Muwe Katonda Ekitiibwa ‘n’Akamwa Kamu’
‘N’akamwa kamu muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.’—ABARUUMI 15:6.
1. Kiki Pawulo kye yayigiriza bakkiriza banne ekikwata ku ndowooza ez’enjawulo?
ABAKRISTAAYO bonna tebasalawo mu ngeri y’emu oba tebaagala bintu bye bimu. Wadde kiri kityo, Abakristaayo bonna bateekwa okubeera obumu nga batambulira mu kkubo erinaabatuusa mu bulamu obutaggwaawo. Ekyo kisoboka? Yee, singa tetuleka ndowooza za njawulo kutwawukanya. Ekyo omutume Pawulo kye yayigiriza bakkiriza banne mu kyasa ekyasooka. Naye ensonga eyo enkulu yaginnyonnyola atya? Era tusobola tutya okussa mu nkola okubuulirira kwe leero?
Obukulu bw’Okubeera Obumu ng’Abakristaayo
2. Pawulo yaggumiza atya obukulu bw’okubeera obumu?
2 Pawulo yali akimanyi nti kikulu Abakristaayo okubeera obumu, era yawa okubuulirira okulungi okusobola okuyamba Abakristaayo okuzibikirizigananga mu kwagala. (Abaefeso 4:1-3; Abakkolosaayi 3:12-14) Wadde kyali kityo, oluvannyuma lw’okutandikawo ebibiina bingi, era n’okukyalira ebibiina ebirala okumala emyaka egisukka mu 20, yakitegeera nti tekyandibadde kyangu okubeera obumu. (1 Abakkolinso 1:11-13; Abaggalatiya 2:11-14) N’olwekyo, yakubiriza bw’ati Bakristaayo banne abaali mu Rooma: ‘Katonda atuwa obugumiikiriza era atubudaabuda tusobole okumuwa ekitiibwa n’omwoyo ogumu n’akamwa kamu.’ (Abaruumi 15:5, 6) Mu ngeri y’emu naffe leero, tuteekwa okuwa Yakuwa Katonda ekitiibwa ‘n’akamwa kamu’ ng’abantu be abali obumu. Tukola tutya mu nsonga eyo?
3, 4. (a) Mbeera ki ez’enjawulo Abakristaayo ab’omu Rooma ze baali bakuliddemu? (b) Abakristaayo ab’omu Rooma baasobola batya okuweereza Yakuwa ‘n’akamwa kamu’?
3 Abakristaayo bangi mu Rooma baali mikwano gya Pawulo. (Abaruumi 16:3-16) Wadde nga baganda be baali bakulidde mu mbeera za njawulo, bonna Pawulo yabatwala ‘ng’abo Katonda b’ayagala.’ Yawandiika bw’ati: “Nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kubuulirwa mu nsi zonna.” Kya lwatu, Abaruumi baali bateekawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri nnyingi. (Abaruumi 1:7, 8; 15:14) Kyokka, mu kiseera kye kimu, abamu ku abo abaali mu kibiina baalina endowooza ez’enjawulo ku bintu ebimu. Okuva Abakristaayo leero bwe bava mu mbeera ez’enjawulo era nga n’obuwangwa bwabwe bwa njawulo, bajja kusobola okwogera ‘n’akamwa kamu’ singa bekkaanya okubuulira kwa Pawulo okwaluŋŋamizibwa okukwata ku kumalawo enjawukana.
4 Mu Rooma mwalimu abakkiriza Abayudaaya n’ab’Amawanga. (Abaruumi 4:1; 11:13) Kyokka, kirabika nti Abakristaayo Abayudaaya abamu baali tebasobola kulekayo mpisa ezimu ze baali bagoberera mu Mateeka ga Musa, wadde nga baali bakimanyi nti omuntu kyali tekimwetaagisa kugoberera mpisa ng’ezo okusobola okufuna obulokozi. Ku ludda olulala, Abakristaayo Abayudaaya abawerako baakitegeera nti ssaddaaka ya Kristo yabasumulula okuva ku bulombolombo bwe baagobereranga nga tebannafuuka Bakristaayo. N’olwekyo, baakyusa engeri gye baali beeyisaamu n’empisa ze baagobereranga. (Abaggalatiya 4:8-11) Wadde kyali kityo, nga Pawulo bwe yagamba, bonna ‘Katonda yali abaagala.’ Bonna bandisobodde okutendereza Katonda ‘n’akamwa kamu’ singa buli omu yali asobola okwoleka endowooza ennuŋŋamu eri munne. Naffe leero tusobola okubeera n’endowooza ez’enjawulo ku bintu ebimu, n’olwekyo, kiba kirungi okwekenneenya engeri Pawulo gye yannyonnyolamu ensonga eyo enkulu.—Abaruumi 15:4.
