Lukka
6 Awo bwe yali ayita mu nnimiro z’eŋŋaano ku ssabbiiti, abayigirizwa be ne banoga ebirimba by’eŋŋaano,+ ne babikunya mu bibatu byabwe ne balya.+ 2 Abamu ku Bafalisaayo ne babagamba nti: “Lwaki mukola ekintu ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”+ 3 Naye Yesu n’abagamba nti: “Temusomangako ekyo Dawudi kye yakola ng’enjala emuluma, ye n’abasajja be yali nabo?+ 4 Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’atwala emigaati egy’okulaga, n’alya era n’awaako n’abasajja be yali nabo, so nga tewali n’omu yali akkirizibwa kugiryako okuggyako bakabona bokka?”+ 5 Awo n’abagamba nti: “Omwana w’omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”+
6 Ku ssabbiiti endala,+ yayingira mu kkuŋŋaaniro n’atandika okuyigiriza. Era eyo waaliyo omusajja eyalina omukono ogwa ddyo ogwakala.*+ 7 Abawandiisi n’Abafalisaayo baali beekaliriza Yesu okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti basobole okumuvunaana. 8 Kyokka yamanya endowooza yaabwe,+ era n’agamba omusajja eyalina omukono ogwakala* nti: “Situka oyimirire mu makkati.” N’asituka n’ayimirira awo. 9 Awo Yesu n’abagamba nti: “Ka mbabuuze, Ku Ssabbiiti kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi oba ekibi, okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”+ 10 Bwe yamala okubeebulunguluza amaaso, n’agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona. 11 Naye ne basunguwala nnyo, era ne batandika okuteesa ku kye banaakola Yesu.
12 Mu nnaku ezo, yagenda ku lusozi okusaba,+ n’abeera eyo ekiro kyonna ng’asaba Katonda.+ 13 Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be, mu bo n’alondamu 12 n’abayita abatume,+ 14 era be bano: Simooni gwe yatuuma Peetero, Andereya muganda we, Yakobo, Yokaana, Firipo,+ Battolomaayo, 15 Matayo, Tomasi,+ Yakobo mutabani wa Alufaayo, Simooni ayitibwa “omunyiikivu,” 16 Yuda mutabani wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
17 Awo n’aserengeta nabo, n’ayimirira mu kifo eky’omuseetwe, era waaliwo ekibiina kinene eky’abayigirizwa be n’abantu abalala bangi nnyo abaali bavudde mu Buyudaaya yonna ne mu Yerusaalemi, ne mu bitundu by’e Ttuulo n’e Sidoni ebiri ku lubalama lw’ennyanja. Baali bazze okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 18 N’abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi baawonyezebwa. 19 Era abantu bonna baali baagala bamukwateko kubanga amaanyi gaali gamuvaamu+ nga gabawonya bonna.
20 Awo n’atunuulira abayigirizwa be n’agamba nti:
“Mulina essanyu mmwe abaavu, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwammwe.+
21 “Mulina essanyu mmwe abalumwa enjala kati, kubanga mulikkusibwa.+
“Mulina essanyu mmwe abakaaba kati, kubanga muliseka.+
22 “Mulina essanyu abantu bwe banaabakyawanga,+ bwe banaabagobaganyanga,+ bwe banaabavumanga, era ne bavumaganya n’erinnya lyammwe* ku lw’Omwana w’omuntu. 23 Ku lunaku olwo musanyukanga era mubuukanga olw’essanyu, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu. Ebyo bye bintu byennyini bajjajjaabwe bye baakolanga bannabbi.+
24 “Naye zibasanze mmwe abagagga,+ kubanga mubudaabudibwa kati mu bujjuvu.+
25 “Zibasanze mmwe abakkufu kati, kubanga mulirumwa enjala.
“Zibasanze mmwe abaseka kati, kubanga mulikungubaga era mulikaaba.+
26 “Zibasanze abantu bonna buli lwe banaaboogerangako obulungi,+ kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakola bannabbi ab’obulimba.
