ESSOMO 15
Yesu y’Ani?
Yesu y’omu ku bantu abasinga okumanyibwa mu byafaayo. Naye ng’oggyeeko okumanya erinnya lye, abantu bangi tebalina bingi bye bamanyi ku Yesu era balina endowooza za njawulo ku ekyo Yesu ky’ali. Kiki Bayibuli ky’etutegeeza ku Yesu?
1. Yesu y’ani?
Yesu kitonde kya mwoyo era abeera mu ggulu. Yakuwa Katonda yasooka kutonda Yesu nga tannatonda kintu kirala kyonna. Eyo ye nsonga lwaki Yesu ayitibwa “omubereberye w’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Ate era Bayibuli Yesu emuyita ‘Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka’ kubanga Yesu ye yekka Katonda gwe yatonda obutereevu. (Yokaana 3:16) Yakuwa bwe yali atonda ebintu ebirala byonna, Yesu yakolera wamu naye. (Soma Engero 8:30.) Yesu alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Yesu akola ng’omwogezi wa Katonda, kubanga Katonda ayitira mu Yesu okutuusa obubaka bwe eri ebitonde bye ebirala byonna. Eyo ye nsonga lwaki Yesu ayitibwa “Kigambo.”—Yokaana 1:14.
2. Lwaki Yesu yajja ku nsi?
Emyaka nga 2,000 emabega, Yakuwa yakola ekyamagero. Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, yateeka obulamu bwa Yesu mu lubuto lw’omuwala embeerera ayitibwa Maliyamu. Bw’atyo Yesu n’azaalibwa ku nsi ng’omuntu. (Soma Lukka 1:34, 35.) Yesu yajja ku nsi okuba Masiya oba Kristo eyasuubizibwa, n’okulokola abantu.a Obunnabbi bwonna obukwata ku Masiya bwatuukirira ku Yesu, ekyo ne kisobozesa abantu okukimanya nti Yesu ye “Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”—Matayo 16:16.
3. Kati Yesu ali ludda wa?
Oluvannyuma lwa Yesu okufa, yazuukizibwa ng’alina omubiri ogw’omwoyo n’addayo mu ggulu. Bwe yaddayo mu ggulu, “Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo.” (Abafiripi 2:9) Kati Yesu alina obuyinza bungi era y’addirira Yakuwa mu buyinza.
YIGA EBISINGAWO
Manya ebisingawo ebikwata ku ekyo Yesu ky’ali era n’ensonga lwaki kikulu nnyo okuyiga ebimukwatako.
4. Yesu si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna
Bayibuli eyigiriza nti wadde nga Yesu kitonde eky’omwoyo eky’amaanyi ekiri mu ggulu, ali wansi w’obuyinza bwa Katonda era Kitaawe, Yakuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ssaako VIDIYO olabe engeri ekifo Yesu ky’alina gye kyawukana ku kya Katonda omuyinza w’ebintu byonna.
Ebyawandiikibwa bino wammanga bituyamba okutegeera enjawulo eriwo wakati wa Yakuwa ne Yesu. Soma buli kyawandiikibwa, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Soma Lukka 1:30-32.
Malayika yalaga atya enjawulo eriwo wakati wa Yesu ne Yakuwa Katonda, “Oyo Asingayo Okuba Waggulu”?
Soma Matayo 3:16, 17.
Yesu bwe yali abatizibwa, eddoboozi eryava mu ggulu lyagamba ki?
Olowooza eddoboozi eryo lyali ly’ani?
Soma Yokaana 14:28.
Ku taata n’omwana, ani aba asinga obukulu?
Okuba nti Yesu yayita Yakuwa Kitaawe, kiraga ki?
Soma Yokaana 12:49.
Yesu akitwala nti ye ne Kitaawe be bamu? Ggwe olowooza otya?
5. Kyeyoleka bulungi nti Yesu ye Masiya
Bayibuli erimu obunnabbi bungi obwayamba abantu okumanya Masiya, kwe kugamba, oyo Katonda gwe yalonda okulokola abantu. Ssaako VIDIYO olabe obumu ku bunnabbi obwatuukirira ku Yesu ng’ali ku nsi.
Soma obunnabbi bwa Bayibuli buno, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Soma Mikka 5:2 olabe wa Masiya gye yalina okuzaalibwa.b
Obunnabbi obwo bwatuukirira ku Yesu?—Matayo 2:1.
Soma Zabbuli 34:20 ne Zekkaliya 12:10 olabe obunnabbi obukwata ku kufa kwa Masiya.
Obunnabbi obwo bwatuukirira?—Yokaana 19:33-37.
Ddala kisoboka okuba nti Yesu ye yaleetera ebintu ebyo okutuukirira?
Ekyo kikukakasa ki ku Yesu?
6. Tuganyulwa bwe tuyiga ebikwata ku Yesu
Bayibuli eraga nti kikulu nnyo okuyiga ebikwata ku Yesu n’ekifo ky’alina. Soma Yokaana 14:6 ne 17:3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki kikulu nnyo okuyiga ebikwata ku Yesu?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiririza mu Yesu.”
Omuntu bw’akugamba bw’atyo, oyinza kumuddamu otya?
MU BUFUNZE
Yesu kitonde eky’omwoyo eky’amaanyi. Mwana wa Katonda era ye Masiya.
Okwejjukanya
Lwaki Yesu ayitibwa “omubereberye w’ebitonde byonna”?
Biki Yesu kye yakola bwe yali nga tannajja ku nsi?
Tumanya tutya nti Yesu ye Masiya?
LABA EBISINGAWO
Laba ebisingawo ebikwata ku kifo Yesu ky’alina nga Masiya.
“Obunnabbi Obukwata ku Masiya Bukakasa nti Yesu Ye Masiya?” (Kiri ku mukutu)
Laba obanga Bayibuli eyigiriza nti Katonda yazaala Yesu mu ngeri y’emu abantu gye bazaalamu abaana.
Laba ensonga lwaki enjigiriza egamba nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu si ya mu Byawandiikibwa.
Laba engeri obulamu bw’omukazi omu gye bwakyuka oluvannyuma lw’okunoonyereza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku Yesu.
“Omukazi Omuyudaaya Alaga Ensonga Lwaki Yakyusa Eddiini Gye Yalimu (Awake!, Maayi 2013)
a Mu ssomo erya 26 ne 27 tujja kulaba ensonga lwaki abantu beetaaga okulokolebwa era n’engeri Yesu gy’atulokolamu.
b Soma Ebyongerezeddwako 2 olabe obunnabbi obwalaga ekiseera kyennyini Masiya we yandirabikidde ku nsi.