“Musembezaganenga”
5, 6. Lwaki waaliwo endowooza ez’enjawulo mu kibiina ky’omu Rooma?
5 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo ayogera ku mbeera eyaliwo eyabaviirako okuba n’endowooza ez’enjawulo. Awandiika bw’ati: “Omulala akkiriza n’okulya n’alya byonna: naye atali munywevu alya nva [ndiirwa].” Lwaki kyali kityo? Mu Mateeka ga Musa, ennyama y’embizzi yali tekkirizibwa kuliibwa. (Abaruumi 14:2; Eby’Abaleevi 11:7) Kyokka, oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, etteeka eryo lyali terikyakola. (Abaefeso 2:15) Oluvannyuma lw’emyaka esatu n’ekitundu nga Yesu amaze okufa, malayika yagamba omutume Peetero nti okusinziira ku ndowooza ya Katonda, tewali kya kulya kyalina kutwalibwa ng’eky’omuzizo. (Ebikolwa 11:7-12) Olw’ensonga eyo, Abakristaayo Abayudaaya abamu bayinza okuba nga baalowooza nti baali basobola okulya ennyama y’embizzi oba ekintu ekirala kyonna ekyali tekikkirizibwa mu Mateeka.
6 Kyokka, n’okulowooza obulowooza ku kulya ekintu kyonna ekyali eky’omuzizo, kyali kyesisiwaza abamu ku Bakristaayo Abayudaaya. Abali ng’abo bayinza okuba nga baayisibwa bubi nnyo bwe baalaba baganda baabwe mu Kristo nga balya ebintu ng’ebyo. Kyokka, Abakristaayo abamu ab’Amawanga abaali mu ddiini oboolyawo eyali tebakugira kulya bintu bimu, bayinza okuba nga baasoberwa okulaba nti waaliwo obutakkaanya ku by’okulya ebimu. Kya lwatu, tekyali kikyamu omuntu okugaana okulya ebintu ebimu, kasita teyagambanga nti obutabirya kyali kyetaagisa okusobola okufuna obulokozi. Wadde kyali kityo, endowooza ez’enjawulo ezaaliwo zaali zisobola okuleetawo enjawukana mu kibiina. Kyali kyetaagisa Abakristaayo ab’omu Rooma okwegendereza enjawukana ng’ezo zireme okubalemesa okutendereza Katonda ‘n’akamwa kamu.’
7. Ndowooza ki ez’enjawulo ezaaliwo ku nsonga y’okutwala olunaku olumu mu wiiki ng’olw’enjawulo?
7 Pawulo awa ekyokulabirako ekirala: “Omuntu omu alowooza olunaku olumu okusinga olulala; omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana.” (Abaruumi 14:5a) Mu Mateeka ga Musa, tewaali mulimu gwali gulina kukolebwa ku Ssabbiiti. N’okutambula eŋŋendo empanvu kwakugirwanga ku lunaku olwo. (Okuva 20:8-10; Matayo 24:20; Ebikolwa 1:12) Kyokka, Amateeka bwe gaggibwawo, ebyo byonna byakoma. Wadde kyali kityo, kiyinza okuba nga kyazibuwalira Abakristaayo Abayudaaya abamu okukola omulimu gwonna oba okutambula olugendo oluwanvu ku lunaku olwo lwe baali batwala okuba olutukuvu. Wadde nga bamaze okufuuka Abakristaayo, olunaku olw’omusanvu bayinza okuba nga baasalawo kulukolerako bintu bya mwoyo byokka, wadde nga okusinziira ku ndowooza ya Katonda, etteeka ery’okukwata Ssabbiiti lyali terikyaliwo. Baali bakyamu okukola ekyo? Nedda, kasita tebaagambanga nti Katonda yali akyabeetaaza okukwata Ssabbiiti. N’olwekyo, olw’okuba Pawulo yali afaayo ku muntu ow’omunda owa Bakristaayo banne, yawandiika: “Buli muntu ategeerenga ddala mu magezi ge yekka.”—Abaruumi 14:5b.
