Essuubi ery’Okuzuukira Kkakafu!
“Nnina essuubi eri Katonda . . . nti walibaawo okuzuukira.”—EBIKOLWA 24:15.
1. Lwaki tuyinza okuba n’essuubi mu kuzuukira?
YAKUWA atuwadde ensonga ennungi okuba n’essuubi mu kuzuukira. Atukakasa nti abafu bajja kuzuukira, baddemu okubeera abalamu nate. Era ekigendererwa kye eri abo abeebase emagombe kikakafu okutuukirizibwa. (Isaaya 55:11; Lukka 18:27) Mu bufuufu, Katonda yalaga dda amaanyi ge ag’okuzuukiza abafu.
2. Essuubi ly’okuzuukira liyinza litya okutuganyula?
2 Okukkiririza mu nteekateeka ya Katonda ey’okuzuukiza abafu okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo, kiyinza okutuwanirira mu biseera ebizibu. Eky’okuba nti essuubi ly’okuzuukira kkakafu nakyo kiyinza okutuyamba okukuuma obugolokofu bwaffe eri Kitaffe ow’omu ggulu ka kibe nga kiyinza n’okutuviiramu okufa. Essuubi lyaffe ery’okuzuukira lijja kunywezebwa nga twekenneenya okuzuukizibwa okwogerwako mu Baibuli. Ebyamagero bino byonna byakolebwa mu maanyi ga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa.
Baafuna Abafu Baabwe Okuyitira mu Kuzuukira
3. Omwana wa nnamwandu mu Zalefaasi bwe yafa, Eriya yaweebwa amaanyi okukola ki?
3 Ng’ayogera ku kukkiriza okwalagibwa Abajulirwa ba Yakuwa ng’Obukristaayo tebunnabaawo, omutume Pawulo yawandiika: “Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira.” (Abaebbulaniya 11:35; 12:1) Omu ku bakazi abo yali nnamwandu omwavu mu kibuga ky’omu Bufoyiniiki ekya Zalefaasi. Olw’okuba yasembeza Eriya, nnabbi wa Katonda, mu ngeri ey’ekyamagero obutta n’amafuta bye yalina tebyaggwaawo mu njala eyaliwo era eyandimuviiriddeko okufa awamu ne mutabani we. Omwana bwe yafa oluvannyuma, Eriya yamuteeka ku kitanda, n’asaba, n’amugalamirako emirundi esatu, era ne yeegayirira nti: “Ai Mukama Katonda wange nkwegayiridde, obulamu bw’omwana ono bumuddemu nate.” Katonda yakomyawo obulamu mu mwana. (1 Bassekabaka 17:8-24) Teebereza essanyu nnamwandu lye yalina ng’okukkiriza kwe kusasulwa n’okuzuukizibwa okwo okwasooka okuteekeddwa mu buwandiike—okw’omwana we omwagalwa!
4. Kyamagero ki Erisa kye yakola mu Sunemu?
4 Omukazi omulala eyafuna omufu we okuyitira mu kuzuukira yali abeera mu kibuga kya Sunemu. Yali mukyala w’omusajja omukulu mu myaka, era yalaga ekisa eri nnabbi Erisa n’omuweereza we. Yaweebwa omukisa n’afuna omwana. Kyokka, nga wayiseewo emyaka, yayita nnabbi eyajja awaka we n’asanga ng’omwana afudde. Oluvannyuma lwa Erisa okusaba n’okubaako by’akola, ‘omubiri gw’omwana gwatandika okubuguma.’ Omwana ‘yayasimula emirundi musanvu, era n’azibula amaaso.’ Awatali kubuusabuusa okuzuukira kuno kwaleetera maama ono n’omwana we essanyu ppitirivu. (2 Bassekabaka 4:8-37; 8:1-6) Ng’ate baliba basanyufu nnyo bwe balizuukizibwa ku nsi mu ‘kuzuukira okusinga obulungi’—okwo okulibawa omukisa ogw’obutaddamu kufa nate! Nga nsonga ya maanyi etuleetera okwebaza Yakuwa, Katonda omwagazi azuukiza abafu!—Abaebbulaniya 11:35.
