Fumiitiriza ku Kwagala kwa Yakuwa Okutajjulukuka
‘Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo.’—ZAB. 77:12.
1, 2. (a) Lwaki oli mukakafu nti Yakuwa ayagala nnyo abantu be? (b) Bwetaavu ki abantu bonna bwe balina?
LWAKI oli mukakafu nti Yakuwa ayagala nnyo abantu be? Nga tonnaddamu kibuuzo ekyo, sooka olowooze ku byokulabirako bino: Okumala emyaka egiwerako ab’oluganda baakubirizanga mwannyinaffe ayitibwa Taylene okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ebyo by’asobola okukola mu buweereza bwe. Taylene agamba nti: “Singa Yakuwa yali tanjagala, teyandikozesezza bakkiriza bannange kumpa magezi ago enfunda n’enfunda.” Brigitte, eyakuza abaana be ababiri yekka oluvannyuma lw’okufa kw’omwami we, agamba nti: “Okukuza abaana mu nsi ya Sitaani eno kye kintu ekisingayo okuba ekizibu, naddala eri omuzadde ali obwannamunigina. Naye ndi mukakafu nti Yakuwa anjagala nnyo kubanga annyambye okuyita mu mbeera nnyingi enzibu, era tandese kugezesebwa kusukka ku ekyo kye nnyinza okugumira.” (1 Kol. 10:13) Sandra alina obulwadde obw’amaanyi. Bwe yali ku lukuŋŋaana olunene, waliwo mwannyinaffe eyamufaako ennyo. Omwami wa Sandra agamba nti: “Ekyo kyatukwatako nnyo okuva bwe kiri nti mwannyinaffe oyo twali tetumumanyi. Ebintu ab’oluganda bye batukolera, ka bibe bitono bitya, binkakasa nti Yakuwa atwagala nnyo.”
2 Abantu bonna baatondebwa nga balina obwetaavu obw’okwoleka okwagala n’okwagalibwa. Kyokka singa obwetaavu obwo tebukolebwako, oboolyawo olw’obulwadde, olw’obuzibu bw’eby’enfuna, oba olw’obutafuna bibala mu mulimu gw’okubuulira, ekyo kiyinza okutumalamu amaanyi. Singa tutandika okulowooza nti Yakuwa takyatwagala, kiba kikulu okukijjukira nti tuli ba muwendo nnyo mu maaso ge era nti mwetegefu ‘okutukwata ku mukono gwaffe ogwa ddyo’ okutuyamba. Yakuwa tasobola kutwerabira singa tusigala nga tuli beesigwa gy’ali.—Is. 41:13; 49:15.
3. Kiki ekiyinza okutuleetera okuba abakakafu nti okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli tekujjulukuka?
3 Bakkiriza bannaffe aboogeddwako waggulu bakakafu nti Katonda yali wamu nabo nga boolekagana n’embeera enzibu. Naffe tuli bakakafu nti Katonda ali ku ludda lwaffe. (Zab. 118:6, 7) Mu kitundu kino tugenda kwetegereza ebintu bina ebiraga nti Katonda atwagala nnyo: (1) ebintu bye yatonda, (2) Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, (3) enkizo ey’okusaba, ne (4) ekinunulo. Okufumiitiriza ku bintu ebirungi Yakuwa by’akoze kijja kutuyamba okweyongera okukiraba nti okwagala kw’alina gye tuli tekujjulukuka.—Soma Zabbuli 77:11, 12.
