Abebbulaniya
5 Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa mu bantu, alondebwa okuweereza Katonda+ ku lwabwe asobole okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka olw’ebibi.+ 2 Asobola okukwata obulungi* abo abatamanyi era abasobya, okuva bwe kiri nti naye kennyini alina obunafu bwe. 3 Era olw’ensonga eyo, kimwetaagisa okuwaayo ebiweebwayo olw’ebibi bye nga bw’abiwaayo olw’ebibi by’abantu.+
4 Omuntu tayinza kufuna kitiibwa kino ku lulwe wabula akifuna nga Katonda y’amuyise, nga Alooni bwe yayitibwa.+ 5 Bwe kityo, ne Kristo teyeegulumiza+ nga yeefuula kabona asinga obukulu, wabula yagulumizibwa Oyo eyamwogerako ng’agamba nti: “Oli mwana wange; olwa leero nfuuse Kitaawo.”+ 6 Era nga bw’agamba awalala nti: “Oli kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki.”+
7 Kristo bwe yali ku nsi* yakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka era n’akulukusa amaziga nga yeegayirira era ng’asaba+ Oyo eyali ayinza okumulokola mu kufa, era yawulirwa olw’okuba yali atya Katonda. 8 Wadde nga yali mwana we, yayiga obuwulize olw’okubonaabona kwe yayitamu;+ 9 era bwe yamala okufuulibwa atuukiridde,+ yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okuwa abo bonna abamugondera obulokozi obutaggwaawo,+ 10 kubanga Katonda yennyini ye yamulonda okuba kabona asinga obukulu nga Merukizeddeeki.+
11 Tulina bingi bye tuyinza okumwogerako, naye bizibu okunnyonnyola, kubanga mufuuse abantu abategeera empola.* 12 Mazima ddala, wadde nga kaakano mwandibadde bayigiriza,* mukyetaaga nate omuntu okubayigiriza okuva ku ntandikwa ebintu ebisookerwako+ eby’ebigambo bya Katonda ebitukuvu, era mufuuse abo abeetaaga amata so si emmere enkalubo. 13 Kubanga buli asigala ng’anywa amata aba tamanyi kigambo kya butuukirivu, olw’okuba aba mwana muto.+ 14 Kubanga emmere enkalubo ya bantu bakulu, abo abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.