5. Erisa yakwataganyizibwa na kyamagero ki oluvannyuma lw’okufa kwe?
5 Wadde oluvannyuma lw’okufa n’okuziikibwa kwa Erisa, okuyitira mu mwoyo omutukuvu Katonda yafuula amagumba ge okubeera ag’amaanyi. Tusoma tuti: “[Abaisiraeri abamu] bwe baali nga baziika omusajja, kale, laba, ne balaba ekibiina [ky’Abamowaabu]; ne basuula omusajja mu ntaana ya Erisa: awo omusajja nga kyajje akome ku magumba ga Erisa, n’alamuka n’ayimirira n’ebigere.” (2 Bassekabaka 13:20, 21) Omusajja oyo ng’ateekwa okuba nga yeewuunya nnyo era n’asanyuka nnyo! Teebereza essanyu eriribaawo ng’abaagalwa baffe bazuukizibwa mu bulamu okusinziira ku kigendererwa kya Yakuwa Katonda ekikakafu okutuukirizibwa!
Omwana wa Katonda Yazuukiza Abafu
6. Kyamagero ki Yesu kye yakola okumpi n’ekibuga ky’e Nayini, era ekyaliwo ekyo kiyinza kutukwatako kitya?
6 Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, atuwadde ensonga ennungi ezituleetera okukkiriza nti abafu bayinza okuzuukizibwa, ne bafuna obulamu obutaggwaawo. Ekyaliwo okumpi n’ekibuga kya Nayini kiyinza okutuyamba okutegeera nti ekyamagero ng’ekyo kisoboka okuyitira mu maanyi ga Katonda. Lumu, Yesu yasanga abakungubaga okuva mu kibuga nga basitudde omulambo gw’omuvubuka okugenda okuguziika. Ye yali omwana yekka owa nnamwandu. Yesu yamugamba: “Tokaaba.” Awo n’akoma ku katanda akasituliddwako omulambo n’agamba: “Omulenzi, nkugamba nti Golokoka.” Awo omulenzi n’atuula era n’atandika okwogera. (Lukka 7:11-15) Ekyamagero kino mazima ddala kinyweza okukkiriza kwaffe nti essuubi ly’okuzuukira kkakafu.
7. Kiki ekyaliwo ku bikwata ku muwala wa Yayiro?
7 Era, lowooza ku kyaliwo ekikwata ku Yayiro, omukulu w’ekkuŋŋaaniro mu Kaperunawumu. Yasaba Yesu okujja ayambe muwala we omwagalwa ow’emyaka 12, eyali anaatera okufa. Oluvannyuma lw’akabanga katono yategeezebwa nti omuwala yali afudde. Ng’akubiriza Yayiro eyali omunakuwavu ennyo okwoleka okukkiriza, Yesu yagenda mu maka ga Yayiro, eyali ekibiina ky’abantu abaali bakaaba. Baaseka Yesu bwe yabagamba: “Omuwala tafudde, naye yeebase bwebasi.” Mazima ddala yali afudde, naye Yesu yali agenda kulaga nti abantu bayinza okukomezebwawo mu bulamu nga bwe bayinza okuzuukusibwa mu tulo otw’amaanyi. Yakwata omukono gw’omuwala, n’agamba: “Omuwala nkugamba nti Golokoka.” Amangu ago omuwala n’agolokoka, era ‘abazadde be ne basanyuka nnyo.’ (Makko 5:35-43; Lukka 8:49-56) Awatali kubuusabuusa, ab’omu maka ‘balisanyuka nnyo’ ng’abaagalwa baabwe abaafa bazuukiziddwa mu lusuku lwa Katonda ku nsi.
8. Yesu yakola ki ku ntaana ya Lazaalo?
8 Waali waakayitawo ennaku nnya oluvannyuma lwa Lazaalo okufa Yesu we yagendera ku ntaana ye n’alagira ejjinja eryali ku mulyango gwayo okuggibwawo. Oluvannyuma lw’okusaba mu lujjudde abalabi bategeere nti yali yeesigama ku maanyi agaamuweebwa Katonda, Yesu yayogerera waggulu nti: “Lazaalo, fuluma ojje.” Era n’afuluma! Emikono gye era n’ebigere byali bikyazingiddwa mu ngoye ze baamuziikiramu, era ng’olugoye lubise ku maaso ge. “Mumusumulule, mumuleke agende,” bw’atyo Yesu bwe yagamba. Bwe baalaba ekyamagero kino, bangi abaali bazze okubudaabuda bannyina ba Lazaalo, Malyamu ne Maliza, bakkiririza mu Yesu. (Yokaana 11:1-45) Ekyaliwo kino tekikuwa ssuubi nti abaagalwa bo bajja kuzuukizibwa mu nsi ya Katonda empya?
9. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yesu kati ayinza okuzuukiza abafu?