FUMIITIRIZA KU BINTU YAKUWA BYE YATONDA
4. Okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda kituyamba kutegeera ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 9)
4 Bwe tufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda kisobola okutuyamba okukiraba nti atwagala nnyo, okuva bwe kiri nti okwagala kwe kwamukubiriza okutonda ebintu ebyo. (Bar. 1:20) Ng’ekyokulabirako Yakuwa yatonda ensi nga tayagala tubeereko bubeezi. Yateekako buli kimu kye twetaaga okusobola okunyumirwa okugibeerako. Ffenna twetaaga okulya okusobola okuba abalamu. Kyokka Yakuwa teyatonda bya kulya, tulye bulyi tubeewo. Yatonda eby’okulya ebitali bimu tusobole okubirya tuwoomerwe! (Mub. 9:7) Mwannyinaffe Catherine abeera mu Canada anyumirwa nnyo okwetegereza ebitonde, naddala mu kiseera kya ttoggo. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo, kyewuunyisa okulaba ng’ebimera bimulisa, ng’ebinyonyi ebyali bisenguse bikomyewo, nga mw’otwalidde n’akanuunansubi akabeera mu kisu okumpi n’eddirisa ly’effumbiro lyange. Okuba nti Yakuwa yatuwa ebintu ebirungi ng’ebyo kiraga nti atwagala nnyo.” Kitaffe ow’omu ggulu asanyukira ebintu bye yatonda era ayagala naffe tubinyumirwe.—Bik. 14:16, 17.
5. Okwagala kwa Yakuwa kweyolekera kutya mu ngeri gye yatondamu abantu?
5 Yakuwa yatutonda n’obusobozi obw’okukola ebintu ebitali bimu ebisobola okutuleetera essanyu. (Mub. 2:24) Yatonda abantu ng’ayagala bazaale baale bajjuze ensi, era babeere n’obuyinza ku byennyanja, ebinyonyi, n’ensolo zonna eziri ku nsi. (Lub. 1:26-28) Ate era n’eky’okuba nti Yakuwa yatutonda nga tusobola okwoleka engeri ng’ezize nakyo kiraga nti atwagala nnyo!—Bef. 5:1.
EKIGAMBO KYA KATONDA KITWALE NGA KYA MUWENDO
6. Lwaki Ekigambo kya Katonda kya muwendo nnyo gye tuli?
6 Katonda yatuwa Ekigambo kye olw’okuba atwagala nnyo. Ekigambo kye kituyamba okumanya ebimukwatako n’engeri gy’akolaganamu n’abantu. Ng’ekyokulabirako, Ebyawandiikibwa bituyamba okumanya engeri gye yakolaganamu n’Abaisiraeri, abaamujeemeranga buli kiseera. Zabbuli 78:38 (NW) wagamba nti: “Yabasaasira; yabasonyiwanga ensobi zaabwe n’atabazikiriza. Yafuganga obusungu bwe n’atabamalirako kiruyi kye kyonna.” Okufumiitiriza ku lunyiriri olwo kisobola okukuyamba okukiraba nti Yakuwa akwagala nnyo era nti akufaako. Ba mukakafu nti oli wa muwendo nnyo mu maaso ge.—Soma 1 Peetero 5:6, 7.
7. Lwaki Bayibuli tusaanidde okugitwala nga ya muwendo nnyo?
7 Bayibuli tusaanidde okugitwala nga ya muwendo nnyo kubanga okusingira ddala Yakuwa gy’ayitiramu okwogera naffe. Abazadde bwe baba n’empuliziganya ennungi n’abaana baabwe, ekyo kibayamba okwongera okwagalana n’okwesigaŋŋana. Yakuwa Kitaffe atwagala ennyo. Wadde nga tetumulabangako era nga tetuwuliranga ku ddoboozi lye, ayogera naffe ng’ayitira mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, era tusaanide okumuwuliriza. (Is. 30:20, 21) Yakuwa ayagala okutuwa obulagirizi era ayagala okutuyamba okwewala emitawaana. Ate era ayagala tumumanye era tumwesige.—Soma Zabbuli 19:7-11; Engero 1:33.
8, 9. Kiki Yakuwa ky’ayagala tumanye? Waayo ekyokulabirako okuva mu Bayibuli.
8 Yakuwa ayagala tukimanye nti atwagala nnyo era nti tatunoonyamu nsobi. Atunoonyaamu birungi. (2 Byom. 16:9) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kabaka Yekosafaati owa Yuda. Lumu, Yekosafaati yakola ekintu ekitaali kya magezi bwe yakkiriza okugenda ne Kabaka Akabu okulwanyisa Abasuuli basobole okuwamba Lamosugireyaadi. Wadde nga bannabbi ab’obulimba 400 baagamba Akabu nti yali agenda kuwangula, nnabbi wa Yakuwa Mikaaya yamugamba nti yali tagenda kuwangula. Akabu yafiira mu lutalo era ne Yekosafaati yawonera watono okuttibwa. Bwe yaddayo mu Yerusaalemi, Yekosafaati yanenyezebwa olw’okukolagana ne Akabu, kabaka eyali omubi. Wadde kyali kityo, Yeeku, mutabani wa Kanani omulabi, yagamba Yekosafaati nti: “Mu ggwe mulabise ebirungi.”—2 Byom. 18:4, 5, 18-22, 33, 34; 19:1-3.