8. Wadde nga baalina okufaayo ku muntu ow’omunda ow’abalala, kiki Abakristaayo ab’omu Rooma kye bataalina kukola?
8 Wadde nga Pawulo yakubiriza baganda be okubeera abagumiikiriza eri abo abaali batawaanyizibwa ensonga ezikwata ku muntu ow’omunda, yanenya nnyo abo abaali bagezaako okukaka bakkiriza bannaabwe okugoberera Amateeka ga Musa nga bagamba nti geetaagisa okufuna obulokozi. Ng’ekyokulabirako, awo nga mu 61 C.E., Pawulo yawandiika ekitabo kya Abaebbulaniya, ebbaluwa ey’amaanyi ennyo eri Abakristaayo Abayudaaya ng’abannyonnyola bulungi nti kyali tekikyetaagisa kugoberera Mateeka ga Musa kubanga Abakristaayo baalina essuubi ekkakafu nga lyesigamiziddwa ku ssaddaaka ya Yesu.—Abaggalatiya 5:1-12; Tito 1:10, 11; Abaebbulaniya 10:1-17.
9, 10. Kiki Abakristaayo kye batalina kukola? Nnyonnyola.
9 Nga bwe tumaze okulaba, Pawulo agamba nti okusalawo mu ngeri ez’enjawulo tekisaanidde kutabangula bumu kasita tewaba misingi gya Kikristaayo egiba gimenyeddwa. N’olwekyo, Pawulo abuuza Abakristaayo abalina omuntu ow’omunda omunafu: “Kiki ekikusaliza omusango muganda wo?” Ate era n’abuuza abo abalina omuntu ow’omunda ow’amaanyi (oboolyawo abo omuntu waabwe ow’omunda b’akkiriza okulya ebintu ebyali bigaaniddwa mu Mateeka oba n’okukola omulimu ku Ssabbiiti): “Kiki ekikunyoomesa muganda wo?” (Abaruumi 14:10) Okusinziira ku Pawulo, Abakristaayo abalina omuntu ow’omunda omunafu tebalina kunenya abo abalina endowooza eyawukana ku yaabwe. Ate era, Abakristaayo abalina omuntu ow’omunda ow’amaanyi tebalina kunenya abo abakyalina omuntu ow’omunda omunafu mu nsonga ezimu. Bonna balina okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala ennungi so si ‘okwerowoozaako okusinga bwe kibagwanidde.’—Abaruumi 12:3, 18.
10 Pawulo yayogera bw’ati ku ndowooza etagudde lubege: “Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya: kubanga Katonda yamusembeza.” Ate era, yayongera n’agamba bw’ati: “Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw’ekitiibwa kya Katonda.” Okuva abo abalina omuntu ow’omunda ow’amaanyi n’abo abalina omuntu ow’omunda omunafu bwe bakkirizibwa eri Katonda ne Kristo, naffe tulina okubakoppa nga ‘tusembezagana ffeka na ffeka.’ (Abaruumi 14:3; 15:7) Ekyo ani ayinza obutakkiriziganya nakyo?
Okwagala ab’Oluganda Kuleeta Obumu
11. Mbeera ki emu ey’enjawulo eyaliwo mu kiseera kya Pawulo?
11 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yali ayogera ku nsonga emu ey’enjawulo. Yakuwa yali yakamala okuggyawo endagaano emu ate n’ateekawo endala. Abamu baalina obuzibu mu kugoberera endagaano eyo. Embeera ng’eyo teriiwo leero, naye wayinza okubalukawo ensonga ezigyefaananyirizaako.
12, 13. Mbeera ki ezimu leero ezeetaagisa Abakristaayo okussa ekitiibwa mu muntu ow’omunda owa baganda baabwe?
12 Ng’ekyokulabirako, omukyala Omukristaayo ayinza okuba nga yali mu ddiini etakkiriza kwambala ngoye za musono n’okwekolako. Oluvannyuma lw’okutegeera amazima, kiyinza okumuzibuwalira okukyusa endowooza ye n’akkiriza nti tekiba kikyamu okwambala engoye ez’omusono n’okwekolako mu ngeri esaanira. Okuva bwe wataliiwo musingi gwa Baibuli guba gumenyeddwa, tekyandibadde kirungi omuntu yenna okugezaako okusendasenda Omukristaayo oyo okukola ekintu ekiyinza okulumya omuntu we ow’omunda. Ate mu kiseera kye kimu, omukyala oyo alina okukitegeera nti talina kuvumirira bakazi abalala Abakristaayo omuntu waabwe ow’omunda b’akkiriza okwekolako n’okwambala engoye ez’omusono.
