Obwakabaka Bwa Katonda Kye Bunaakola
“Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—MATAYO 6:10.
1. Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda kunaategeeza ki?
YESU bwe yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda, yamanya nti bwe bwandizze bwandikomezza obufuzi bw’abantu obwali bumaze enkumi n’enkumi z’emyaka nga bwewaggudde ku Katonda. Okutwalira awamu, mu kiseera ekyo kyonna, Katonda by’ayagala byali tebikolebwa mu nsi. (Zabbuli 147:19, 20) Naye, oluvannyuma lw’okuteekawo Obwakabaka mu ggulu, Katonda by’ayagala by’andikoleddwa wonna wonna. Ekiseera eky’ekitalo eky’okukyuka okuva mu bufuzi bw’abantu okudda mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, kigenda kisembera.
2. Kiki ekinaalamba okukyuka okuva mu bufuzi bw’abantu okudda mu bw’Obwakabaka?
2 Ekinaalamba enkyukakyuka eno kye kiseera Yesu kye yayita ‘ekibonyoobonyo ekinene, ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era ekitaribaawo nate.’ (Matayo 24:21) Baibuli teyogera bbanga ki kye kirimala, naye eby’ennaku ebiribaawo mu kiseera ekyo biriba bibi nnyo n’okusinga ebyo ensi bye yali erabye. Ku ntandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene, wajja kubaawo ekintu ekijja okwewuunyisa abantu abasinga obungi ku nsi: okuzikirizibwa kw’eddiini zonna ez’obulimba. Ekyo tekijja kwewuunyisa Bajulirwa ba Yakuwa, kubanga babadde bakisuubira okumala ebbanga ddene. (Okubikkulirwa 17:1, 15-17; 18:1-24) Ekibonyoobonyo ekinene kikoma ku Kalumagedoni ng’Obwakabaka bwa Katonda bumaze okuzikiriza enteekateeka ya Setaani yonna.—Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 16:14, 16.
3. Yeremiya ayogera atya ku kirituuka ku bajeemu?
3 Kino kiritegeeza ki eri abantu “abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri” ekwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu wansi wa Kristo? (2 Abasessaloniika 1:6-9) Obunnabbi bwa Baibuli bututegeeza: “Laba, obubi bulifuluma okuva mu ggwanga okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa aliva ku njegoyego z’ensi ez’enkomerero. N’abo Mukama b’alita baliva ku nkomerero y’ensi balituuka ku nkomerero yaayo: tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g’ensi.”—Yeremiya 25:32, 33.
Enkomerero y’Obubi
4. Lwaki Yakuwa aba mutuufu okuzikiriza embeera z’ebintu zino embi?
4 Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Yakuwa Katonda agumiikirizza obubi, ekiseera ekimala abantu eb’emitima emyesigwa okusobola okulaba nti obufuzi bw’abantu buvaamu bya nnaku byokka. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku nsibuko emu, mu kyasa 20 kyokka, abantu abasukka mu bukadde 150 battibwa mu ntalo, obwewagguzi era ne mu bwegugungo obulala. Obukambwe bw’omuntu naddala bwalabibwa mu Ssematalo II abantu ng’obukadde 50 bwe battibwa, nga bangi ku bo bafa mu ngeri embi ennyo mu nkambi z’Abanazi. Nga Baibuli bwe yalagula, mu kiseera kyaffe “abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi.” (2 Timoseewo 3:1-5, 13) Leero, obugwenyufu, obumenyi bw’amateeka, ettemu, n’obulyi bw’enguzi, era n’okunyooma emitindo gya Katonda bicaase nnyo. Bwe kityo, Yakuwa aba mutuufu okukomya embeera z’ebintu zino embi.
5, 6. Nnyonnyola obubi obwaliwo mu Kanani eky’edda.
5 Embeera eriwo kati efaanana eyaliwo mu Kanani emyaka 3500 egiyise. Baibuli egamba: “Buli kigambo Mukama ky’ayita eky’omuzizo ky’akyawa bali baakikolanga bakatonda baabwe: kubanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe baabookyanga omuliro eri bakatonda baabwe.” (Ekyamateeka 12:31) Yakuwa yagamba eggwanga lya Isiraeri: “[O]lw’obubi bw’amawanga ago Mukama Katonda kyava agagoba mu maaso go.” (Ekyamateeka 9:5) Omukugu mu byafaayo bya Baibuli Henry H. Halley yagamba: “Okusinza Baali, Asutaloosi, ne bakatonda b’Abakanani abalala kwalimu eby’obugwenyufu; yeekaalu zaabwe zaali nfo z’ebikolwa eby’ekivve.”
