Ensonga Lwaki Tweyongera “Okubala Ebibala Bingi”
“Kitange agulumizibwa bwe mweyongera okubala ebibala bingi era ne mulaga nti muli bayigirizwa bange.”—YOK. 15:8.
1, 2. (a) Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, biki bye yagamba abayigirizwa be? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Lwaki tusaanidde okujjukiranga ensonga lwaki tubuulira? (c) Biki bye tugenda okulaba?
YESU bwe yali anaatera okuttibwa, yamala ekiseera kiwanvu ng’ayogera n’abatume be era n’abakakasa nti abaagala nnyo. Era yababuulira olugero olukwata ku muzabbibu nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita. Mu lugero olwo, Yesu yakubiriza abayigirizwa be okweyongera “okubala ebibala bingi,” kwe kugamba, okweyongera okubuulira obubaka bw’Obwakabaka.—Yok. 15:8.
2 Kyokka, Yesu teyakoma ku kubuulira bayigirizwa be kiki kye baalina okukola naye era yababuulira n’ensonga lwaki baalina okukikola. Yababuulira ensonga lwaki baalina okubuulira. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ensonga ezo? Bulijjo bwe tujjukira ensonga lwaki tusaanidde okubuulira, kitukubiriza okuwa “obujulirwa eri amawanga gonna” awatali kuddirira. (Mat. 24:13, 14) Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga nnya lwaki tubuulira. Ate era tugenda kulaba ebintu bina Yakuwa bye yatuwa okutuyamba okweyongera okubala ebibala.
TUGULUMIZA YAKUWA
3. (a) Okusinziira ku Yokaana 15:8, lwaki tubuulira? (b) Ebibala by’emizabbibu mu lugero lwa Yesu bikiikirira ki, era lwaki ekyo kituukirawo?
3 Ensonga esinga obukulu lwaki tubuulira eri nti twagala okugulumiza Yakuwa n’okutukuza erinnya lye. (Soma Yokaana 15:1, 8.) Weetegereze nti Yesu yageraageranya Yakuwa ku mulimi w’emizabbibu. Yesu yeegeraageranya ku muzabbibu ate abagoberezi be n’abageraageranya ku matabi. (Yok. 15:5) N’olwekyo, ebibala by’emizabbibu bikiikirira ebibala by’Obwakabaka, abagoberezi ba Kristo bye babala. Yesu yagamba abatume be nti: “Kitange agulumizibwa bwe mweyongera okubala ebibala bingi.” Ng’emizabbibu egibala ebibala ebirungi bwe giweesa omulimi ekitiibwa, naffe bwe tunyiikira okubuulira obubaka bw’Obwakabaka, tuweesa Yakuwa ekitiibwa oba tumugulumiza.—Mat. 25:20-23.
4. (a) Tutukuza tutya erinnya lya Katonda? (b) Otwala otya enkizo ey’okutukuza erinnya lya Katonda?
4 Mu ngeri ki omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gutukuzaamu erinnya lya Katonda? Tewali kye tusobola kukola kwongera ku butukuvu bwa linnya lya Katonda. Ekyo kiri kityo kubanga erinnya lya Katonda ttukuvu ku kigero ekituukiridde. Kyokka Isaaya yagamba nti: “Yakuwa ow’eggye gwe musaanidde okutwala nga mutukuvu.” (Is. 8:13) N’olwekyo, emu ku ngeri gye tutukuzaamu erinnya lya Katonda kwe kulitwala nga lya njawulo ku mannya amalala gonna era n’okuyamba abalala okulitwala nga ttukuvu. (Mat. 6:9, obugambo obuli wansi.) Ng’ekyokulabirako, bwe tubuulira abalala ebikwata ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo awamu n’ekigendererwa kye eri abantu, tuyamba abantu okukimanya nti ebintu byonna ebibi Sitaani bye yayogera ku Katonda bya bulimba. (Lub. 3:1-5) Ate era tutukuza erinnya lya Katonda bwe tuyamba abantu okukiraba nti Yakuwa y’agwanidde “okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo.” (Kub. 4:11) Ow’oluganda Rune, amaze emyaka 16 ng’aweereza nga payoniya, agamba nti: “Okukimanya nti nnina enkizo okuwa obujulirwa ku Mutonzi w’ebintu byonna kinsanyusa nnyo. Kinkubiriza okweyongera okubuulira.”
TWAGALA YAKUWA N’OMWANA WE
5. (a) Okusinziira ku Yokaana 15:9, 10 lwaki tubuulira? (b) Yesu yayamba atya abayigirizwa be okukiraba nti beetaaga okuba abagumiikiriza?
