‘Mbateereddewo Ekyokulabirako’
“Okusinziira ku biseera ebiyiseewo mwandibadde muli bayigiriza.”—ABAEBBULANIYA 5:12, NW.
1. Lwaki ebigambo ebiri mu Abaebbulaniya 5:12 biyinza okweraliikiriza Omukristaayo?
BW’OSOMA ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekikulu ekitundu kino kwe kyesigamiziddwa, weeraliikirira? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Ng’abagoberezi ba Kristo, tukimanyi nti tuteekwa okubeera abayigiriza. (Matayo 28:19, 20) Tukimanyi nti tulina okuyigiriza obulungi ennyo nga bwe kisoboka okusinziira ku biseera bye tulimu. Era tukimanyi nti engeri gye tuyigirizaamu eyinza okuviirako omuntu gwe tuyigiriza okusimattuka okufa! (1 Timoseewo 4:16) N’olwekyo, tuyinza okwebuuza: ‘Ddala ndi muyigiriza nga bwe kiŋŋwanidde okubeera? Nnyinza ntya okulongoosaamu?’
2, 3. (a) Omusomesa omu yannyonnyola atya ekyo ekifuula okuyigiriza okuba okulungi? (b) Yesu yatuteerawo kyakulabirako ki ekikwata ku kuyigiriza?
2 Okweraliikirira ng’okwo tekulina kutumalamu maanyi. Singa okuyigiriza tukutwala ng’ekintu ekyetaagisa obusobozi obw’ekika ekya waggulu ennyo, tuyinza okulowooza nti kizibu nnyo okulongoosa mu ngeri gye tubadde tuyigirizaamu. Naye ekifuula okuyigiriza okuba okulungi si bwe bukodyo, wabula kusinziira ku kintu kirala nnyo ekisingawo n’okuba ekikulu. Weetegereze omusomesa omu alina obumanyirivu kye yawandiika ku nsonga eno: “Ekifuula okuyigiriza okuba okulungi si bwe bukodyo oba enkola ey’enjawulo omuntu gy’aba nayo. . . . Ekisingira ddala okufuula okuyigiriza okuba okulungi kwe kwagala.” Kya lwatu nga yali awa endowooza ye ng’omusomesa ayigiriza ebintu ebitakwata ku bya ddiini. Kyokka, bye yayogera bituukana bulungi nnyo n’okuyigiriza kwaffe ng’Abakristaayo. Mu ngeri ki?
3 Yesu Kristo ye yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku bikwata ku kuyigiriza, era yagamba abagoberezi be: ‘Mbateereddewo ekyokulabirako.’ (Yokaana 13:15) Wano yali ayogera ku kyokulabirako kye yateekawo mu kulaga obwetoowaze, naye ng’ekyokulabirako Yesu kye yatuteerawo, mazima ddala kizingiramu n’omulimu omukulu ennyo gwe yakola ng’ali ku nsi, ogw’okuyigiriza abantu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Lukka 4:43) Singa ogambibwa okukozesa ekigambo kimu okunnyonnyola obuweereza bwa Yesu, oboolyawo wandironze ekigambo “kwagala,” si bwe kiri? (Abakkolosaayi 1:15; 1 Yokaana 4:8) Okwagala Yesu kwe yalina eri Kitaawe ow’omu ggulu, Yakuwa, kwali kwa maanyi nnyo. (Yokaana 14:31) Naye, ng’omuyigiriza, Yesu era yalaga okwagala mu ngeri endala bbiri. Yali ayagala amazima ge yayigirizanga, awamu n’abantu be yayigiriza. Ka twetegereze engeri zino ebbiri ez’okwagala Yesu ze yatuteerawo ng’ekyokulabirako.
