Oyinza ‘Okwawulawo Ekituufu n’Ekikyamu’?
“Mukeber[e] nga Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri.”—ABAEFESO 5:10.
1. Mu ngeri ki obulamu gye buyinza okuba obuzibu leero, era lwaki?
“AI MUKAMA, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Leero, ensonga eno enkulu Yeremiya gye yayogerako etukwatako nnyo n’okusingawo. Lwaki? Kubanga tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku,’ nga Baibuli bwe yalagula. (2 Timoseewo 3:1) Buli lunaku twolekagana n’embeera enzibu ezitwetaagisa okusalawo. Ka bibe bya maanyi oba bitono, bye tusalawo birina kinene nnyo kye biyinza okukola ku mbeera y’obulamu bwaffe, mu mubiri, mu nneewulira ez’omunda, ne mu by’omwoyo.
2. Bintu ki ebiyinza okutwalibwa ng’ebitali bikulu, kyokka Abakristaayo abeewaddeyo babitwala batya?
2 Bingi bye tusalawo buli lunaku biyinza okulabika ng’ebya bulijjo oba ebitali bikulu. Ng’ekyokulabirako, buli lunaku tulonda engoye ze tunaayambala, emmere gye tunaalya, abantu be tunaalaba era n’ebirala. Tusalawo okukola ebintu bino awatali na kusooka kubirowoozaako nnyo. Naye ebintu ng’ebyo ddala si bikulu? Ng’Abakristaayo abeewaddeyo, engeri gye tulondawo okwekolako, bye tusalawo okwambala, okulya n’okunywa, okwogera, n’engeri gye tweyisaamu bulijjo, byoleka ekifo kye tulina ng’abaweereza b’oyo Ali Waggulu Ennyo, Yakuwa Katonda. Tujjukizibwa ebigambo by’omutume Pawulo: “Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.”—1 Abakkolinso 10:31; Abakkolosaayi 4:6; 1 Timoseewo 2:9, 10.
3. Bintu ki ebikulu ennyo bye tulina okusalawo?
3 Ate waliwo bye tusalawo ebikulu ennyo n’okusingawo. Ng’ekyokulabirako, okusalawo okuyingira obufumbo oba okusigala obwannamunigina, mazima ddala kirina kinene nnyo kye kiyinza okukola ku bulamu bw’omuntu. Kya lwatu nti okulonda omuntu omutuufu ow’okufumbiriganwa naye, oyo ow’okubeera naye ekiseera kyo kyonna eky’obulamu, si kintu kitono.a (Engero 18:22) Ate era, be tulonda okuba mikwano gyaffe oba be tukolagana nabo, bye tulondawo mu by’enjigiriza, eby’emirimu, n’eby’okwesanyusaamu birina kinene nnyo kye bikola ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo, bwe kityo, ne ku mbeera yaffe ey’olubeerera.—Abaruumi 13:13, 14; Abaefeso 5:3, 4.
4. (a) Busobozi ki obwegombebwa ennyo? (b) Bibuuzo ki ebyetaaga okwekenneenyezebwa?
4 Nga twolekaganye na bino byonna, mazima ddala kya muganyulo ffe okubeera n’obusobozi bw’okwawulawo ekikyamu n’ekituufu oba ekyo ekirabika ng’ekituufu n’ekituufu ddala. Baibuli erabula nti, “waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo ge makubo ag’okufa.” (Engero 14:12) Bwe kityo, tuyinza okubuuza: ‘Tuyinza tutya okukulaakulanya obusobozi bw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu? Wa we tuyinza okuzuula obulagirizi obwetaagibwa mu kusalawo? Abantu mu biseera ebyayita ne mu biseera bino, bakoze ki ku nsonga eno, era biki ebivuddemu?’