5 Soma Yokaana 15:9, 10. Ensonga endala lwaki tubuulira obubaka bw’Obwakabaka eri nti twagala nnyo Yakuwa ne Yesu. (Mak. 12:30; Yok. 14:15) Yesu teyagamba bayigirizwa be kubeera mu kwagala kwe kyokka, naye era yabagamba ‘okusigala mu kwagala kwe.’ Lwaki? Kubanga okusobola okusigala nga tuli bayigirizwa ba Yesu aba nnamaddala mwaka ku mwaka, kitwetaagisa okuba abagumiikiriza. Mu butuufu mu Yokaana 15:4-10 Yesu yaddiŋŋana ekigambo “okusigala” enfunda eziwerako, okuyamba abayigirizwa be okukimanya nti bajja kwetaaga okuba abagumiikiriza.
6. Tukiraga tutya nti twagala okusigala mu kwagala kwa Kristo?
6 Tukiraga tutya nti twagala okusigala mu kwagala kwa Kristo, tube nga tusiimibwa mu maaso ge? Ekyo tukikola nga tukwata ebiragiro bya Yesu. Ekyo Yesu ky’atugamba okukola naye ky’akola. Yagamba nti: “Nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe.” Mazima ddala Yesu assaawo ekyokulabirako ekirungi.—Yok. 13:15.
7. Kakwate ki akaliwo wakati w’obuwulize n’okwagala?
7 Okusobola okulaga nti waliwo akakwate wakati w’obuwulize n’okwagala, Yesu yagamba abatume be nti: “Oyo akkiriza ebiragiro byange n’abikwata, y’oyo anjagala.” (Yok. 14:21) Bwe tugondera ekiragiro kya Yesu ne tubuulira, era kiba kiraga nti twagala Katonda, kubanga ebiragiro Yesu by’atuwa biva eri Kitaawe. (Mat. 17:5; Yok. 8:28) Era bwe tulaga Yakuwa ne Yesu nti tubaagala, nabo batukuumira mu kwagala kwabwe.
TULABULA ABANTU
8, 9. (a) Ensonga endala etuleetera okubuulira y’eruwa? (b) Lwaki ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Ezeekyeri 3:18, 19 ne 18:23 bitukubiriza okweyongera okubuulira?
8 Ensonga endala lwaki tweyongera okubuulira eri nti bwe tubuulira tuba tulabula abantu. Bayibuli egamba nti Nuuwa yali ‘mubuulizi.’ (Soma 2 Peetero 2:5.) Nuuwa bwe yali abuulira ng’Amataba tegannajja ateekwa okuba nga yalabulanga abantu ku kuzikiriza okwali kujja. Lwaki tugamba tutyo? Yesu yagamba nti: “Mu nnaku ezo ng’Amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, era ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna. N’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.” (Mat. 24:38, 39) Wadde ng’abantu baali tebeefiirayo, Nuuwa yeeyongera okubabuulira obubaka obw’okulabula Katonda bwe yali amuwadde.
9 Leero bwe tubuulira, tuwa abantu akakisa okumanya ebyo Katonda by’agenda okukolera abantu mu biseera eby’omu maaso. Okufaananako Yakuwa, naffe twagala abantu basseeyo omwoyo ku bubaka obwo basobole ‘okusigala nga balamu.’ (Ezk. 18:23) Ate era bwe tubuulira nnyumba ku nnyumba ne mu bifo ebya lukale, tulabula abantu bangi nga bwe kisoboka nti Obwakabaka bwa Katonda bugenda kujja buzikirize ensi ya Sitaani.—Ezk. 3:18, 19; Dan. 2:44; Kub. 14:6, 7.
TWAGALA BANTU BANNAFFE
10. (a) Okusinziira ku Matayo 22:39 lwaki tubuulira? (b) Pawulo ne Siira baayamba batya omukuumi w’ekkomera mu Firipi?
10 Ensonga endala lwaki tweyongera okubuulira eri nti twagala bantu bannaffe. (Mat. 22:39) Okwagala okwo kutukubiriza okweyongera okubuulira, kubanga tukimanyi nti embeera bwe zikyuka n’endowooza z’abantu zisobola okukyuka. Ng’ekyokulabirako, mu kibuga Firipi, abantu abaali bayigganya Abakristaayo baasiba Pawulo ne Siira mu kkomera. Naye ekiro mu ttumbi, musisi yayita enziji z’ekkomera ne zeggula. Omukuumi w’ekkomera yatya nnyo ng’alowooza nti abasibe batolose era yali anaatera okwetta. Naye Pawulo yamukoowoola n’amugamba nti: “Teweekolako kabi!” Omukuumi w’ekkomera yabuuza nti: “Kiki kye nteekwa okukola okusobola okulokolebwa?” Pawulo ne Siira baamugamba nti: “Kkiriza Mukama waffe Yesu, ojja kulokolebwa.”—Bik. 16:25-34.
