Oyinza Otya Okuba n’Endowooza Entuufu Ekwata ku Ssente?
Okwagala essente n’okwegomba eby’obugagga si kippya, era ne Baibuli ebyogerako. Ebintu ebyo byava dda nnyo. Mu Mateeka ga Musa, Katonda yalagira Abaisiraeri: “Teweegombanga ennyumba ya muntu munno . . . newakubadde buli kintu ekya muntu munno.”—Okuva 20:17.
OKWAGALA essente n’eby’obugagga byaliwo mu kiseera kya Yesu. Weekenneenye bino ebyaliwo nga Yesu ayogera n’omusajja ‘omugagga’: “Yesu . . . n’amugamba nti [okyabulako] kimu; tunda by’oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere. Naye bwe yawulira ebyo n’anakuwala nnyo; kubanga yali mugagga nnyo.”—Lukka 18:22, 23.
Endowooza Entuufu Ekwata ku Ssente
Kyokka, kyandibadde kikyamu okugamba nti Baibuli evumirira essente oba ebyo bye zisobola okukola. Baibuli ekiraga nti essente ziyamba mu kugonjoola ebizibu ebijjawo olw’obwavu, bwe kityo ne kisobozesa abantu okufuna bye beetaaga. Kabaka Sulemaani yawandiika: “Amagezi kigo, nga ffeeza bw’eri ekigo.” Era n’agattako: ‘Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n’omwenge gusanyusa obulamu: naye essente ze zikola ku byetaago byonna.’—Omubuulizi 7:12; 10:19, NW.
Okukozesa essente obulungi kisiimibwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba: “Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu [“n’eby’obugagga ebitali bituukirivu,” NW].” (Lukka 16:9) Kino kitwaliramu okutona okuwagira okusinza kwa Katonda okw’amazima, kubanga twandyagadde Katonda abeere Mukwano gwaffe. Sulemaani kennyini, ng’agoberera ekyokulabirako kya kitaawe Dawudi, yawaayo ssente nnyingi nnyo n’eby’obugagga okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. Ekirala Abakristaayo kye balagirwa okukola, kwe kuwa abo abali mu bwetaavu ebyetaago eby’omubiri. Pawulo yagamba: “Mugabirenga abatukuvu bye beetaaga.” Awo n’ayongerezaako: “Mwanirizenga abagenyi.” (Abaruumi 12:13) Bulijjo kino kitwaliramu okusaasaanya ssente. Kyokka, kiri kitya ku kwagala essente?
‘Okwagala Effeeza’
Pawulo bwe yali ng’awandiikira Mukristaayo munne omuto Timoseewo, yayogera nnyo ku ‘kwagala essente’ oba ‘okwagala effeeza.’ Okulabula kwa Pawulo kusangibwa mu 1 Timoseewo 6:6-19. “Okwagala essente,” kimu ku bintu ebingi Pawulo bye yayogerako ng’ayogera ku by’obugagga. Olw’okuba essente zikulembezebwa nnyo ennaku zino, ye nsonga lwaki tugwanidde okwekenneenya ebigambo bya Pawulo ebyaluŋŋamizibwa. Awatali kubuusabuusa okwekenneenya okwo kwa muganyulo kubanga, kubikkula ekyama ‘ky’okunywezaamu obulamu obwa nnamaddala.’
Pawulo alabula: “Kubanga okwagala ebintu [“essente,” NW] kye kikolo ky’ebibi byonna; waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.” (1 Timoseewo 6:10) Ekyawandiikibwa kino era n’ebirala tebiraga nti ssente mbi. Era omutume Pawulo tagamba nti ekintu ekikulu ekireeta ‘ennaku ennyingi’ ze ssente oba nti ssente ze ziviirako buli kizibu kyonna. Wabula, okwagala essente kuyinza okuleeta ‘ennaku ennyingi,’ wadde nga si kye kyokka ekiyinza okuviirako ennaku eyo.
Weewale Omulugube
Olw’okuba ssente zennyini tezivumirirwa mu Byawandiikibwa, ekyo tekyandituleetedde butafaayo ku kulabula kwa Pawulo. Abakristaayo abaagala ennyo essente bayinza okutuukibwako ebizibu eby’enjawulo, nga n’ekisingayo obubi kwe kuva mu mazima. Obutuufu bwa kino bukakasibwa ekyo Pawulo kye yayogera eri Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi: “Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; . . . omululu omubi, n’okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi.” (Abakkolosaayi 3:5) Okuyaayaana n’omululu, oba ‘okwagala essente,’ biyinza bitya okubeera okusinza ebifaananyi? Kino kitegeeza nti kibi okwagala ennyumba ennene, emmotoka empya, n’omulimu ogusasula okusingawo? Nedda! Ebintu bino si bibi ku bwabyo. Wabula ekibuuzo kiri: Kiki ekikubiriza omuntu okwagala ebintu ebyo, era mazima ddala abyetaaga?
Enjawulo eri wakati w’okwegomba okwa bulijjo n’omulugube, eyinza okugeraageranyizibwa ku muliro ogufumba emmere n’ogwo ogusaanyawo ekibira. Okwegomba okulungi kuyinza okuba okw’omuganyulo. Kutukubiriza okukola era n’okwetuusaako bye twetaaga. Engero 16:26, (NW) lugamba: “Omukozi omunyiikivu akola n’amaanyi, kubanga akamwa ke kamukubiriza.” Naye omulugube gw’akabi era guzikiriza. Omulugube kwe kwegomba okutayinza kufugibwa.
Okufuga okwegomba kw’essente kintu kikulu nnyo. Essente ze tukuŋŋaanya n’eby’obugagga bye twagala binaakola ku byetaago byaffe oba ebyetaago byaffe binaatufuula abaddu b’essente? Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti okubeera ‘ow’omululu kitegeeza okuba asinza ebifaananyi.’ (Abaefeso 5:5, NW) Okubeera n’omulugube ku kintu kitegeeza nti twewaddeyo eri ekintu ekyo okutufuga, ne tukifuula katonda waffe, ekintu kye tuweereza. Okwawukana ku ekyo, Katonda agamba: “Tobanga na bakatonda balala we ndi.”—Okuva 20:3.
Era ffe okubeera n’omulugube kiba kiraga nti tetwesiga kisuubizo kya Katonda eky’okutuwa bye twetaaga. (Matayo 6:33) N’olwekyo, okubeera n’omulugube kyenkanankana n’okuva ku Katonda. Ne mu ngeri eno, kiba ‘kusinza bifaananyi.’ Tekyewuunyisa nti Pawulo atulabula okugwewala!
Ne Yesu yalabula butereevu ku mulugube. Yatulagira obuteegomba ebyo bye tutalina: “N’abagamba nti Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw’omuntu si by’ebintu ebingi by’aba nabyo.” (Lukka 12:15) Okusinziira ku lunyiriri luno n’olugero oluddirira, omulugube gwesigamiziddwa ku ndowooza egamba mbu ekikulu mu bulamu bw’omuntu by’ebintu ebingi by’aba nabyo. Biyinza okuba essente, ekitiibwa, obuyinza oba ebintu ebifaananako ebyo. Kisoboka okubeera n’omulugube ku kintu kyonna ekisobola okufunibwa. Tuyinza okulowooza nti tujja kubeera bamativu singa tufuna ebintu ebyo. Naye okusinziira ku Baibuli n’ebyo omuntu byayiseemu, Katonda yekka y’asobola era yajja okukola ku byetaago byaffe, nga Yesu bwe yagamba abayigirizwa be.—Lukka 12:22-31.
Abantu ab’akakyo kano abeemalidde ennyo ku kutunda n’okugula ebyamaguzi, bakubiriza omulugube. Abantu bangi ababuzaabuziddwa ebintu ebitali bimu, batuuse ku kusalawo nti ebintu bye balina tebibamala. Beetaaga ebintu ebisingawo obungi era n’okulabika obulungi. Wadde nga tetuyinza kukyusa mbeera etwetoolodde, ffe kinnoomu tuyinza tutya okuziyiza omwoyo ogwo?
Obumativu n’Omulugube
Pawulo ayogera ku kyandizze mu kifo ky’omulugube. Ekintu ekyo bwe bumativu. Agamba: “Naye bwe tuba n’emmere n’eby’okwambala, ebyo binaatumalanga.” (1 Timoseewo 6:8) Bw’agamba nti bye twetaaga ‘y’emmere n’eby’okwambala,’ kiyinza okulabika ng’obutamanya biri mu nsi. Abantu bangi balaba programu za ttivi eziraga abantu ababeera mu bulamu obulungi. Naye eyo si ye ngeri y’okufunamu okumatira.
Kya lwatu nti abaweereza ba Katonda tebateekeddwa kubeera mu bwavu. (Engero 30:8, 9) Kyokka, Pawulo atujjukiza okubeera omwavu kye kitegeeza: obutaba na mmere, eby’okwambala, n’aw’okusula awalungi. Ku luuyi olulala, bwe tuba n’ebintu ebyo, tugwanidde okubeera abamativu.
Naye Pawulo yali mwesimbu ku ebyo bye yayogera eby’okubeera omumativu? Ddala kisoboka okubeera omumativu n’ebintu ebisookerwako, gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula? Pawulo ateekwa okuba nga yali amanyi. Yaliko omugagga era yafuna n’enkizo ez’amaanyi mu Bayudaaya n’olw’okubeera omutuuze Omuruumi. (Ebikolwa 22:28; 23:6; Abafiripi 3:5) Era, Pawulo yabonaabona mu buweereza bwe ng’omuminsani. (2 Abakkolinso 11:23-28) Mu mbeera ezo zonna, yayiga ekyama ekyamuyamba okusigala nga mumativu. Ky’ali kyama ki?
‘Njize Ekyama’
Pawulo yannyonnyola mu emu mu bbaluwa ze: “Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n’ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n’ebingi era n’okuba mu bwetaavu.” (Abafiripi 4:12) Pawulo ayogera nga yeekakasa! Kyangu okulowooza nti Pawulo we yawandiikira ebigambo ebyo obulamu bwe bwali bulungi. Naye si bwe kyali. Yali mu kkomera mu Rooma!—Abafiripi 1:12-14.
Nga tumaze okutegeera ebyo ebyaliwo, olunyiriri luno lwogera ku kubeera abamativu si n’ebyo bye tulina byokka, naye era ne mu mbeera ze tulimu. Okubeera abagagga ba bifeekeera oba abaavu lunkupe kiyinza okutugezesa bwe kituuka ku bye tulina okukulembeza. Pawulo yayogera ku bintu eby’omwoyo ebyamusobozesa okubeera omumativu mu mbeera yonna: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Mu kifo ky’okwesiga ebintu bye yalina, ka bibeere nga byali bitono oba bingi, oba embeera gye yalimu, k’ebeere nga yali nnungi oba mbi, Pawulo yeesiga Katonda okukola ku bwetaavu bwe. Ekyavaamu kyali obumativu.
Ekyokulabirako kya Pawulo kyali kikulu nnyo eri Timoseewo. Pawulo yakubiriza Timoseewo okweyisa mu ngeri eraga nti akulembeza okwemalira ku Katonda mu kifo ky’obugagga. Pawulo yagamba: “Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.” (1 Timoseewo 6:11) Ebigambo ebyo byawandiikirwa Timoseewo, naye bikwata ku buli muntu ayagala okugulumiza Katonda era n’okubeera mu bulamu obw’essanyu.
Timoseewo yali yeetaaga okwekuuma omulugube nga bwe kiri eri buli Mukristaayo. Kirabika mu kibiina ky’Efeso, Timoseewo kye yalimu ekiseera Pawulo we yamuwandiikira, mwalimu ab’oluganda abagagga. (1 Timoseewo 1:3) Pawulo yajja mu kibuga kino omwali eby’obugagga ng’aleetedde abantu baamu amawulire amalungi agakwata ku Kristo, era bangi baafuuka Abakristaayo. Awatali kubuusabuusa, bangi ku bo baali bagagga nga bwe kiri eri abamu mu kibiina Ekikristaayo leero.
N’olwekyo, ekibuuzo ekituukirawo obulungi oluvannyuma lw’okutegeera okuyigiriza okuli mu 1 Timoseewo 6:6-10, kiri: Abantu abagagga bandikoze ki bwe baba nga baagala okuwa Katonda ekitiibwa? Pawulo abakubiriza okusooka okukebera endowooza zaabwe. Essente zitera okuleetawo endowooza ey’okwemalirira. Pawulo agamba: “Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw’obugagga tulyoke twesanyusenga n’ebyo.” (1 Timoseewo 6:17) Abagagga tebasaanidde kwemalira nnyo ku ssente zaabwe. Bagwanidde okutunuulira Katonda ensibuko y’obugagga bwonna.
Naye endowooza gy’oba nayo si ye yokka eneekutuusa ku buwanguzi. Abakristaayo abagagga bagwanidde okukozesa obulungi obugagga bwabwe. Pawulo akubiriza: “Bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu.”—1 Timoseewo 6:18.
“Obulamu Obwa Nnamaddala”
Amakulu agali mu kubuulirira kwa Pawulo gali nti twetaaga okujjukira ekifo ekituufu eky’obugagga. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky’amaanyi, era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.” (Engero 18:11) Yee, obukuumi eby’obugagga bwe busobola okutuwa si bwa nnamaddala. Kikyamu okumalira obulamu bwaffe ku by’obugagga mu kifo ky’okunoonya okusiimibwa Katonda.
Olw’okubanga eby’obugagga tebiyinza kwesigika, kiba kya kabi okubisuubiriramu. Essuubi erya nnamaddala ligwanidde okwesigamizibwa ku kintu ekinywevu, eky’amakulu, era eky’olubeerera. Essuubi ly’Abakristaayo lyesigamiziddwa ku Mutonzi waffe, Yakuwa Katonda, ne ku kisuubizo kye eky’obulamu obutaggwaawo. Ng’essente bwe zitasobola kuleetera muntu ssanyu, era tezisobola kumuleetera bulokozi. Okwesiga Katonda kyokka kye kiyinza okutusobozesa okufuna essuubi eryo.
N’olwekyo, ka tubeere bagagga oba baavu, ka tweyise mu ngeri eneetusobozesa okubeera “abagagga eri Katonda.” (Lukka 12:21) Tewali kisinga bukulu okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Bwe tufuba okukuuma enkolagana eyo kituleetera ‘okweterekera eky’okuyimako ekirungi olw’ebiro ebigenda okujja, tulyoke tunywezenga obulamu obwa nnamaddala.’—1 Timoseewo 6:19, NW.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Pawulo yayiga ekyama eky’okubeera omumativu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Tusobola okubeera abasanyufu era abamativu n’ebyo bye tulina