‘Obufirosoofo n’Obulimba Obutaliimu’ obw’Ensi
5. Abakristaayo abaasooka baali mu nsi efaanana etya?
5 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali mu nsi egoberera emitindo gy’Abaruumi n’Abayonaani. Ku luuyi olumu, bangi beegombanga obulamu bw’Abaruumi obw’okwejalabya. Ku luuyi olulala, abayivu ab’omu kiseera ekyo tebaatwalirizibwa ndowooza za Plato ne Aristotle zokka, naye era n’enjigiriza empya eza Abepikuliyo n’Abasutoyiiko. Omutume Pawulo bwe yajja mu Asene ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri, yayolekagana n’abafirosoofo Abepikuliyo n’Abasutoyiiko abaalowooza nti baali ba waggulu ku Pawulo gwe baayita ‘abujjabujjana.’—Ebikolwa 17:18.
6. (a) Abakristaayo abamu mu kyasa ekyasooka baakemebwa kukola ki? (b) Pawulo yawa kulabula ki?
6 N’olwekyo, si kizibu okutegeera lwaki abamu ku Bakristaayo abaasooka baasikirizibwa engeri ez’okweraga n’enneeyisa y’abantu abaali babeetoolodde. (2 Timoseewo 4:10) Abo abaali mu nteekateeka eyo kirabika nga baalina enkizo nnyingi, era bye baasalawo byalabika ng’eby’amagezi. Ensi yalabika ng’erimu ekintu eky’omuwendo ekitaali mu bulamu bwa Kikristaayo. Kyokka, omutume Pawulo yalabula: “Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu, okugobereranga eby’olubereberye eby’ensi, okutali kugoberera Kristo.” (Abakkolosaayi 2:8) Lwaki Pawulo yayogera ebigambo ebyo?
7. Amagezi ag’omu nsi ga mugaso kwenkana wa?
7 Pawulo yawa okulabula okwo kubanga yalaba akabi akaali koolekedde abo abaasikirizibwa ensi. Kyali kya makulu Pawulo okukozesa ebigambo ‘obufirosoofo n’obulimba obutaliimu.’ Ekigambo “obufirosoofo,” obutereevu kitegeeza “okuluubirira amagezi.” Ekyo ku bwakyo kiyinza okuba eky’omuganyulo. Mu butuufu, naddala mu kitabo eky’Engero, Baibuli ekubiriza okunoonya okumanya okutuufu n’amagezi. (Engero 1:1-7; 3:13-18) Kyokka, Pawulo yakozeseza wamu ekigambo “obufirosoofo” ‘n’obulimba obutaliimu.’ Kwe kugamba, Pawulo yatwala amagezi agaali mu nsi ng’agataliimu era ag’obulimba. Okufaananako baaluuni efuuyiddwamu ennyo omukka, gaalabika ng’agalimu ekintu, naye nga mu butuufu tegaalimu kintu kyonna kya mugaso. N’olwekyo, kyandibadde butaliimu, era kya kabi, okusalawo ekituufu n’ekikyamu ng’osinziira ku ‘bufirosoofo n’obulimba obutaliimu’ eby’omu nsi.
Abo Abagamba nti ‘Ekibi Kirungi n’Ekirungi nti Kibi’
8. (a) Abantu beeyuna baani okufuna amagezi? (b) Magezi ga ngeri ki agaweebwa?
8 Ebintu tebyawukana nnyo leero. Kumpi mu bintu byonna abantu bye bafuba okukola, waliwo abakugu bangi nnyo. Waliwo abawa amagezi ku maka n’obufumbo, abawandiika mu mpapula z’amawulire, abeeyita abasawo, abalaguza emmunyeenye, abasamize, n’abalala abeetegefu okuwa amagezi naye ng’olina ky’obasasula. Naye bawa magezi ga ngeri ki? Emirundi egisinga, emitindo gya Baibuli egikwata ku mpisa gisuulibwa muguluka ne bagoberera emitindo gy’empisa egiriwo. Ng’ekyokulabirako, nga lwogera ku kikolwa kya gavumenti eky’okugaana okuwandiisa ‘obufumbo obw’abantu ab’ekikula ekimu,’ olupapula lw’amawulire The Globe and Mail olw’omu Canada lugamba: “Kyewuunyisa nti mu mwaka 2000 abaagalana ng’abo bagaanibwa okukola kye baagala ennyo kubanga ba kikula kimu.” Ekiriwo leero kwe kukkiriza ekibaawo kyonna so si okukivumirira. Buli kintu kyonna kitwalibwa ng’ekisinziira ku ndowooza y’omuntu; n’olwekyo tewaliwo kintu kituufu oba kikyamu ddala.—Zabbuli 10:3, 4.