Yayagala Nnyo Amazima Agakwata ku Katonda
4. Yesu yatandika ddi okwagala enjigiriza za Yakuwa?
4 Engeri omusomesa gy’atwalamu ebyo by’asomesa erina kinene nnyo ky’ekola ku mutindo gw’okuyigiriza kwe. Bw’aba nga tanyumirwa by’ayigiriza, kijja kweyoleka eri abayizi be era kijja kubaako kye kibakolako. Yesu yanyumirwanga amazima ge yayigirizanga agakwata ku Yakuwa n’Obwakabaka bwe. Yesu yayagala nnyo amazima ago. Okwagala okwo kwaviira ddala mu kiseera bwe yali ng’ayigirizibwa. Okumala ekiseera kiwanvu nnyo nga tannafuuka muntu, Omwana wa Katonda oyo omu yekka yali ayagala nnyo okuyiga. Mu Isaaya 50:4, 5 mulimu ebigambo bino ebituukirawo obulungi: “Mukama Katonda ampadde olulimi lw’abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n’ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya, azuukusa okutu kwange okuwulira ng’abo abayigirizibwa. Mukama Katonda aggudde okutu kwange, ne ssiba mujeemu ne ssikyuka kudda nnyuma.”
5, 6. (a) Kiki ekyaliwo nga Yesu yaakabatizibwa, era yakwatibwako atya? (b) Njawulo ki gye tulaba wakati wa Yesu ne Setaani mu ngeri gye baakozesaamu Ekigambo kya Katonda?
5 Yesu yeeyongera okwagala amagezi agakwata ku Katonda bwe yali ku nsi ng’omuntu. (Lukka 2:52) Bwe yamala okubatizibwa, waliwo eky’enjawulo ekyamutuukako. Lukka 3:21 lugamba nti “eggulu ne libikkuka.” Kirabika mu kiseera ekyo, Yesu yatandika okujjukira obulamu bwe yalimu nga tannaba kufuuka muntu. Oluvannyuma yamala ennaku 40 mu ddungu ng’asiiba. Ateekwa okuba nga yafuna essanyu lingi ng’afumiitiriza ku mirundi emingi gye yayigirizibwa Yakuwa ng’ali mu ggulu. Kyokka, tewaayitawo bbanga ddene, okwagala kwe yalina eri amazima agakwata ku Katonda ne kugezesebwa.
6 Yesu bwe yali akooye era nga n’enjala emuluma, Setaani yanoonyereza engeri y’okumukemamu. Nga tulaba enjawulo ya maanyi wakati w’abaana ba Katonda bano ababiri! Bombi baajuliza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya naye nga balina endowooza za njawulo nnyo. Setaani yakozesa Ekigambo kya Katonda mu ngeri enkyamu ng’agezaako okwenoonyeza ebibye ku bubwe. Mazima ddala, kyewaggula oyo teyalina kusiima kwonna eri amazima agava eri Katonda. Ku luuyi olulala, Yesu yajuliza Ebyawandiikibwa mu ngeri eyayoleka nti yali abyagala, n’addamu Setaani ng’akozesa Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza. Yesu yali yabaawo dda nga n’ebigambo ebyo tebinnawandiikibwa, kyokka yabissaamu nnyo ekitiibwa. Gaali mazima ga muwendo nnyo agava eri Kitaawe ow’omu ggulu! Yesu yagamba Setaani nti ebigambo ng’ebyo ebyava eri Yakuwa byali bikulu nnyo n’okusinga emmere. (Matayo 4:1-11) Yee, Yesu yayagala amazima gonna Yakuwa ge yali amuyigirizza. Naye, yalaga atya okwagala okwo ng’ayigiriza?
Yayagala Amazima Ge Yayigirizanga
7. Lwaki Yesu yeewala okugunjaawo enjigiriza ezize ku bubwe?
7 Okwagala Yesu kwe yalina eri amazima ge yayigirizanga kwali kweyoleka bulungi. Kyandimubeeredde kyangu nnyo okugunjaawo enjigiriza ezize ku bubwe kubanga yali amanyi ebintu bingi nnyo. (Abakkolosaayi 2:3) Kyokka, enfunda n’enfunda yajjukiza abantu abaali bamuwuliriza nti byonna bye yayigirizanga, tebyasibukanga ku ye, wabula ku Kitaawe ow’omu ggulu. (Yokaana 7:16; 8:28; 12:49; 14:10) Yali ayagala nnyo amazima agava ewa Katonda era nga tasobola kukulembeza ndowooza ye.