9 Yokaana Omubatiza bwe yali mu kkomera, Yesu yamuweereza obubaka buno obuzzaamu amaanyi: “Abazibye amaaso balaba, . . . n’abafu bazuukizibwa.” (Matayo 11:4-6) Okuva Yesu bwe yazuukiza abafu ng’ali ku nsi, mazima ddala ayinza okukikola ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi ekyaweebwa Katonda amaanyi. Yesu ye “kuzuukira n’obulamu,” era nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti mu maaso awo “bonna abali mu ntaana ezijjukirwa bajja kuwulira eddoboozi lye baveemu”!—Yokaana 5:28, 29, NW; 11:25.
Okuzuukiza Okulala Kunyweza Essuubi Lyaffe
10. Wandinnyonnyodde otya okuzuukira okwasooka okukolebwa omutume?
10 Yesu bwe yatuma abatume be ng’ababuulizi b’Obwakabaka, yabagamba: “Muzuukizenga abafu.” (Matayo 10:5-8) Kya lwatu nti, okukola kino baalina okwesigama ku maanyi ga Katonda. Mu Yopa mu 36 C.E., omukazi atya Katonda Doluka (Tabbiisa) yafa. Mu bikolwa bye ebirungi mwalimu okutungira engoye bannamwandu abaali mu bwetaavu, era nga bano baakaba nnyo bwe yafa. Abayigirizwa baateekateeka okuziikibwa kwe era ne batumya omutume Peetero, oboolyawo okubazzaamu amaanyi. (Ebikolwa 9:32-38) Yalagira buli omu okufuluma mu kisenge ekya waggulu, n’asaba, era n’agamba nti: “Tabbiisa, yimirira.” N’azibula amaaso ge, n’atuula, n’akwata omukono gwa Peetero, era Peetero n’amuyimusa. Okuzuukiza kuno okw’omutume okwasooka, kwaleetera bangi okufuuka abakkiriza. (Ebikolwa 9:39-42) Era kutuwa ensonga endala okuba n’essuubi mu kuzuukira.
11. Okuzuukira okusembayo okwogerwako mu Baibuli kwe kuluwa?
11 Okuzuukira okwasembayo okwogerwako mu Baibuli kwaliwo mu Tulowa. Pawulo bwe yatuukayo ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu, yawa emboozi okutuuka mu ttumbi. Olw’okukoowa era oboolyawo olw’ebbugumu ly’ettabaaza ennyingi era n’omujjuzo gw’abantu mu kifo kye baali bakuŋŋaaniddemu, omuvubuka ayitibwa Yutuko yakwatibwa otulo era n’agwa okuva mu ddirisa lya kalina ey’okusatu. ‘Yagibwawo ng’afudde,’ so si nti yali azirise buzirisi. Pawulo yagalamira ku Yutuko, n’amuwambaatira, n’agamba abalabi: “Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwebuli munda.” Pawulo yali ategeeza nti obulamu bw’omuvubuka bwali bukomezeddwawo. Abaaliwo ‘baasanyuka nnyo.’ (Ebikolwa 20:7-12) Leero, abaweereza ba Katonda babudaabudibwa bwe bamanya nti bannaabwe abaali mu buweereza bwa Katonda bajja kulaba okutuukirizibwa kw’essuubi ery’okuzuukira.
Okuzuukira—Essuubi Eribaddewo Okumala Ekiseera Kiwanvu
12. Kukkiriza ki Pawulo kwe yayoleka mu maaso ga Gavana Omuruumi Ferikisi?
12 Bwe yali awozesebwa mu maaso ga Gavana Omuruumi, Ferikisi, Pawulo yagamba: “Nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi. Nga nnina essuubi eri Katonda . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:14, 15) Ebitundu ebimu eby’Ekigambo kya Katonda, nga ‘Amateeka,’ bisonga bitya ku kuzuukiza abafu?
13. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Katonda yasonga ku kuzuukira bwe yawa obunnabbi obwasooka?
13 Katonda kennyini yasonga ku kuzuukira bwe yawa obunnabbi obwasooka mu Adeni. Bwe yali asalira omusango “omusota ogw’edda,” Setaani Omulyolyomi, Katonda yagamba: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:14, 15; Olubereberye 3:14, 15) Okubetenta ekisinziiro ky’omukazi kyategeeza okuttibwa kwa Yesu Kristo. Ezzadde eryo okusobola okubetenta omutwe gw’omusota oluvannyuma lw’ekyo, Kristo yalina okuzuukizibwa okuva mu bafu.
