Koppa Okukkiriza Kwabwe
Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
PEETERO yali tayinza kwerabira kaseera ako akazibu ennyo lwe baasisinkanya amaaso ne Yesu. Ddala Yesu yamutunuuliza bukambwe? Ekyo kizibu okutegeera; ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa byo bigamba bugamba nti, “Mukama waffe n’akyuka, n’atunuulira Peetero.” (Lukka 22:61) Kyokka bwe yamutunuulira, Peetero yakitegeera nti yali akoze ensobi ey’amaanyi. Yakijjukira nti yali akoledde ddala ekyo Yesu kye yali ayogeddeko emabega; ekintu Peetero kye yali akalambiddeko ng’agamba nti tayinza kukikola—okwegaana Mukama we omwagalwa. Kyali kiseera kizibu nnyo eri Peetero, era oboolyawo kye kyasingirayo ddala okuba ekizibu mu bulamu bwe bwonna.
Kyokka tekiri nti Peetero yali takyalina ssuubi lyonna. Yali musajja alina okukkiriza okw’amaanyi era yali akyalina akakisa okwenenya ensobi ze n’okuyiga ekimu ku bintu ebikulu ennyo Yesu bye yali ayigirizza, nga kino kwe kusonyiwa. Buli omu ku ffe yeetaaga okuyiga okukola ekintu kye kimu era ka twetegereze tulabe engeri Peetero gye yayigamu okukola ekintu kino ekizibu.
Peetero Yalina Bingi eby’Okuyiga
Emyezi nga mukaaga emabega ng’ali mu kibuga ky’ewaabwe eky’e Kaperunawumu, Peetero yatuukirira Yesu n’amubuuza nti: “Mukama wange, muganda wange bw’anankolanga ekibi, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” Kirabika Peetero yali alowooza nti awo aba asonyiye nnyo muganda we. Gw’ate oba abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye baayigirizanga nti omuntu alina okusonyiwa munne emirundi esatu gyokka! Yesu yamuddamu nti: “Nkugamba nti, si mirundi musanvu, wabula emirundi nsanvu mu musanvu.”—Matayo 18:21, 22.
Ddala Yesu yali ategeeza nti Peetero yalina okubala buli mulundi omuntu lw’amukola ekibi? Nedda; wabula okugamba Peetero emirundi 77 mu kifo ky’omusanvu, yali ategeeza nti okusonyiwa tekuliiko kkomo. Yesu yakiraga nti Peetero yali atwaliriziddwa endowooza embi ey’obutasonyiwa balala n’okusiba ekiruyi eyaliwo mu kiseera ekyo. Kyokka, omuntu asonyiwa abalala ng’asinziira ku mitindo gya Katonda, asonyiyira ddala.
Peetero teyawakanya ebyo Yesu bye yayogera. Naye ekyo Yesu kye yamuyigiriza kyamutuuka ku mutima? Oluusi bwe twesanga mu mbeera etwetaagisa okusonyiyibwa lwe tumanya nti kikulu okusonyiwa abalala. Kati ka twetegereze ebyo ebyaliwo nga Yesu anaatera okuttibwa. Mu kiseera ekyo ekizibu, Peetero yakola ensobi nnyingi ezaali zeetaagisa Mukama we okumusonyiwa.
Peetero Yakola Ensobi Nnyingi Ezaali Zimwetaagisa Okusonyiyibwa
Ekiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa kyali kikulu nnyo. Yesu yali akyalina bingi eby’okuyigiriza abatume be, ng’ekyokulabirako, yali akyalina okubayigiriza ebikwata ku buwombeefu. Yesu yabateerawo ekyokulabirako ng’abanaaza ebigere, omulimu ogwakolebwanga abaweereza abasingayo okuba aba wansi. Mu kusooka, Peetero yawakanya ekyo Yesu kye yali akola era n’agaana okumunaaza ebigere. Kyokka oluvannyuma, yagamba Yesu nti tamunaaza bigere byokka naye era amunaaze n’emikono era n’omutwe. Yesu teyamunyiigira naye yamunnyonnyola n’obukkakkamu amakulu g’ekyo kye yali akola.—Yokaana 13:1-17.
