Ku Kugumiikiriza Kwo Gattako Okwemalira ku Katonda
“Ku kukkiriza kwammwe [mwongereko] . . . okugumiikiriza, ku kugumiikiriza kwammwe okwemalira ku Katonda.”—2 PEETERO 1:5, 6, NW.
1, 2. (a) Omwana asuubirwa kukula mu ngeri ki? (b) Okukula mu by’omwoyo kukulu kwenkana wa?
OKUKULA kukulu nnyo eri omwana, naye okukula mu mubiri si kwe kwokka okwetaagisa. Omwana era aba asuubirwa okukula mu birowoozo. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omwana alekayo engeri z’ekito n’afuuka omuntu omukulu. Omutume Pawulo yayogera ku nsonga eno bwe yawandiika: “Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnategeeranga ng’omuto, nnalowoozanga ng’omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby’obuto.”—1 Abakkolinso 13:11.
2 Ebigambo bya Pawulo byoleka ensonga enkulu ekwata ku kukula mu by’omwoyo. Abakristaayo tebalina kusigala nga bato mu by’omwoyo, wabula balina okukulaakulana ne bafuuka ‘abakulu mu kutegeera.’ (1 Abakkolinso 14:20) Balina okufuba okutuuka ku “kigera eky’obukulu obw’okutuukirira kwa Kristo.” Olwo nno, baba tebajja ‘kubeera ng’abaana abato, abayuugana nga batwalibwanga buli mpewo ey’okuyigiriza.’—Abaefeso 4:13, 14.
3, 4. (a) Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okufuuka abakulu mu by’omwoyo? (b) Ngeri ki ezisanyusa Katonda ze tulina okwoleka, era nkulu kwenkana wa?
3 Tuyinza tutya okufuuka abakulu mu by’omwoyo? Wadde nga mu mbeera eza bulijjo okukula mu mubiri kujjawo kwokka, okukula mu by’omwoyo kwetaagisa okufuba. Kutandika ng’ofuna okumanya okutuufu okukwata ku Kigambo kya Katonda era n’okolera ku by’oyiga. (Abaebbulaniya 5:14; 2 Peetero 1:3) Ekyo, kitusobozesa okwoleka engeri ezisanyusa Katonda. Okufaananako ebitundu by’omubiri ebikulira awamu, n’engeri ezisanyusa Katonda ezitali zimu zikulaakulanyizibwa mu kiseera kye kimu. Omutume Peetero yawandiika: “Nga mufuba mu bwesimbu, mwongere ku kukkiriza kwammwe obulungi, ku bulungi bwammwe okumanya, ku kumanya kwammwe okwefuga, ku kwefuga kwammwe okugumiikiriza, ku kugumiikiriza kwammwe okwemalira ku Katonda, ku kwemalira kwammwe ku Katonda okwagala ab’oluganda, ku kwagala ab’oluganda kwammwe okwagala.”—2 Peetero 1:5-7, NW.
4 Buli ngeri Peetero gy’amenya nkulu nnyo, era tewali n’emu eyinza kubuusibwa maaso. Agattako: “Bwe muba n’ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n’ababala ebibala olw’okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.” (2 Peetero 1:8) Ka twekkaanye ensonga lwaki okwemalira ku Katonda twandikugaseeko okugumiikiriza.
Obwetaavu bw’Okugumiikiriza
5. Lwaki twetaaga okugumiikiriza?
5 Bombi Peetero ne Pawulo bakwataganya okwemalira ku Katonda n’okugumiikiriza. (1 Timoseewo 6:11, NW) Okugumiikiriza kusingawo ku kuba omugumu ng’olina ebizibu n’okusigala ng’oli mumalirivu. Kuzingiramu obuvumu, obunywevu n’obutaggwaamu ssuubi ng’oyolekaganye n’okugezesebwa, okukemebwa oba okuyigganyizibwa. Olw’okuba ‘twemalira ku Katonda okuyitira mu Kristo,’ tusuubira okuyigganyizibwa. (2 Timoseewo 3:12, NW) Tuteekwa okugumiikiriza okusobola okukakasa nti twagala Yakuwa era n’okukulaakulanya engeri ezinaatusobozesa okufuna obulokozi. (Abaruumi 5:3-5; 2 Timoseewo 4:7, 8; Yakobo 1:3, 4, 12) Awatali kugumiikiriza, tetuyinza kufuna bulamu butaggwaawo.—Abaruumi 2:6, 7; Abaebbulaniya 10:36.
6. Okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero kutegeeza ki?
6 Ne bwe tuba nga tutandise bulungi tutya mu by’omwoyo, ekisinga obukulu kwe kubeera abagumiikiriza. Yesu yagamba: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.” (Matayo 24:13) Yee, tulina okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero, k’ebeere enkomerero y’obulamu bwaffe oba ey’embeera zino ez’ebintu. Mu buli ngeri, tuteekwa okubeera abagolokofu mu maaso ga Katonda. Kyokka, bwe tutagatta kwemalira ku Katonda ku bugumiikiriza bwaffe, tetuyinza kusanyusa Yakuwa, era tetujja kufuna bulamu butaggwaawo. Naye, okwemalira ku Katonda kye ki?
Amakulu g’Okwemalira ku Katonda
7. Okwemalira ku Katonda kye ki, era kutukubiriza kukola ki?
7 Mu Baibuli, okwemalira ku Katonda kwe kumussaamu ekitiibwa, okumusinza n’okumuweereza nga tuwagira obufuzi bwe obw’obutonde bwonna. Okusobola okwemalira ku Katonda, twetaaga okumumanya obulungi wamu n’amakubo ge. Twandibadde twagalira ddala okumanya Katonda. Ekyo kijja kutusobozesa okumufuula mukwano gwaffe, era kijja kweyoleka mu bulamu bwaffe. Twandyagadde nnyo okukoppa amakubo ga Yakuwa n’engeri ze. (Abaefeso 5:1) Mazima ddala, okwemalira ku Katonda kutukubiriza okwagala okumusanyusa mu byonna bye tukola.—1 Abakkolinso 10:31.
8. Kakwate ki akaliwo wakati w’okwemalira ku Katonda n’okumusinza yekka?
8 Okusobola okwemalira ku Katonda, tuteekwa kusinza Yakuwa yekka, nga tetukkiriza kintu kyonna kutwala kifo kye mu mitima gyaffe. Ng’Omutonzi waffe, atwetaaza okumwagala era n’okumuweereza yekka. (Ekyamateeka 4:24; Isaaya 42:8) Wadde kiri kityo, Yakuwa tatukaka kumusinza. Ayagala tumwemalireko kyeyagalire. Okwagala kwe tulina eri Katonda, okwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu, kwe kutukubiriza okulongoosa obulamu bwaffe n’okwewaayo gyali era ne tutuukiriza okwewaayo okwo.
Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda
9, 10. Tuyinza tutya okufuna era ne tunyweza enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda?
9 Oluvannyuma lw’okwewaayo eri Katonda n’okubatizibwa, tuba tukyetaaga okunyweza enkolagana yaffe naye. Okwagala okukola ekyo n’okumuweereza n’obwesigwa kitukubiriza okweyongera okuyiga Ekigambo kye n’okukifumiitirizaako. Bwe tuleka omwoyo gwa Katonda okukolera mu birowoozo byaffe n’emitima gyaffe, okwagala kwaffe gy’ali kweyongera. Enkolagana yaffe naye efuuka ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Tutwala Yakuwa okuba mukwano gwaffe asingayo era nga twagala okumusanyusa buli kiseera. (1 Yokaana 5:3) Enkolagana yaffe ne Katonda yeeyongera okunywera, era tusanyuka nnyo olw’okuba atuyigiriza era n’atuwabula we kiba kyetaagisa.—Ekyamateeka 8:5.
10 Bwe tutafuba kunyweza nkolagana yaffe ey’omuwendo ne Yakuwa, eyinza okunafuwa. Singa ekyo kibaawo, teba nsobi ya Katonda, kubanga “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti si kizibu okutuukirira Yakuwa! (1 Yokaana 5:14, 15) Kya lwatu, tulina okufuba okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Era, atuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye ng’atukolera enteekateeka zonna ze twetaaga okusobola okumwemalirako. (Yakobo 4:8) Tuyinza tutya okukozesa mu bujjuvu enteekateeka zino zonna ez’okwagala?
Beera Munywevu mu by’Omwoyo
11. Bintu ki ebimu ebiraga nti twemalidde ku Katonda?
11 Okwagala kwaffe okungi eri Katonda kujja kutukubiriza okumwemalirako, nga kituukana n’okubuulirira kwa Pawulo: “Fubanga okusiimibwa mu maaso ga Katonda, okuba omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.” (2 Timoseewo 2:15, NW) Okusobola okukituukiriza kyetaagisa okubeera n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Baibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Era tuyinza okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa nga ‘tusaba obutayosa.’ (1 Abasessaloniika 5:17) Ebyo bikolwa ebyoleka nti twemalidde ku Katonda. Bwe tulagajjalira ebimu ku byo kiyinza okutuviirako okulwala mu by’omwoyo era ne tuba mu kabi ak’okutwalirizibwa enkwe za Setaani.—1 Peetero 5:8.
12. Tuyinza tutya okwaŋŋanga okugezesebwa?
12 Okusigala nga tuli banywevu era nga tutunula mu by’omwoyo kituyamba okwaŋŋanga okugezesebwa okuyinza okutujjira. Okugezesebwa kuyinza okusibuka ku bintu bingi. Obuteefiirayo, okuziyizibwa n’okuyigganyizibwa biba bizibu okugumira bwe biva eri ab’omu maka gaffe, ab’eŋŋanda oba baliraanwa. Tuyinza okupikirizibwa okwekkiriranya emisingi gyaffe egy’Ekikristaayo ku mirimu gye tukolera oba ku ssomero. Okuggwaamu amaanyi, obulwadde n’okwenyamira biyinza okutunafuya mu mubiri ne kitubeerera kizibu okwaŋŋanga embeera ezigezesa okukkiriza kwaffe. Naye tuyinza okwaŋŋanga okugezesebwa kwonna singa tunyiikirira ‘empisa entukuvu n’okutyanga Katonda, nga tusuubira era nga twegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka.’ (2 Peetero 3:11, 12) Era tuyinza okusigala nga tuli basanyufu, nga tuli bakakafu nti Katonda ajja kutuwa emikisa.—Engero 10:22.
13. Kiki kye tuteekwa okukola bwe tuba ab’okweyongera okwemalira ku Katonda?
13 Wadde nga Setaani alumba abo abeemalira ku Katonda, tetulina kutya. Lwaki? Kubanga ‘Yakuwa amanyi okulokola abamutya mu kukemebwa.’ (2 Peetero 2:9) Okusobola okugumira okugezesebwa era n’okununulibwa mu ngeri eyo, tuteekwa ‘okutya Katonda wamu n’okulekayo okwegomba okw’omu nsi. Era tulina okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu nga twenyigira mu bikolwa eby’obutuukirivu era nga twemalira ku Katonda.’ (Tito 2:12, NW) Ng’Abakristaayo, tuteekwa okwegendereza, okwegomba okw’omubiri n’ebikolwa byaffe bireme okutulemesa okwemalira ku Katonda. Ka tulabe ebimu ku ebyo ebiyinza okutulemesa.
Weesambe Ebiyinza Okukulemesa Okwemalira ku Katonda
14. Kiki kye tulina okujjukira singa tutwalirizibwa omutego ogw’okwagala ennyo ebintu?
14 Okwagala ennyo ebintu mutego eri bangi. Tuyinza okwerimba ne ‘tulowooza nti tuyinza okufuna ebintu okuyitira mu kwemalira ku Katonda.’ N’olw’ensonga eyo, tuyinza okugezaako okukozesa bakkiriza bannaffe okwefunira ebintu. (1 Timoseewo 6:5) Era tuyinza okulowooza mu bukyamu nti kituufu okusaba muganda waffe Omukristaayo eyeesobola okutuwola ssente ng’ate tukimanyi nti ziyinza okutulema okusasula. (Zabbuli 37:21) Naye, okwemalira ku Katonda, so si okufuna ebintu kwe ‘kutuwa essuubi ery’omu bulamu buno n’ery’obwo obugenda okujja.’ (1 Timoseewo 4:8) Okuva bwe ‘tutaaleeta kintu mu nsi era nga tetulina kye tuyinza kugiggyamu,’ tweyongere ‘okwemalira ku Katonda’ nga tuli ‘bamativu n’emmere n’eby’okwambala.’—1 Timoseewo 6:6-11.
15. Kiki kye tuyinza okukola singa okunoonya eby’amasanyu kutulemesa okwemalira ku Katonda?
15 Okunoonya eby’amasanyu kiyinza okutulemesa okwemalira ku Katonda. Kyandiba nga twetaaga okukola enkyukakyuka mu nsonga eno? Kyo kituufu nti tuyinza okuganyulwa mu kuzannya emizannyo n’okwesanyusaamu. Kyokka, emiganyulo ng’egyo mitono nnyo bw’ogigeraageranya n’obulamu obutaggwaawo. (1 Yokaana 2:25) Leero, bangi ‘baagala amasanyu okusinga Katonda, nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda naye nga beegaana amaanyi gaakwo,’ era twetaaga okwewala abantu ng’abo. (2 Timoseewo 3:4, 5) Abo abeemalira ku Katonda, “beeteekerateekera ebiseera eby’omu maaso, basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.”—1 Timoseewo 6:19, NW.
16. Kwegomba ki okubi okulemesa abamu okugoberera emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, era tuyinza tutya okwesamba okwegomba okwo?
16 Obutamiivu, okunywa enjaga, ebikolwa eby’obuseegu n’okwegomba okubi biyinza okutulemesa okwemalira ku Katonda. Bwe tukkiriza okutwalirizibwa ebintu bino kiyinza okutulemesa okutuukana n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (1 Abakkolinso 6:9, 10; 2 Abakkolinso 7:1) Ne Pawulo yalina olutalo n’omubiri gwe omwonoonyi. (Abaruumi 7:21-25) Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okwemaliramu ddala okwegomba okubi. Okusooka, tuteekwa okuba abamalirivu okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa. Pawulo atugamba: “Mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw’ensonyi, omululu omubi n’okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi.” (Abakkolosaayi 3:5) Okufiisa ebitundu byaffe eby’omubiri ku bikwata ku bintu ng’ebyo ebibi kyetaagisa obumalirivu okusobola okubyesambira ddala. Okusaba Katonda mu bwesimbu kijja kutuyamba okwesambira ddala okwegomba okubi, okunoonya obutuukirivu n’okwemalira ku Katonda mu mbeera z’ebintu zino embi.
17. Twanditunuulidde tutya okukangavvula?
17 Okuggwaamu amaanyi kuyinza okutunafuya era ne kutulemesa okwemalira ku Katonda. Abaweereza ba Yakuwa bangi bayinza okuggwaamu amaanyi ebiseera ebimu. (Okubala 11:11-15; Ezera 4:4; Yona 4:3) Bwe tuba tuweddemu amaanyi ate ne batunyiiza, oba ne batukangavvula, kiyinza okutuyisa obubi ennyo. Kyokka, okukangavvulwa n’okunenyezebwa biraga nti Katonda atwagala era nti atufaako. (Abaebbulaniya 12:5-7, 10, 11) Okukangavvulwa tekwanditwaliddwa ng’okubonerezebwa naye ng’engeri y’okututendeka mu kkubo ery’obutuukirivu. Bwe tuba abeetoowaze, tujja kusiima era tukkirize okubuulirirwa, nga tukitegeera nti ‘okunenya n’okukangavvula kkubo lya bulamu.’ (Engero 6:23) Kino kiyinza okutuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo era n’okwemalira ku Katonda.
18. Tulina buvunaanyizibwa ki bwe wajjawo obutategeeragana?
18 Obutategeeragana buyinza okutulemesa okwemalira ku Katonda. Buyinza okutweraliikiriza oba ne buleetera abamu okweyawula ku bakkiriza bannaabwe, ekintu ekitali ky’amagezi. (Engero 18:1) Kyokka, kirungi okujjukira nti okunyiiga n’okusiba ekiruyi kiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Eby’Abaleevi 19:18) Mu butuufu, “atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw’atalabangako tayinza kumwagala.” (1 Yokaana 4:20) Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yaggumiza obukulu bw’okubaako ky’okolawo amangu ddala okumalawo obutategeeragana. Yagamba bw’ati abamuwuliriza: “Kale, bw’obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw’oyima eyo n’omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, leka awo ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.” (Matayo 5:23, 24) Okwetonda kuyinza okuviirako okutabagana n’oyo gw’olumiza mu bigambo oba mu bikolwa. Tuyinza okugonjoola ekizibu era enkolagana ennungi n’eddawo singa tusaba okusonyiyibwa era ne tukkiriza ensobi yaffe. Yesu yawa okubuulirira okulala ku kugonjoola ebizibu. (Matayo 18:15-17) Nga tuba basanyufu nnyo singa tugonjoola ebizibu bye tuba nabyo!—Abaruumi 12:18; Abaefeso 4:26, 27.
Koppa Ekyokulabirako kya Yesu
19. Lwaki kikulu nnyo okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?
19 Kyo kituufu nti tujja kugezesebwa, naye okugezesebwa tekutuggya mu mbiro z’obulamu obutaggwaawo. Jjukira nti Yakuwa asobola okutulokola okuva mu kugezesebwa. Bwe ‘tweyambulako buli ekizitowa’ era ne ‘tudduka n’okugumiikiriza embiro ezituli mu maaso,’ tufube ‘okutunuulira Yesu yekka omukulu w’okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo.’ (Abaebbulaniya 12:1-3) Bwe twekkaanya ekyokulabirako kya Yesu ne tufuba okumukoppa mu bigambo era ne mu bikolwa kijja kutuyamba okwemalira ku Katonda mu bujjuvu.
20. Miganyulo ki egiva mu kugumiikiriza n’okwemalira ku Katonda?
20 Okugumiikiriza n’okwemalira ku Katonda byetaagisa okusobola okufuna obulokozi. Bwe twoleka engeri zino ez’omuwendo, tujja kuba banyiikivu mu buweereza bwaffe eri Katonda. Ne bwe tuba nga tugezesebwa, tujja kufuna essanyu kubanga Yakuwa atulaga okwagala era n’atuwa emikisa gye olw’okubeera abagumiikiriza era n’okumwemalirako. (Yakobo 5:11) Ate era, Yesu kennyini atukakasa: “Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.”—Lukka 21:19.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki okugumiikiriza kukulu?
• Okwemalira ku Katonda kye ki, era kwolesebwa kutya?
• Tuyinza tutya okufuna era ne tukuuma enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda?
• Bintu ki ebiyinza okutulemesa okwemalira ku Katonda, era tuyinza tutya okubyewala?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8, 9]
Okwemalira ku Katonda kwolesebwa mu ngeri nnyingi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Weesambe ebiyinza okukulemesa okwemalira ku Katonda