Laga Endowooza ya Kristo
“Ka Katonda agaba obugumiikiriza era abudaabuda abawe endowooza y’emu Kristo Yesu gye yalina.”—ABARUUMI 15:5, NW.
1. Obulamu bw’omuntu buyinza butya okukwatibwako endowooza ye?
ENDOWOOZA erina enjawulo nnene nnyo gy’ekola mu bulamu. Endowooza ey’obuteefiirayo oba ey’okunyiikira, endowooza ennuŋŋamu oba etali nnuŋŋamu, endowooza ey’obukambwe oba ey’okukolaganira awamu, endowooza ey’okwemulugunya oba ey’okusiima erina kinene nnyo ky’ekola ku ngeri omuntu gy’ayolekaganamu n’embeera era n’engeri abantu gye bakolaganamu naye. Ng’alina endowooza ennungi, omuntu ayinza okuba omusanyufu ne bw’aba mu mbeera enzibu. Omuntu alina endowooza embi, tewali kimulabikira ng’ekirungi, ne bwe kiba nti—awatali kugwa lubege—obulamu bulungi.
2. Omuntu ayinza atya okuyiga endowooza?
2 Endowooza—ennungi oba embi—eyinza okuyigibwa. Mazima ddala, zirina okuyigibwa. Nga kyogera ku mwana ey’akazaalibwa, Collier’s Encyclopedia egamba: “Endowooza z’anaaba nazo alina okuzifuna oba okuziyiga, mu ngeri y’emu nga bw’ayiga olulimi oba ekintu ekirala kyonna.” Tuyiga tutya endowooza? Wadde wabaawo ebintu bingi ebizingirwamu, embeera ezitwetoolodde n’enkolagana n’abalala birina kinene kye bikola. Encyclopedia eyogeddwako waggulu egamba: “Tuyiga oba tukwata endowooza z’abo be tulina nabo enkolagana ey’okulusegere.” Enkumi n’enkumi z’emyaka egiyise, Baibuli yayogera ekintu kye kimu: “Oyo atambula n’abantu ab’amagezi alifuuka w’amagezi, naye oyo alina enkolagana n’abasirusiru aligwa mu bizibu.”—Engero 13:20, NW; 1 Abakkolinso 15:33.
Ekyokulabirako eky’Endowooza Entuufu
3. Ani yassaawo ekyokulabirako ekirungi ku bikwata ku ndowooza ye, era tuyinza tutya okumukoppa?
3 Nga bwe kiri mu birala byonna, era ne ku nsonga ezikwata ku ndowooza, Yesu Kristo yassaawo ekyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi. Yagamba: “Mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze [mmwe], nammwe mukolenga bwe mutyo.” (Yokaana 13:15) Okubeera nga Yesu, tuteekwa okusooka okuyiga ebimukwatako.a Tuyiga ebikwata ku bulamu bwa Yesu nga tulina ekigendererwa eky’okukola ekyo omutume Peetero kye yakubiriza: “Ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peetero 2:21) Ekiruubirirwa kyaffe kwe kufuba okubeera nga Yesu nga bwe kiba kisobose. Ekyo kitwaliramu okukulaakulanya endowooza ye.
4, 5. Ngeri ki ez’endowooza ya Yesu ezoogeddwako mu Abaruumi 15:1-3, era Abakristaayo bayinza batya okumukoppa?
4 Kiki ekitwalirwamu mu kubeera n’endowooza ya Kristo Yesu? Essuula 15 mu bbaluwa ya Pawulo eri Abaruumi etuyamba okuddamu ekibuuzo ekyo. Mu nnyiriri ezisooka mu ssuula eyo, Pawulo ayogera ku ngeri ya Yesu enkulu ennyo ng’agamba: “Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka. Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw’okuzimba. Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.”—Abaruumi 15: 1-3.