11, 12. (a) Ebyo bye tusoma ku mukuumi w’ekkomera oyo bituyigiriza ki ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira? (b) Lwaki twagala okweyongera okubuulira?
11 Ebyo bye tusoma ku mukuumi w’ekkomera oyo bituyigiriza ki ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira? Weetegereze nti omukuumi w’ekkomera yakyusa endowooza ye era n’asaba Pawulo ne Siira bamuyambe oluvannyuma lwa musisi okuyita. Mu ngeri y’emu, abantu abamu abatawuliriza bubaka bwaffe basobola okukyusa endowooza yaabwe era ne basaba okuyambibwa oluvannyuma lw’okufuna ekizibu eky’amaanyi mu bulamu bwabwe. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu abali mu bitundu mwe tubuulira bayinza okufiirwa emirimu gyabwe ne bayisibwa bubi nnyo. Abalala bayinza okwennyamira ennyo oluvannyuma lw’obufumbo bwabwe okusasika. Ate abalala bayinza okufuna ennaku ey’amaanyi oluvannyuma lw’okuzuulibwamu obulwadde obw’amaanyi oba oluvannyuma lw’okufiirwa omuntu waabwe. Abantu abamu bwe bafuna ebizibu ng’ebyo, batandika okwebuuza ebibuuzo ebikwata ku bulamu, oboolyawo edda bye baali bateebuuza. Bayinza n’okwebuuza nti, ‘Kiki kye nnyinza okukola okulokolebwa?’ Oluvannyuma lw’okufuna ebizibu ebyo, bwe tugendayo okubabuulira bayinza okwagala okuwuliriza obubaka bwaffe obuwa essuubi.
12 N’olwekyo, bwe tweyongera okubuulira awatali kuddirira, tuba tusobola okutuusa ku bantu obubaka obubudaabuda mu kiseera we baba basobola okubukkiriza. (Is. 61:1) Mwannyinaffe Charlotte, amaze emyaka 38 mu buweereza obw’ekiseera kyonna, agamba nti: “Leero abantu bangi basobeddwa. Beetaaga okuweebwa akakisa okuwulira amawulire amalungi.” Mwannyinaffe Ejvor, amaze emyaka 34 ng’aweereza nga payoniya, agamba nti: “Leero, okusinga bwe kyali edda, abantu bennyamivu nnyo. Mpulira nga njagala nnyo okubayamba. Ekyo kinkubiriza okweyongera okubuulira.” Mazima ddala okwagala kwe tulina eri abantu kutukubiriza okweyongera okubuulira!
EBITUYAMBA OKWEYONGERA OKUBALA EBIBALA
13, 14. (a) Kirabo ki Yakuwa kye yatuwa ekyogerwako mu Yokaana 15:11? (b) Essanyu lya Yesu liyinza litya okuba mu ffe? (c) Essanyu lituyamba litya mu mulimu gw’okubuulira?
13 Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, yabuulira abatume be ebintu ebitali bimu ebyandibayambye okweyongera okubala ebibala. Bintu ki ebyo, era bituyamba bitya leero?
14 Essanyu. Okugondera ekiragiro kya Yesu ekikwata ku kubuulira kitumalako essanyu? Nedda. Oluvannyuma lw’okugera olugero olukwata ku muzabbibu, Yesu yagamba nti bwe tubuulira tufuna essanyu. (Soma Yokaana 15:11.) Mu butuufu yagamba nti essanyu lye lijja kuba mu ffe. Mu ngeri ki? Nga bwe kyayogeddwako waggulu, Yesu yeegeraageranya ku muzabbibu ate abayigirizwa be n’abageraageranya ku matabi. Omuzabbibu guwanirira amatabi. Amatabi tegasobola kufuna mazzi na biriisa okuggyako nga gali ku muzabbibu. Mu ngeri y’emu, bwe tusigala nga tuli bumu ne Kristo nga tutambulira mu bigere bye, tufuna essanyu naye ly’afuna mu kukola Kitaawe by’ayagala. (Yok. 4:34; 17:13; 1 Peet. 2:21) Mwannyinaffe Hanne, amaze emyaka egisukka mu 40 ng’aweereza nga payoniya, agamba nti, “Essanyu lye mpulira buli lwe nkomawo nga nva okubuulira lindeetera okweyongera okubuulira.” Mu butuufu, essanyu lye tufuna nga tubuulira lituyamba okweyongera okubuulira ne mu bitundu ebitali byangu.—Mat. 5:10-12.
15. (a) Kirabo ki ekyogerwako mu Yokaana 14:27? (b) Emirembe gituyamba gitya okweyongera okubala ebibala?