Nga wayiseewo akaseera katono, abatume baatandika okukaayana nti ani ku bo asinga obukulu. Awatali kubuusabuusa, Peetero naye yeenyigira mu kikolwa ekyo ekyali kyoleka amalala. Wadde kyali kityo, Yesu yabagolola mu ngeri ey’ekisa era n’abasiima olw’ekyo kye baali bakoze—okuba abeesigwa nga banywerera ku Mukama waabwe. Kyokka, yabagamba nti bonna bandimwabulidde. Peetero yamuddamu ng’agamba nti yandimunywereddeko okutuukira ddala ku kufa. Yesu yagamba Peetero nti mu kiro ekyo kyennyini yandyegaanye Mukama we emirundi esatu ng’enkoko tennakookolima emirundi ebiri. Peetero teyakoma ku kuwakanya ekyo Yesu kye yali agambye naye era yeewaana nti yandibadde mwesigwa okusinga abatume abalala bonna!—Matayo 26:31-35; Makko 14:27-31; Lukka 22:24-28.
Yesu yanyiigira Peetero? Mu butuufu, mu kiseera kino kyonna ekizibu, Yesu yeeyongera okunoonya ebirungi mu batume be abaali batatuukiridde. Wadde nga yali akimanyi nti Peetero yandimwabulidde, yagamba nti: “Nkusabidde okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo; era bw’olimala okwenenya, onywezanga baganda bo.” (Lukka 22:32) Mu ngeri eyo, Yesu yakiraga nti yali mukakafu nti Peetero yandizeemu okuba omunywevu mu by’omwoyo era n’addamu okuweereza n’obwesigwa. Mazima ddala Yesu yayoleka ekisa n’omwoyo ogw’okusonyiwa!
Oluvannyuma nga bali mu lusuku Gesusemane, Peetero yagololwa emirundi egisukka mu gumu. Bwe yali ng’agenda okusaba, Yesu yagamba Peetero, Yakobo ne Yokaana okusigala nga batunula. Yesu yali munakuwavu nnyo era nga yeetaaga okuzzibwamu amaanyi, naye Peetero ne banne beebaka bwebasi. Yesu yayogera ebigambo bino ebyoleka okufaayo n’okusonyiwa: “Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”—Makko 14:32-38.
Mu kaseera katono, wajja ekibinja ky’abantu nga bakutte emimuli, ebitala, n’emiggo. Ekiseera kino kyali kyetaagisa omuntu okweyisa mu ngeri ey’amagezi era n’obwegendereza. Kyokka ye Peetero, amangu ago yasowolayo ekitala kye n’atemako okutu kwa Maluko, omuddu wa kabona asinga obukulu. Yesu yagolola Peetero n’obukkakkamu, n’azzaako okutu kwa Maluko, era n’abuulira Peetero omusingi ogugobererwa abagoberezi be n’okutuusa leero. (Matayo 26:47-55; Lukka 22:47-51; Yokaana 18:10, 11) Mu kiseera ekyo, Peetero yali akoze ensobi nnyingi ezaali zeetaagisa Mukama we okumusonyiwa. Ebyo ebyatuuka ku Peetero bitujjukiza nti “mu bingi tusobya fenna.” (Yakobo 3:2) Ani ku ffe ateetaaga kusonyiyibwa Katonda buli lunaku? Wadde kiri kityo, waliwo ensobi endala ey’amaanyi Peetero gye yali agenda okukola mu kiro ekyo.
Ensobi Esingayo Okuba ey’Amaanyi Peetero gye Yakola
Yesu yagamba ekibinja ky’abantu abajja okumukwata nti baleke abatume be bagende bwe kiba nti ye gwe baali banoonya. Peetero yalaba ng’ekibinja ky’abantu kikwata Yesu naye nga talina kya kukikolera. Oluvannyuma, Peetero awamu n’abatume abalala badduka.
Peetero ne Yokaana bwe baali badduka, oboolyawo baayimirirako okumpi n’ennyumba ya Ananiya eyaliko Kabona Asinga Obukulu, Yesu gye yasooka okutwalibwa okuwozesebwa. Nga Yesu bamuggye mu kifo ekyo, Peetero ne Yokaana bamugoberera naye ‘nga bamwesuddeko akabanga.’ (Matayo 26:58; Yokaana 18:12, 13) Peetero teyali musajja mutiitiizi. Mu butuufu, yayoleka obuvumu bwe yagoberera ekibinja ky’abantu abaali batwala Yesu. Abantu abo baali bakutte ebissi, ate nga Peetero yali yaakamala okutuusa ekisago ku omu ku bo. Wadde kyali kityo, Peetero yali tannayoleka kwagala kwa maanyi kwe yali ayogeddeko—okwewaayo okufiira awamu ne Mukama we bwe kyandibadde kyetaagisa.—Makko 14:31.