13 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Omusajja Omukristaayo ayinza okuba nga yakuzibwa mu maka gye batasemba kunywa mwenge. Oluvannyuma lw’okutegeera amazima, ayiga nti Baibuli eyogera ku mwenge ng’ekirabo ekiva eri Katonda era nti guyinza okukozesebwa mu ngeri esaanira. (Zabbuli 104:15) Endowooza eyo agikkiriza. Kyokka, okusinziira ku ngeri gye yakuzibwamu, asalawo obutanywa mwenge, kyokka tavumirira abo abagunywa mu ngeri esaanira. N’olwekyo, agoberera ebigambo bya Pawulo bino: “Tugobererenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagananga ffeka na ffeka.”—Abaruumi 14:19.
14. Mbeera ki eziyinza okwetaagisa Abakristaayo okuteeka mu nkola okubuulira kwa Pawulo eri Abaruumi?
14 Wayinza okubaawo embeera endala ezitwetaagisa okugoberera okubuulirira Pawulo kwe yawa Abaruumi. Ekibiina Ekikristaayo kibaamu abantu bangi abaagala ebintu eby’enjawulo. N’olwekyo bayinza okusalawo mu ngeri ezitafaanagana—ng’ekyokulabirako, ku nsonga ezikwata ku kwambala n’okwekolako. Kya lwatu, Baibuli ewa emisingi egitegeerekeka obulungi Abakristaayo bonna gye balina okugoberera. Tewali n’omu ku ffe asaanidde kwambala ngoye ezitasaanira, okukola oba okusala enviiri mu ngeri etasaanira, ebiyinza okuleetera abalala okututeeka mu ttuluba lye limu n’abantu b’ensi ababi. (1 Yokaana 2:15-17) Abakristaayo balina okukijjukira nti buli kiseera, ne bwe baba nga bali mu biseera byabwe eby’eddembe, baba baweereza abakiikirira Omufuzi ow’Obutonde Bwonna. (Isaaya 43:10; Yokaana 17:16; 1 Timoseewo 2:9, 10) Naye, waliwo ebintu bingi eby’enjawulo Abakristaayo bye bayinza okwesalirawo ate nga bikkirizibwa.a
Weewale Okwesitaza Abalala
15. Mu mbeera ki lwe kyandyetaagisizza Omukristaayo okwewala okukola ekintu ky’ayagala okusobola okuganyula baganda be?
15 Waliwo omusingi omulala Pawulo gw’atutegeeza mu kubuulirira kwe eri Abakristaayo ab’omu Rooma. Oluusi, Omukristaayo alina omuntu ow’omunda atendekeddwa obulungi ayinza okusalawo obutakola kintu ekimu wadde nga si kikyamu. Lwaki? Kubanga aba akimanyi nti singa akikola, ayinza okubaako be yeesittazza. Kiki kye tusaanidde okukola mu mbeera ng’eyo? Pawulo agamba: “Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitaza muganda wo.” (Abaruumi 14:14, 20, 21) N’olwekyo, “ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatalina maanyi, si so kwesanyusanga fekka. Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw’okuzimba.” (Abaruumi 15:1, 2) Bwe kiba nti omuntu ow’omunda owa Mukristaayo munnaffe asobola okulumizibwa olw’ebyo bye tukola, okwagala kwe tulina eri ab’oluganda kujja kutuleetera okwewala okukola ebintu ebyo. Ekyokulabirako ku nsonga eno kiyinza okuba nga kikwata ku kukozesa ebitamiiza. Omukristaayo akkirizibwa okunywa omwenge ogw’ekigero. Naye bwe kiba nti okugunywa kijja kubaako gwe kyesittaza, ajja kugwewala.