9 Bwe yali yaakatandika okufuga nga kabaka, Yekosafaati yalagira abalangira, Abaleevi, ne bakabona okugenda mu bibuga byonna ebya Yuda bayigirize abantu be Amateeka ga Yakuwa. Ekyo kyavaamu ebirungi bingi kubanga kyaleetera n’abantu ab’amawanga agaali geetooloddewo okutandika okutya Yakuwa. (2 Byom. 17:3-10) Wadde nga Yekosafaati yakola ekintu ekitaali kya magezi, Yakuwa yali ajjukira ebirungi bye yali akoze. Ekyo kituyamba okukiraba nti wadde ng’oluusi tukola ensobi, Yakuwa ajja kutulaga okwagala kwe okutajjulukuka singa tufuba okukola ebimusanyusa.
ENKIZO EY’OKUSABA GITWALE NGA YA MUWENDO NNYO
10, 11. (a) Lwaki okusaba kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa? (b) Katonda addamu atya essaala zaffe?
10 Taata ayagala abaana be afuba okubawuliriza bwe baba boogera naye. Aba ayagala okumanya ebyo ebiri ku mitima gyabwe olw’okuba abafaako. Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa atuwuliriza nga twogera naye okuyitira mu kusaba. Okusaba tusaanidde okukutwala nga nkizo ya maanyi nnyo.
11 Tusobola okutuukirira Yakuwa okuyitira mu kusaba essaawa yonna. Tatutaddeeko kkomo. Yakuwa mukwano gwaffe era mwetegefu okutuwuliriza. Taylene, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Osobola okubuulira Yakuwa buli kimu.” Bwe tubuulira Yakuwa ebyo ebituli ku mutima okuyitira mu kusaba, asobola okutuddamu ng’ayitira mu kyawandiikibwa, mu kimu ku bitundu ebiri mu magazini zaffe, oba okuyitira mu bigambo mukkiriza munnaffe by’ayogera. Yakuwa awulira okusaba kwaffe era atutegeera bulungi okusinga omuntu omulala yenna. Okuba nti Yakuwa addamu essaala zaffe kiraga nti atwagala nnyo.
12. Lwaki tusaanidde okusoma ku ssaala eziri mu Bayibuli? Waayo ekyokulabirako.
12 Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku ssaala eziri mu Kigambo kya Katonda. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okusoma ku ssaala ezo mu kusinza kwaffe okw’amaka. Okufumiitiriza ku ngeri abaweereza ba Yakuwa ab’edda gye beeyabizangamu Yakuwa nga basaba, kisobola okutuyamba okulongoosa mu ssaala zaffe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ssaala Yona gye yasaba ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene. (Yon. 1:17–2:10) Era lowooza ku ssaala Sulemaani gye yasaba ng’awaayo yeekaalu eri Yakuwa. (1 Bassek. 8:22-53) Ate lowooza ne ku ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako. (Mat. 6:9-13) Mu butuufu, kikulu nnyo ‘okutegeeza Katonda bye twetaaga.’ Bwe tunaakola bwe tutyo, ‘emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.’ Ekyo kijja kutuleetera okwongera okusiima Yakuwa olw’okutulaga okwagala kwe okutajjulukuka.—Baf. 4:6, 7.
KIRAGE NTI OSIIMA EKINUNULO
13. Nkizo ki abantu gye basobola okufuna okuyitira mu kinunulo?
13 Yakuwa yatuwa ekirabo kya ssaddaaka y’ekinunulo “tusobole okufuna obulamu.” (1 Yok. 4:9) Ng’ayogera ku ngeri eyo ey’ekitalo Katonda gye yayolekamu okwagala kwe, omutume Pawulo yawandiika nti: “Kristo yafiirira abantu abatatya Katonda mu kiseera ekigereke. Kiba kizibu omuntu okufiirira omuntu omutuukirivu, naye oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufiirira omuntu omulungi. Naye Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo yatufiirira.” (Bar. 5:6-8) Okuyitira mu kinunulo, abantu basobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.
14, 15. Ekinunulo kiganyula kitya (a) Abakristaayo abaafukibwako amafuta? (b) abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi?
14 Okuyitira mu kinunulo, abamu ku Bakristaayo Yakuwa abalaze okwagala mu ngeri ey’enjawulo. (Yok. 1:12, 13; 3:5-7) Baafukibwako omwoyo omutukuvu ne baafuuka ‘abaana ba Katonda.’ (Bar. 8:15, 16) Ng’ayogera ku Bakristaayo abo abaafukibwako amafuta, Pawulo yagamba nti ‘baazuukizibwa ne batuuzibwa wamu mu bifo eby’omu ggulu nga bali bumu ne Kristo Yesu.’ (Bef. 2:6) Ekyo kiri kityo kubanga Katonda ‘yabateekako akabonero ng’akozesa omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa, nga bwe bukakafu obulaga nti bajja kufuna obusika bwabwe,’ kwe kugamba, “essuubi eribaterekeddwa mu ggulu.”—Bef. 1:13, 14; Bak. 1:5.
15 Kyokka, abasinga obungi ku abo abakkiririza mu kinunulo, balina enkizo ey’okubeera mikwano gya Yakuwa, era balina essuubi ery’okufuuka abaana ba Katonda n’okubeera mu Lusuku lwe wano ku nsi emirembe gyonna. N’olwekyo, okuyitira mu kinunulo, Yakuwa ayoleka okwagala kwe eri abantu bonna. (Yok. 3:16) Bwe tuba nga tulina essuubi ery’okubeera ku nsi n’okuweereza Yakuwa emirembe gyonna, tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obulamu obulungi ennyo mu nsi empya. N’olwekyo, ka tukirage nti ekinunulo tukitwala nga kya muwendo nnyo, kubanga kye kintu ekisingayo okwoleka okwagala okutajjulukuka Katonda kw’alina gye tuli!
KIRAGE NTI OYAGALA NNYO YAKUWA
16. Okufumiitiriza ku ngeri ezitali zimu Yakuwa gy’atulazeemu okwagala, kyanditukubirizza kukola ki?
16 Yakuwa atulaze okwagala kwe mu ngeri nnyingi ze tutasobola na kubala. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, Ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu, nga bingi! Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu [obungi].” (Zab. 139:17, 18) Okufumiitiriza ku ngeri ezitali zimu Yakuwa gy’atulazeemu okwagala, kyanditukubirizza naffe okweyongera okumwagala n’okukola kyonna ekisoboka okumuweereza.
17, 18. Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti twagala Katonda bye biruwa?
17 Waliwo ebintu bingi bye tusobola okukola okulaga nti twagala Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tukiraga nti twagala Katonda ne bantu bannaffe nga tukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Ate era tusobola okukiraga nti twagala Yakuwa nga tusigala nga tuli beesigwa gy’ali ne mu mbeera enzibu. (Soma Zabbuli 84:11; Yakobo 1:2-5.) Bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi, tusobola okuba abakakafu nti Katonda amanyi ebizibu byaffe era nti ajja kutuyamba, kubanga tuli ba muwendo nnyo mu maaso ge.—Zab. 56:8.
18 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza okufumiitiriza ku bintu bye yatonda ne ku bikolwa bye ebirala eby’ekitalo. Tukiraga nti twagala Katonda era nti Ekigambo kye tukitwala nga kya muwendo nga tunyiikirira okukisoma. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza okumutuukirira okuyitira mu kusaba. Ate era bwe tufumiitiriza ku kinunulo ekyaweebwaayo olw’ebibi byaffe, kituleetera okwongera okwagala Katonda. (1 Yok. 2:1, 2) Ebyo bye bimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti twagala Yakuwa olw’okwagala okutajjulukuka kw’alina gye tuli.