ESSUULA 5
Engeri Gye Tuyinza Okusigala nga Tweyawudde ku Nsi
“Temuli ba nsi.”—YOKAANA 15:19.
1. Kiki Yesu kye yali alowoozaako ng’anaatera okuttibwa?
YESU yali anaatera okuttibwa. Yali akimanyi nti yali anaatera okulekawo abayigirizwa be era yali alowooza ku biseera byabwe eby’omu maaso. Yabagamba nti: “Temuli ba nsi.” (Yokaana 15:19) Oluvannyuma yabasabira eri Kitaawe n’agamba nti: “Si ba nsi, nga nange bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:15, 16) Kiki Yesu kye yali ategeeza?
2. “Ensi” Yesu gye yayogerako kye ki?
2 Ekigambo “ensi” Yesu kye yakozesa kitegeeza abantu abatamanyi Katonda era abafugibwa Sitaani. (Yokaana 14:30; Abeefeso 2:2; Yakobo 4:4; 1 Yokaana 5:19) Tuyinza tutya okulaga nti ‘tetuli ba nsi’? Mu ssuula eno tugenda kulaba engeri ezitali zimu mwe tuyinza okukyolekera nti tetuli ba nsi. Engeri ezo ze zino: Nga tuwagira Obwakabaka bwa Katonda, nga tetubaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, nga tuziyiza omwoyo gw’ensi, nga twambala era nga twekolako mu ngeri esaana, nga tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente, era nga twambala eby’okulwanyisa ebiva eri Katonda.—Laba Ebyongerezeddwako 16.
WAGIRA OBWAKABAKA BWA KATONDA
3. Yesu yatwala atya eby’obufuzi?
3 Yesu bwe yali ku nsi yakiraba nti abantu baalina ebizibu bingi era nti baali banyigirizibwa mu ngeri ezitali zimu. Yali afaayo nnyo ku bantu era ng’ayagala okubayamba. Yesu yasalawo okuyingira eby’obufuzi asobole okuyamba abantu? Nedda. Yali akimanyi nti abantu kye beetaaga bwe Bwakabaka bwa Katonda oba gavumenti ya Katonda. Yesu ye yali agenda okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda era Obwakabaka obwo kye kintu kye yasinga okwogerako ng’abuulira. (Danyeri 7:13, 14; Lukka 4:43; 17:20, 21) Yesu teyeenyigira mu bya bufuzi era teyalina ludda lwe yali awagira mu by’obufuzi by’ensi. Bwe yali mu maaso ga gavana Omuruumi ayitibwa Pontiyo Piraato, Yesu yagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) N’abayigirizwa be tebeenyigira mu bya bufuzi. Ekitabo ekiyitibwa On the Road to Civilization kigamba nti Abakristaayo abaasooka “tebeenyigiranga mu bya bufuzi.” Ne leero Abakristaayo ab’amazima tebeenyigira mu bya bufuzi. Tuwagira Bwakabaka bwa Katonda era tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi eno.—Matayo 24:14.
4. Abakristaayo ab’amazima bakiraga batya nti bawagira Obwakabaka bwa Katonda?
4 Ababaka b’amawanga bakiikirira gavumenti z’ensi zaabwe mu nsi endala, era tebeenyigira mu bya bufuzi by’ensi mwe baba bagenze. Abakristaayo nabo embeera yaabwe efaananako bw’etyo. Pawulo yagamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: “Tuli babaka mu kifo kya Kristo.” (2 Abakkolinso 5:20) Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakiikirira gavumenti ya Katonda. Tebeenyigira mu bya bufuzi oba mu nsonga za gavumenti z’ensi eno. (Abafiripi 3:20) Mu kifo ky’ekyo bayambye abantu bukadde na bukadde okuyiga ebikwata ku Katonda. ‘Ab’endiga endala,’ abalina essuubi ery’okubeera mu nsi empya emirembe gyonna, bawagira abaafukibwako amafuta. Era nabo tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. (Yokaana 10:16; Matayo 25:31-40) Kyeyoleka kaati nti Abakristaayo ab’amazima tebalina kwenyigira mu bya bufuzi bya nsi eno.—Soma Isaaya 2:2-4.
5. Emu ku nsonga lwaki Abakristaayo tebeenyigira mu ntalo y’eruwa?
5 Abakristaayo ab’amazima batwala bakkiriza bannaabwe bonna nga baganda baabwe ka babe ba ggwanga ki oba nga baakulira mu mbeera ki. (1 Abakkolinso 1:10) Singa twali ba kwenyigira mu ntalo, twandibadde tulwanyisa baganda baffe era bakkiriza bannaffe Yesu be yatulagira okwagala. (Yokaana 13:34, 35; 1 Yokaana 3:10-12) Ate era Yesu yagamba abayigirizwa be okwagala n’abalabe baabwe.—Matayo 5:44; 26:52.