6 Halley y’alaga obubi bwabwe obwali busukkiridde we bwali butuuse, kubanga mu kifo ekimu ku ebyo, abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda “baasanga ebibya bingi nga birimu ebyasigalawo ku baana abaassaddaakibwa eri Baali.” Yagamba: “Ekifo kyonna kyali malaalo g’abaana abaakazaalibwa. . . . Abakanani baasinzanga nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, ng’omukolo gw’eddiini, mu maaso ga bakatonda baabwe; era ne batta abaana baabwe ababereberye, nga ssaddaaka eri bakatonda bano bennyini. Kirabika nti, ku kigero ekinene, eggwanga lyonna erya Kanani lyali lifuuse nga Sodomu ne Gomola . . . Abantu ng’abo abeenyigiranga mu bikolwa eby’ekivve era eby’obukambwe ng’ebyo baali basaanira okubeerawo? . . . Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu eb’edda beewuunya lwaki Katonda teyabazikiririzaawo mangu.”
Okusikira Ensi
7, 8. Katonda alirongoosa atya ensi eno?
7 Nga Katonda bwe yalongoosa Kanani, mangu ddala ajja kulongoosa ensi yonna agiwe abo abakola by’ayagala. “Abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.” (Engero 2:21, 22) Era omuwandiisi wa Zabbuli agamba: “Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga[mu] emirembe emingi.” (Zabbuli 37:10, 11) Era ne Setaani aliggibwawo, ‘alemenga okulimba amawanga okutuusa emyaka olukumi lwe giriggwaako.’ (Okubikkulirwa 20:1-3) Yee, “ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.
8 Ng’awumbawumbako essuubi ery’ekitalo ery’abo abaagala okubeera ku nsi emirembe gyonna, Yesu yagamba: “Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Kirabika yali ajuliza Zabbuli 37:29 eyalagula nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” Yesu yali akimanyi nti kyali kigendererwa kya Yakuwa ab’emitima emyesigwa okubeera mu lusuku lwa Katonda emirembe gyonna. Yakuwa agamba: “Nze n[n]akola ensi, omuntu n’ensolo ebiri ku nsi, n’obuyinza bwange obungi . . . , era nze ngiwa gwe nsiima.”—Yeremiya 27:5.
Ensi Empya Ey’Ekitalo
9. Obwakabaka bwa Katonda bunaaleetawo nsi ya ngeri ki?
9 Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleeta “ensi empya” ey’ekitalo “obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peetero 3:13) Nga buliba buweerero bw’amaanyi abaliwonawo ku Kalumagedoni okuwona embeera z’ebintu zino embi ezinyigiriza! Nga baliba basanyufu nnyo okuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu wansi w’Obwakabaka obw’omu ggulu, nga basuubira emikisa egy’ekitalo n’obulamu obutaggwaawo!—Okubikkulirwa 7:9-17.
10. Bintu ki ebibi ebitalibaawo wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka?
10 Abantu tebaliddamu kweraliikirira ntalo, obumenyi bw’amateeka, enjala, oba ensolo enkambwe. “Ndiragaana [n’abantu bange] endagaano ey’emirembe, era ndikomya mu nsi ensolo embi: . . . N’omuti ogw’omu ttale gulibala ebibala byagwo, n’ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga t[e]baliiko kye batya.” “Baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate. Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga.”—Ezeekyeri 34:25-28; Mikka 4:3, 4.
11. Lwaki tuyinza okubeera n’obwesige nti obulwadde bujja kuggwaawo?
11 Obulwadde, ennaku, n’okufa bijja kuggibwawo. “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde: abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.” (Isaaya 33:24) “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo. . . . Laba, byonna mbizzizza buggya.” (Okubikkulirwa 21:4, 5) Bwe yali ku nsi, Yesu yalaga obusobozi bwe obw’okukola ebintu ebyo mu maanyi Katonda ge yamuwa. N’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, Yesu yagenda mu ggwanga lyonna ng’awonya abalema n’abalwadde.— Matayo 15:30, 31.
