumirira bannanfuusi abaasabanga nga baagala abalala babalabe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Omanyi ensonga lwaki tusaanidde kusaba mmere ya leero?