27 “Naye mbagamba mmwe abawuliriza: Mweyongerenga okwagala abalabe bammwe, okukolera ababakyawa ebirungi,+ 28 okuwa omukisa ababakolimira, n’okusabira ababavuma.+ 29 Oyo akukuba ku ttama erimu, omukyusizanga n’eddala; n’oyo atwala ekyambalo kyo eky’okungulu, omulekeranga n’eky’omunda.+ 30 Buli akusaba omuwanga,+ n’oyo atwala ebintu byo tomusabanga kubikuddiza.
31 “Ate era, ebyo bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.+
32 “Bwe mwagala abo ababaagala, muba mukoze ki ekibasiimisa? Kubanga n’aboonoonyi baagala abo ababaagala.+ 33 Era bwe mukolera ebirungi abo ababakolera ebirungi, muba mukoze ki ekibasiimisa? N’aboonoonyi bwe batyo bwe bakola. 34 Ate era bwe muwola* abo be musuubira okubasasula, kiki kye mufunamu?+ N’aboonoonyi bawola aboonoonyi basobole okuddizibwa ekyo kye baba bawoze. 35 Naye mmwe, mweyongere okwagala abalabe bammwe n’okukola ebirungi, n’okuwola nga temusuubira kusasulwa;+ empeera yammwe eriba nnene era muliyitibwa baana b’Oyo Asingayo Okuba Waggulu, kubanga wa kisa eri abateebaza n’ababi.+ 36 Mweyongere okuba abasaasizi nga Kitammwe bw’ali omusaasizi.+
37 “Ate era mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe guleme kubasalirwa;+ mulekere awo okuvumirira abalala nammwe muleme kuvumirirwa. Musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa.+ 38 Mugabenga, nammwe abantu balibagabira.+ Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, era ekijjudde ne kibooga. Kubanga ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nabo kye balikozesa okubapimira.”
39 Awo ate n’abawa ekyokulabirako ng’agamba nti: “Muzibe asobola okukulembera muzibe munne? Bombi tebaagwe mu kinnya?+ 40 Omuyizi tasinga amuyigiriza, naye buli ayigirizibwa obulungi aliba ng’oyo amuyigiriza. 41 Kati olwo, lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo naye n’otofaayo ku kisiki ekiri ku liiso lyo?+ 42 Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasubi ku liiso,’ ate nga ggwe tolaba kisiki ekiri ku liiso lyo? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggye ekisiki ku liiso lyo, osobole okulaba obulungi bw’oyinza okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
43 “Tewali muti mulungi gubala bibala bibi; ate era tewali muti mubi* gubala bibala birungi.+ 44 Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo.+ Ng’ekyokulabirako, abantu tebanoga ttiini ku maggwa oba ezzabbibu ku kati k’amaggwa. 45 Omuntu omulungi aggya ebintu ebirungi mu tterekero eddungi ery’omu mutima gwe, naye omuntu omubi aggya ebintu ebibi mu tterekero lye ebbi; kubanga ebimujjula mu mutima akamwa ke bye koogera.+
46 “Kati olwo lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe! Mukama waffe!’ ate ne mutakola bye mbagamba?+ 47 Buli muntu ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange era n’abikolerako, nja kubabuulira gw’afaanana.+ 48 Afaanana ng’omusajja eyali azimba ennyumba, n’asima wansi ennyo, n’atuuka ku lwazi n’azimba okwo omusingi. Amataba bwe gajja, omugga gwakulukutira ku nnyumba eyo n’amaanyi, naye ne gutasobola kuginyeenya, kubanga yali ezimbiddwa bulungi.+ 49 Ku luuyi olulala, oyo awulira n’atabaako ky’akolawo,+ afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba etalina musingi. Omugga gwagikulukutirako n’amaanyi, amangu ago n’egwa n’esaanirawo ddala.”