5 Nga bakoppa endowooza ya Yesu, Abakristaayo bakubirizibwa okuba abeetegefu okukola ku bwetaavu bw’abalala n’obuwombeefu so si kwesanyusa bokka na bokka. Mazima ddala, okwagala okuweereza abalala mu ngeri eyo n’obwetoowaze ngeri y’abo “abalina amaanyi.” Yesu, eyali ow’amaanyi mu by’omwoyo okusinga omuntu omulala yenna eyali abaddewo, yeeyogerako bw’ati: “Omwana w’omuntu [teyajja] kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe [ng’]ekinunulo eky’abangi.” (Matayo 20:28) Ng’Abakristaayo, naffe twagala okwewaayo okuweereza abalala, ng’otwaliddemu n’abo “abatalina maanyi.”
6. Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yeeyisaamu ng’aziyizibwa era ng’avumibwa?
6 Engeri endala ennungi Yesu gye yayoleka bye birowoozo n’ebikolwa ebyali nga bizimba buli kiseera. Teyakkiriza ndowooza z’abalala ezitali ntuufu okubaako kye zikola ku ndowooza ye ennungi ey’okuweereza Katonda; naffe bwe tulina okubeera. Bwe yavumibwa era n’ayigganyizibwa olw’okusinza Katonda n’obwesigwa, Yesu yagumiikiriza awatali kwemulugunya. Yamanya nti okuziyizibwa okuva mu nsi etakkiriza era etalina kutegeera kulina okusuubirwa abo abagezaako okusanyusa baliraanwa baabwe “mu bintu ebibazimba.”
7. Yesu yayoleka atya obugumiikiriza, era lwaki naffe tulina okukola kye kimu?
7 Yesu yayoleka endowooza ennungi mu ngeri endala. Teyalaga butali bugumiikiriza eri Yakuwa naye n’obugumiikiriza yalindiriranga okutuukirizibwa kw’ebigendererwa Bye. (Zabbuli 110:1; Matayo 24:36; Ebikolwa 2:32-36; Abaebbulaniya 10:12, 13) Ate era, Yesu yali mugumiikiriza eri abagoberezi be. Yabagamba: “Muyigire ku nze”; okuva bwe yali ‘omuteefu,’ ebiragiro bye byali bizimba era nga bizaamu amaanyi. Era olw’okuba yali ‘muwombeefu mu mutima,’ teyeetwala kuba wa waggulu wadde okwetulinkiriza. (Matayo 11:29) Pawulo atukubiriza okukoppa engeri zino ez’endowooza ya Yesu bw’agamba: “Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; oyo bwe yasooka okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu.”—Abafiripi 2:5-7.
8, 9. (a) Lwaki tulina okukulaakulanya endowooza ey’obuteerowoozaako? (b) Lwaki tetwandiweddemu maanyi singa tulemererwa okugoberera ekyokulabirako Yesu kye yaleka, era Pawulo yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno?
8 Kyangu okugamba nti twagala okuweereza abalala era n’okukulembeza ebyetaago byabwe so si ebyaffe. Naye bwe tukebera endowooza yaffe mu bwesimbu kiyinza okulaga nti omutima gwaffe si bwe gutyo bwe guli ddala mu bujjuvu. Lwaki kiba bwe kityo? Ekisooka, kubanga twasikira engeri ez’okwerowoozaako okuva ku Adamu ne Kaawa; eky’okubiri, kubanga tuli mu nsi ekubiriza okwerowoozaako. (Abaefeso 4:17,18) Okukulaakulanya endowooza ey’obuteerowoozaako emirundi mingi kiba kitegeeza okukulaakulanya endowooza eyawukana ku eyo gye tuzaalibwa nayo etatuukiridde. Ekyo kyetaagisa obumalirivu n’okufuba.
9 Obutali butuukirivu bwaffe, obwawukanira ddala ku ky’okulabirako ekituukiridde Yesu kye yatulekera, ebiseera ebimu buyinza okutuleetera okuggwaamu amaanyi. Tuyinza n’okubuusabuusa nti kisoboka okubeera n’endowooza y’emu ng’eyo Yesu gye yalina. Naye weetegereze ebigambo bya Pawulo ebizzaamu amaanyi: “Mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi: kubanga okwagala kumbeera kumpi, naye okukola ekirungi tewali. Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola: naye kye ssaagala ekibi kye nkola. Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow’omunda: naye ndaba eteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n’etteeka ly’amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w’etteeka ly’ekibi eriri mu bitundu byange.” (Abaruumi 7:18, 19, 22, 23) Kituufu nti, obutali butuukirivu bwa Pawulo enfunda n’enfunda bwamulemesa okukola Katonda by’ayagala nga bwe yandyagadde, naye endowooza ye—engeri gye yalowoozanga ku Yakuwa n’amateeka Ge—yali kyakulabirako kirungi. N’eyaffe eyinza okubeera bw’etyo.
Okutereeza Endowooza Enkyamu
10. Ndowooza ki Pawulo gye yakubirizza Abafiripi okukulaakulanya?
10 Kisoboka nti abamu beetaaga okutereeza endowooza enkyamu? Yee. Mazima ddala kino bwe kyali eri Abakristaayo abamu ab’omu kyasa ekyasooka. Mu bbaluwa ye eri Abafiripi, Pawulo yayogera ku kubeera n’endowooza ennungi. Yawandiika bw’ati: “Si kugamba nti mmaze okuweebwa [obulamu obw’omu ggulu okuyitira mu kuzuukira] oba nti mmaze okutuukirizibwa: naye ngoberera era ndyoke nkikwate ekyo kye yankwatira Kristo Yesu. Ab’oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu. Kale ffe fenna [abakuze], tulowoozenga ekyo [“tubeerenga n’endowooza eno,” NW].”—Abafiripi 3:12-15.
11, 12. Mu ngeri ki Yakuwa mw’atulagira endowooza ennungi?
11 Ebigambo bya Pawulo biraga nti omuntu yenna, ng’amaze okufuka Omukristaayo, n’atalowooza ku bwetaavu bw’okukulaakulana aba n’endowooza enkyamu. Omuntu oyo aba alemereddwa okukoppa endowooza ya Kristo. (Abaebbulaniya 4:11; 2 Peetero 1:10; 3:14) Omuntu ng’oyo aba talina ssuubi? N’akatono. Katonda asobola okutuyamba okukyusa endowooza yaffe singa ddala tuba twagala. Pawulo yeyongerayo okugamba: “Bwe muba n’endowooza endala mu kigambo kyonna, Katonda alibabikkulira endowooza eyo waggulu.”—Abafiripi 3:15, NW.
12 Kyokka, singa tuba twagala Yakuwa atubikulire endowooza ennungi, tulina okubaako kye tukola. Okuyiga Ekigambo kya Katonda awamu n’okusaba ng’okozesa ebitabo eby’Ekikristaayo ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bijja kusobozesa abo abalina “endowooza endala” okukulaakulanya endowooza ennungi. (Matayo 24:45) Abakadde Abakristaayo, abalondebwa omwoyo omutukuvu ‘okulunda ekibiina kya Katonda,’ bajja kubeera basanyufu okuwa obuyambi. (Ebikolwa 20:28) Nga tuli basanyu nnyo nti Yakuwa amanyi obutali butuukirivu bwaffe era mu ngeri ey’okwagala n’atuwa obuyambi! Ka tubukkirize.
Okuyigira ku Balala
13. Kiki kye tuyiga ekikwata ku ndowooza ennungi okuva mu Baibuli ekikwata ku Yobu?
13 Mu Abaruumi essuula 15, Pawulo alaga nti okufumiitiriza ku by’okulabirako eby’edda kiyinza okutuyamba okutereeza endowooza yaffe. Awandiika bw’ati: “Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusa kw’ebyawandiikibwa.” (Abaruumi 15:4) Abamu ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa mu biseera ebyayita kyali kibeetaagisa okulongoosa engeri ezimu ez’endowooza yaabwe. Ng’ekyokulabirako, okutwalira awamu Yobu yalina endowooza ennuŋŋamu. Teyagamba nti Yakuwa ye yali aviirako obubi, era teyakkiriza okubonaabona okukendeeza obwesigwa bwe mu Katonda. (Yobu 1:8, 21, 22) Kyokka, yagezaako okulaga nti yali mutuufu. Yakuwa yatuma Eriku okuyamba Yobu okutereeza endowooza ye. Mu kifo ky’okuwulira ng’annyomeddwa, mu bwetoowaze Yobu yalaba obwetaavu obw’okukyusa mu ndowooza ye era n’akikolako mu bwangu.—Yobu 42:1-6.
