Ani Anaatwawukanya n’Okwagala kwa Katonda?
“Ffe twagala kubanga ye yasooka okutwagala.”—1 YOKAANA 4:19.
1, 2. (a) Lwaki kikulu okumanya nti twagalibwa? (b) Kwagala kw’ani kwe tusinga okwetaaga?
KIKULU gy’oli okuba nti oyagalibwa? Okuviira ddala mu buwere okutuuka mu bukulu, abantu kibakola bulungi bwe baagalibwa. Wali olabye maama ng’asitudde omwana we? Ka kibe ki ekibaawo, omwana oyo omuwere bw’aba atunuulidde nnyina mu maaso, aba talina kintu kyonna ky’atya era awulira emirembe nga ali mu mikono gya maama we. Ojjukira embeera gye walimu bwe wali mu biseera ebizibu ebya kabuvubuka? (1 Abasessaloniika 2:7) Ebiseera ebimu, oyinza n’okuba nga wali tomanyi kye weetaaga oba engeri gye wali weewuliramu, naye nga kyali kikulu nnyo okumanya nti taata wo ne maama wo baali bakwagala! Tekyali kya muganyulo okumanya nti wali osobola okubatuukirira ng’olina ekizibu kyonna oba ekibuuzo? Mazima ddala, mu bulamu bwaffe bwonna, ekyetaago ekisingayo obukulu, kwe kumanya nti twagalibwa. Okwagala ng’okwo kutuwa obukakafu nti tuli ba muwendo.
2 Okwagala kw’abazadde okutakoma kulina kinene kye kukola ku ngeri abaana gye bakulamu. Kyokka bwe tubeera n’obukakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, atwagala, kiba kikulu nnyo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo ne mu nneewulira. Abamu ku basomi ba magazini eno bayinza okuba nga tebaalina bazadde abaali babafaako. Ekyo bwe kiba nga bwe kiri gy’oli, toggwaamu maanyi. Wadde ng’abazadde bo tebaakulaga kwagala oba ng’okwagala kwe baakulaga kwali tekumala, ye Katonda akwagala.
3. Yakuwa akakasizza atya abantu be nti abaagala?
3 Okuyitira mu nnabbi we Isaaya, Yakuwa yakiraga nti maama ayinza ‘okwerabira’ omwana we ayonka, naye ye tayinza kwerabira bantu be. (Isaaya 49:15) Mu ngeri y’emu, Dawudi yagamba: ‘Ka kibe nga kitange ne mmange bandese, naye Mukama ananjijanjabanga.’ (Zabbuli 27:10) Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Embeera yo k’ebe ng’eri etya, bw’obeera n’enkolagana ennywevu ne Yakuwa Katonda, buli kiseera osaanidde okujjukira nti okwagala kw’alina gy’oli kusingira wala okw’omuntu omulala yenna!
Weekuumire mu Kwagala kwa Katonda
4. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakakasibwa batya nti Katonda abaagala?
4 Ddi lwe wasooka okumanya okwagala kwa Yakuwa? Oboolyawo, embeera yo yali efaananako n’ey’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Essuula ey’okutaano mu bbaluwa ya Pawulo eri Abaruumi eraga bulungi engeri ababi, abaali beeyawudde ku Katonda, gye baategeeramu okwagala kwe. Mu lunyiriri olw’okutaano tusoma: “Kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw’omwoyo omutukuvu gwe twaweebwa.” Mu lunyiriri olw’omunaana, Pawulo agattako: “Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.”
5. Kiki ekyakuyamba okutegeera n’okusiima okwagala kwa Katonda?
5 Mu ngeri y’emu, bwe wategeezebwa amazima agava mu Kigambo kya Katonda era n’otandika okubeera n’okukkiriza, omwoyo gwa Yakuwa gwatandika okukolera mu mutima gwo. Mu ngeri eyo watandika okutegeera era n’okusiima obukulu bw’ekyo Yakuwa kye yakola eky’okutuma Omwana we gw’ayagala ennyo okukufiirira. Bwe kityo, Yakuwa yakuyamba okumanya engeri gy’ayagalamu ennyo abantu. Bwe wamanya nti Yakuwa yali agguliddewo abantu ekkubo ery’okubeera abatuukirivu era nga balina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo wadde nga baazaalibwa nga balina ekibi era nga bawukanye ku Katonda, ekyo tekyasanyusa nnyo omutima gwo? Era tekyakuleetera okwagala Yakuwa?—Abaruumi 5:10.
6. Lwaki ebiseera ebimu tuyinza okuwulira ng’abeeyawudde ku Yakuwa?
6 Bwe wamala okusikirizibwa okwagala kwa Kitaawo ow’omu ggulu era n’okyusa engeri z’obulamu bwo okubeera asiimibwa gy’ali, weewaayo eri Katonda. Kati olina emirembe ne Katonda. Naye, ebiseera ebimu owulira ng’oli wala nnyo ne Yakuwa? Ekyo kiyinza okututuukako ffenna. Naye bulijjo kijjukire nti Katonda takyukakyuka. Okwagala kwe kwa lubeerera, kulinga enjuba etayinza kulekera awo kuweereza kitangaala kyayo ku nsi. (Malaki 3:6; Yakobo 1:17) Ku ludda olulala, ffe tusobola okukyuka ne bwe kiba okumala akaseera akatono. Ensi bwe yeetooloola, ekitundu kyayo ekimu kikwata ekizikiza. Mu ngeri y’emu, bwe tukyuka okuva ku Katonda wadde okumala akaseera akatono, enkolagana yaffe naye esobola okwonooneka. Kiki kye tuyinza okukola okugitereeza?
7. Okwekebera kuyinza kutya okutuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda?
7 Singa wabaawo ekiraga nti tutandise okweyawula ku kwagala kwa Katonda, tusaanidde twebuuze: ‘Okwagala kwa Katonda sikututte ng’ekintu ekikulu? Mpolampola ŋŋenze nva ku Katonda omulamu era ow’okwagala, nga ndaga nti nnafuye mu kukkiriza mu ngeri ezitali zimu? Ebirowoozo byange mbitadde ku “bintu eby’omubiri,” mu kifo ky’okubiteeka ku bintu “eby’omwoyo”?’ (Abaruumi 8:5-8; Abaebbulaniya 3:12) Bwe kiba nti tweyawudde ku Yakuwa, tuyinza okubaako kye tukola okutereeza ensonga, era ne tuddamu okubeera n’enkolagana ennungi era ey’oku lusegere naye. Yakobo atukubiriza: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.” (Yakobo 4:8) Lowooza ku bigambo bya Yuda: “Abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu mwoyo omutukuvu, mwekuumenga mu kwagala kwa Katonda.”—Yuda 20, 21.
Okukyuka kw’Embeera Tekukendeeza Kwagala kwa Katonda
8. Nkyukakyuka ki eziyinza okubalukawo mangu ddala mu bulamu bwaffe?
8 Waliwo ebintu bingi ebiyinza okukyusa obulamu bwaffe nga tuli mu mbeera z’ebintu bino. Kabaka Sulemaani yagamba nti “ebiseera n’ebitasuubirwa bitugwira fenna.” (Omubuulizi 9:11) Obulamu bwaffe buyinza okukyukakyuka mangu ddala. Olunaku olumu tuyinza okuba nga tuli balamu, kyokka ate oluddako ne tuba nga tuli balwadde nnyo. Leero tuyinza okuba nga tulina omulimu omulungi, kyokka enkeera ne tuba nga tetugulina. Omuntu gwe twagala ennyo ayinza okufa ekibwatukira. Abakristaayo mu nsi emu bayinza okubeera n’emirembe okumala akaseera, kyokka ate mangu ddala ne wabalukawo okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Oboolyawo tuvunaanibwa mu bukyamu, era olw’ensonga eyo, ne kituleetera okuyisibwa obubi. Yee, obulamu si butebenkevu ddala.—Yakobo 4:13-15.
9. Lwaki kyandibadde kya magezi okwekenneenya ekitundu ekiri mu Abaruumi essuula 8?
9 Ebintu ebinakuwaza bwe bitutuukako, tuyinza okutandika okuwulira ng’abaabuliddwa, ne tutuuka n’okulowooza nti Katonda takyatwagla. Okuva bwe kiri nti ffenna tutuukibwako ebintu ebyo, kiba kirungi okwekenneenya ebigambo by’omutume Pawulo ebibudaabuda ebiri mu Abaruumi essuula 8. Ebigambo ebyo byali bikwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta. Naye, omusingi ogubirimu gukwata ne ku abo ab’endiga endala, abayitiddwa abatuukirivu era mikwano gya Katonda, nga Ibulayimu bwe yali nga Kristo tannajja ku nsi.—Abaruumi 4:20-22; Yakobo 2:21-23.
10, 11. (a) Ebiseera ebimu, abalabe bavunaana ki abantu ba Katonda? (b) Lwaki okuvunaanibwa ng’okwo si kikulu eri Abakristaayo?
10 Soma Abaruumi 8:31-34. Pawulo abuuza: “Katonda bw’abeera ku ludda lwaffe, omulabe waffe y’ani?” Kituufu nti Setaani n’ensi ye embi balabe baffe. Abalabe baffe bayinza n’okutuvunaana mu bukyamu mu kkooti z’ensi. Abazadde Abakristaayo abamu bavunaaniddwa nti tebaagala baana baabwe olw’okuba tebakkiriza kuwa baana baabwe bujjanjabi obumenya amateeka ga Katonda oba okwenyigira mu mikolo egy’obukaafiiri. (Ebikolwa 15:28, 29; 2 Abakkolinso 6:14-16) Abakristaayo abalala abeesigwa bavunaaniddwa mbu balya mu nsi yaabwe olukwe olw’okuba tebeenyigira mu ntalo oba mu by’obufuzi. (Yokaana 17:16) Abaziyiza abamu basaasaanyizza ebigambo eby’obulimba okuyitira ku mikutu gy’empuliziganya, nga bayita Abajulirwa ba Yakuwa akadiinidiini ak’omutawaana.
11 Naye teweerabira nti mu biseera by’abatume, kyagambibwa nti: ‘Tumanyi nti ebigambo by’enzikiriza eno, biwerebwa wonna wonna.’ (Ebikolwa 28:22) Okuvunaanibwa eby’obulimba si y’ensonga enkulu. Katonda y’ayita Abakristaayo ab’amazima abatuukirivu, okusinziira ku kukkiriza kwe baalina mu ssaddaaka ya Kristo. Lwaki Yakuwa yandirekedde awo okwagala abamusinza oluvannyuma lw’okubawa ekirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo, Omwana we omu yekka gw’ayagala ennyo? (1 Yokaana 4:10) Olw’okuba Kristo yamala dda okuzuukizibwa mu bafu, era nga kati ali ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo, awolereza Abakristaayo. Mazima ddala ani ayinza okukiwakanya nti Kristo awolereza abagoberezi be, oba ani ayinza okutuuka ku buwanguzi ng’asoomooza Katonda olw’okuwagira abaweereza be abeesigwa? Tewali n’omu!—Isaaya 50:8, 9; Abaebbulaniya 4:15, 16.
12, 13. (a) Mbeera ki ezitayinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda? (b) Omulyolyomi alina kiruubirirwa ki mu kutuleetera ebizibu? (c) Lwaki Abakristaayo batuuka ku buwanguzi?
12 Soma Abaruumi 8:35-37. Ng’oggyeko ffe abantu kinnoomu, waliwo omuntu yenna oba ekintu kyonna ekiyinza okutwawula ku kwagala kwa Yakuwa n’Omwana we, Kristo Yesu? Setaani ayinza okukozesa abantu be abali ku nsi okuleetera Abakristaayo ebizibu bingi. Okuviira ddala mu kyasa ekiyise, baganda baffe ne bannyinaffe bangi babadde bayigganyizibwa nnyo mu nsi nnyingi. Mu bifo ebimu leero, baganda baffe buli lunaku boolekagana n’ebizibu eby’eby’enfuna. Abamu balumwa enjala era ne babulwa n’eky’okwambala. Omulyolyomi alina kiruubirirwa ki mu kuleetawo ebizibu ebyo byonna? Ekimu ku biruubirirwa bye, kwe kumalamu amaanyi abasinza ba Yakuwa. Setaani ayagala okutulowoozesa nti Katonda takyatwagala. Naye, bwe kityo bwe kiri?
13 Okufaananako Pawulo eyajuliza Zabbuli 44:22, tumaze okuyiga Ekigambo kya Katonda. Tumanyi nti olw’erinnya lya Katonda, ebintu ebyo byonna kye biva bitutuukako, ffe ‘endiga’ ze. Okutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda n’okugulumizibwa kw’obufuzi bwe obw’obutonde bwonna, bye bizingirwamu mu nsonga eno. Olw’ensonga ezo enkulu, Katonda ky’ava akkiriza ebizibu ebyo okubaawo, so si lwa kuba takyatwagala. Embeera k’ebe ng’ezibuwadde kwenkana wa, tukakasibwa nti Katonda akyatwagala. Bwe tunaakuuma obugolokofu bwaffe ne tugumiikiriza ekizibu kyonna, tujja kutuuka ku buwanguzi. Tunywezebwa olw’okumanya nti okwagala kwa Katonda tekukyuka.
14. Lwaki Pawulo yali mukakafu ku kwagala kwa Katonda wadde ng’Abakristaayo bafuna ebizibu?
14 Soma Abaruumi 8:38, 39. Kiki ekyakakasa Pawulo nti tewali kiyinza kwawukanya Bakristaayo ku kwagala kwa Katonda? Awatali kubuusabuusa, ebyatuuka ku Pawulo ng’ali mu buweereza, byanyweza obwesige bwe yalina nti ebizibu tebirina kye biyinza kukola ku kwagala Katonda kw’alina gye tuli. (2 Abakkolinso 11:23-27; Abafiripi 4:13) Era Pawulo yali amanyi ekigendererwa kya Yakuwa eky’emirembe gyonna n’ebyo bye yakolera abantu be mu biseera ebyayita. Okufa kuyinza okumalawo okwagala Katonda kw’alina eri abo abamuweereza n’obwesigwa? N’akatono! Abeesigwa ng’abo abafa Katonda aba aky’abajjukira era ajja kubazuukiza ng’ekiseera kituuse.—Lukka 20:37, 38; 1 Abakkolinso 15:22-26.
15, 16. Menya ebintu ebimu ebitayinza kuleetera Katonda kulekera awo kwagala baweereza be abeesigwa.
15 Ka bibe bizibu ki bye tuyinza okufuna mu bulamu leero, ka bube bubenje, obulwadde obutawona, oba ebizibu by’eby’enfuna, tewali kintu na kimu kiyinza kuggyawo kwagala Katonda kw’alina eri abantu be. Bamalayika ab’amaanyi, gamba nga malayika omujeemu eyafuuka Setaani, tayinza kuleetera Yakuwa kulekera awo kwagala baweereza be. (Yobu 2:3) Gavumenti ziyinza okuwera, okusiba, n’okuyisa obubi abaweereza ba Katonda, era ziyinza n’okubatwala ng’abantu abateetaagibwa. (1 Abakkolinso 4:13) Amawanga bwe gooleka obukyayi ng’obwo, kiyinza okuleetera abantu okutuyisa obubi, naye tekiyinza kuleetera mufuzi w’obutonde bwonna okutwabulira.
16 Ng’Abakristaayo, tekitwetaagisa kutya nti ebyo Pawulo bye yayita “ebiriwo,” ebintu ebibaawo mu nsi, embeera eziri mu mulembe guno, wadde “ebintu ebigenda okujja” mu biseera eby’omu maaso, biyinza okuggyawo okwagala Katonda kw’alina eri abantu be. Wadde ng’ensi n’emyoyo emibi biyinza okutulwanyisa, okwagala kwa Katonda kuyinza okutuwanirira. Newakubadde “obugulumivu, newakubadde okugenda wansi” tebiyinza kulemesa kwagala kwa Katonda, nga Pawulo bwe yakiggumiza. Yee, ka kibe kintu ki ekyandibadde kitumalamu amaanyi, oba ekiyinza okulabika ng’ekitulinako obuyinza obungi, tebiyinza kutwawula ku kwagala kwa Katonda; wadde ekitonde ekirala kyonna tekiyinza kwonoona nkolagana Omutonzi gy’alina n’abaweereza be abeesigwa. Okwagala kwa Katonda tekuggwaawo; kwa mirembe na mirembe.—1 Abakkolinso 13:8.
Okwagala kwa Katonda Kutwale nga kwa Muwendo Emirembe Gyonna
17. (a) Lwaki okubeera n’okwagala kwa Katonda ‘kisinga okuba n’obulamu’? (b) Tuyinza tutya okulaga nti okwagala kwa Katonda tukutwala nga kwa muwendo?
17 Okwagala kwa Katonda kukulu gy’oli kwenkana wa? Olina enneewulira nga Dawudi gye yalina bwe yawandiika: “Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; emimwa gyange ginaakutenderezanga. Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu: naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo”? (Zabbuli 63:3, 4) Mazima ddala, waliwo ekintu kyonna ky’oyinza okufuna mu bulamu mu nsi eno ekiyinza okusinga okwagala Katonda kw’alina gye tuli n’omukwano gwe tulina naye? Ng’ekyokulabirako, okuluubirira omulimu omulungi ennyo kiyinza okuba ekirungi okusinga okubeera n’emirembe mu mutima n’essanyu eriva mu nkolagana ey’oku lusegere ne Katonda? (Lukka 12:15) Abakristaayo abamu boolekaganye n’okusalawo ekintu kimu ku bibiri, okuleka Yakuwa oba okufa. Ekyo kyatuuka ku Bajulirwa ba Yakuwa bangi mu nkambi z’Abanazi mu kiseera kya Ssematalo ow’Okubiri. Ng’oggyeko abamu abatono ennyo, baganda baffe Abakristaayo baalondawo okusigala mu kwagala kwa Katonda, nga bamalirivu okufa bwe kiba nga kyetaagisa. Abo abasigala mu kwagala kwa Katonda bayinza okubeera abakakafu nti bajja kufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso, ekintu ensi kye tayinza kubawa. (Makko 8:34-36) Naye waliwo n’ekizingirwamu ekisinga obulamu obutaggwaawo.