15 Emirembe. (Soma Yokaana 14:27.) Yesu era yagamba abatume be nti: “Mbawa emirembe gyange.” Ekirabo ekyo eky’emirembe kituyamba kitya okubala ebibala? Bwe tweyongera okubuulira tufuna emirembe egya nnamaddala mu mutima olw’okukimanya nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa ne Yesu. (Zab. 149:4; Bar. 5:3, 4; Bak. 3:15) Ow’oluganda Ulf, amaze emyaka 45 mu buweereza obw’ekiseera kyonna, agamba nti, “Omulimu gw’okubuulira gunkooya, naye gundeetera okuba omumativu n’okuba n’obulamu obw’amakulu.” Nga tuli basanyufu okuba nti tulina emirembe egya nnamaddala!
16. (a) Kirabo ki ekyogerwako mu Yokaana 15:15? (b) Abatume bandisobodde batya okusigala nga mikwano gya Yesu?
16 Okuba mikwano gya Yesu. Oluvannyuma lwa Yesu okugamba abatume be nti yali ayagala ‘essanyu lyabwe libeere lijjuvu,’ yabalaga obukulu bw’okwoleka okwagala okulimu okwefiiriza. (Yok. 15:11-13) Era yabagamba nti: “Mbayise mikwano gyange.” Nga nkizo ya maanyi okuba mukwano gwa Yesu! Kiki abatume kye baalina okukola okusobola okusigala nga mikwano gya Yesu? Baalina “okubalanga ebibala.” (Soma Yokaana 15:14-16.) Emyaka ebiri emabega, Yesu yali agambye abatume be nti: “Bwe muba mugenda, mubuulire nga mugamba nti: ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’” (Mat. 10:7) Bwe yali anaatera okuttibwa, yabakubiriza okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira gwe baali baatandika okukola. (Mat. 24:13; Mak. 3:14) Tekyali kyangu kukola mulimu ogwo, naye baali basobola okugukola, ne basigala nga mikwano gye. Mu ngeri ki? Waliwo ekintu ekirala ekyandibayambye.
17, 18. (a) Kirabo ki ekyogerwako mu Yokaana 15:16? (b) Ekirabo ekyo kyayamba kitya abayigirizwa ba Yesu? (c) Birabo ki ebituganyula leero?
17 Katonda addamu essaala zaffe. Yesu yagamba nti: “Kitange [ajja kubawa] buli kintu kye musaba mu linnya lyange.” (Yok. 15:16) Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyagumya nnyo abatume!a Wadde nga mu kusooka tebaakimanya nti Yesu yali anaatera okufa, Yesu bwe yafa n’addayo mu ggulu kyali tekitegeeza nti baali tebakyalina buyambi bwonna. Yakuwa yali mwetegefu okuddamu okusaba kwabwe ng’abawa obuyambi bwe beetaaga okusobola okukola omulimu gw’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. Era bwe kityo bwe kyali. Nga wayiseewo ekiseera kitono bukya Yesu addayo mu ggulu, Yakuwa yaddamu essaala y’abatume n’abayamba okuba abavumu.—Bik. 4:29, 31.
18 Bwe kityo bwe kiri ne leero. Bwe tweyongera okubala ebibala, tusigala nga tuli mikwano gya Yesu. Ate era tuli bakakafu nti Yakuwa mwetegefu okuddamu essaala zaffe bwe tumusaba nga twolekagana n’ebintu ebikifuula ekizibu gye tuli okubuulira. (Baf. 4:13) Nga tulina enkizo ya maanyi okuba nti Yakuwa addamu essaala zaffe n’okuba nti tuli mikwano gya Yesu! Ebirabo ebyo Yakuwa by’atuwa bituyamba okweyongera okubala ebibala.—Yak. 1:17.
19. (a) Lwaki tweyongera okubuulira? (b) Biki ebituyamba okuba abamalirivu okweyongera okukola omulimu Katonda gwe yatuwa?
19 Nga bwe tulabye mu kitundu kino, tweyongera okubuulira olw’okuba twagala okugulumiza Yakuwa, okutukuza erinnya lye, okulaga nti twagala Yakuwa ne Yesu, okulabula abantu, n’okulaga bantu bannaffe okwagala. Ate era tulabye nti essanyu, emirembe, omukwano gwe tulina ne Yesu, n’okuba nti essaala zaffe ziddibwamu bituyamba okuba abamalirivu okumaliriza omulimu Katonda gwe yatuwa. Mu butuufu Yakuwa asanyuka nnyo bw’atulaba nga tukola kyonna ekisoboka okweyongera “okubala ebibala bingi”!
a Yesu bwe yali ayogera n’abatume be, enfunda n’enfunda yabakakasa nti essaala zaabwe zandiddiddwamu.—Yok. 14:13; 15:7, 16; 16:23.