14. Tuyinza tutya okubeera nga Yobu singa tuba tubuuliriddwa ku bikwata ku ndowooza yaffe?
14 Naffe twandyeyisizza nga Yobu singa Mukristaayo munnaffe mu ngeri ey’ekisa atubuulira nti tulina endowooza enkyamu? Okufaananako Yobu, Katonda ‘tetumulowoozangako okuba n’obubi.’ (Yobu 1:22) Singa tubonaabona mu ngeri etali ya bwenkanya, ka tuleme okwemulugunya oba okuvunaana Yakuwa olw’ebizibu byaffe. Ka twewale okugezaako okulowooza nti ffe tuli batuufu, nga tujjukira nti ka tube na nkizo ki mu buweereza bwa Yakuwa, tukyali “baddu abatasaana.”—Lukka 17:10.
15. (a) Ndowooza ki embi abamu ku bagoberezi ba Yesu gye baalaga? (b) Peetero yalaga atya endowooza ennungi?
15 Mu kyasa ekyasooka, abamu abaawuliriza Yesu baayoleka endowooza etasaana. Olumu, Yesu alina kye yayogera ekyali ekizibu okutegeera. Mu kumwanukula, “bangi ab’omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?” Abo abaayogera mu ngeri eyo mazima ddala baalina endowooza enkyamu. Era endowooza yaabwe enkyamu yabaleetera okulekera awo okuwuliriza Yesu. Ebyawandiikibwa bigamba: “Ab’oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate.” Bonna baalina endowooza enkyamu? Nedda. Ebyawandiikibwa byeyongera ne bigamba: “Awo Yesu n’agamba ekkumi n’ababiri nti Era nammwe mwagala okugenda? Simooni Peetero n’amuddamu nti Mukama waffe, tunaagenda eri ani?” Awo Peetero n’alyoka yeddamu ekibuuzo kye: “Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 6:60, 66-68) Nga yali ndowooza nnungi nnyo! Bwe twolekagana n’ennyinnyonnyola oba okuterezebwa mu ngeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa bye tuyinza okusooka okusanga nga bizibu okukkiriza, tekyandibadde kirungi okwoleka endowooza Peetero gye yalina? Nga kyandibadde kya busiru okulekera awo okuweereza Yakuwa oba okwogera mu ngeri ekontana ‘n’ebigambo eby’obulamu’ olw’okuba ebintu ebimu biba bizibu okutegeera mu kusooka!—2 Timoseewo 1:13.
16. Ndowooza ki eyeesisiwaza eyayolesebwa abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kiseera kya Yesu?
16 Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baalemererwa okwoleka endowooza Yesu gye yalina. Obumalirivu bwabwe obutawuliriza Yesu bweyoleka bwe yazuukiza Lazaalo okuva mu bafu. Eri omuntu yenna alina endowooza ennungi, eky’amagero ekyo bwandibadde bukakafu bwennyini obulaga nti Yesu yatumibwa Katonda. Kyokka, tusoma tuti: “Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bakuŋŋaanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? [K]ubanga omuntu oyo akola obubonero bungi. Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n’Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n’eggwanga lyaffe.” Kiki kye baasalawo? “Okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.” Ng’oggyeko okukola olukwe olw’okutta Yesu, baamalirira okuggyawo obujulizi bwonna obwali bulaga nti yali mukozi w’eby’amagero. “Naye bakabona abakulu ne basala amagezi [okutta] ne Lazaalo.” (Yokaana 11:47, 48, 53; 12:9-11) Nga kyandibadde kyesisiwaza naffe okwoleka endowooza ng’eyo ne tunyiiga oba ne tuggwaamu amaanyi olw’ebintu ebyandituleetedde okusanyuka! Yee, era nga kiba kya kabi!
Okukoppa Endowooza ya Kristo Entuufu
17. (a) Mu mbeera ki Danyeri mwe yaalagira endowooza ey’obutatya? (b) Yesu yalaga atya nti yalina obuvumu?
17 Abaweereza ba Yakuwa bakuuma endowooza entuufu. Abalabe ba Danyeri bwe beekobaana ne bayisa etteeka erigaana okusaba eri katonda yenna oba omuntu yenna okuggyako kabaka okumala ennaku 30, Danyeri yamanya nti kino kyalina kye kikola ku nkolagana ne Yakuwa Katonda. Yandireseeyo okusaba eri Katonda okumala ennaku 30? Nedda, awatali kutya kwonna yeeyongera okusaba eri Yakuwa emirundi esatu buli lunaku, nga bwe yali empisa ye. (Danyeri 6:6-17) Mu ngeri y’emu Yesu teyakkiriza kutiisatiisibwa balabe be. Lumu ku lunaku lwa Ssabbiiti, yasanga omuntu eyalina omukono ogukaze. Yesu yamanya nti Abayudaaya bangi abaaliwo tebandisanyuse bwe yandiwonyeza omuntu ku Ssabbiiti. Yabasaba bawe endowooza yaabwe ku nsonga eyo. Bwe baagaana, Yesu yawonya omusajja oyo. (Makko 3:1-6) Yesu teyalekayo kukola ekyo kye yali amanyi nga kye kituufu.
18. Lwaki abamu batuziyiza, naye twandyeyisizza tutya eri endowooza yaabwe embi?
18 Abajulirwa ba Yakuwa leero bakimanyi nti nabo tebateekwa kutiisibwatiisibwa olw’engeri embi abalabe baabwe gye beeyisaamu. Singa batya, baba tebooleka ndowooza ya Yesu. Bangi baziyiza Abajulirwa ba Yakuwa, abamu kubanga tebamanyi kituufu n’abalala kubanga baakyawa Abajulirwa oba obubaka bwabwe. Naye tetukkirizanga endowooza yaabwe etali ya mukwano okubaako ky’ekola ku yaffe entuufu. Tetusaanidde kukkiriza balala kutusalirawo engeri gye tulina okusinzaamu.
19. Tuyinza tutya okwoleka endowooza Yesu Kristo gye yalina?
19 Buli kiseera Yesu yalaganga endowooza entuufu eri abagoberezi be era n’eri enteekateeka za Katonda, ne bwe kyabanga ekizibu ennyo okukikola. (Matayo 23:2, 3) Tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kye. Kyo kituufu nti, baganda baffe si batuukirivu, era naffe bwe tuli. Naye wa gye tuyinza okusanga emikwano emirungi era abeesigwa okuggyako mu luganda lwaffe olw’ensi yonna? Yakuwa tannatuwa kutegeera kujjuvu okw’Ekigambo kye ekyawandiikibwa, naye kibiina ki eky’eddiini ekikitegeera okutusinga? Buli kiseera tubeerenga n’endowooza ennungi, endowooza Yesu Kristo gye yalina. Awamu n’ebintu ebirala, kino kitwaliramu okumanya engeri y’okulindirira Yakuwa, nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekinnaddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., kyogera ku bulamu n’obuweereza bwa Yesu.[6]
Oyinza Okunnyonnyola?
• Obulamu bwaffe bukwatibwako butya endowooza yaffe?
• Nnyonnyola endowooza ya Yesu Kristo.
• Kiki kye tuyinza okuyiga okuva ku ndowooza ya Yobu?
• Ndowooza ki entuufu gye twandibadde nayo nga twolekaganye n’okuziyizibwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Omukristaayo alina endowooza ennungi afuba okuyamba abalala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Okuyiga Ekigambo kya Katonda awamu n’okusaba bituyamba okukoppa endowooza ya Kristo