8. Ku ntandikwa y’obuweereza bwe, Yesu yateekawo kyakulabirako ki ekirungi ku bikwata ku kwesigama ku Kigambo kya Katonda?
8 Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi amangu ddala nga yaakatandika obuweereza bwe. Lowooza ku ngeri gye yasooka okwerangiriramu eri abantu ba Katonda nti ye yali Masiya omusuubize. Yagenda bugenzi mu lujjudde lw’abantu n’alangirira nti ye Kristo, era n’akolawo ebyamagero okubakakasa ekyo? Nedda. Yagenda mu kkuŋŋaaniro abantu ba Katonda gye baasomeranga Ebyawandiikibwa. Ng’ali eyo yasoma mu ddoboozi ery’omwanguka obunnabbi obuli mu Isaaya 61:1, 2 era n’annyonnyola nti obunnabbi obwo bwali bukwata ku ye. (Lukka 4:16-22) Ebyamagero ebingi bye yakola byayamba abantu okukakasa nti yalina obuwagizi bwa Yakuwa. Wadde kyali bwe kityo, bwe yabanga ayigiriza yeesigamanga ku Kigambo kya Katonda.
9. Yesu yalaga atya okwagala okungi kwe yalina eri Ekigambo kya Katonda mu ngeri gye yakolaganamu n’Abafalisaayo?
9 Abalabe be bwe baamusoomoozanga ku bikwata ku ddiini, teyawakananga nabo, weewaawo nga yandibadde asobola bulungi okubawangula mu mpaka ez’ekika ng’ekyo. Mu kifo ky’ekyo, yakozesanga Ekigambo kya Katonda okubalaga nga bwe baali abakyamu. Ekyokulabirako, jjukira Abafalisaayo bwe baalumiriza abayigirizwa be nti baali bamenye etteeka lya Ssabbiiti bwe baanoga ebirimba by’eŋŋaano mu nnimiro ne balya. Yesu yabaddamu: “Temusomanga Dawudi bwe yakola, bwe yalumwa enjala ne be yali nabo?” (Matayo 12:1-5) Kya lwatu nti abasajja abo abaali beetwala okuba abatuukirivu bateekwa okuba nga baali basomye ebigambo ebyo ebisangibwa mu 1 Samwiri 21:1-6. Bwe kiba nga kyali bwe kityo, baali tebategedde kyakuyiga kikulu ekyalimu. Kyokka, Yesu yakola ekisingawo ku kusoma obusomi ebigambo ebyo. Yabirowoozaako era n’agoberera emisingi egyabirimu. Yayagala emisingi Yakuwa gye yayigiriza mu kitundu ekyo eky’Ebyawandiikibwa. N’olwekyo, yakikozesa wamu n’ekyokulabirako kimu okuva mu Mateeka ga Musa, okulaga nti Amateeka tegaali makakanyavu. Mu ngeri y’emu, okwagala okungi Yesu kwe yalina eri Ekigambo kya Katonda kwamukubiriza okukirwanirira buli abakulembeze b’eddiini lwe baagezangako okukyeyambisa mu ngeri enkyamu okutuukiriza ebigendererwa byabwe oba okukidibya nga bakozesa obulombolombo bw’abantu.