9. Abantu abassibwamu ekitiibwa batera kukola ki?
9 Abalala bakoppa abagagga n’abatutumufu nga basalawo. Wadde nga leero abagagga n’abatutumufu bassibwamu nnyo ekitiibwa, boogera bwogezi ku bwesigwa n’obwesige. Mu kunoonya obuyinza n’amagoba, bangi tebafaayo ku mateeka wadde emitindo gy’empisa. Okusobola okufuuka abatutumufu, abamu basuula muguluka emitindo gy’empisa ne bagoberera enneeyisa eyeesisiwaza. Ekivaamu be bantu abalowooza ku magoba gokka, abakkiriza buli kintu, era abagoberera eŋŋombo egamba nti “Buli kimu kikkirizibwa.” Kati olwo, kyewuunyisa nti abantu basobeddwa era tebamanyi kya kukola bwe kituuka ku kusalawo ekituufu n’ekikyamu?—Lukka 6:39.
10. Ebigambo bya Isaaya ebikwata ku kirungi n’ekibi bituukiridde bitya?
10 Ebibi ebiva mu kusalawo okutali kwa magezi okwesigamiziddwa ku bulagirizi obukyamu birabibwa wonna wonna gamba ng’obufumbo n’amaka okusattulukuka, okwekamirira amalagala n’omwenge, ebibinja by’abavubuka abeenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, obukaba, endwadde z’obukaba n’ebirala. Mazima ddala, twandisuubidde ebintu obutaba bwe bityo, ng’abantu basuula muguluka emitindo gy’empisa bwe kituuka ku kwawulawo ekituufu n’ekikyamu? (Abaruumi 1:28-32) Kino kifaananako ekyo nnabbi Isaaya kye yagamba: “Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n’ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky’omusana, n’omusana mu kifo ky’ekizikiza; abateeka okukaawa mu kifo ky’okuwoomerera, n’okuwoomerera mu kifo ky’okukaawa! Zibasanze abo abalina amagezi mu maaso gaabwe bo, era abakabakaba mu kulaba kwabwe bo!”—Isaaya 5:20, 21.
11. Lwaki si kya magezi okwesiga amagezi go mu kusalawo ekituufu n’ekikyamu?
11 Olw’okuba Katonda yavunaana Abayudaaya ab’edda abaafuuka ‘abagezi mu maaso gaabwe,’ kiraga nga bwe kiri ekikulu ennyo ffe obuteesiga magezi gaffe mu kusalawo ekituufu n’ekikyamu. Abantu bangi leero bagoberera endowooza egamba nti “wuliriza omutima gwo kye gugamba,” oba “kola ky’owulira nti kituufu.” Endowooza eyo ya magezi? Nedda. Baibuli egamba: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya?” (Yeremiya 17:9) Wandyesize omuntu omulimba okukuwa obulagirizi mu kusalawo kwo? N’akatono! Mu butuufu, tewandikoze ekyo omuntu oyo ky’akugamba. Eyo y’ensonga lwaki Baibuli etujjukiza: “Eyeesiga omutima gwe ye musirusiru: naye atambula n’amagezi ye aliwonyezebwa.”—Engero 3:5-7; 28:26.
Tuyige Katonda by’Ayagala
12. Lwaki kitwetaagisa okutegeerera ddala ‘Katonda by’ayagala’?
12 Okuva bwe tutasaanidde kwesiga magezi ga nsi wadde amagezi gaffe bwe kituuka ku kusalawo ekituufu n’ekikyamu, twandikoze ki? Weetegereze okubuulirira kuno okutegeerekeka obulungi okuva eri omutume Pawulo: “So temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2) Lwaki kitwetaagisa okutegeera Katonda by’ayagala? Mu Baibuli, Yakuwa awa ensonga ennungi ng’agamba: “Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.” (Isaaya 55:9) Bwe kityo, mu kifo ky’okwesigama ku magezi go oba enneewulira yo, tukubirizibwa: “Mukeber[e]nga Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri.”—Abaefeso 5:10.
13. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 17:3 biggumiza bitya obwetaavu bw’okumanya Katonda by’ayagala?
13 Yesu Kristo yaggumiza obwetaavu buno bwe yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, [okumanya] ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyasooka ekikyusiddwa “okumanya” kirina amakulu ag’omunda. Okusinziira ku Vine’s Expository Dictionary, ‘kitegeeza enkolagana wakati w’omuntu amanya n’ekyo ekimanyibwa; ku nsonga eno, ekimanyibwa kya muwendo oba kikulu nnyo eri oyo akimanya, era bwe kityo n’enkolagana eyo ya muwendo era nkulu.” Okubeera n’enkolagana n’omuntu kitegeeza ekisingawo ku kumanya obumanya omuntu oyo oba erinnya lye. Kitwaliramu okumanya by’ayagala n’ebyo by’atayagala, by’atwala ng’eby’omuwendo, n’emitindo gy’empisa gy’agoberera, era n’okubissaamu ekitiibwa.—1 Yokaana 2:3; 4:8.
Tutendeke Obusobozi Bwaffe obw’Okutegeera
14. Kiki Pawulo kye yagamba nti kyawulawo abato n’abakulu mu by’omwoyo?
14 Kati olwo, tuyinza tutya okufuna obusobozi bw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu? Ebigambo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya ab’omu kyasa ekyasooka bituwa eky’okuddamu. Yawandiika bw’ati: “Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto. Naye emmere enkalubo ya bakulu, abatendese obusobozi bwabwe obw’okutegeera nga babukozesa ne basobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” Wano Pawulo alaga enjawulo eriwo wakati ‘w’amata,’ ge yayise “ebisookerwako eby’olubereberye eby’ebigambo bya Katonda” mu lunyiriri olusooseewo, ne ‘mmere enkalubo,’ ‘ey’abantu abakulu abalina obusobozi bw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’—Abaebbulaniya 5:12-14, NW.
15. Lwaki kyetaagisa okukola ennyo okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda?
15 Okusooka, ekyo kitegeeza nti tuteekwa okukola ennyo okutegeera obulungi emitindo gya Katonda egiri mu Kigambo kye, Baibuli. Tetunoonya lukalala lwa biragiro ebiraga bye tulina okukola ne bye tutalina kukola. Baibuli teri bw’etyo. Wabula, Pawulo yannyonnyola: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuuli[ri]ra okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.” (2 Timoseewo 3:16, 17) Okuganyulwa mu kuyigiriza okwo, okunenya okwo, n’okukangavvula okwo, tuteekwa okukozesa obusobozi bwaffe obw’okutegeera. Kino kyetaagisa okufuba, naye kivaamu ‘okufuna byonna ebyetaagisa okukola omulimu omulungi,’ ekintu ekigwanira ddala.—Engero 2:3-6.
16. Kitegeeza ki okutendeka obusobozi bw’omuntu obw’okutegeera?
16 Olwo nno, nga Pawulo bwe yalaga, abantu abakulu mu by’omwoyo, ‘batendese obusobozi bwabwe obw’okutegeera okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’ Kati nno tutuuse ku kinyusi. Ebigambo, ‘okutendeka obusobozi obw’okutegeera,’ obutereevu bitegeeza nti ‘ebituyamba okutegeera bitendekeddwa (nga munnabyamizannyo).’ (Kingdom Interlinear Translation) Munnabyamizannyo alina obumanyirivu ayinza okukola ebintu eby’ekyewuunyo ku sipiidi ey’amaanyi. Omubiri gwe aba agufuga bulungi buli kiseera, era amanyi bulungi ky’ateekwa okukola asobole okutuukiriza ekikolwa ekyo eky’ekyewuunyo. Bino byonna biva mu kutendekebwa okw’amaanyi ate obutayosa.
17. Mu ngeri ki bwe twandibadde nga bannabyamizannyo?
17 Naffe tuteekwa okutendekebwa nga munnabyamizannyo mu ngeri ey’eby’omwoyo, singa twagala bye tusalawo okuba ebirungi. Buli kiseera tuteekwa okufuga ebirowoozo byaffe n’omubiri. (Matayo 5:29, 30; Abakkolosaayi 3:5-10) Ng’ekyokulabirako, ofuga amaaso go obutalaba bintu bya bugwenyufu oba amatu go obutawuliriza nnyimba n’enjogera embi? Kyo kituufu nti ebintu ng’ebyo ebitazimba bitwetoolodde. Kyokka, kiri eri ffe obanga bisimba amakanda mu mitima n’ebirowoozo byaffe. Tuyinza okukoppa omuwandiisi wa Zabbuli eyawandiika: “Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: nkyawa omulimu gw’abo abakyama; tegwegattenga nange. . . . Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange.”—Zabbuli 101:3, 7.
Tendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera ng’Obukozesa
18. Ebigambo ‘okukozesa’ bitegeeza ki mu nnyinnyonnyola ya Pawulo ekwata ku kutendeka obusobozi bw’omuntu obw’okutegeera?
18 Kijjukire nti obusobozi bwaffe obw’okutegeera tubutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu nga ‘tubukozesa.’ Kwe kugamba, buli lwe tuba n’eky’okusalawo, tuyige okukozesa obusobozi bwaffe obw’okutegeera tusobole okumanya emisingi gya Baibuli egizingirwamu era n’engeri gye giyinza okukozesebwamu. Kifuule mpisa yo okunoonyerezanga mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebituweebwa okuyitira ‘mu muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45) Kya lwatu tuyinza okunoonya obuyambi obw’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Wadde kiri kityo, bwe tufuba okuyiga Ekigambo kya Katonda, awamu n’okusaba Yakuwa okutuwa obulagirizi n’omwoyo gwe, tujja kufuna emiganyulo mingi mu nkomerero.—Abaefeso 3:14-19.
19. Tunaafuna mikisa ki singa tweyongera okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera?
19 Nga tweyongera okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera, ekiruubirirwa kyandibadde “tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey’okuyigiriza, mu bukuusa bw’abantu, mu nkwe, olw’okugoberera okuteesa okw’obulimba.” (Abaefeso 4:14) Wabula, okusinziira ku kumanya n’okutegeera kwe tulina okukwata ku Katonda by’ayagala, tuyinza okusalawo mu ngeri ey’amagezi, ku bintu ebinene n’ebitono ebituganyula, ebizimba basinza bannaffe, era n’okusinga byonna ebisanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. (Engero 27:11) Ng’ogwo mukisa gwa maanyi era bukuumi bwa maanyi mu biro bino eby’okulaba ennaku!
[Obugambo obuli wansi]
a Mu lukalala olw’ebintu ebisukka mu 40 ebisinga okweraliikiriza abantu, olwategekebwa abasawo Thomas Holmes ne Richard Rahe, okufa kwa munno mu bufumbo, okugattulula obufumbo, n’okwawukana, bye biri mu bifo ebisatu ebisooka. Okufumbiriganwa kukwata kifo kya musanvu.
Oyinza Okunnyonnyola?
• Busobozi ki obwetaagisa okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
• Lwaki si kya magezi okwesiga abantu abatutumufu oba enneewulira zaffe mu kusalawo ekituufu n’ekikyamu?
• Lwaki twandisoose kutegeerera ddala ekyo Katonda ky’ayagala nga tetunnasalawo, era tuyinza kukikola tutya?
• Kitegeeza ki ‘okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Okutunuulira abagagga n’abatutumufu okufuna obulagirizi tekivaamu kalungi konna
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okufaananako munnabyamizannyo, tusaanidde okufuga omubiri gwaffe gwonna