Abaruumi
15 Ffe ab’amaanyi tusaanidde okwetikka obunafu bw’abo abatali ba maanyi,+ n’obuteesanyusa ffekka.+ 2 Buli omu ku ffe asanyusenga munne ku lw’obulungi bwe, asobole okumuzimba.+ 3 Kubanga ne Kristo teyeesanyusanga yekka,+ naye nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ebivumo by’abo abakuvuma bizze ku nze.”+ 4 Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza,+ tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza+ ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.+ 5 Era Katonda awa obugumiikiriza n’okubudaabuda k’abasobozese okuba n’endowooza Kristo Yesu gye yalina, 6 mmwenna wamu+ musobole okugulumiza Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n’eddoboozi limu.*
7 N’olwekyo, musembezeganyenga+ nga Kristo bwe yabasembeza,+ olw’okuweesa Katonda ekitiibwa. 8 Kubanga mbagamba nti Kristo yafuuka muweereza w’abo abaakomolebwa+ okulaga nti Katonda wa mazima, n’okukakasa ebisuubizo Katonda bye yawa bajjajjaabwe,+ 9 era amawanga gasobole okugulumiza Katonda olw’obusaasizi bwe,+ nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyennaava nkutendereza mu lujjudde mu mawanga, era nnaayimbiranga erinnya lyo ennyimba ez’okutendereza.”+ 10 Era agamba nti: “Musanyuke mmwe amawanga awamu n’abantu be.”+ 11 Era nti: “Mutendereze Yakuwa* mmwe amawanga gonna, era abantu bonna bamutendereze.”+ 12 Ate era Isaaya agamba nti: “Walibaawo ekikolo kya Yese,+ oyo alifuga amawanga;+ era amawanga gwe galisuubiriramu.”+ 13 Katonda awa essuubi abajjuze essanyu era abawe emirembe olw’okumwesiga, mulyoke mweyongere okuba n’essuubi olw’amaanyi g’omwoyo omutukuvu.+
14 Nange kati ndi mukakafu baganda bange nti mujjudde obulungi, mujjudde okumanya kwonna, era nti buli omu asobola okubuulirira* munne. 15 Naye mbawandiikidde kaati ku nsonga ezimu, nsobole okuddamu okubajjukiza; era kino nkikola olw’ekisa eky’ensusso Katonda kye yandaga. 16 Yakindaga nsobole okubeera omuweereza wa Kristo Yesu eri amawanga.+ Nneenyigira mu mulimu omutukuvu ogw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Katonda,+ amawanga gasobole okuba ekiweebwayo ekikkirizibwa, ekitukuziddwa n’omwoyo omutukuvu.
17 N’olwekyo, ndi musanyufu olw’okuba ndi mugoberezi wa Kristo Yesu era olw’okuba nkola omulimu gwa Katonda. 18 Sijja kwetantala kwogera kintu kyonna okuggyako ekyo Kristo ky’akoze okuyitira mu nze amawanga gasobole okubeera amawulize. Ekyo akikoze ng’ayitira mu ebyo bye nnayogera ne bye nnakola, 19 ne mu maanyi ag’obubonero n’ag’ebyamagero,+ ne mu maanyi g’omwoyo gwa Katonda, ne kiba nti nnabuulira mu bujjuvu amawulire amalungi agakwata ku Kristo okuviira ddala mu Yerusaalemi n’okwetooloola okutuukira ddala mu Iruliko.+ 20 Mu ngeri eno, nnakifuula kiruubirirwa kyange obutalangirira mawulire malungi mu bifo erinnya lya Kristo gye lyali limaze okubuulirwa, nneme kuzimbira ku musingi gw’omuntu omulala; 21 naye nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abo abatabuulirwangako bimukwatako baliraba, era n’abo abatawulirangako balitegeera.”+
22 Era eyo ye nsonga lwaki emirundi mingi nnaziyizibwa okujja gye muli. 23 Naye kati sikyalina kifo kye sibuulirangamu mu bitundu bino, era mmaze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli. 24 N’olwekyo bwe ndiba ŋŋenda mu Sipeyini, nsuubira okujja eyo mbalabeko era mumperekereko katono oluvannyuma lw’okunyumirwa okubeerako nammwe. 25 Naye kaakano nnaatera okugenda e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu.+ 26 Ab’omu Masedoniya ne Akaya basanyufu okugabana ebintu byabwe n’abalala nga babaako bye bawa abaavu ab’omu batukuvu abali e Yerusaalemi.+ 27 Kyo kituufu nti basanyuse okukola bwe batyo, naye balina ebbanja okuyamba abatukuvu abo; kubanga bwe kiba nti ab’amawanga bagabanye ku bintu byabwe eby’omwoyo, nabo balina ebbanja okufaayo ku byetaago byabwe eby’omubiri.+ 28 N’olwekyo, bwe ndimala okukola ekyo, era nga mmaze n’okubakwasa ebyabaweebwa,* ndiyitira eyo gye muli nga ŋŋenda mu Sipeyini. 29 Ate era, mmanyi nti bwe ndijja gye muli, ndijja n’emikisa mingi okuva eri Kristo.
30 Kaakano ab’oluganda mbakubiriza okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’omwoyo, mufubire wamu nange okunsabira eri Katonda,+ 31 mpone+ abatali bakkiriza abali mu Buyudaaya era obuweereza bwange mu Yerusaalemi busobole okukkirizibwa abatukuvu,+ 32 Katonda ng’ayagadde nzije gye muli n’essanyu nsobole okuzzibwamu amaanyi nga ndi wamu nammwe. 33 Katonda awa emirembe abeere nammwe mmwenna.+ Amiina.