12. Ssuubi ki eririwo eri abafu?
12 Yesu yakola n’ekisingawo. Yazuukiza abafu. Abantu abeetoowaze baakola ki? Bwe yazuukiza omuwala ow’emyaka 12, bazadde be ‘ne basanyuka nnyo.’ (Makko 5:42, NW) Kino kyali kyakulabirako kirala eky’ekyo Yesu ky’anaakola mu nsi yonna wansi w’obufuzi bw’Obwakakaba, kubanga mu kiseera ekyo wajja ‘kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.’ (Ebikolwa 24:15) Teebereza essanyu eppitirivu ng’abafu bakomawo mu bulamu era ne baddamu okubeera n’abaagalwa baabwe! Awatali kubuusabuusa wajja kubaawo omulimu omunene ogw’okuyigiriza wansi w’Obwakabaka ‘ensi eryoke ejjule okumanya Yakuwa ng’amazi bwe gasaanikira ennyanja.’—Isaaya 11:9.
Obufuzi bwa Yakuwa Bulagibwa Okuba Obutuufu
13. Obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda bunaalagibwa butya?
13 Ku nkomerero y’emyaka olukumi egy’obufuzi bw’Obwakabaka, abantu bajja kuba batuukiridde mu birowoozo n’omubiri. Ensi yonna ejja kubeera lusuku Adeni, olusuku lwa Katonda. Wajja kubaawo emirembe, essanyu, obukuumi, n’oluganda lw’abantu olw’okwagala. Mu byafaayo by’omuntu byonna, ng’obufuzi bw’Obwakabaka tebunnabaawo, ekintu nga kino kyali tekibangawo. Ng’enjawulo ey’amaanyi ennyo eriba eragiddwa kw’olwo wakati w’obufuzi bw’abantu obw’emabega obw’amala enkumi n’enkumi z’emyaka n’obufuzi obw’ekitalo obw’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu obw’emyaka olukumi! Obufuzi bwa Katonda okuyitira mu Bwakabaka bwe buliba bulagiddwa okuba nga bwe businga mu ngeri zonna. Obwannanyini bwa Katonda okufuga, obufuzi bwe, bijja kuba biragiddwa ddala okuba ebituufu.
14. Kiki ekirituuka ku bajeemu ng’emyaka olukumi giweddeko?
14 Ku nkomerero y’emyaka olukumi, Yakuwa ajja kuleka abantu abatuukiridde okukozesa eddembe lyabwe okulondawo gwe baagala okuweereza. Baibuli eraga nti “Setaani n’alyoka asumululwa mu kkomera lye.” Era ajja kugezaako okulimba abantu, abamu ku bo bajja kulondawo okwewaggula ku Katonda. Obutaganya ‘ennaku okuyimuka omulundi ogw’okubiri,’ Yakuwa ajja kuzikiriza Setaani, balubaale be, n’abo bonna abajeemera obufuzi bwa Yakuwa. Tewali n’omu aligamba nti omuntu yenna alizikirizibwa mu kiseera ekyo teyafuna mukisa oba nti ekkubo lyabwe ekyamu lyasibuka ku butabeera batuukirivu. Nedda, bajja kubeera nga Adamu ne Kaawa abaali batuukiridde, abaasalawo kyeyagalire okujeemera obufuzi bwa Yakuwa obw’obutuukirivu.—Okubikkulirwa 20:7-10; Nakkumu 1:9.
15. Abeesigwa banaabeera na nkolagana ki ne Yakuwa?
15 Ku luuyi olulala, kirabika abantu abasinga obungi bajja kulondawo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Nga buli mujeemu yenna azikiriziddwa, abatuukirivu bajja kuyimirira mu maaso ga Yakuwa, nga bamaze okuyita okugezesebwa okw’obwesigwa okw’enkomerero. Abeesigwa abo Yakuwa ajja kubakkiriza nga batabani be era bawala be. N’olwekyo, baddamu okufuna enkolagana Adamu ne Kaawa gye baalina ne Katonda nga tebannajeema. Bwe kityo, Abaruumi 8:21 lujja kutuukirizibwa: “Ebitonde byennyini [abantu] nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.” Nnabbi Isaaya alagula: “[Katonda] ajja kumira okufa ennaku zonna, era Mukama afuga byonna Yakuwa ajja kusangula amaziga okuva mu maaso gaabwe.”—Isaaya 25:8, NW.
