1 Peetero
5 Kaakano mbuulirira abakadde abali mu mmwe, kubanga nange ndi mukadde munnaabwe eyalaba okubonaabona kwa Kristo era agenda okugabana ku kitiibwa ekigenda okubikkulwa:+ 2 Mulundenga ekisibo kya Katonda+ ekyabakwasibwa, nga mukola ng’abalabirizi, si lwa buwaze, wabula nga mukikola kyeyagalire mu maaso ga Katonda;+ era si lwa kwagala kubaako bye mwefunira,+ naye lwa kwagala kuweereza; 3 era nga temukajjala ku abo Katonda b’alinako obwannannyini,+ naye nga muba byakulabirako eri ekisibo.+ 4 Omusumba omukulu+ bw’alirabisibwa, mulifuna engule ey’ekitiibwa etayonooneka.+
5 Nammwe abavubuka, mugonderenga abasajja abakadde.+ Naye mmwenna mwambale* obwetoowaze nga mukolagana n’abalala, kubanga Katonda alwanyisa ab’amalala naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.+
6 N’olwekyo, mwetoowaze wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, alyoke abagulumize ng’ekiseera kituuse;+ 7 nga mumukwasa* byonna ebibeeraliikiriza+ kubanga abafaako.+ 8 Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala.+ Omulabe wammwe Omulyolyomi atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.+ 9 Mumuziyizenga+ nga muli banywevu mu kukkiriza, nga mumanyi nti ne baganda bammwe bonna mu nsi boolekagana n’okubonaabona kwe kumu kwe mwolekagana nakwo.+ 10 Naye bwe munaamala okubonaabona okumala akaseera katono, Katonda ensibuko y’ebikolwa byonna eby’ekisa eky’ensusso, eyabayita okujja eri ekitiibwa kye eky’emirembe n’emirembe+ okuyitira mu Kristo, ajja kumaliriza okutendekebwa kwammwe. Ajja kubanyweza,+ ajja kubafuula ba maanyi,+ era ajja kubateeka ku musingi omugumu. 11 Oyo abeere n’amaanyi emirembe n’emirembe. Amiina.
12 Okuyitira mu w’oluganda Siruvano*+ gwe mmanyi nga mwesigwa, mbawandiikidde ebigambo bitono okubazzaamu amaanyi n’okubakakasa nti kino kye kisa kya Katonda eky’ensusso eky’amazima. Mukinywereremu. 13 Omukazi ali e Babulooni, eyalondebwa nga mmwe, abalamusizza, era ne Makko+ omwana wange. 14 Mulamusagane n’okunywegera okw’okwagala.
Mmwenna abagoberezi ba Kristo mubeere n’emirembe.