14. Mu ngeri ki bwe kiri nti Yakuwa “si Katonda wa bafu, naye wa balamu”?
14 Yesu yagamba: “Okumanya ng’abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe.” (Lukka 20:27, 37, 38; Okuva 3:6) Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo baali bafu, naye ekigendererwa kya Katonda okubazuukiza kyali kikakafu okutuukirizibwa ne kiba nti baali ng’abalamu gy’ali.
15. Lwaki Ibulayimu yalina ensonga ennungi okukkiririza mu kuzuukira?
15 Ibulayimu yalina ensonga ennungi okuba n’essuubi mu kuzuukira, kubanga ye ne mukyala we, Saala, bwe baali bakaddiye nnyo era nga balinga abafudde ku bikwata ku busobozi bw’okuzaala abaana, mu ngeri ey’ekyamagero Katonda yazzaawo obusobozi bwabwe obw’okuzaala. Kino kyalinga okuzuukiza. (Olubereberye 18:9-11; 21:1-3; Abaebbulaniya 11:11, 12) Mutabani waabwe, Isaaka, bwe yali aweza emyaka nga 25 egy’obukulu, Katonda yagamba Ibulayimu okumuwaayo gy’ali nga ssaddaaka. Kyokka, Ibulayimu bwe yali anaatera okutta Isaaka, malayika wa Yakuwa yaziyiza omukono gwe. Ibulayimu “yalowooza nga Katonda ayinza okuzuukiza [Isaaka] mu bafu era; era mwe yamuweerwa mu kifaananyi.”—Abaebbulaniya 11:17-19; Olubereberye 22:1-18.
16. Ibulayimu yeebase emagombe ng’alindirira ki?
16 Ibulayimu yalina essuubi mu kuzuukira wansi w’obufuzi bwa Masiya, Ezzadde eryasuubizibwa. Okusinziira mu kifo kye yalimu nga tannafuuka muntu, Omwana wa Katonda yalaba okukkiriza kwa Ibulayimu. N’olwekyo, ng’omusajja Yesu Kristo, yagamba Abayudaaya: “Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange.” (Yokaana 8:56-58; Engero 8:30, 31) Ibulayimu kati yeebase mu kufa, ng’alindirira okuzuukira mu bulamu ku nsi wansi w’Obwakabaka bwa Katonda obwa Masiya.—Abaebbulaniya 11:8-10, 13.
Obujulizi Okuva mu Mateeka ne Zabbuli
17. ‘Ebintu ebyali mu mateeka’ bisonga bitya ku kuzuukira kwa Yesu Kristo?
17 Essuubi Pawulo lye yalina mu kuzuukira lyali likwatagana ‘n’ebyawandiikibwa mu mateeka.’ Katonda yagamba Abaisiraeri: “Muteekwa . . . okuleeta ekinywa eky’ebibereberye eby’amakungula gammwe eri kabona. Era [nga Nisaani 16] ateekwa okuwuubawuuba ekinywa mu maaso ga Yakuwa okusiimibwa ku lwammwe.” (Eby’Abaleevi 23:9-14, NW) Oboolyawo, ng’alina etteeka lino mu birowoozo, Pawulo yawandiika: “Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw’abo abeebaka.” Nga ‘omwaka omubereberye,’ Yesu yazuukizibwa nga Nisaani 16, 33 C.E. Oluvannyuma, mu kubeerawo kwe, wandibaddewo okuzuukizibwa ‘kw’ebibala eby’oluvannyuma’—abagoberezi be abaafukibwako amafuta.—1 Abakkolinso 15:20-23; 2 Abakkolinso 1:21; 1 Yokaana 2:20, 27.
18. Peetero yalaga atya nti okuzuukira kwa Yesu kwalagulwa mu Zabbuli?
18 Zabbuli nazo zikakasa okuzuukira. Ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., omutume Peetero yajuliza mu Zabbuli 16:8-11, ng’agamba: “[Kristo] Dawudi amwogerako nti nnalaba Mukama ennaku zonna mu maaso gange. Kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo, nneme okusagaasagana. Omutima gwange kyegwava gwesiima, olulimi lwange ne lusanyuka; era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi: kubanga tolindeka bulamu bwange mu Magombe, so toliwaayo mutukuvu wo kuvunda. Peetero yagattako: “[Dawudi] yalaba olubereberye, n’ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. Yesu oyo Katonda yamuzuukiza.”—Ebikolwa 2:25-32.
19, 20. Peetero yajuliza ddi mu Zabbuli 118:22, era kino kikwataganyizibwa kitya n’okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe?