Essuubi ery’Obulamu Obutaggwaawo
16. Lwaki kituufu okwesunga okufuna empeera ey’obulamu obutaggwaawo?
16 Nga ssuubi lya kitalo eririndiridde abeesigwa, okumanya nti Katonda ajja kubawa emikisa mingi nnyo egy’eby’omwoyo n’ebintu emirembe gyonna! Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Oyanjuluza engalo zo, n’okkusa buli kintu [e]kiramu bye kyagala.” (Zabbuli 145:16) Yakuwa akubiriza abo eb’ekibiina eky’oku nsi okubeera n’essuubi lino ery’obulamu mu Lusuku lwa Katonda ng’engeri emu ey’okumukkiririzaamu. Wadde ensonga y’obufuzi bwa Yakuwa y’esinga obukulu, tasaba bantu kumuweereza awatali ssuubi ery’okufuna empeera. Mu Baibuli yonna, obwesigwa eri Katonda n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo bigendera wamu ng’ebintu ebyetaagisibwa Omukristaayo akkiririza mu Katonda. “Ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.”—Abaebbulaniya 11:6.
17. Yesu yalaga atya nti kyali kituufu okuwanirirwa essuubi lyaffe?
17 Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Wano yakwataganya okumanya Katonda n’ebigendererwa bye n’empeera evaamu. Ng’ekyokulabirako, omwonoonyi bwe yasaba Yesu amujjukire ng’atuuse mu Bwakabaka bwe, Yesu yagamba: “Onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43) Teyagamba omusajja okubeera n’okukkiriza ne bwe kiba nti teyandifunye mpeera. Yamanya nti Yakuwa ayagala abaweereza be okubeera n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi libayambe okunywera nga boolekaganye n’okugezesebwa okutali kumu mu nsi eno. Bwe kityo, okwesunga ekirabo kiyamba nnyo mu kugumiikiriza ng’Omukristaayo.
Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Obwakabaka
18, 19. Kiki ekirituuka ku Kabaka n’Obwakabaka ku nkomerero y’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi?
18 Okuva Obwakabaka bwe bwali gavumenti Yakuwa gye yakozesa okuleeta ensi n’abantu abagiriko mu mbeera etuukiridde era n’okubatabaganya naye, Kabaka Yesu Kristo ne bakabaka era bakabona 144,000 banaaba na kifo ki oluvannyuma lw’Emyaka Olukumi? “Enkomerero n’eryoka etuuka bw’aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw’aliba ng’amaze okuggyawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza. Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa [Katonda] lw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye.”—1 Abakkolinso 15:24, 25.
19 Kristo bw’aliwaayo Obwakabaka eri Katonda, ebyawandiikibwa ebibwogerako ng’obubaawo emirembe gyonna tuyinza kubitegeera tutya? Obwakabaka bye butuukiriza bijja kubaawo emirembe gyonna. Kristo ajja kuweebwa ekitiibwa emirembe gyonna olw’ekifo kye mu kuyamba okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda. Naye okuva ekibi n’okufa bwe biriba nga biggiddwawo ddala, era ng’olulyo lw’omuntu lununuddwa, aliba takyetaagibwa ng’Omununuzi. Obufuzi bw’Obwakabaka obw’Emyaka Olukumi nabwo buliba butuukiriziddwa mu bujjuvu; n’olwekyo kiriba tekyetaagisa gavumenti okubeera wakati wa Yakuwa n’abantu abawulize. Mu ngeri eyo, “Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.”—1 Abakkolinso 15:28.
20. Tuyinza tutya okumanya ebikwata ku biseera eby’omu maaso ebya Kristo ne 144,000?
20 Kristo ne bafuzi banne baliba na kifo ki oluvannyuma lw’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi? Baibuli terina ky’ekyogerako. Kyokka, tuyinza okubeera abakakafu nti Yakuwa ajja kubawa enkizo endala nnyingi nnyo ez’obuweereza mu bitonde bye. Ka ffe ffenna leero tuwagire obufuzi bwa Yakuwa era tuweebwe obulamu obutaggwaawo, kibe nti mu biseera eby’omu maaso, tujja kubeera balamu tumanye Yakuwa ky’ategekedde Kabaka ne bakabaka banne era bakabona, awamu n’obutonde bwe bwonna obw’ekitalo!
Ensonga ez’Okwejjukanya
• Nkyukakyuka ki mu bufuzi gye tusemberera?
• Katonda aliramula atya ababi n’abatuukirivu?
• Mbeera ki eziribeerawo mu nsi empya?
• Obufuzi bwa Yakuwa buliragibwa butya okubeera obutuufu ddala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
“Walibaawo okuzuukizibwa kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Abeesigwa bajja kuddamu okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa