Malaki
3 “Laba! Ntuma omubaka wange, era alinjerulira* ekkubo.+ Mukama ow’amazima gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye+ mangu nga tasuubirwa, era n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira alijja. Laba! Alijja,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
2 “Ani alisobola okugumira olunaku lw’alijjirako, era ani alisobola okuyimirira bw’alirabika? Kubanga aliba ng’omuliro ogusaanuusa ebyuma ne gubirongoosa, era aliba nga ssabbuuni+ w’aboozi b’engoye. 3 Alituula okusaanuusa n’okulongoosa ffeeza+ era alirongoosa abaana ba Leevi; alibalongoosa nga zzaabu era nga ffeeza; baliwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo mu butuukirivu. 4 Ebiweebwayo bya Yuda n’ebya Yerusaalemi birisanyusa Yakuwa nga bwe kyabanga mu biseera eby’edda, era nga bwe kyabanga mu myaka egy’edda ennyo.+
5 “Ndijja gye muli okubalamula, era ndivunaana mu bwangu abalogo+ n’abenzi n’abalayira eby’obulimba+ n’abalyazaamaanya abakozi baabwe,+ n’abo abanyigiriza bannamwandu n’abaana abatalina bakitaabwe,*+ era n’abo abagaana okuyamba abagwira.+ Abo tebantya,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
6 “Nze Yakuwa, sikyuka.*+ Mmwe muli baana ba Yakobo; temuweddeewo. 7 Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mubaddenga muva ku biragiro byange era temubikutte.+ Mudde gye ndi nange nja kudda gye muli,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
Naye mugamba nti: “Tudde tutya gy’oli?”
8 “Omuntu obuntu asobola okunyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga.”
Era mugamba nti: “Tukunyaga tutya?”
“Munnyaga ebitundu eby’ekimu eky’ekkumi n’ebintu ebimpeebwa. 9 Mukolimiddwa,* kubanga munnyaga—eggwanga lyonna likola bwe lityo. 10 Muleete ebitundu byonna eby’ekimu eky’ekkumi mu ggwanika,+ mu nnyumba yange mubeeremu emmere;+ mungezese mu kino mulabe obanga siibaggulire emiryango gy’eggulu+ ne mbayiira emikisa mingi nnyo ne gibulwa ne we gigya,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
11 “Siriddamu kukkiriza biwuka* kwonoona birime byammwe, era emizabbibu gy’omu nnimiro zammwe tegirirema kubala,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
12 “Amawanga gonna galibayita basanyufu+ kubanga muliba nsi esanyusa,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
13 “Munjogeddeko ebigambo ebibi ennyo,” Yakuwa bw’agamba.
Naye mugamba nti: “Biki bye tukwogeddeko?”+
14 “Mugamba nti: ‘Okuweereza Katonda tekigasa.+ Bwe tukoze by’atwetaagisa era bwe tulaze Yakuwa ow’eggye nti tunakuwadde olw’ebibi byaffe, tufunyeemu ki? 15 Abeetulinkiriza tubayita basanyufu. N’abakola ebintu ebibi, ebintu bibagendera bulungi.+ Bagezesa Katonda ne watabaawo kibatuukako.’”
16 Awo abo abatya Yakuwa ne boogera buli omu ne munne, Yakuwa n’assaayo omwoyo era n’awuliriza. Ekitabo eky’okujjukiza ekikwata ku abo abatya Yakuwa n’abo abalowooza ku linnya lye*+ ne kiwandiikibwa mu maaso ge.+
17 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Baliba bange+ ku lunaku lwe ndibafuula ekintu kyange ekiganzi.*+ Ndibasaasira ng’omusajja bw’asaasira omwana we amuweereza.+ 18 Muliddamu nate okulaba enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi,+ n’enjawulo eriwo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”