Okufaananako Peetero, bangi leero baagala okugoberera Kristo ‘nga bamwesuddeko akabanga,’ kwe kugamba, nga tewali amanyi nti bamugoberera. Naye nga Peetero bwe yawandiika oluvannyuma, engeri esingayo obulungi ey’okugobereramu Kristo kwe kumunywererako nga tugoberera ekyokulabirako kye mu bintu byonna, ka kibe ki ekiyinza okututuukako.—1 Peetero 2:21.
Peetero yagoberera abo abaali batwala Yesu okutuusa lwe yatuuka ku gamu ku maka agaali gasingayo okuba ag’ekitiibwa mu Yerusaalemi. Gaali maka ga Kayaafa kabona asinga obukulu eyali omugagga ennyo era ng’alina obuyinza bungi. Amaka ag’engeri eyo gaabanga n’oluggya olunene era nga galiko geeti. Peetero yatuuka ku geeti ne bamugaana okuyingira. Yokaana, eyali yayingidde edda yajja n’agamba omukuumi eyali ku geeti akkirize Peetero ayingire. Kirabika Peetero teyabeera kumpi ne Yokaana, era teyayingira mu nnyumba okuyimirira okumpi ne Mukama we. Yasigala mu luggya awaali abaweereza n’abaddu nga boota omuliro olw’empeewo, ng’eno bw’alaba abajulirwa ab’obulimba nga batwalibwa mu nnyumba okulumiriza Yesu mu musango ogwali gumuvunaanibwa.—Makko 14:54-57; Yokaana 18:15, 16, 18.
Bwe baali boota omuliro, omuwala eyali akkirizza Peetero okuyingira yali asobola bulungi okumwetegereza. Omuwala oyo yali amaanyi Peetero era yagamba bw’ati ng’amulumiriza: “Naawe obadde ne Yesu Omugaliraaya!” Olw’okuba kino yali takisuubira, Peetero yeegaana Yesu n’atuuka n’okugamba nti yali tategeera ebyo omuwala bye yali ayogera. Yagenda n’ayimirira mu lukuubo olufuluma ebweru ng’agezaako okwekweka, naye omuwala omulala n’amulaba era n’ayogera ekintu ky’ekimu: “Omusajja ono yabadde ne Yesu Omunnazaaleesi.” Peetero yalayira nti: “Omuntu oyo simumanyi!” (Matayo 26:69-72) Oboolyawo oluvannyuma lw’okwegaana Yesu omulundi ogw’okubiri Peetero yawulira enkoko ng’ekookolima, naye ebyo ebyaliwo byamwerabiza ebyo Yesu bye yali yaakamala okwogera.
Mu kaseera ako, Peetero yali akyagezaako okwekweka baleme okumutegeera. Naye abantu abaali bayimiridde mu luggya bajja w’ali. Omu ku bo yalina oluganda ku Maluko, omuddu Peetero gwe yali asazeeko okutu. Yagamba Peetero nti: “Saakulabye ng’oli naye mu nnimiro?” Peetero yeegaana era n’alayira ng’agamba nti akolimirwe bw’aba ng’alimba. Peetero yali yaakamala okwogera ebigambo ebyo, enkoko n’ekookolima omulundi ogw’okubiri.—Yokaana 18:26, 27; Makko 14:71, 72.
Mu kiseera ekyo, Yesu yali yaakaleetebwa waggulu ku lubalaza olwali lutunudde mu luggya. Nga bwe kyayogeddwako ku ntandikwa, Yesu yakyuka n’asisinkanya amaaso ne Peetero. Awo Peetero yakitegeera nti yali akoze ensobi ey’amaanyi eri Mukama we. Peetero yava mu luggya ng’awulira omutima gumulumiriza nnyo olw’ensobi eyo gye yali akoze, era n’agenda mu kibuga ng’obudde bunaatera okukya. Yajja ebiyengeyenge mu maaso era n’atulika n’akaaba nnyo.—Makko 14:72; Lukka 22:61, 62.
Omuntu bw’akimanya nti ekibi ky’akoze kya maanyi ng’ekyo Peetero kye yakola, kiba kyangu nnyo okulowooza nti tasobola kusonyiyibwa. Peetero ayinza okuba nga naye yalina endowooza eyo. Ddala Peetero yandisobodde okusonyiyibwa?
Ddala Peetero Yali Akyasobola Okusonyiyibwa?
Kizibu okuteebereza obulumi obw’amaanyi Peetero bwe yawulira ng’obudde bukya era ne ku lunaku olwo lwonna. Peetero ateekwa okuba nga yalumirizibwa nnyo mu mutima gwe Yesu bwe yattibwa mu kiseera eky’olweggulo oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa ennyo. Era ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo buli lwe yalowooza ku ngeri enneeyisa ye gye yayongera okuleetera Mukama we obulumi ku lunaku lwe yasembayo okuba omulamu ku nsi. Wadde Peetero yali munakuwavu nnyo, teyaggwamu maanyi. Kino tukitegeera olw’okuba ebyawandiikibwa bigamba nti mu kaseera katono yaddamu okukuŋŋaana ne baganda be. (Lukka 24:33) Awatali kubuusabuusa, abatume bonna bejjusa olw’engeri gye baali beeyisizzaamu ekiro ekyo, era buli omu yabudaabuda munne.
Peetero yakola ekimu ku bintu ebisingayo okuba eby’amagezi. Omuweereza wa Katonda bw’agwa, ekisinga obukulu si ky’ekyo ekiba kimusudde, wabula okuba omuvumu n’ayimuka nate, n’atereeza ensonga. (Engero 24:16) Peetero yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yaddamu okukuŋŋaana ne baganda be wadde nga yali munakuwavu mu mutima. Omuntu bw’aba omunakuwavu ennyo oba ng’alina kye yejjusa aba awulira ng’ayagala okweyawula ku balala; naye kino kiba kya kabi nnyo. (Engero 18:1) Ekisingayo okuba eky’amagezi kwe kubeera okumpi ne bakkiriza banno osobole okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.—Abebbulaniya 10:24, 25.
Olw’okuba Peetero yali wamu ne baganda be, yasobola okumanya nti omulambo gwa Yesu gwali guggiddwa mu ntaana. Peetero ne Yokaana badduka okugenda ku ntaana Yesu gye yali aziikiddwamu era eyali eteekeddwako ejjinja ku mulyango. Yokaana ye yasooka okutuuka ku ntaana, oboolyawo olw’okuba yali akyali muvubuka muto. Bwe yasanga ng’ejjinja liggiddwa ku mulyango gw’entaana, yatya okugiyingiramu. Kyokka ye Peetero wadde nga yali aky’aweekeera olw’okudduka, yayingira buyingizi mu ntaana. Yasanga entaana njereere!—Yokaana 20:3-9.
Ddala Peetero yakikkiriza nti Yesu yali azuukidde? Teyakkiririzaawo, wadde ng’abakazi abeesigwa baali bagambye nti bamalayika baabalabikidde ne babagamba nti Yesu yali azuukidde mu bafu. (Lukka 23:55–24:11) Ku nkomerero y’olunaku olwo, Peetero yali takyali munakuwavu era nga takyabuusabuusa nti Yesu azuukidde. Yesu yali azuukiziddwa era nga kitonde eky’omwoyo eky’amaanyi! Yalabikira abatume be bonna. Naye waliwo ekintu kye yasooka okukola, wadde nga teyakikola mu lwatu. Abatume baagamba ku lunaku olwo nti: “Mazima ddala Mukama waffe yazuukidde era yalabikidde Simooni!” (Lukka 24:34) Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo oluvannyuma yawandiika ku ebyo ebyaliwo ku lunaku Yesu lwe “yalabikira Keefa, ate n’alabikira n’ekkumi n’ababiri.” (1 Abakkolinso 15:5) Keefa ne Simooni nago mannya ga Peetero. Yesu yamulabikira ku lunaku olwo—kirabika nga Peetero ali yekka.
Baibuli tetubuulira ebyo ebyaliwo nga Yesu ne Peetero bazzeemu okusisinkana. Kye tuyinza okulowoozaako lye ssanyu Peetero lye yalina ng’azzeemu okulaba Mukama we omwagalwa eyali azuukidde era n’aba n’akakisa okwenenya ensobi ze. Ekintu kye yali asinga okwagala kwe kusonyiyibwa. Ani ayinza okubuusabuusa nti Yesu yamusonyiyira ddala? Leero, Abakristaayo ababa bakoze ekibi basaanidde okujjukira ebyo ebyatuuka ku Peetero. Tetusaanidde kulowooza nti Katonda tayinza kutusonyiwa. Yesu yakoppa Kitaawe, oyo ‘ajja okusonyiyira ddala ennyo.’—Isaaya 55:7.
Ebirala Ebiraga nti Peetero Yasonyiyibwa
Yesu yagamba abatume be okugenda e Ggaliraaya okusobola okumusisinkana nate. Bwe baatuuka eyo, Peetero yasalawo okugenda okuvuba ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Waliwo n’abalala abawerako abaagenda naye. Kati Peetero yali azzeeyo ku nnyanja gye yavubiranga okumala emyaka mingi nga tannafuuka mutume. Kirabika Peetero yali akyajjukira bulungi engeri eryato gye lyesukundamu, engeri amayengo gye geekuba ku lyato, n’engeri y’okusikamu obutimba. Yandiba nga yeebuuza ekiro ekyo engeri gy’anaakozesaamu obulamu bwe okuva bwe kiri nti Yesu yali amalirizza obuweereza bwe obw’oku nsi? Yandiba nga yasikirizibwa okuddamu okukola omulimu ogw’obuvubi? Ka kibe ki ekyaliwo, tebaakwasa byennyanja mu kiro ekyo.—Matayo 26:32; Yokaana 21:1-3.
Awo ng’emmambya esala, waliwo omuntu eyabayita ng’asinziira ku lubalama lw’ennyanja n’abagamba okusuula obutimba bwabwe ku ludda olulala olw’eryato. Baakola kye yabagamba era ne bakwasa ebyennyanja ebiwerera ddala 153! Peetero yategeera omuntu oyo era yabuuka okuva mu lyato n’awuga okutuuka ku lubalama lw’ennyanja. Nga batuuse ku lubalama, Yesu yabawa ebyennyanja ebikalirire. Naye ebirowoozo bye yasinga kubissa ku Peetero.
Yesu yabuuza Peetero obanga yali ayagala Mukama we “okusinga bino”—awo Yesu yali asonze ku byennyanja bye baali bakwasizza. Peetero yandiba nga muli yawulira ng’ayagala nnyo omulimu ogw’okuvuba okusinga Yesu? Nga Peetero bwe yali yeegaanye Mukama we emirundi esatu, ne Yesu yamuwa akakisa emirundi esatu akakase okwagala kw’alina gy’ali nga n’abatume abalala bawulira. Peetero bwe yakikakasa nti amwagala, Yesu yamubuulira engeri y’okwolekamu okwagala okwo: ng’akulembeza obuweereza obutukuvu okusinga ebintu ebirala byonna, ng’aliisa era ng’alunda endiga za Kristo, nga bano be bagoberezi ba Kristo abeesigwa.—Yokaana 21:4-17.
Mu ngeri eyo, Yesu yakikakasa nti Peetero yali akyali wa mugaso nnyo gy’ali n’eri Kitaawe. Peetero yandibadde n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina wansi w’obulagirizi bwa Kristo. Nga buno bukakafu bwa maanyi nnyo obulaga nti Yesu yasonyiwa Peetero! Mazima ddala Peetero yakwatibwako nnyo olw’ekisa Yesu kye yamulaga.
Peetero yatuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe okumala emyaka mingi. Yanyweza baganda be nga Yesu bwe yali amulagidde ng’anaatera okuttibwa. Peetero yayoleka ekisa n’obugumiikiriza ng’alunda abagoberezi ba Kristo era ng’abaliisa mu by’omwoyo. Omusajja ayitibwa Simooni yatuukana bulungi n’erinnya Yesu lye yamuwa erya Peetero, oba Lwazi, kubanga yafuuka muntu wa mugaso nnyo eri ab’oluganda mu kibiina. Obukakafu obusinga okulaga nti yali wa mugaso nnyo mu kibiina, busangibwa mu bbaluwa ze ebbiri ezooleka okwagala ze yawandiika, era ezaafuuka ebimu ku bitabo eby’omuganyulo ennyo ebiri mu Baibuli. Ebbaluwa ezo era ziraga nti Peetero teyeerabira ekyo kye yayigira ku Yesu ekikwata ku kusonyiwa.—1 Peetero 3:8, 9; 4:8.
Okufaananako Peetero, ka naffe tuyige okusonyiwa abalala. Buli lunaku tusaba Katonda atusonyiwe olw’ensobi ennyingi ze tukola? Tukkiriza nti Katonda asobola okutusonyiwa ne tuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye? Era naffe tusonyiwa abo ababa batukoze ekibi? Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukoppa okukkiriza kwa Peetero n’ekisa kya Mukama we.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 22]
Peetero yakola ensobi nnyingi ezaali zeetaagisa Mukama we okumusonyiwa, naye ani ku ffe ateetaaga kusonyiyibwa buli lunaku?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
“Mukama waffe n’akyuka, n’atunuulira Peetero”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
“Mukama waffe . . . yalabikidde Simooni!”