16. Tusobola tutya okulaga nti tufaayo ku abo abali mu kitundu kyaffe?
16 Omusingi guno era guyinza okukozesebwa nga tukolagana n’abo abatali mu kibiina Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tubeera mu kitundu ng’eddiini yaamu eyigiriza abagoberezi baayo nti olunaku olumu mu wiiki lulina okutwalibwa ng’olunaku olw’okuwummula. Olw’okuba tetwagala kwesittaza baliraanwa baffe, ekiyinza okubalemesa okuwulira obubaka bwe tubuulira, tujja kufuba okwewala okukola ekintu kyonna ku lunaku olwo ekiyinza okubeesittaza. Mu mbeera endala, Omukristaayo omugagga ayinza okugenda okuweereza mu kifo awali obwetaavu obusingawo kyokka ng’abantu b’omu kitundu ekyo bo baavu. Ayinza okusalawo okulaga okufaayo eri baliraanwa be nga tayambala ngoye za bbeeyi nnyo oba ng’asalawo okwerekereza ebintu ebimu wadde ng’asobola okubyetuusaako.
17. Lwaki kiba kya magezi okulowooza ku balala nga tulina bye tusalawo?
17 Kya magezi okusuubira abo abalina omuntu ow’omunda ‘ow’amaanyi’ okukola enkyukakyuka ng’ezo? Lowooza ku kyokulabirako kino: Bwe tuba tuvuga emmotoka, tuyinza okulaba abaana nga bazannyira okumpi n’ekkubo. Tweyongera okuvugira ku sipiidi ey’amaanyi wadde ng’ekkirizibwa mu mateeka? Nedda, tukendeeza sipiidi okusobola okwewala akabenje akayinza okubaawo. Oluusi, kiba kitwetaagisa obutakalambira ku ddembe lye tulina nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe oba abantu abalala. Wayinza okubaawo ekintu kye tukola ekitali kikyamu era nga tewaliiwo musingi gwa Baibuli gumenyeddwa. Wadde kiba kityo, bwe kiba nti tuyinza okwesitazza abalala oba okulumya abo abalina omuntu ow’omunda omunafu, okwagala kw’Ekikristaayo kujja kutuleetera okwegendereza. (Abaruumi 14:13, 15) Okubeera obumu era n’okukulaakulanya ebintu by’Obwakabaka, bye bikulu okusinga okukola ebintu ffe bye twagala.
18, 19. (a) Nga tufaayo ku balala, tusobola tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu? (b) Nsonga ki etwetaagisa okubeera obumu, era biki ebijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?
18 Bwe tweyisa mu ngeri eyo, tuba tugoberera ekyokulabirako ekisingayo obulungi. Pawulo agamba: “Ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.” Yesu yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe. Mazima ddala, naffe tuli beetegefu okwerekereza ebintu ebimu bye twagala bwe kiba kijja kusobozesa “abanafu” okutendereza Katonda awamu naffe. Mu butuufu, bwe tugumiikiriza era ne tufaayo ku Bakristaayo abalina omuntu ow’omunda omunafu, oba bwe twerekereza ebintu ebimu era ne tutakalambira ku bye twagala, kiba kiraga nti tulina ‘endowooza nga Kristo Yesu gye yalina.’—Abaruumi 15:1-5.
19 Wadde nga tuyinza okubeera n’endowooza ez’enjawulo ku nsonga ezitakwatibwako misingi gya Baibuli, bwe kituuka ku nsonga ezikwata ku kusinza, tusaanidde okubeera n’endowooza y’emu. (1 Abakkolinso 1:10) Ng’ekyokulabirako, obumu obwo bweyolekera mu ngeri gye tweyisaamu eri abo abaziyiza okusinza okw’amazima. Ekigambo kya Katonda kiyita abaziyiza ng’abo abantu abatamanyiddwa era kitugamba ‘okwegendereza eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa.’ (Yokaana 10:5) Tusobola tutya okumanya abantu ng’abo? Twandibatunuulidde tutya? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Abaana abato bazadde baabwe babawa obulagirizi ku nsonga ezikwata ku nnyambala.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki okubeera n’endowooza ez’enjawulo ku nsonga ezitukwatako kinnoomu tekyanditabangudde bumu bwaffe?
• Lwaki ffe ng’Abakristaayo twandifuddeyo nnyo ku balala?
• Mbeera ki ezimu mwe tusobolera okukozesa okubuulira kwa Pawulo okukwata ku bumu, era kiki ekijja okutuyamba okukola ekyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Okubuulira kwa Pawulo okukwata ku bumu kwali kukulu nnyo eri ekibiina
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Abakristaayo babeera bumu wadde nga baakuzibwa mu mbeera za njawulo