19 Nga wayiseewo ennaku, Peetero yayimirira mu maaso g’Olukiiko lw’Abayudaaya era n’addamu okujuliza mu Zabbuli. Nga bamubuuzizza engeri gye yawonyamu omulema eyali asabiriza, omutume yaddamu: “Mutegeere mwenna n’ekibiina kyonna eky’Abaisiraeri nti mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw’oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe. Oyo [Yesu] lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery’oku nsonda. So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.”—Ebikolwa 4:10-12.
20 Peetero wano yajuliza mu Zabbuli 118:22, ng’akwataganya bye lwayogera ku kufa kwa Yesu n’okuzuukira. Nga bapikirizibwa abakulembeze baabwe ab’eddiini, Abayudaaya baagaana Yesu. (Yokaana 19:14-18; Ebikolwa 3:14, 15) ‘Abazimbi okugaana ejjinja’ kyavaamu okufa kwa Kristo, naye ‘ejjinja okufuuka ekkulu ery’oku nsonda’ kyali kitegeeza okuzuukizibwa kwe mu kitiibwa eky’omu ggulu. Ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yalagula, ‘ekyo Yakuwa ye yakikola kennyini.’ (Zabbuli 118:23) Okufuula “ejjinja” okuba Ekkulu ery’oku nsonda kyatwaliramu okumugulumiza ng’oyo ow’Okubeera Kabaka.—Abaefeso 1:19, 20.
Bawanirirwa Essuubi ly’Okuzuukira
21, 22. Ssuubi ki Yobu lye yayoleka, nga bwe kyawandiikibwa mu Yobu 14:13-15, era ebigambo bino biyinza bitya okubudaabuda abakungubaga leero?
21 Wadde ffe tetulabangako muntu yenna eyali azuukiziddwa mu bafu, tulabye ebintu ebimu okuva mu Byawandiikibwa ebituwa obukakafu ku kuzuukira. N’olwekyo, tuyinza okuba n’essuubi eryayolesebwa Yobu, omusajja omugolokofu. Bwe yali abonaabona, yeegayirira: “Singa onkwese mu magombe, . . . singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n’onjijukira! Omuntu bw’afa aliba mulamu nate? . . . Wandimpise, nange nandikuyitabye: wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.” (Yobu 14:13-15) Katonda ‘alyegomba omulimu gw’emikono gye,’ ng’ayagalira ddala okuzuukiza Yobu. Ekyo nga kituwa essuubi lya maanyi!
22 Ow’omu maka atya Katonda ayinza okulwala ennyo, nga Yobu, era n’afa. Abakungubaga bayinza okukaaba, nga ne Yesu bwe yakaaba ku kufa kwa Lazaalo. (Yokaana 11:35) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Katonda ajja kuyita era abo b’ajjukira bamwanukule! Kijja kuba ng’abakomyewo okuva mu lugendo oluwanvu—nga si balwadde oba nga baliko ekikyamu kyonna, naye nga balamu bulungi.
23. Abamu boolese batya obwesige bwabwe mu ssuubi ly’okuzuukira?
23 Okufa kwa nnamukadde Omukristaayo omwesigwa kwaleetera bakkiriza banne okuwandiika: “Tukusaba okkirize okusaasira kwaffe okungi olw’okufa kwa maama wo. Mu bbanga ttono tujja kumwaniriza nate—ng’alabika bulungi era nga wa maanyi!” Abazadde abaafiirwa mutabani waabwe baagamba: “Nga twesunga nnyo olunaku Jason lw’alizuukuka! Ajja kutunuulira ebimwetoolodde alabe Olusuku lwa Katonda lwe yali yeesunga ennyo. . . . Ng’ekyo kitukubiriza nnyo naffe abamwagala okubeerayo.” Yee, era nga tuli basanyufu nnyo nti essuubi ly’okuzuukira kkakafu!
Oddamu Otya?
• Okukkiririza mu nteekateeka ya Katonda ey’okuzuukiza abafu kutuganyula kutya?
• Bintu ki ebyaliwo ebyogerwako mu Byawandiikibwa ebituwa ensonga ennungi okuba n’essuubi mu kuzuukira?
• Lwaki kiyinza okugambibwa nti okuzuukira ssuubi eribaddewo okumala ekiseera kiwanvu?
• Ssuubi ki erizzaamu amaanyi lye tuyinza okusanyukira erikwata ku bafu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Ng’alina amaanyi okuva eri Yakuwa, Eriya yazzaawo obulamu bw’omwana wa nnamwandu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Yesu bwe yazuukiza muwala wa Yayiro, ba- zadde be baasa- nyuka nnyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., n’obuvumu omutume Peetero yawa obujulizi nti Yesu yali azuukiziddwa okuva mu bafu