10. Yesu yatuukiriza atya obunnabbi obukwata ku mutindo gw’okuyigiriza kwe?
10 Olw’okwagala Yesu kwe yalina eri ebyo bye yayigirizanga, kyamuleetera okuyigirizanga n’ebbugumu era n’okunnyonnyolera ddala obulungi ensonga. Obunnabbi bwali bugambye nti Masiya yali wa kwogera ‘n’ekisa, ng’akozesa ebigambo ebirungi.’ (Zabbuli 45:2; Olubereberye 49:21) Yesu yatuukiriza obunnabbi obwo ng’akozesa ‘ebigambo ebisikiriza bwe yabanga ayigiriza abalala amazima g’ekigambo kya Katonda.’ (Lukka 4:22, NW) Awatali kubuusabuusa ebbugumu lye yalina lyeyolekanga ku ndabika ye ey’oku maaso era ne mu ngeri yennyini gye yayogerangamu. Nga kiteekwa okuba nga kyali kisanyusa nnyo okumuwuliriza, era nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo kye tulina okugoberera nga twogera n’abalala ku bye tuyize!
11. Lwaki obusobozi Yesu bwe yalina ng’omuyigiriza tebwamuleetera malala?
11 Yesu okuba nti yali ategeera nnyo amazima agakwata ku Katonda era n’okuba nti yali mwogezi mulungi, byamuleetera amalala? Kitera okubeera bwe kityo bwe gutuuka ku basomesa aba bulijjo. Naye, jjukira nti Yesu yali wa magezi mu ngeri eyoleka okutya Katonda. Amagezi ng’ago tegaleetera muntu kuba wa malala, kubanga “amagezi gaba n’abeetoowaza.” (Engero 11:2) Waliwo n’ensonga endala lwaki Yesu teyafuuka wa malala.
Yesu Yayagala Abantu Be Yayigirizanga
12. Yesu yalaga atya nti yali tayagala kutiisatiisa bagoberezi be?
12 Okwagala okungi Yesu kwe yalina eri abantu kweyolekanga mu kuyigiriza kwe. Obutafaananako bantu ab’amalala, okuyigiriza kwa Yesu tekwatiisatiisanga bantu wadde okubafeebya. (Omubuulizi 8:9) Oluvannyuma lwa Peetero okulaba ekimu ku byamagero bya Yesu, yawuniikirira era n’avuunama ku bigere bya Yesu. Naye Yesu yali tayagala bagoberezi be kumutya. Yagamba Peetero n’ekisa nti, “Totya,” era oluvannyuma n’amutegeeza omulimu omulungi ogw’okufuula abantu abayigirizwa Peetero mwe yali agenda okwenyigira. (Lukka 5:8-10) Yesu yayagala abayigirizwa be bakkirize amazima agakwata ku Katonda nga bakubirizibwa kwagala so si kutya.
13, 14. Ngeri ki Yesu mwe yayoleseza ekisa eri abantu?
13 Okwagala Yesu kwe yalina eri abantu be yayigirizanga kweyoleka ne mu ngeri gye yabakwatirwangamu ekisa. “Bwe yalaba ebibiina, n’abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) Ekisa kyamukwata olw’embeera embi gye baalimu era ne kimuviirako okubayamba.
14 Weetegereze engeri Yesu gye yalagamu ekisa ku mulundi omulala. Omukazi eyalina ekikulukuto ky’omusaayi bwe yawaguza mu bantu n’akwata ku munagiro gwe, yawonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero. Yesu yawulira ng’amaanyi gamuvaamu, naye teyalaba ani yali awonyezeddwa. Yayagala okuzuula omuntu oyo. Lwaki? Si lwa kuba nti yali ayagala kumugugumbula olw’okuba yali amenye Amateeka oba ebiragiro by’Abafalisaayo n’abawandiisi, ng’omukazi oyo bwe yalowooza. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yamugamba: “Omuwala okukkiriza kwo kukuwonyezza; weegendere n’emirembe owonere ddala ekibonoobono kyo.” (Makko 5:25-34) Weetegereze ekisa ekyali mu bigambo ebyo. Teyamugamba bugambi nti “Wona.” Wabula yamugamba: “Owonere ddala ekibonoobono kyo.” Wano Makko yakozesa ekigambo ekiyinza okuvvuunulwa “okuswanyuula.” N’olwekyo, Yesu yategeera nti obulwadde bw’omukazi ono bwali bumuleetedde okubonaabona, oboolyawo n’obulumi obw’amaanyi mu mubiri ne mu nneewulira. Yamukwatirwa ekisa.
