Nyumirwa Okwesomesa Ekigambo kya Katonda
“N[n]aalowoozanga omulimu gwo gwonna, era n[n]aafumiitirizanga ebikolwa byo.”—ZABBULI 77:12.
1, 2. (a) Lwaki twandifunyenga obudde okufumiitiriza? (b) “Okufumiitiriza” kitegeeza ki?
NG’ABAYIGIRIZWA ba Yesu Kristo, tulina okufaayo ennyo ku nkolagana yaffe ne Katonda awamu n’ensonga lwaki tumuweereza. Kyokka, abantu abasinga obungi leero, bakola nnyo ne kiba nti tebalina budde kufumiitiriza. Beemalidde mu kunoonya bintu n’eby’amasanyu ebitazimba. Tuyinza tutya okwewala ebintu ng’ebyo ebitaliimu? Nga bwe tufuna obudde buli lunaku gamba obw’okulya n’okwebaka, mu ngeri y’emu tuteekwa okufuna obudde buli lunaku okufumiitiriza ku mirimu gya Yakuwa n’ebikolwa bye.—Ekyamateeka 8:3; Matayo 4:4.
2 Otera okusiriikiriramu n’ofumiitiriza? Okufumiitiriza kitegeeza ki? Enkuluze emu ennyonnyola okufumiitiriza nga “okuteeka ebirowoozo oba okulowoolereza ku kintu n’obwegendereza era mu kasirise.” Ekyo kitegeeza ki gye tuli?
3. Okukulaakulana mu by’omwoyo kulina kakwate na ki?
3 Okusooka, kitujjukiza ebigambo omutume Pawulo bye yawandiikira muweereza munne Timoseewo: “Okutuusa lwe ndijja, nyiikira okusoma, n’okubuuliriranga, n’okuyigirizanga. . . . Ebyo obifumiitirizengako, obyemalirengako, okukulaakulana kwo kulabikenga eri bonna.” Yee, Timoseewo yali asuubirwa okukulaakulana, era ebigambo bya Pawulo byalaga nti waaliwo akakwate wakati w’okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo n’okukulaakulana. Bwe kityo bwe kiri ne leero. Okusobola okukulaakulana, tuteekwa “okufumiitiriza” ‘n’okwemalira’ ku Kigambo kya Katonda.—1 Timoseewo 4:13-15.
4. Biki by’oyinza okweyambisa okufumiitiriza ku Kigambo kya Yakuwa obutayosa?
4 Ekiseera ekisinga obulungi okufumiitiriza, kisinziira ku ggwe kennyini n’enteekateeka y’amaka gammwe. Bangi bafumiitiriza ku Kyawandiikibwa ku makya nga basoma akatabo Okwekkenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Mu butuufu, okwetooloola ensi yonna bannakyewa abawera nga 20,000 abaweereza ku Beseri batandika olunaku nga beekenneenya Ekyawandiikibwa eky’olunaku okumala eddakiika 15. Wadde nga batono ababa n’eby’okwogera, abaweereza ku Beseri abalala bafumiitiriza ku byogerwa n’ebisomebwa buli ku makya. Abajulirwa abalala bafumiitiriza ku Kigambo kya Yakuwa nga bagenda ku mirimu. Bawuliriza Baibuli, Watchtower, ne Awake! ku ntambi za kaseti eziriwo mu nnimi ez’enjawulo. Abakyala abafumbo bangi bakola bwe batyo nga bakola emirimu gyabwe awaka. Mu butuufu baba bakoppa omuwandiisi wa Zabbuli Asafu eyawandiika: “N[n]aayogeranga ku bikolwa bya Mukama, kubanga najjukiranga eby’ekitalo byo eby’edda. Era n[n]aalowoozanga omulimu gwo gwonna. Era n[n]aafumiitirizanga ebikolwa byo.”—Zabbuli 77:11, 12.
Endowooza Ennungi Evaamu Emiganyulo
5. Lwaki kikulu nnyo okwesomesa?
5 Mu mulembe gwaffe guno ogwa ttivi, vidiyo, ne kompyuta, abantu tebajjumbira nnyo kusoma. Naye tekyandibadde kityo eri Abajulirwa ba Yakuwa, kubanga okusoma Baibuli kulinga olutindo olutuyunga ku Yakuwa. Enkumi n’enkumi z’emyaka emabega, Yoswa yadda mu bigere bya Musa ng’omukulembeze wa Isiraeri. Okusobola okusiimibwa Yakuwa, Yoswa yalina okwesomesa Ekigambo kya Katonda. (Yoswa 1:8; Zabbuli 1:1, 2) Ekyo na kati Katonda ky’atwetaagisa. Kyokka, olw’obuyigirize obutono, abamu bayinza okukisanga nga okusoma kuzibu oba nga kukooya n’okukooya. Kati olwo, kiki ekiyinza okutuyamba okwagala okusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo bya Kabaka Sulemaani ebiri mu Engero 2:1-6. Bikkula Baibuli yo osome ennyiriri ezo. Oluvannyuma tujja kuzikubaganyaako ebirowoozo ffenna.
6. Twandibadde na ndowooza ki ku kumanya okukwata ku Katonda?
6 Okusookera ddala, tusoma ebigambo bino ebibuulirira: “Mwana wange, bw’onokkirizanga ebigambo byange, n’oterekanga ebiragiro byange ewuwo; n’okutega n’oteganga okutu kwo eri amagezi, n’ossangayo omutima gwo eri okutegeera; . . .” (Engero 2:1, 2) Kiki kye tuyiga mu bigambo ebyo? Buli omu ku ffe alina obuvunaanyizibwa okwesomesa Ekigambo kya Katonda. Weetegereze ebigambo, “bw’onokkirizanga ebigambo byange.” Kyo kituufu nti abasinga obungi tebafaayo ku Kigambo kya Katonda. Okusobola okunyumirwa okwesomesa Baibuli, tuteekwa okuba abeetegefu okukkiriza ebigambo bya Yakuwa era n’okubitwala ng’eky’obugagga kye tutayagala kufiirwa. Tetulina kukkiriza mirimu gyaffe kutumalawo oba okutuwugula ne tuba nga tetukyafaayo ku Kigambo kya Katonda oba ne tutandika n’okukibuusabuusa.—Abaruumi 3:3, 4.
7. Lwaki tulina okubeerawo era ne tussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo buli lwe kiba kisoboka?
7 Ddala ‘tutega amatu’ ne tuwuliriza bulungi ng’Ekigambo kya Katonda kinnyonnyolebwa mu nkuŋŋaana zaffe? (Abaefeso 4:20, 21) ‘Tussaayo emitima gyaffe’ eri okutegeera? Omwogezi ayinza okuba nga talina bumanyirivu bungi, naye bw’aba ayogera ku Kigambo kya Katonda, tugwanidde okumuwuliriza obulungi. Kya lwatu, okusobola okussaayo omwoyo eri amagezi ga Yakuwa, tuteekwa okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo buli lwe kisoboka. (Engero 18:1) Lowooza ku ngeri abo abataaliwo mu lukuŋŋaana olwali mu kisenge ekya waggulu ku Pentekoote 33 C.E., gye baawuliramu! Wadde ng’enkuŋŋaana zaffe si za kyewuunyo ng’olwo, zibaamu okunnyonnyola ekitabo kyaffe ekikulu, Baibuli. Bwe kityo, buli lukuŋŋaana luyinza okutuganyula mu by’omwoyo singa tussaayo omutima era ne tugoberera mu Baibuli zaffe ng’ennyiriri zisomebwa.—Ebikolwa 2:1-4; Abaebbulaniya 10:24, 25.
8, 9. (a) Okwesomesa kutwetaagisa ki? (b) Osobola otya okugeraageranya omuwendo gwa zaabu n’okutegeera Katonda?
8 Kabaka omugezi ayongera n’agamba: “Weewaawo, bw’onookaabiranga okumanya, n’oliriranga okutegeera.” (Engero 2:3) Ebigambo ebyo byoleka ndowooza ki gye tuli? Byoleka nti tulina okwegomba ennyo okutegeera ekigambo kya Yakuwa. Biraga nti twandikisomye n’ekigendererwa eky’okutegeera Yakuwa by’ayagala. Kya lwatu, ekyo kyetaagisa okufuba era kitutuusa ku bigambo bya Sulemaani ebiddirira.—Abaefeso 5:15-17.
9 Ayongera n’agamba: “[Bw’onoonoonyanga okutegeera] nga ffeeza, n’o[kweke]nneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa, . . .” (Engero 2:4) Ekyo kituleetera okulowooza ku basajja abayiikuula eby’obugagga ebikusike mu ttaka. Okumala ebyasa n’ebyasa, abantu banoonyezza feeza ne zaabu, amayinja ag’omuwendo. Abantu basse bannaabwe olwa zaabu. Abalala bamaze ebbanga ly’obulamu bwabwe lyonna nga bamunoonya. Naye, ddala zaabu wa muwendo kwenkana wa? Bw’obeera eyo mu ddungu ng’obuze era nga enkalamata ekutta, kiki kye wandironzeewo: ekitole kya zaabu oba egiraasi y’amazzi? Kyokka abantu banyiikidde okunoonya zaabu wadde ng’omuwendo gwe si gwa ddala era nga gukyukakyuka buli lukya.a Mu ngeri esinganawo, twandinoonyezza amagezi n’okutegeera Katonda wamu n’ebyo by’ayagala. Naye ekyo kirimu miganyulo ki?—Zabbuli 19:7-10; Engero 3:13-18.
10. Singa tusoma Ekigambo kya Katonda kiki kye tujja okuvumbula?
10 Sulemaani yeeyongera okunnyonnyola: “Kale lw’olitegeera okutya Mukama, n’ovumbula okumanya Katonda.” (Engero 2:5) Nga kyewuunyisa nnyo nti ffe abantu abatatuukiridde tusobola okuvumbula “okumanya [okukwata ku] Katonda,” Yakuwa, omufuzi w’obutonde bwonna! (Zabbuli 73:28; Ebikolwa 4:24) Abafirosoofo ne bakagezimunnyo ab’ensi bagezezaako okutegeera ebikwata ku bulamu n’obutonde bwonna okumala ebyasa n’ebyasa. Kyokka, tebasobodde kuvumbula “kumanya [okukwata ku] Katonda.” Lwaki? Wadde ng’okumanya okwo kubaddewo okumala enkumi n’enkumi z’emyaka mu Kigambo kya Katonda, Baibuli, tebakutwala ng’ekintu ekikulu era bwe kityo tebakukkiriza.—1 Abakkolinso 1:18-21.
11. Egimu ku miganyulo egiva mu kwesomesa gye giruwa?
11 Era Sulemaani atutegeeza ebigambo ebizzaamu amaanyi: “Mukama awa amagezi; mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n’okutegeera.” (Engero 2:6) Yakuwa, kyeyagalire awa amagezi, okumanya, n’okutegeera eri oyo yenna abinoonya. Mazima ddala tulina okwesomesa Ekigambo kya Katonda, wadde nga kyetaagisa okufuba n’okwefiiriza. Ffe tulina kopi za Baibuli, era tetwetaaga kuzikoppolola ng’abamu ku bantu ab’edda!—Ekyamateeka 17:18, 19.
Okutambulanga nga Bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa
12. Kiki ekyandibadde ekiruubirirwa kyaffe nga tunoonya okumanya okukwata ku Katonda?
12 Twandibadde na kigendererwa ki nga twesomesa? Kwe kulaba nti tusinga abalala n’okweraga nga bwe tumanyi ennyo? Kwe kubeera abakenkufu mu Baibuli? Nedda. Ekigendererwa kyaffe kyandibadde okufuuka Abakristaayo abanyiikivu, abassa mu nkola bye bayiga era abeetegefu buli kiseera okuyamba abalala nga Kristo bwe yakolanga. (Matayo 11:28-30) Omutume Pawulo yalabula: “Okutegeera [“okumanya,” NW] kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.” (1 Abakkolinso 8:1) N’olwekyo, tulina okubeera abeetoowaze nga Musa, bwe yagamba Yakuwa: “Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga n[n]alaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go.” (Okuva 33:13) Yee, tulina okwegomba okufuna okumanya okusobola okusanyusa Katonda so si kuwuniikiriza bantu. Tusaanidde okubeera abaweereza ba Katonda abeetoowaze era abagwanira. Tusobola tutya okutuuka ku kiruubirirwa ekyo?
13. Kiki ekyetaagisa okusobola okufuuka omuweereza wa Katonda asiimibwa?
13 Pawulo yabuulirira Timoseewo ku ngeri y’okusanyusaamu Katonda ng’amugamba: “Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi ayisa wakati [“akozesa obulungi,” NW], ekigambo eky’amazima.” (2 Timoseewo 2:15) Ebigambo “akozesa obulungi” biva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “okusala obutereevu.” (Kingdom Interlinear) Okusinziira ku beekenneenya abamu, ekyo kifaananako omutunzi akomola obulungi olugoye, oba omulimi asiga ensigo mu lunyiriri olutereevu. Mu buli ngeri, ekyandivuddemu mu nkomerero kyandibadde kirungi. Ekikulu wano ekyogerwako kiri nti okusobola okubeera omuweereza wa Katonda asiimibwa, kyali kyetaagisa Timoseewo ‘okufuba’ okukakasa nti bye yayigiriza n’empisa ze byali bituukana n’ekigambo eky’amazima.—1 Timoseewo 4:16.
14. Okwesomesa kwandikoze ki ku bye tukola ne bye twogera?
14 Pawulo yayogera ku nsonga y’emu bwe yakubiriza Bakristaayo banne mu Kkolosaayi “okutambulanga nga bwe kisaanira [mu maaso ga] Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna, nga [ba]balanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga [ba]kuliranga mu kutegeera Katonda.” (Abakkolosaayi 1:10) Wano Pawulo akwataganya okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Mukama waffe ‘n’okubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi’ wamu ‘n’okukula mu kutegeera Katonda.’ Mu ngeri endala, Katonda ky’atwala okuba ekikulu si y’engeri gye tusiimamu okumanya kyokka, wabula kitwaliramu n’engeri gye tunywerera ku Kigambo kye mu bye twogera ne bye tukola. (Abaruumi 2:21, 22) Ekyo kitegeeza nti okwesomesa kulina okubaako kye kukola ku ndowooza yaffe ne ku nneeyisa yaffe bwe tuba twagala okusanyusa Katonda.
15. Tusobola tutya okukuuma n’okufuga ebirowoozo byaffe?
15 Leero, Setaani mumalirivu okusaanyaawo okukkiriza kwaffe ng’akozesa endowooza yaffe. (Abaruumi 7:14-25) N’olwekyo, tulina okukuuma n’okufuga ebirowoozo byaffe okusobola okutambulanga nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa, Katonda waffe. Eky’okulwanyisa kye tulina ‘kwe kumanya okukwata ku Katonda’ okusobola ‘okujeemulula buli kirowoozo okuwulira Kristo.’ Eyo ye nsonga lwaki tulina okufuba ennyo okusoma Baibuli buli lunaku, tusobole okwegobako ebirowoozo byonna ebibi.—2 Abakkolinso 10:5.
Ebituyamba Okutegeera
16. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ebyo Yakuwa by’atuyigiriza?
16 Okuyigiriza kwa Yakuwa kuleeta emiganyulo mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Tekulinga kuyigiriza kwa bya ddiini okutanyuma era okutaganyula. N’olwekyo tusoma: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.” (Isaaya 48:17) Yakuwa atukulembera atya mu kkubo lye? Okusookera ddala tulina Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa Baibuli entukuvu. Kino kye kitabo kyaffe ekikulu, kye tujuliza buli kiseera. Eyo ye nsonga lwaki kirungi okussaayo omwoyo ku biba byogerwa mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo nga tubikkula Baibuli zaffe. Tusobola okulaba emiganyulo egiva mu ekyo bwe tusoma ebyatuuka ku musajja Omuwesiyopiya omulaawe, ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’abatume essuula 8.
17. Kiki ekyatuuka ku musajja Omuwesiyopiya omulaawe, era kiraga ki?
17 Omuwesiyopiya omulaawe yava mu ddiini ye nadda mu y’Ekiyudaaya. Yali akkiririza mu Katonda mu bwesimbu, era yasomanga Ebyawandiikibwa. Bwe yali atambulira mu ggaali lye, ng’asoma ekitabo kya Isaaya, Firipo yadduka n’amubuuza: “Obitegedde by’osoma?” Omulaawe yaddamu atya? “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira? Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye.” Awo, Firipo ng’alina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, yayamba omulaawe okutegeera obunnabbi bwa Isaaya. (Ebikolwa 8:27-35) Ekyo kiraga ki? Kiraga nti okwesomesa Baibuli ffekka kyokka tekimala. Yakuwa, okuyitira mu mwoyo gwe, akozesa ekibiina ky’omuddu omwesigwa okutuyamba okutegeera Ekigambo kye mu budde obutuufu. Ekyo kikolebwa kitya?—Matayo 24:45-47; Lukka 12:42.
18. Ekibiina ky’omuddu omwesigwa kituyamba kitya?
18 Wadde ng’ekibiina ky’omuddu kyogerwako nti ‘kyesigwa era ky’amagezi,’ Yesu teyagamba nti tekisobola kukola nsobi. Ekibiina ekyo eky’ab’oluganda abaafukibwako amafuta Bakristaayo abatatuukiridde. Bakyayinza okukola ensobi, ng’era bwe kyali ne mu kyasa ekyasooka. (Ebikolwa 10:9-15; Abaggalatiya 2:8, 11-14) Kyokka, ekigendererwa kyabwe kirungi, era Yakuwa abakozesa okututuusaako ebitabo ebituyamba okutegeera Baibuli n’okuzimba okukkiriza kwaffe mu Kigambo kye wamu n’ebisuubizo bye. Ekitabo ekikulu ekituyamba okwesomesa ekituweereddwa omuddu omwesigwa ye New World Translation of the Holy Scriptures. Kati efunika mu nnimi 42 mu bulamba bwayo oba mu kitundu era kopi obukadde 114 ze zaakakubibwa. Tusobola tutya okugikozesa obulungi nga twesomesa?—2 Timoseewo 3:14-17.
19. Biki ebiri mu nkyusa ya Baibuli eya New World Translation—With References ebiyinza okutuyamba mu kwesomesa ffekka?
19 Twala ekyokulabirako eky’enkyusa ya Baibuli eya New World Translation of the Holy Scriptures—With References. Erimu ebyawandiikibwa ebiyamba okujuliza, obugambo obwa wansi, index, era ne appendix eyogera ku mitwe 43 nga mw’otwalidde ne mmaapu n’ebipande. Erina ‘n’Ennyanjula,’ eraga ebiwandiiko ebyakozesebwa mu kugikyusa. Bw’eba eri mu lulimi olwangu okutegeera, gy’emanyiize era gikozese. Baibuli kye kitabo kye tusookerako okwesomesa mu ntegeka yaffe, era enkyusa ya New World Translation, ekkaatiriza erinnya lya Katonda wamu n’Obwakabaka bwe.—Zabbuli 149:1-9; Danyeri 2:44; Matayo 6:9, 10.
20. Bibuuzo ki ebikwata ku kukulaakulana kwaffe ebyetaaga okuddibwamu?
20 Kati tuyinza okwebuuza: ‘Kiki ekirala kye twetaaga okusobola okutegeera Baibuli? Tusobola tutya okufuna obudde obw’okwesomesa ffekka? Tusobola tutya okuganyulwa mu ngeri esingawo mu kwesomesa? Okwesomesa kwaffe kwandikutte kutya ku balala?’ Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo ebikulu ennyo ebikwata ku kukulaakulana kwaffe okw’Ekikristaayo.
[Obugambo obuli wansi]
a Okuva mu 1979 omuwendo gwa zaabu guzze gukyukakyuka, okuva ku doola 850.00 buli awunzi mu 1980 okutuuka ku doola 252.80 buli awunzi mu 1999.
Okyajjukira?
• “Okufumiitiriza” kitegeeza ki?
• Twandibadde na ndowooza ki ku kwesomesa Ekigambo kya Katonda?
• Twandibadde na kigendererwa ki nga twesomesa ffeka?
• Biki bye tulina ebituyamba okutegeera Baibuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Abaweereza ku Beseri bazzibwamu amaanyi mu by’omwoyo nga batandika olunaku nga beekkeneenya ekyawandiikibwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
Tusobola okukozesa obulungi ebiseera nga tuwuliriza entambi za Baibuli ku kaseti bwe tubeera mu ŋŋendo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Abantu baakuluusananga nnyo okufuna zaabu. Ofuba kyenkana wa okwesomesa Ekigambo kya Katonda?
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Courtesy of California State Parks, 2002
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Baibuli kya bugagga ekiyinza okutuyamba okufuna obulamu obutaggwaawo