6. Abaweereza ba Yakuwa batwala batya gavumenti?
6 Wadde ng’Abakristaayo tetwenyigira mu bya bufuzi, tufuba okuba abatuuze abalungi. Ng’ekyokulabirako, tukiraga nti tussa ekitiibwa mu gavumenti nga tugondera amateeka gaazo era nga tusasula emisolo. Wadde kiri kityo, tukakasa nti ‘ebya Katonda tubiwa Katonda.’ (Makko 12:17; Abaruumi 13:1-7; 1 Abakkolinso 6:19, 20) “Ebya Katonda” bizingiramu okumwagala, okumugondera, n’okumusinza. Tuli bamalirivu okugondera Yakuwa ne bwe kiba kyetaagisa kufiirwa bulamu bwaffe.—Lukka 4:8; 10:27; soma Ebikolwa 5:29; Abaruumi 14:8.
ZIYIZA ‘OMWOYO GW’ENSI’
7, 8. ‘Omwoyo gw’ensi’ kye ki, era gukola ki ku bantu?
7 Obutaba ba nsi ya Sitaani kitegeeza obutakkiriza “mwoyo gwa nsi” kutufuga. Omwoyo gw’ensi, ye ndowooza n’enneeyisa ebiva eri Sitaani era gwe gufuga abantu abatasinza Yakuwa. Abakristaayo basaanidde okuziyiza omwoyo ogwo. Pawulo yagamba nti: “Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi wabula twaweebwa omwoyo oguva eri Katonda.”—1 Abakkolinso 2:12; Abeefeso 2:2, 3; laba Ebyongerezeddwako 17.
8 Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okwefaako bokka, okuba ab’amalala, n’okuba abajeemu. Gubaleetera okulowooza nti tebasaanidde kugondera Katonda. Sitaani ayagala abantu bakole kyonna kye baagala nga tebalowoozezza ku binaavaamu. Ayagala abantu balowooze nti ‘okwegomba kw’omubiri n’okwegomba kw’amaaso’ bye bintu ebisingayo okuba ebikulu mu bulamu. (1 Yokaana 2:16; 1 Timoseewo 6:9, 10) Sitaani afuba nnyo okulaba ng’abuzaabuza abantu ba Yakuwa era ng’abaleetera okuba n’endowooza ng’eyiye.—Yokaana 8:44; Ebikolwa 13:10; 1 Yokaana 3:8.
9. Omwoyo gw’ensi guyinza gutya okutwonoona?
9 Okufaananako empewo gye tussa, omwoyo gw’ensi guli buli wamu. Bwe tutafuba kuguziyiza gusobola okutwonoona. (Soma Engero 4:23.) Guyinza okutwonoona okuyitira mu bintu ebirabika ng’ebitali bya mutawaana. Ng’ekyokulabirako, endowooza z’abantu abatasinza Yakuwa ziyinza okugenda nga zitutwaliriza mpolampola. (Engero 13:20; 1 Abakkolinso 15:33) Oba guyinza okutwonoona okuyitira mu bintu, gamba ng’ebifaananyi eby’obuseegu, bakyewaggula, oba okuyitira mu mizannyo egirimu okuvuganya okw’amaanyi.—Laba Ebyongerezeddwako 18.
10. Tuyinza tutya okuziyiza omwoyo gw’ensi?
10 Tuyinza tutya okuziyiza omwoyo gw’ensi? Tulina okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era ne tukolera ku magezi g’atuwa. Tulina okumusabanga atuwe omwoyo gwe omutukuvu era tulina okunyiikira okumuweereza. Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi. Tuli bakakafu nti asobola okutuyamba okuziyiza omwoyo gw’ensi.—1 Yokaana 4:4.
YAMBALA MU NGERI EWEESA KATONDA EKITIIBWA
11. Omwoyo gw’ensi gweyolekera gutya mu ngeri abantu gye bambalamu leero?
11 Ate era tukiraga nti tetuli ba nsi mu ngeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako. Leero abantu bangi mu nsi bambala mu ngeri eraga nti baagala abalala babalabe, baagala okuleetera abalala okufuna ebirowoozo ebibi, baagala okulaga nti bo tebagambwako, oba okulaga nti balina ssente. Ate abalala tebafaayo ku ndabika yaabwe. Bamala geeyambalira era baba bacaafu. Tetusaanidde kuba bwe tutyo.
12, 13. Misingi ki egisobola okutuyamba nga tusalawo eby’okwambala?
12 Ffe abaweereza ba Yakuwa buli kiseera tusaanidde okwambala engoye ezisaana, ennyonjo, era ezituukana ne kye tuba tukola. Bwe twambala ebyambalo ‘ebiweesa ekitiibwa era ebiraga nti tuli beegendereza,’ kiba kiraga nti ‘tuwa Katonda ekitiibwa.’—1 Timoseewo 2:9, 10; Yuda 21.
13 Engeri gye twambalamu erina ky’ekola ku ngeri abalala gye batwalamu Yakuwa n’abantu be. Twagala okukola “ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Abakkolinso 10:31) Bwe tuba abeegendereza bye tukola biba biraga nti tufaayo ku nneewulira z’abalala n’endowooza zaabwe. N’olwekyo, bwe tuba tulondawo engoye ez’okwambala n’engeri gye tuneekolako, tusaanidde okukijjukiranga nti ekyo kye tusalawo kikwata ne ku bantu abalala.—1 Abakkolinso 4:9; 2 Abakkolinso 6:3, 4; 7:1.
14. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tulonda engoye ez’okwambala nga tugenda mu nkuŋŋaana oba mu kubuulira?
14 Twambala tutya nga tugenda mu nkuŋŋaana oba nga tugenda okubuulira? Twambala mu ngeri ereetera abalala okutussaako ennyo ebirowoozo? Engeri gye twambalamu yeesitazza abalala? Kyandiba nti tetwefiirayo ku ngeri gye twambala nga tugamba nti ddembe lyaffe okwambala mu ngeri yonna gye tuba twagadde? (Abafiripi 4:5; 1 Peetero 5:6) Kyo kituufu nti twagala okulabika obulungi, naye ekisinga okutuleetera okulabika obulungi ze ngeri ez’Ekikristaayo. Ezo ze ngeri Yakuwa z’atunoonyaamu. Engeri ezo zooleka ekyo kye tuli munda, kwe kugamba, ‘omuntu ow’ekyama ow’omu mutima ow’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.’—1 Peetero 3:3, 4.
15. Lwaki Yakuwa tatuteerawo lukalala lwa mateeka gakwata ku ngeri gye tulina kwambalamu na kwekolako?
15 Yakuwa tatuwa lukalala lwa mateeka gakwata ku ngoye ze tulina kwambala oba ze tutalina kwambala. Mu kifo ky’ekyo, atuwadde emisingi egisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Abebbulaniya 5:14) Ayagala okwagala kwe tulina gy’ali n’eri bantu bannaffe kube nga kwe kutukubiriza okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Soma Makko 12:30, 31.) Okwetooloola ensi, abantu ba Yakuwa bambala mu ngeri za njawulo okusinziira ku buwangwa bwabwe oba okusinziira ku ekyo kye baagala. Ekyo kibalabisa bulungi era kibaleetera essanyu.
OKUBA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU SSENTE
16. Endowooza abantu mu nsi ya Sitaani gye balina ku ssente eyawukana etya ku ebyo Yesu bye yayigiriza? Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
16 Sitaani ayagala abantu balowooze nti ssente n’eby’obugagga bye bireeta essanyu erya nnamaddala. Naye abaweereza ba Yakuwa bakimanyi nti ekyo si kituufu. Yesu yagamba nti: “Omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.” (Lukka 12:15) Ssente tezisobola kutuleetera ssanyu lya nnamaddala. Tezisobola kutuyamba kufuna mikwano gya nnamaddala, mirembe gya nnamaddala, oba obulamu obutaggwaawo. Kyo kituufu nti waliwo ebintu bye twetaaga okuba nabyo era twagala okunyumirwa obulamu. Naye Yesu yakiraga nti singa tuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era ng’okumusinza kye tukulembeza mu bulamu tujja kuba n’essanyu erya nnamaddala. (Matayo 5:3; 6:22, obugambo obuli wansi) Weebuuze: ‘Ntwaliriziddwa endowooza ensi gy’erina ku ssente? Ssente kye kintu kye nsinga okulowoozaako oba okwogerako?’—Lukka 6:45; 21:34-36; 2 Yokaana 6.
17. Okwewala endowooza ensi gy’erina ku ssente kiyinza kitya okukuyamba okuba n’obulamu obulungi?
17 Bwe twemalira ku kuweereza Yakuwa era ne twewala endowooza ensi gy’erina ku ssente, obulamu bwaffe bujja kuba bwa makulu. (Matayo 11:29, 30) Tujja kuba bamativu era tujja kuba n’emirembe egya nnamaddala. (Matayo 6:31, 32; Abaruumi 15:13) Tetujja kuba na mululu gwa kufuna bintu. (Soma 1 Timoseewo 6:9, 10.) Tujja kuba bagabi era ekyo kijja kutuviiramu essanyu. (Ebikolwa 20:35) Ate era tujja kuba n’ebiseera ebiwerako okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe. Tujja kuwoomerwa n’otulo.—Omubuulizi 5:12.
“EBY’OKULWANYISA BYONNA”
18. Kiki Sitaani ky’afuba okukola?
18 Sitaani afuba okulaba ng’ayonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. N’olwekyo tulina okufuba ennyo okugikuuma. Tulwana “n’emyoyo emibi.” (Abeefeso 6:12) Sitaani ne badayimooni tebaagala tube basanyufu era tebaagala tube balamu emirembe gyonna. (1 Peetero 5:8) Abalabe abo abatulwanyisa ba maanyi, naye Yakuwa asobola okutuyamba okubawangula.
19. Byakulwanyisa ki Abakristaayo bye balina okwambala ebyogerwako mu Abeefeso 6:14-18?
19 Mu biseera by’edda, abasirikale baabanga n’ebintu eby’enjawulo bye baayambalanga baleme kutuusibwako bulabe nga bali mu lutalo. Mu ngeri y’emu, naffe tulina okwambala “eby’okulwanyisa” Yakuwa by’atuwadde. (Abeefeso 6:13) Bwe tubyambala bijja kutukuuma. Eby’okulwanyisa ebyo byogerwako mu Abeefeso 6:14-18, awagamba nti: “Mube banywevu, nga mwesibye mu biwato byammwe olukoba olw’amazima, nga mwambadde eky’omu kifuba eky’obutuukirivu, era nga munaanise engatto mu bigere byammwe nga muli beetegefu okubuulira amawulire amalungi ag’emirembe. Ng’oggyeeko ebyo byonna, mukwate engabo ennene ey’okukkiriza ejja okubasobozesa okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi. Era mukkirize enkofiira ey’obulokozi n’ekitala eky’omwoyo, nga kino kye Kigambo kya Katonda. Mu kiseera kye kimu, mweyongere okusaba buli kiseera mu mwoyo, nga muyitira mu kusaba n’okwegayirira okwa buli ngeri.”
20. “Eby’okulwanyisa” Yakuwa bye yatuwa bwe biba eby’okutuyamba kiki kye tulina okukola?
20 Singa omusirikale yeerabira okwambala ekimu ku bintu ebyo n’aleka ekimu ku bitundu bye eby’omubiri nga tekibikkiddwa, awo omulabe w’akuba. Eby’okulwanyisa Yakuwa bye yatuwa bwe biba eby’okutukuuma, tulina okubyambala byonna. Tulina okuba nga tubyambadde ekiseera kyonna era nga biri mu mbeera nnungi. Tujja kweyongera okulwana olutalo olw’eby’omwoyo okutuusa ng’ensi ya Sitaani eno embi ezikiriziddwa era nga Sitaani ne badayimooni baggiddwa ku nsi. (Okubikkulirwa 12:17; 20:1-3) N’olwekyo bwe tuba nga tulina okwegomba okubi oba obunafu obw’engeri yonna bwe tulwanyisa, tetusaanidde kukoowa!—1 Abakkolinso 9:27.
21. Tuyinza tutya okulwanyisa Sitaani ne tumuwangula?
21 Tetusobola kulwanyisa Sitaani ne tumuwangula mu maanyi gaffe, naye Yakuwa asobola okutuyamba ne tumuwangula. Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tulina okunyiikira okusaba, okusoma Bayibuli, n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana. (Abebbulaniya 10:24, 25) Ebintu ebyo bituyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa era bitusobozesa okulwanirira okukkiriza kwaffe.
BEERA MWETEGEFU OKULWANIRIRA OKUKKIRIZA KWO
22, 23. (a) Tuyinza tutya okuba abeetegefu buli kiseera okulwanirira okukkiriza kwaffe? (b) Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?
22 Buli kiseera tulina okuba abeetegefu okulwanirira okukkiriza kwaffe. (Yokaana 15:19) Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakolamu ebintu ebimu ya njawulo ku y’abantu abalala. Weebuuze: ‘Ntegeera ensonga lwaki babikola mu ngeri ya njawulo? Ndi mukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyigiriza n’ebyo omuddu omwesigwa by’ayigiriza bya mazima? Nneenyumiririza mu kuba nti ndi Mujulirwa wa Yakuwa? (Zabbuli 34:2; Matayo 10:32, 33) Nsobola okunnyonnyola abalala ebikwata ku nzikiriza yange?’—Matayo 24:45; Yokaana 17:17; soma 1 Peetero 3:15.
23 Mu mbeera nnyingi, kiba kyangu okumanya kye tusaanidde okukola okusobola okusigala nga tweyawudde ku nsi. Naye mu mbeera ezimu si kyangu kumanya kya kukola. Sitaani atega obutego obutali bumu asobole okutukwasa. Akamu ku butego bw’akozesa bye by’okwesanyusaamu. Tuyinza tutya okulonda eby’okwesanyusaamu mu ngeri ey’amagezi? Ekyo tujja kukiraba mu ssuula eddako.