15, 16. Bintu ki mu buweereza bwa Yesu ebyoleka nti yanoonya engeri ennungi mu bantu?
15 Yesu era yalaga nti ayagala abantu, ng’anoonya engeri ennungi ze baalina. Lowooza ku kyaliwo bwe yasisinkana Nassanayiri, eyafuuka omutume oluvannyuma. “Yesu n’alaba Nassanayiri ng’ajja gy’ali, n’amwogerako nti Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!” Mu ngeri ey’ekyamagero, Yesu yali amaze okulaba ekiri mu mutima gwa Nassanayiri, mu ngeri eyo n’ategeera bingi ebyali bimukwatako. Kya lwatu Nassanayiri yali tatuukiridde. Yalina ensobi nga naffe ffenna. Mu butuufu bwe yawulira ebikwata ku Yesu, yayogera nti: “Mu Nazaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi?” (Yokaana 1:45-51) Kyokka, mu kifo ky’okwogera ku nsobi za Nassanayiri, Yesu yalondawo okwogera ku ngeri emu ennungi ennyo Nassanayiri gye yalina nga buno bwe bwesigwa.
16 Mu ngeri y’emu, omujaasi omu oboolyawo nga yali na Munnaggwanga Omuruumi, bwe yatuukirira Yesu n’amusaba okuwonya omuddu we, Yesu yamanya nti omujaasi oyo yalina ebisobyo. Omujaasi omukulu mu biseera ebyo, yandibadde yenyigiddeko mu bikolwa bingi eby’obukambwe n’okuyiwa omusaayi, ssaako n’okusinza okukyamu. Kyokka, Omusajja oyo Yesu yamulabamu ekirungi, kwe kugamba, okukkiriza okw’amaanyi. (Matayo 8:5-13) Ate oluvannyuma, Yesu bwe yali ayogera n’omumenyi w’amateeka eyali awanikiddwa ku muti okumpi naye, Yesu teyamuvumirira olw’ebikolwa ebibi bye yali akoze emabega naye yamuzzaamu amaanyi ng’amuwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. (Lukka 23:43) Yesu yakitegeera bulungi nti singa yavumirira abantu, kyandibamazeemu bumazi maanyi. Awatali kubuusabuusa, olw’okuba Yesu yafuba okunoonya engeri ennungi mu balala, kyayamba bangi okulongoosa empisa zaabwe.
Okwagala Okuweereza Abantu
17, 18. Yesu yalaga atya nti yali ayagala okuweereza abalala bwe yakkiriza okujja ku nsi?
17 Obukakafu obulala obw’amaanyi obulaga nti Yesu yayagala abantu be yayigirizanga, kwe kuba nti yeewaayo okubaweereza. Ne bwe yali nga tanajja ku nsi ng’omuntu, Omwana wa Katonda yayagala nnyo abantu. (Engero 8:30, 31) Nga “Kigambo” oba omwogezi wa Yakuwa, ayinza okuba nga yafuna emikisa mingi okutuusa obubaka ku bantu. (Yokaana 1:1) Kyokka, “yeggyako ekitiibwa” n’aleka ekifo kye eky’amaanyi mu ggulu okusobola okuyigiriza abantu obutereevu. (Abafiripi 2:7; 2 Abakkolinso 8:9) Bwe yali ku nsi, Yesu teyalindanga bantu balala kumuweereza. Okwawukana ku ekyo, yagamba: ‘Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky’abangi.’ (Matayo 20:28) Yesu yatuukiriza ebigambo ebyo mu bujjuvu.
18 Yesu yakola ku byetaago by’abo be yayigirizanga, n’amaanyi ge gonna. Yatalaaga Isiraeri yonna ku bigere, okusobola okutuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Obutafaananako Bafalisaayo n’abawandiisi ab’amalala, yali mwetoowaze era ng’atuukirikika. Abantu ab’ebiti byonna nga mw’otwalidde abakungu, abajaasi, bannamateeka, abakazi, abaana, abaavu, abalwadde, wamu n’abo abaali babooleddwa, bonna baamutuukiriranga awatali kutya kwonna. Wadde nga yali atuukiridde, Yesu yalinga asobola okukoowa awamu n’okulumwa enjala. Kyokka, ne bwe yalinga akooye oba ng’awumuddeko okusaba, yakulembezanga ebyetaago by’abalala.—Makko 1:35-39.
19. Yesu yateekawo atya ekyokulabirako ng’akolagana n’abayigirizwa be mu ngeri ey’obwetoowaze, obugumiikiriza era ey’ekisa?
19 Era Yesu yalaga nti yali ayagala okuweereza abayigirizwa be. Kino yakikola ng’abayigiriza n’ekisa awamu n’obugumiikiriza. Bwe baalwangawo okutegeera ensonga, teyeecwacwana n’abalekulira oba n’abavaamu. Wabula yeeyongeranga okunoonya engeri y’okubayambamu basobole okutegeera. Ekyokulabirako, lowooza ku mirundi n’emirundi abatume gye baakaayanira obukulu. Baakaayana enfunda n’enfunda okutuusiza ddala ku kiro ekyasembayo nga tannattibwa. Yesu yanoonyereza engeri endala ez’okubayigiriza okubeera abeetoowaze. Ku nsonga ekwata ku bwetoowaze, era ne mu bintu ebirala byonna, Yesu yali asobolera ddala bulungi okugamba nti: ‘Mbateereddewo ekyokulabirako.’—Yokaana 13:5-15; Matayo 20:25; Makko 9:34-37.
20. Yesu yayigiriza mu ngeri ki eyamwawula ku Bafalisaayo, era lwaki enkola eyo yavaamu ebibala?
20 Weetegereze nti Yesu teyagamba bugambi batume be ekyokulabirako ekirungi bwe kyandibadde, wabula ‘yakibateerawo.’ Yabayigiriza ng’abateerawo ekyokulabirako. Teyeetwala kuba wa waggulu, ng’abagamba bugambi kye balina okukola. Eyo ye yali enkola ya Bafalisaayo, Yesu be yayogerako nti, “boogera naye tebakola.” (Matayo 23:3) Yesu yalaga abayizi be amakulu g’ebintu bye yabayigirizanga ng’abiteeka mu nkola mu bulamu bwe. N’olwekyo, bwe yakubiriza abagoberezi be obutalulunkanira bintu, baategeerera ddala kye yali ategeeza. Baategeera bulungi kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Ebibe birina obunnya, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Matayo 8:20) Yesu yaweereza abayigirizwa be ng’abateerawo ekyokulabirako.
21. Kiki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?
21 Awatali kubuusabuusa, Yesu ye Muyigiriza asingirayo ddala mu bonna abaali babaddewo ku nsi! Okwagala kwe yalina eri ebintu bye yayigirizanga n’abantu be yayigirizanga, kwali kweyoleka bulungi eri abantu abaalina emitima emirungi, abaamulaba era ne bamuwuliriza. Okwagala okwo kweyoleka bulungi n’eri ffe abaliwo leero abeekenneenya ekyokulabirako kye yateekawo. Naye tuyinza tutya okugoberera ekyokulabirako kya Yesu ekituukiridde? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki ekifuula okuyigiriza okubeera okulungi, era kyakulabirako ky’ani ekisaanidde okugobererwa?
• Ngeri ki Yesu ze yalagamu nti yayagala amazima ge yayigirizanga?
• Yesu yalaga atya okwagala eri abantu be yayigirizanga?
• Byakulabirako ki ebiraga nti Yesu yali ayagala okuweereza abo be yayigirizanga?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Yesu yalaga atya nti yali ayagala emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda?