Mukkirize Yakuwa Anyweze Obufumbo Bwammwe era Abukuume
“Mukama bw’atakuuma kibuga, omukuumi atunuulirira bwereere.”—ZAB. 127:1b.
1, 2. (a) Kiki ekyaviirako Abaisiraeri 24,000 obutayingira mu Nsi Ensuubize? (b) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri?
ABAISIRAERI bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, abasajja Abaisiraeri bangi ‘baayenda ku bawala ba Mowaabu.’ N’ekyavaamu abantu 24,000, Yakuwa yabazikiriza. Kirowoozeeko! Wadde ng’ekisuubizo Abaisiraeri kye baali bamaze ebbanga nga balindirira kyali kinaatera okutuukirira, bangi ku bo tebaayingira mu nsi Ensuubize olw’okuba baatwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu.—Kubal. 25:1-5, 9.
2 Ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri byawandiikibwa mu Bayibuli “okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’omulembe guno.” (1 Kol. 10:6-11) Mu kiseera kino ‘ng’ennaku ez’oluvannyuma’ zinaatera okuggwaako, abantu ba Katonda banaatera okuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu. (2 Tim. 3:1; 2 Peet. 3:13) Kyokka eky’ennaku kiri nti abamu ku baweereza ba Katonda balekedde awo okuba obulindaala. N’ekivuddemu, beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu era ne bafuna ebizibu eby’amaanyi. Abantu abo singa tebeenenya, bajja kufiirwa emikisa egy’olubeerera Katonda gy’asuubizza.
3. Lwaki abafumbo beetaaga obulagirizi n’obukuumi obuva eri Yakuwa? (Laba ekifaananyi wagulu.)
3 Olw’okuba ebikolwa eby’obugwenyufu byeyongedde nnyo mu nsi, abafumbo beetaaga nnyo obulagirizi n’obukuumi obuva eri Katonda kibayambe okunyweza obufumbo bwabwe. (Soma Zabbuli 127:1.) Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri omwami n’omukyala gye basobola okunyweza obufumbo bwabwe nga bakuuma emitima gyabwe, nga banyweza enkolagana yaabwe ne Katonda, nga bambala omuntu omuggya, nga baba n’empuliziganya ennungi, era nga buli omu asasula munne ekyo ekimugwanira.
KUUMA OMUTIMA GWO
4. Kiki ekireetedde Abakristaayo abamu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?
4 Kiki ekiyinza okuleetera Omukristaayo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu? Ebiseera ebisinga obuzibu butandikira ku ebyo by’asalawo okutunuulira. Yesu yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Mat. 5:27, 28; 2 Peet. 2:14) Bangi ku Bakristaayo abeenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu babadde n’omuze ogw’okusoma ku bintu eby’obugwenyufu oba ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Abalala babadde n’omuze ogw’okulaba firimu ne programu za ttivi ezirimu ebikolwa eby’okwegatta. Ate abalala babadde batera okugenda okulaba ebimansulo, okugenda mu biduula, oba okugenda mu bifo gye bakolera masaagi aleetera omuntu okwagala okwegatta.
5. Lwaki tusaanidde okukuuma omutima gwaffe?
5 Abantu abamu beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oluvannyuma lw’okuteekawo enkolagana etesaana n’omuntu atali munnaabwe mu bufumbo. Mu nsi eno omuli abantu abateefuga era abagwenyufu, kyangu omutima gwaffe okutulimba ne gutuleetera okwegwanyiza omuntu atali munnaffe mu bufumbo. (Soma Yeremiya 17:9, 10.) Yesu yagamba nti: “Mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, n’obukaba.”—Mat. 15:19.
6, 7. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa omuntu aleka okwegomba okubi okukula mu mutima gwe? (b) Tuyinza tutya okwewala okwonoona mu maaso ga Katonda?
6 Okwegomba okubi bwe kusimba amakanda mu mitima gy’abantu ababiri, kiyinza okubaviirako okutandika okunyumya ku bintu bye batasaanidde kunyumyako na muntu mulala yenna, okuggyako munnaabwe mu bufumbo. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo batandika okumala ebiseera bingi nga bali wamu, era batandika okwesisinkana entakera nga beefuula ng’abatagenderedde kusisinkana. Okwegomba okubi bwe kweyongera okukula mu mitima gyabwe, kifuuka kizibu eri abantu abo okukola ekituufu. Gye beeyongera okuteekawo enkolagana ey’okulusegere gye kyeyongera okubabeerera ekizibu okukomya enkolagana eyo, wadde nga baba bakimanyi nti kye bakola si kituufu.—Nge. 7:21, 22.
7 Okwegomba okubi bwe kweyongera okukula mu mitima gy’abantu abo, kibaleetera okusambajja emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu ne batuuka n’okutandika okukola ebintu, gamba ng’okwekwata ku mikono, okwenywegera, okweweeweeta, n’okukola ebintu ebirala bye balina okukola nga bali ne bannaabwe mu bufumbo bokka. Mu ngeri eyo, ‘batwalirizibwa era ne basendebwasendebwa okwegomba kwabwe.’ Okwegomba okwo “bwe kuba olubuto kuzaala ekibi,” ne beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Yak. 1:14, 15) Ng’ekyo kiba kibi nnyo! Abakristaayo basobola okwewala okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu singa baba n’endowooza ya Yakuwa ku bufumbo era ne bakiraga nti babussaamu ekitiibwa. Naye ekyo bayinza kukikola batya?
MWEYONGERE OKUSEMBERERA KATONDA
8. Okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kinaatuyamba kitya okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?
8 Soma Zabbuli 97:10. Okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kisobola okutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Bwe tweyongera okuyiga ebikwata ku ngeri za Katonda ennungi, ne tufuba ‘okumukoppa ng’abaana abaagalwa, era ne tutambuliranga mu kwagala,’ kijja kutuyamba okuba abamalirivu okwewala “obwenzi n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri.” (Bef. 5:1-4) Abafumbo bulijjo bwe bakijjukiranga nti “abakaba n’abenzi Katonda ajja kubasalira omusango,” kibayamba okuba abamalirivu okukuuma obufumbo bwabwe nga bwa kitiibwa era nga bulongoofu.—Beb. 13:4.
9. (a) Kiki ekyayamba Yusufu okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu? (b) Kiki kye tuyigira ku Yusufu?
9 Abamu ku baweereza ba Katonda beetadde mu mbeera eziyinza okubaviirako okukemebwa nga bamala ebiseera bingi ne bakozi bannaabwe abatali Bajulirwa ba Yakuwa mu biseera ebitali bya mirimu. Abaweereza ba Katonda basobola n’okukemebwa mu biseera eby’emirimu. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka ayitibwa Yusufu bwe yali ku mulimu gwe, yakizuula nti mukazi wa mukama we yali amwegwanyiza. Buli lunaku, omukazi oyo yagezangako okusendasenda Yusufu okwegatta naye. Lumu omukazi oyo yakwata ekyambalo kya Yusufu n’amugamba yeebake naye. Kyokka Yusufu yamwesimatulako n’adduka. Kiki ekyayamba Yusufu okwewala okukola ekibi mu mbeera eyo? Yusufu yali mumalirivu okukuuma enkolagana ye ne Katonda. N’ekyavaamu, yafiirwa omulimu gwe wadde nga yali talina musango. Wadde kyali kityo, Katonda yamuwa emikisa. (Lub. 39:1-12; 41:38-43) Abakristaayo basaanidde okwewala embeera yonna eyinza okubaviirako okukemebwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, ka babe nga bali ku mulimu oba mu kifo ekirala kyonna.
MWAMBALE OMUNTU OMUGGYA
10. Okwambala omuntu omuggya kiyinza kitya okutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?
10 Okuva bwe kiri nti omuntu omuggya yatondebwa “nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa,” abafumbo bwe bambala omuntu omuggya kibayamba okunyweza obufumbo bwabwe. (Bef. 4:24) Abo abambala omuntu omuggya ‘bafiisa’ ebitundu byabwe eby’omubiri “ku bikwata ku bwenzi, obutali bulongoofu, okwegomba okw’ensonyi, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’okwegomba okubi.” (Soma Abakkolosaayi 3:5, 6.) Ekigambo “mufiise” kiraga nti tulina okufuba ennyo okusobola okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Tusaanidde okwewala ekintu kyonna oba embeera yonna eyinza okutuleetera okwegwanyiza omuntu atali munnaffe mu bufumbo. (Yob. 31:1) Bwe tufuba okutuukanya obulamu bwaffe n’ebyo Katonda by’ayagala, kituyamba ‘okukyawa ekibi n’okunywerera ku kirungi.’—Bar. 12:2, 9.
11. Okwambala omuntu omuggya kinyweza kitya obufumbo?
11 Bwe twambala omuntu omuggya, twoleka engeri za Yakuwa. (Bak. 3:10) Singa omwami n’omukyala booleka “obusaasizi, ekisa, okwewombeeka, obuteefu n’okugumiikiriza,” kibayamba okuba n’obufumbo obunywevu era Yakuwa abawa emikisa. (Bak. 3:12) Ate era bwe bakkiriza ‘emirembe gya Kristo okufuga emitima gyabwe,’ kibayamba okuba obumu mu bufumbo bwabwe. (Bak. 3:15) Abafumbo bwe baba nga ‘baagalana,’ kibayamba okuwaŋŋana “ekitiibwa.”—Bar. 12:10.
12. Kiki ekisobola okuyamba obufumbo okubaamu essanyu?
12 Bwe yabuuzibwa ekyali kiyambye obufumbo bwabwe okubaamu essanyu, Ow’oluganda Sid yagamba nti: “Tufubye okukulaakulanya okwagala era tufubye okwoleka obukkakkamu.” Mukyala we, Sonja, agamba nti: “Okwoleka ekisa nakyo kituyambye nnyo. Ate era tufubye okwoleka obwetoowaze, wadde ng’ekyo ebiseera ebimu tekibadde kyangu.”
MUBEERE N’EMPULIZIGANYA ENNUNGI
13. Kiki ekisobola okuyamba obufumbo okuba obunywevu, era lwaki?
13 Omwami n’omukyala buli omu bw’afuba okwogera obulungi ne munne, kinyweza obufumbo bwabwe. Nga kiba kya nnaku nnyo okuba nti omwami oba omukyala ayogera bulungi n’abantu abalala oba n’embwa ye oba kkapa ye naye ng’ate bw’aba ayogera ne munne mu bufumbo ayogera bubi! Omwami n’omukyala buli omu ‘bw’asibira munne ekiruyi, bw’amunyiigira, bw’amusunguwalira, bw’amuyombesa, oba bw’amuvuma,’ ekyo kinafuya obufumbo bwabwe. (Bef. 4:31) Ku luuyi olulala, singa omwami n’omukyala buli omu aba wa kisa eri munne, n’amusaasiranga, era n’amusonyiwanga, ekyo kinyweza obufumbo bwabwe.—Bef. 4:32.
14. Bintu ki bye tusaanidde okwewala?
14 Bayibuli egamba nti waliwo “ekiseera eky’okusirikiramu.” (Mub. 3:7) Kyokka, ekyo tekitegeeza nti tulina okusiriikirira bannaffe mu bufumbo, kubanga empuliziganya kintu kikulu nnyo mu bufumbo. Omukyala omu abeera mu Bugirimaani yagamba nti: “Bw’ogaana okwogera ne munno, kiyinza okumuyisa obubi ennyo.” Kyokka yagattako nti: “Wadde ng’ebiseera ebimu tekiba kyangu kusigala ng’oli mukkakkamu ng’oyisiddwa bubi, tekiba kya magezi kumala googera ng’oli musunguwavu. Okukola ekyo, kiyinza okukuviirako okwogera ekigambo ekirumya munno ne kyongera okwonoona embeera.” Omwami n’omukyala tebasobola kugonjoola butategeeragana singa buli omu asalawo okusiriikirira munne oba okumukambuwalira. Naye singa bafuba okugonjoola obutategeeragana amangu ddala nga bwe kisoboka era ne beewala okuyomba, ekyo kisobola okunyweza obufumbo bwabwe.
15. Okuba n’empuliziganya ennungi kinyweza kitya obufumbo?
15 Singa omwami n’omukyala bafuba okufunangayo ekiseera okunyumya, kisobola okubayamba okunyweza obufumbo bwabwe. Kikulu okulowooza ku ebyo bye twogera n’engeri gye tubyogeramu. Embeera k’ebeere nzibu etya, kikulu okufuba okwogera obulungi ne munno mu bufumbo. Bw’onookola bw’otyo, munno mu bufumbo kijja kumwanguyira okukuwuliriza ng’oliko ky’omugamba. (Soma Abakkolosaayi 4:6.) Omwami n’omukyala basobola okunyweza obufumbo bwabwe singa buli omu afuba ‘okwogera ne munne ekirungi era ekizimba nga bwe kiba kyetaagisa.’—Bef. 4:29.
BULI OMU ASASULE MUNNE EKIMUGWANIRA
16, 17. Lwaki omwami n’omukyala buli omu asaanidde okufaayo ku byetaago bya munne?
16 Omwami n’omukyala era basobola okunyweza obufumbo bwabwe singa buli omu akulembeza ebya munne mu kifo ky’okukulembeza ebibye yekka. (Baf. 2:3, 4) Omwami n’omukyala buli omu asaanidde okufaayo ku byetaago bya munne nga muno mw’otwalidde enneewulira ze awamu n’ensonga z’okwegatta.—Soma 1 Abakkolinso 7:3, 4.
17 Eky’ennaku kiri nti abaami abamu tebaagala kulaga bakyala baabwe mukwano era n’abakyala abamu tebaagala kulaga baami baabwe mukwano. Era abasajja abamu bawulira nga kibafeebya okulaga bakyala baabwe omukwano. Bayibuli egamba nti: “Nammwe abaami, mubeeranga n’abakazi bammwe nga mubategeera bulungi.” (1 Peet. 3:7) Omwami asaanidde okukijjukira nti okusasula mukyala we ekimugwanira kisingawo ku kwegatta obwegassi naye. Asaanidde okukiraga nti ayagala mukyala we ekiseera kyonna. Omwami n’omukyala buli omu bw’akiraga nti afaayo ku munne kiba kyangu buli omu okukola ku byetaago bya munne mu bufumbo.
18. Omwami n’omukyala bayinza batya okunyweza obufumbo bwabwe?
18 Wadde nga tewali nsonga yonna muntu gy’ayinza kwekwasa kwenda, singa omwami oba omukyala talaga munne kwagala, kisobola okuleetera munne okunoonya omuntu omulala ayinza okumulaga omukwano. (Nge. 5:18; Mub. 9:9) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli ekubiriza abafumbo nti: “Buli omu tammanga munne okuggyako nga waliwo ekiseera kye mulagaanye.” Lwaki ekyo kikulu nnyo? Bayibuli egattako nti: “Sitaani aleme okubakemanga olw’okuba mulemereddwa okwefuga.” (1 Kol. 7:5) Nga kiba kya nnaku nnyo singa abafumbo beeteeka mu mbeera eyinza okubaviirako ‘okulemererwa okwefuga’ ne bagwa mu bwenzi! Ku luuyi olulala, singa omwami n’omukyala buli omu afaayo ku byetaago bya munne era n’amusasula ekyo ekimugwanira olw’okuba amwagala, so si lwa kutuusa butuusa luwalo, ekyo kiyamba obufumbo bwabwe okunywera.—1 Kol. 10:24.
MWEYONGERE OKUNYWEZA OBUFUMBO BWAMMWE
19. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola, era lwaki?
19 Tunaatera okuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu. Nga kiba kya kabi nnyo okutwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu ng’Abaisiraeri 24,000 bwe baakola nga bali mu Nsenyi za Mowaabu. Oluvannyuma lw’okwogera ku ekyo ekyatuuka ku Baisiraeri abo, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.” (1 Kol. 10:12) N’olwekyo, kikulu nnyo abafumbo okunyweza obufumbo bwabwe nga bafuba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa n’eri bannaabwe mu bufumbo. (Mat. 19:5, 6) Mu butuufu, ka ffenna ‘tufube nnyo okusangibwa nga tetuliiko bbala wadde akamogo era nga tuli mu mirembe.’—2 Peet. 3:13, 14.