18. Lwaki obulamu obutaggwaawo bwegombesa nnyo?
18 Wadde nga tekisoboka kubeerawo emirembe gyonna awatali Yakuwa, gezaako okukuba ekifaananyi bwe kyandibadde okuwangaala mu bulamu ng’Omutonzi waffe taliiwo. Obulamu ng’obwo tebwandibadde na kigendererwa kyonna. Yakuwa awadde abantu be omulimu ogumatiza ogw’okukola mu biseera bino eby’enkomerero. N’olwekyo, tuyinza okubeera abakakafu nti Yakuwa, Omuteesiteesi Omukulu, bw’anaatuwa obulamu obutaggwaawo, bujja kubaamu ebintu bingi ebisanyusa era eby’omuganyulo bye tusaanidde okumanya n’okukola. (Omubuulizi 3:11) Ne bwe tunaamanya ebyenkana wa mu nkumi n’enkumi z’emyaka egijja, tekijja kusoboka kutegeerera ddala “obuziba bw’obugagga obw’amagezi n’obw’okumanya kwa Katonda.”—Abaruumi 11:33.
Kitange Abaagala
19. Biki Yesu Kristo bye yagamba abayigirizwa be ebyabazzaamu amaanyi?
19 Ku Nisani 14, 33 C.E., akawungeezi akaasembayo ng’ali n’abatume be abeesigwa 11, Yesu yayogera ebintu bingi okubagumya olw’ebyo ebyali bigenda okujja. Bonna baali bagumiikirizza wamu ne Yesu mu bizibu bye byonna, era kinnoomu baali bategedde okwagala kwe yalina gye bali. (Lukka 22:28, 30; Yokaana 1:16; 13:1) Awo Yesu n’abakakasa: “Kitange yennyini abaagala.” (Yokaana 16:27) Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byayamba abayigirizwa okumanya nti Kitaabwe ow’omu ggulu yali abaagala nnyo!
20. Kiki ky’omaliridde okukola, era bukakafu ki bw’oyinza okuba nabwo?
20 Bangi kati abakyali abalamu baweerezza Yakuwa okumala amakumi g’emyaka. Awatali kubuusabuusa, ng’enkomerero y’omulembe guno tennaba kutuuka, tujja kufuna ebizibu bingi. Tokkirizanga bizibu ng’ebyo oba obweraliikirivu okukuleetera okubuusabuusa okwagala Katonda kw’alina gy’oli. Tuddamu okuggumiza ensonga eno: Yakuwa akwagala. (Yakobo 5:11) Ka buli omu ku ffe yeeyongere okukola ky’alina okukola, nga bwe tweyongera okukwata ebiragiro bya Katonda. (Yokaana 15:8-10) Ka tukozese buli kakisa konna ke tufuna okutendereza erinnya lye. Ka tubeere bamalirivu okwongera okusemberera Yakuwa nga tuyitira mu kusaba n’okuyiga Ekigambo kye. Ka kibe ki ekiyinza okubaawo, bwe tuba nga tufuba okusanyusa Yakuwa, tujja kubeera n’emirembe, nga tuli bakakafu nti tajja kulekera awo kutwagala.—2 Peetero 3:14.
Wandizzeemu Otya?
• Obutagwa lubege mu by’omwoyo ne mu nneewulira yaffe ey’omunda, kwagala kw’ani kwe twetaaga okusingira ddala?
• Bintu ki ebitayinza kuleetera Yakuwa kulekera awo kwagala baweereza be?
• Lwaki okubeera n’okwagala kwa Yakuwa kirungi “okusinga obulamu”?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Singa tuwulira nga twawukanye ku kwagala kwa Katonda, tufube okutereeza ensonga
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Pawulo yamanya ensonga lwaki yali ayigganyizibwa